Gen Saleh, Gen Muhoozi ne Bobi Ani Addako Okusamba Akaggi? Ekibalo M7, Mugandawe N’omutabani Kye Bakozesezza Okuzimba Obwakabaka Bwabwe Emyaka 40!

MBEGA omukambwe eyakulirako obukessi mu State House wansi w’ekitongole ky’eggwanga ekikettera munda mu ggwanga ekya Internal Security Organisation (ISO), Charles Rwomushana, akakasizza nti teyabadde nsobi bambasada b’amawanga g’omukago gwa Bulaaya okugenda e Gulu okusisinkana Gen Salim Saleh okwogera ku nsonga z’omuduumizi wa UPDF era omuwabuzi wa pulezidenti Museveni ow’oku ntikko ku nsonga z’ebikwekweto ebyenkizo Gen Muhoozi Kainerugaba ne batagenda wa mumyuka wa pulezidenti Jessica Alupo, ssaabaminisita Robinnah Nabbanja Musafiiri oba sipiika wa palamenti Annet Anita Among abalina ofiisi ez’amaanyi era ezimanyiddwa ne weziri mu gavumenti ya NRM.

Sengooba Alirabaki
14 Min Read
Gen Salim Saleh, Gen Muhoozi Kainerugaba ne Bobi Wine

MBEGA omukambwe eyakulirako obukessi mu State House wansi w’ekitongole ky’eggwanga ekikettera munda mu ggwanga ekya Internal Security Organisation (ISO), Charles Rwomushana, akakasizza nti teyabadde nsobi bambasada b’amawanga g’omukago gwa Bulaaya okugenda e Gulu okusisinkana Gen Salim Saleh okwogera ku nsonga z’omuduumizi wa UPDF era omuwabuzi wa pulezidenti Museveni ow’oku ntikko ku nsonga z’ebikwekweto ebyenkizo Gen Muhoozi Kainerugaba ne batagenda wa mumyuka wa pulezidenti Jessica Alupo, ssaabaminisita Robinnah Nabbanja Musafiiri oba sipiika wa palamenti Annet Anita Among abalina ofiisi ez’amaanyi era ezimanyiddwa ne weziri mu gavumenti ya NRM.

‘ENNEEYISA YA MUHOOZI ETUSUSSEEKO’

B’ambasada nga bakulemberwamu abakulira mu Uganda Jan Sadek baasisinkanye Gen Saleh e Gulu ne bamusaba okubaako ky’akola ku Gen Muhoozi gwebalumiriza nti enneeyiisa ye eswaza ekifaananyi kya Uganda mu nsi yonna. Ng’ekyo okitadde ku bbali, ne by’akola bityoboola eddembe ly’obuntu naddala bwasinziira ku mitimbagano gye n’atiisatiisa nga bwagenda okutuusa obulabe ku bakulembeze b’oludda oluvuganya naddala Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) pulezidenti wa NUP gwe yeewerera okuwamba amutwale mu bbeesimenti y’enyumba ye amukoleko nga bweyakola ku kanyamawe Edward Ssebuufu (Eddy Mutwe) gwe baatulugunya obubi enyo nga n’okutuusa kati tatereeranga kkooti yalagidde atwalibwe mu kkomera e Luzira okufuna obujjanjabi obusinga bwabadde afunira mu kkomera e Masaka gye baamuggulirako emisango gy’okubbisa eryanyi ku bigambibwa nti yabba essimu n’essweeta ku bannamawulire okuli owa leediyo Simba ne NBS.

Muhoozi teyakoma okwo, yalangirira nga bweyali aguze poloti e Magere okumpi n’amaka ga Bobi Wine okusobola okulondoola byonna by’akola ate bwe binaamunyiiza enyo agenda kunsindika bakkomando be bamukukunule mu nyumba ye mwasinziira n’awandiika obubaka ku mitimbaganno gye nga yeewaana nti asobola okumukuba n’amuleka mu kkubiro singa basisikana mu lingi y’ebikonde.

Muhoozi teyakoma ku Bobi Wine, yalangirira nti essaawa yonna agenda kuwanika Dr Kizza Besigye ku kalabba oba okumutwala ku muti omunene e Gulu kwebabeera bamukubira amasasi bamutte nga ky’ekibonerezo ky’okwegeza mu bulamu bwa kitaawe pulezidentiYoweri Museveni. Muhoozi yalabula ne Winnie Byanyima mukyala wa Besigye okukomya akamanyiiro nga ayogera ku famire yaabwe nti bw’ataakikomye agenda kumukwasa obusungu atte taata w’omwanawe mu bwangu.

Ono yalaalika dda nga bwagenda okusalako omubaka wa Kira Municipality mu palamenti Ibrahim Ssemujju Nganda n’owe Lwemiyaga Theodore Ssekikubo enyindo ennene zebalina okusobola nabo okufaanana obulungi ng’abalenzi abasanyusa abakyala abava mu lulyo lw’Abachwezi nga muno mwe mugwa Abanyankole olulimi lwasinga okwagala, era mutabani wa Museveni yategeeza nti mu kutulugunya Mutwe, Olunyankole lwerumu ku lwe baamuyigiriza nga ne bw’anaakwata Bobi Wine agenda kulumuyigiriza.

LWAKI B’AMBASADA BEERALIIKIRIVU KU MUHOOZI

Muhoozi yategeeza nti by’awandiika ku mitimbagano gye abeera abitegeeza nga kino kye kyatiisizza b’ambasada naddala abo beyagamba nti essaawa yonna agenda kubakwata abatwale mu kifo gyeyatulugunyiza Mutwe abakoleko nga bwe banaayiga Olunyankole abazzeeyo mu mawanga gaabwe lwakumanyira gavumenti ya kitaawe ne basisinkana aduuyi waabwe Bobi Wine.

Mathias Schauer ambasada wa German mu Uganda, yabuulide Gen Saleh nti ali mukutya kubanga y’omu ku bantu Muhoozi ne ttiimu ye be basinze okusongamu olunwe ne yeewunya lwaki nga bo abakulu mu gavumenti tebagamba ku mwana waabwe ne baleka musajja wattu Norbert Mao yekka okwogera ku nneeyisa y’omuduumizi wa UPDF.

Munnamawulire Timothy Kalyegira ategeezezza nti b’ambasada b’amawanga ga Bulaaya bafuna amawulire g’ekikessi buli lunaku era bamanyi bulungi ebigenda mu maaso okuviira ddala mu kisenge Museveni mw’asula nga bwe basitukidde okugenda ewa Gen Saleh nga balina kye beekengedde naddala ng’eggwanga lyetegekera akalulu ka 2026.

BAGENDA KWONGERA OKUKWATA ABAVUBUKA…

Ono awagiddwa Rwomushana ategeezezza nti oluvanyuma lw’akafubo ka bambasada ne Gen Saleh n’ebyaddiridde, tagenda kwewuunya singa abavubuka ku ludda oluvuganya bongera okukwatibwa ne bateekebwa mu makomera n’okulangirira kafyu mu bitundu bya Buganda kubanga by’ebisinga okulumya Museveni, Gen Muhoozi ne Gen Saleh omutwe.

ENGERI MUSEVENI, SALEH NE MUHOOZI GYEBAGABANAMU GAVUMENTI YAABWE

Rwomushana ategeezezza nti Museveni bweyanyweza gavumenti n’agabanya obuyinza nga yasooka Gen Saleh nga kati yagattako Muhoozi.

Ono ategeezezza nti omulimu gwa Museveni omukulu mu gavumenti gwakulowooza ngeri gyebagenda kunywezaamu buyinza n’okufuga okutuusa bwe balikwasa abaana baabwe obuyinza. M7 by’abeera alowoozezza abiteeka mu buwandiike n’abikwasa Gen Saleh okubiteekesa mu nkola.

Ono awadde eky’okulabirako ky’okukola eggye lya bakkomando ba Special Forces Command (SFC), Museveni ye yaleeta ekirowoozo, Gen Saleh n’akuba pulaani Muhoozi n’ateekesa mu nkola nga yatandika nakuwandiisa bakkomando abaasookamu era alina omukono gw’amaanyi mukulonda aduumira eggye eryo erikuuma pulezidenti, ebifo n’abantu ab’enkizo mu ggwanga.

Ono ategeezezza nti Museveni yawandiisa Amama Mbabazi eyaliko ssaabaminisita okumuyambako mukulowooleza eggwanga wabula olw’omululu gw’obuyinza n’asalawo ate okutwala obuyinza bwa Gen Saleh okuteekesa mu nkola bye babeera balowoozeza, kino kye kyamutabula ne Museveni ebyaddirira ng’amwesimbyeko ekintu ekyanyiiza Museveni n’amubonereza nyo nga akwata ku bugagga bwe. Mbabazi bwe yeetonda yamusonyiwa era kati bakolera wamu mukulowooleza gavumenti.

Ssemujju alumiriza nti Gen Saleh ye mumyuka wa pulezidenti omutuufu nga pulaani eno Museveni yagitandika baakawamba obuyinza n’agamba basajjabe okunoonya abantu ababali ku lusegere babawandiise mu magye bakole eggye ery’amaanyi eribakkiririzaamu nga ye ye yasigaza ekyokunonya ssente nga abanyonyodde nti bwe banaabeera ne ssente eziwera baakukola buli kimu kye baagala kubanga abasinga be bakulembera baavu banoonya ssente.

M7 YAWA BASAJJA BE AMAGEZI SINGA BAAKUNYWEZA EKINTU

Ono atubuulidde nti Museveni yalabula basajjabe okwegendereza enyo okunyumirwa abakazi bamalaaya nti bagenda kubasiiga siriimu baleme kunyumirwa buyinza n’okufuba okulaba nga tebanyiiza mawanga okuli Bungereza, South Africa ne Tanzania kubanga ago gasobola okuwagira omulabe n’atabula ekibalo kyabwe.

BAABANO ABALI MU KINTU MU GAV’T ENO

Wabula Richard Ssebamala omubaka wa Bukoto Central era ayagala obwapulezidenti bwa DP, alumiriza nti ng’oggyeko Muhoozi ne Saleh, aba famire ya Museveni abalala abalina ku buyinza kuliko maama Janet Kataha Museveni ng’ono mukyala Museveni era minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo nga kuno kwogatta omuko Odrek Rwabwogo, Looya Edwin Karugire nga naye muko ng’abasigadde bagoberera bugoberezi ebikolebwa n’okuwaana n’okuwujja obunyama abo okusobola okufuna ku ky’okulya.

BAPULEZIDENTI BA EAST AFRICA BATUDDE KU BBOMU

Muhammad Muwanga Kivumbi omubaka wa Butambala mu palamenti era omumyuka wa pulezidenti wa NUP mu Buganda, agambye nti Abazungu okugenda ewa Gen Saleh okukoma ku Muhoozi bo nga abalina obusobozi okutegeera ebigenda maaso mu nsi, bakimanyi nti abakulembeze bamawanga ga East Africa batudde ku bbomu ng’essaawa yonna ebwatuka omusaayi guyiike.

Ono anyonyodde nti Schauer okutabukira Gen Saleh ku nsonga za Gen Muhoozi, akimanyi nti eggwanga lye lirina ebigendererwa bingi mu mawanga okuli Uganda, Rwanda, Kenya, South Sudan, Tanzania, Congo ate ng’ebikolwa bya Muhoozi ng’ayita ku mitimbagano gye biyinza okuleetera embeera okubwatuka abantu ne bafa nekikosa ebigendererwa bya Bugirimaani mu mawanga ga East Africa.

Ono anyonyodde nti Schauer amanyi abalabe Uganda be yeekung’anyirizaako olw’entalo zeerwana e Congo ne South Sudan nga singa entalo ezo zigiremerera, ekiruubirirwa ky’abalabe abo kubeera kulwana kulaba nga bakyusa gavumenti mu Uganda nga kino kyabulabe nyo gyebali naddala abagagga baabwe abakola ssente m umawanga ga East Africa ng’alina okuteeka Saleh ku nninga akome ku Muhoozi eyeefudde ekirala, kubanga ye gw’ayinza okuwuliriza abalala tayagala kumanya.

Kivumbi ategeezezza nti mu kiseera kino, Museveni ne banne okuli Hassan Suluhu pulezidenti wa Tanzania, Paul Kagame owa Rwanda, William Ruto owa Kenya, Felix Tshisekedi owa Congo ne Salver Kiir owa South Sudan balina okusomoozebwa kw’abavubuka ababataddeko akazito nga babalumiriza okulemererwa okutereeza embeera zaabwe eza bulijjo ng’ebbula ly’emirimu lingi nga babeera batiisatiisa nga bwe bagenda okweyiwa ku nguudo okwekalakaasa baggyeko gavumenti zaabwe.

ERYANYI KU BANYENYA EKINTU LISUSSE!

Ono ategeezezza nti okubatiisatiisa, bapulezidenti bano kyebakoze kwekubakozesaako eryanyi — eno y’ensonga lwaki abavubuka ba NUP bafoot soldiers, bwe bakwatibwa Muhoozi afuba okulaga ebifaananyi byabwe nga batulugunyiziddwa okusobola okutiisa bannaabwe abalyagadde okubeegattako okuwakanya obukulembeze bwabwe nga kino kyebakola ne mu mawanga amalala nga Kenya ne Tanzania.

Wabula ekizubu kye bataddewo okusinziira ku Kivumbi nti olwa tekinologiya, abavubuka bano bawuliziganya nga kino kyalabiddwa ku mbeera eyabadde e Tanzania nga gavumenti yaayo ekutte abavubuka abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu okwabadde Looya Agath Atuhairwe owa Uganda ne Boniface Mwangi Munnakenya abaabadde bagenze okubaawo mu kkooti ng’akulira oludda oluvuganya mu Tanzania Tundu Lissu aleetebwa mu kkooti ku misango gy’okulya mu nsi olukwe.

Atuhairwe ne Mwangi balumiriza nti abasecurite y’e Tanzania baabatulugunyizza nyo ng’omujaasi omu yatiisizza nga bwagenda okusobya ku Atuhairwe ku lyanyi ate afube okulaba nti amufunyisa olubuto asobole okuzaala omwana omuwala Omutanzania, bano mbu babambuddemu engoye zonna ne basigala bukunya ne batandika okubayimbisa enyimba eziwaana pulezidenti Samia Suluhu n’okukubira ekifaananyi kye saluti ng’embeera eno Mutwe alumiriza nti naye gyeyayisibwamu ng’atwaliddwa mu bbeesimenti ya Muhoozi.

Kivumbi asabye nti entalo ezigenda maaso e Congo ne South Sudan obutasajjuka nti bwezisajjuka ne zituuka e Uganda, Bannayuganda bangi bagenda kufa nga ne gavumenti ya Museveni erina okugwa nga mukutya okungi abamagye batandise okulabula nga mu Uuganda wemulimu abatandise obuyeekera gavumenti ya Museveni nga bano balina akakwate ku Bobi Wine.

Kivumbi ategeezezza nti ebikwekweto ku bavubuka ba NUP mu Buganda bigenda kuddamu era bangi baakukwatibwa nti kino Museveni akikozesa okunafuya Bobi Wine wabula n’alayira nti bo bamanyi olutalo lwe bajjamu era baakuluggusa mu ngeri yonna.

UPDF KY’EGAMBA

Col Chris Magezi akola ng’omwogezi wa UPDF yategeezezza nti abamu ku bali mu bikolwa by’obuyeekera baakwatiddwa ne bakakasa nti balina akakwate ku Bobi Wine ne Schauer nga be babadde benyigira mu bikolwa by’okutema emiti gy’amasannyalaze n’okubba waya zaago mu bitundu bya Buganda nga Museveni yalagidde Muhoozi abantu bwebatyo abakoleko n’amaanyi gonna.

Kivumbi alumiriza Muhoozi okubeera mu buvuyo bwonna n’okubiyingizaamu Schauer olwokuba yamuleeseeko bwino ewa Gen Saleh n’amuleetera n’okwetonda ku lw’ebikolwa bye wadde nga teyakakasizza nti banaasobola okumukomako nga yanyonyodde nti abantu bangi okuli ne mukoddomi waabwe Omugerman eyawasa mwanyinnaabwe amukubira amasimu gwokumukumu ng’amusaba okwogera ne Muhoozi nti enneeyisa ye eswaza Uganda mu nsi yonna nga yamugamba nti Muhoozi naye mutabaniwe alina obuvunanyizibwa okwogera naye.

BOBI WINE NAYE ABAZUNGU BAMUTABUKIDDE KU GGAALI

Aisha Kabanda omumyuka wa ssaabawandiisi wa NUP era omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Butambala ategeezezza nti Schauer musajja mukambwe nyo ate mugezi ng’akafubo ke baalimu nabo ku ntandikwa y’omwezi guno akaanyiiza ennyo Muhoozi n’atuuka n’okumwewerera, yatabukira nyo Bobi Wine ku nneeyisa ye ng’omuntu ayagala obuyinza bw’eggwanga.

Ensonda mu NUP zitubuulidde nti Schauer yateeka Bobi Wine ku nninga amunyonyole lwaki atendeka obubinja bw’abavubuka obw’eggaali n’akimuteekako nti ayagala kutabangula ggwanga n’amulabula nti bwanaagenda bwatyo agenda kumalira mu kkooti ya nsi yonna nga bwe baakola ku pulezidenti wa Kenya Ruto n’eyali mukamawe pulezidenti Uhuru Kinyatta mu 2007.

Kabanda ategeezezza nti nabo baatabukira b’ambasada bano okusirika nga Muhoozi abakolako effujjo nga tebeewunyizza kubalaba nga batabukidde Gen Saleh.

Bambega mu kitongole kya America ekikessi ekya CIA nekya Bugereza ki M-16, bafulumizza lipooti eziwerako nga balabula nti essaawa yonna mu East Africa mugenda kubalukamu olutalo lw’amawanga olw’amaanyi abantu bayiwe omusaayi ng’abakulira ebitongole ebyo okuli William Burns ne Richard Moore baasisinkana pulezidenti Ruto nga ssentebe wa bapulezidenti b’omukago guno okubaako ekyamangu ky’akolawo.

America yakola endagaano ne Kenya okuzimba enkambi yaayo ey’amaanyi mu ggwanga lyabwe nga yeegenda okulondola eby’okwerinda mu mawanga ga East ne Central Africa nga Kenya baagiyingiza ne mumukago gwa NATO ng’erina okukkiriza America okweyambisa ettaka n’obwengula bwayo okubaako ebikwekweto byekola nga kino kyasattiza nyo bakulembeze banne ab’omulirwano.

MWENDA ALABUDDE ABAZUNGU BAKOMYE AKAMANYIIRO

Andrew Mwenda ayogerera ekisinde kya Patriotic League of Uganda (PLU) Gen Muhoozi ky’akulembera yatabukidde mu lukiiko lw’e Gulu n’alabula Abazungu okukomya okumanyiira Uganda n’abeewunya lwaki balingiriza ebintu Muhoozi by’akola ne balemererwa okwogera ku bikolobero eggwanga lya Yisirayiri byerikola ku ba Palasitine e Gaza.

Ono yasirisiddwa David Pulkol omuyambi wa Gen Saleh nga yakulirako n’ekitongole kya External Security Organisation (ESO) ekikettera wabweru w’eggwanga n’amutegeeza nti ensisinkano ezibeeramu ababaka b’amawanga temubeeramu kuleekaanira waggulu n’amutegeeza nti kyeyabadde akola kyabadde kiswaza Gen Saleh ne Uganda.

Share This Article