OMULOODI wa Kampala, Ssalongo Erias Lukwago alemedde ku akulira ebya mateeka mu KCCA Frank Rusa ku bya Ham okusanyawo akatale ka Owino
MINISITA omubeezi owa Kampala Christopher Kabuye Kyofatogabye akakasizza ONO BWINO nga bw’awandiikidde omugagga Hamis Kiggundu amanyiddwa ennyo nga HAM ne John Bosco Muwonge -JB bayimirize enkulaakulana yonna gye baagala okukola ku mwala gw’e Nakivubo kubanga ekifo ekyo kyazimbibwa kutwala mazzi.
Muwonge ne Ham buli omu awera nti ye nanyini mwala gw’e Nakivubo, era buli ayagala kuguzimbako akeedi
amazzi gasigale nga gatambulira wansi nga Ham weyakoze ku kitundu ky’omwala oguyita mu katale ka Owino. Kyokka KCCA ebayimirizza ng’egamba kino kigenda kutaataaganya entambula y’amazzi mu kibuga.
Omwala abagagga gwe bakaayinira guva mu katale ka Kisekka ne gusalamu okutuuka ku Ntebe Road nga gwazimbibwa bbanka y’ensi yonna ku lwa KCCA.Omwala gw’e Nakivubo gumanyiddwa nnyo nti abamenyi b’amateeka abatigomya Kampala mwebasinga okwekweka.
ABASUUBUZI BASATTIRA
Isma Mubiru ssentebe w’abatembeeyi abakolera ku mwala guno ategeezezza nti abatembeeyi abasoba mu 600 be bakolera mu ku mwala gw’e Nakivubo, kyokka kati basattira olw’abagagga abeesowoddeyo okugutwala, kyokka KCCA wadde ebyegaana nti yabagaanye naye ensonda zitubbiddeko nti waliwo abanene abakukuta ne Ham era essaawa yonna ekibaati kigenda kuluma kubanga basajja ba Ham abaapima ekitundu kya Owino baalabiddwako nga bapima omwala guno kyokka abasuubuzi abasattira Kyofa abalagidde bagende bakolera mu butale bwa KCCA okuli aka Gwanda City Baza akasangibwa mu Kisenyi, Busega n’obulala.
LWAKI ABAGAGGA BALWANIRA OMWALA
Ensonda mu KCCA zitegeezezza nti omugagga Muwonge nanyini bizimbe okuli Gwanda Shopping Mall ne Discount Mall ebisangibwa mu Kisenyi ye yasooka okuyisa ebiragiro ku basuubuzi abakolera ku mwala naddala abakolera ku kitundu ekiriraanye paaka ya ttakisi empya naAbo abakolera mu maaso g’ekizimbe kya Ham Shopping Grounds bonna baveewo omwala agenda kugukulAakulanya kubanga ekifo akirinako ekyapa KCCA yalimuguz.a Kyokka ate omugagga Ham olwamalirizza okuzimba ku mwala gwa Owino, naye amaanyi kati agatadde ku mwala gwa Nakivubo.
HAM KY’AGAMBA
ONO BWINO bweyakubidde HAM essimu okwongera okutangaaza, yaziggyeko buggya.
ABANENE MU KCCA BEESOZZE AKAFUBO NE HAM
Ku Lwokuna nga 13 February omwaka guno, abanene mu Kampala okwabadde akulira KCCA Hajjati Sharifah Buzeki n’omumyuka we Benon Kigenyi , minisita wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda n’omumyuka we Christopher Kabuye Kyofatogabye, Amyuka RCC wa Kampala Shafick Nsubuga beesozze akafubo n’omugagga Ham mu ofiiisi ye eri ku kisaawe kya Hamz Stadium abamu kyebagambye nti abanene baabadde bamaliriza pulaani yonna kyokka Minisita Kabuye yategeezezza nti akafubo kano baabadde boogera ku nsonga za kisaawe so si ddiiru za mwala gwa Nakivubo.
LUKWAGO YEEZINZE KU RUSA ABADDE AKULIRA KCCA
Agava mu ofiiisi ya loodi meeya wa Kampala Lukwago galaga nti Lukwago atabukidde abadde akulira KCCA ow’ekiseera Frank Rusa Nyakana ate nga yakulira eby’amateeka mu KCCA ku bigambibwa nti yaggyeyo omusango KCCA gwe yawawaabira omugagga Ham okuzimba ku mwala ku katale ka Owino nga talina pulaani, Lukwago kyagamba nti wandibaawo amalya nsimbi.
Lukwago ayagala Rusa ajje mu kanso ya KCCA anyonyole lwaki yaggyeyo omusango ate nga pulaani teriiwo. Wabula omwogezi wa KCCA Daniel Nuwabine ategeezezza nti omusango wegwatalibwa mu kkooti pulaani ya Ham yali tenabaawo naye kati pulaani weeri yatuuse mu kitongole ekivunanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga ekya Physical planing nga tebalaba lwaki beeyongera mu maaso n’omusango kwe kuguggyayo, Ham weyali azimba amaduuka ku mwala gwa Owino, Rusa ye yali akulira KCCA ow’ekiseera era n’ayimiriza Ham okuzimba kyokka ebiragiro bye tebyakola Ham yagenda mu maaso ng’azimba paka ekizimbe we kyaggwa ng’essaawa yonna akatale ka Owino Lukwago agamba kandirugenda.


