MU muzannyo gw’omupiira, omuzannyi anyolwa nnyo era ebiseera bye bibeera mu lusuubo kkooki atendeka ttiimu eyo bw’atandika okumukuba akatebe nga kino kitegeeza nti babeera tebakyamuwa bulungi mukisa kuzannyira ttiimu, wano abasinga we balowooleza okwegatta ku ttiimu endala esobola okumuwa omukisa okuzannya nga bw’ayagala n’atandika mu ttiimu esooka.
Embeera eno, eyawukanira ddala ku katebe mu magye oba ebitongole bya securite ebirala, kubanga okukuba akatebe kusinga kubeera mu boofiisa ab’amadaala aga waggulu. Bwebakuteeka ku katebe, obeera tolina ofiisi ya nkalakkalira mw’oweerereza, ebiseera ebisinga mukamaawo y’asiima n’akutuma okubaako w’omukiikirira.
LWAKI M7 BAAKUBA AKATEBE ASIGALA ABALONDOOLA
Mu UPDF, ofiisa bwe bamukuba akatebe ebiseera ebisinga pulezidenti Museveni ng’omudumizi w’amagye ow’oku ntikko amuteerako ebiragiro by’okweyanjulanga ku kitebe ky’amagye e Mbuya buli lunaku lw’okukola era ensonda zitubuulidde nti kino akikola okusobola okumulemesa okwenyigira mu bikolwa ebirala ebiteeka eby’okwerinda by’eggwanga mu matigga ng’okuganza bamalaaya, okuyombagana n’okulwana ewaka, okwenyigira mu by’obufuzi, okuzannya zzaala, okuyeekera gavumenti n’okuywa omwenge olwokuba abeera talina mulimu gutwala birowoozo bye.
Ensonda zitubuulidde nti bwe bakkuba akatebe, obeera olindirira buli mwezi omusaala ogukusasulwa wabula wabeera tewakyali ddiiru n’obusiimo obugenderako, embeera eno ereetera bofiisa abamu okutunda ebyabwe okusobola okubeera mu bulamu obw’ebbeeyi bwebabeera bamanyidde nga bakyali mu bintu.
ONO BWINO olwaleero akuleetedde boofiisa abaamaanyi mu UPDF n’ensonga lwaki Museveni yabakuba akatebe…
LT GEN PETER ELWELU
Ensonda mu State House zitubuulidde nti Museveni bweyali amugoba ku bumyuka bw’omuduumizi wa UPDF, yamutegeeza nti babadde bamuwadde amagezi okumusindika e Somalia okuduumira eggye lya UPDF erirwanyisa abatujju ba Al-Shabab naye n’alaba nga kibeera kimuswaza omuntu abadde ku ddaala lye.
Ono Museveni yamutegeeza nga bweyali amulonze okumuwabula ku nsonga z’e Karamoja n’okumukolera lipooti ku ngeri gavumenti gyeyinza okukyusa obulamu bw’abantu b’e Karamonja.
Ensonda zitubuulidde nti ofiisi empya Lt Gen Elwelu gye baamuwa temuli ssente ya kwebuzaabuza ng’eno y’ensonga lwaki kati afuna obudde bungi okutuula mu bukiiko bwa palamenti kubanga akyali mukiise w’amagye mu palamenti wabula alina okutya kungi nti embeera yonna eriwo eraga nti ayinza obutakomawo mu kisanja ekijja.
Olw’ebbula bikolwa, ebiseera ebimu Lt Gen Elwelu abeera mu kyalo ewaabwe e Teso gyeyakola ekkanisa ng’eno gye yafunira n’obutakkaanya n’abakulembeze b’ennono bweyalangirira olutalo ku basawo b’ekinansi mu kitundu n’atandika n’okugenda ng’atiisatiisa okwokya amasabo gaabwe nti abagakoleramu bafere. Kati abasinga balumiriza asiiba akuba misota mu kyalo.
Baamuwaabira ewa Museveni n’amulagira okukikomya.
LWAKI M7 YABOGA ELWERU?
Ensonda zongerako nti Museveni okugoba Lt Gen Elwelu ku bumyuka bw’omuduumizi wa UPDF, yali agezaako kukomya ntalo ezaali zitandise olw’obutakkanya Elwelu bweyalina ne mukamawe Gen Muhoozi Kainerugaba obwasibuka ku kiragiro kya Standby Class One Elwelu kyeyayisa ku lwa Museveni nga batya nti Muhoozi ayinza okuwamba gavumenti.
MAJ GEN GEOFFREY TUMUSIIME KATSIGAZI
Ono okuva Museveni bweyakakasa Hajjat Sharifah Buzeki ng’akulira KCCA, yaggwamu essuubi kubanga yali akimanyi awo Muzeeyi waagenda okumuwummuliza okuva lwe yamugoba mu poliisi mu 2024.
Museveni yalonda Maj Gen Tumusiime ng’omumyuka w’omuduumizi wa poliisi ng’adda mu kifo ekyalimu Maj Gen Stephen Sabiiti Muzeeyi nga Martin Okoth Ochola bweyawumula ku buduumizi bwa poliisi Museveni n’ateekawo Katsigazi ng’ow’ekiseera ng’alinda kumukakasa wabula naaleetamu IGP Abas Byakagaba.
Maj Gen Tumusiime baamulagira addeyo ku kitebe kya UPDF e Mbuya nga bwalinda okuweebwa obuvunanyizibwa obulala wabula n’okutuusa kati omukulu tanafuna waamunyiga ate si wa ku mwanjo nyo ne Gen Muhoozi ng’alina okutya nti engeri Museveni gyagenda mu kalulu ayinza okumwerabirira ddala.
Ensonda zitubuulidde nti Museveni okugoba Maj Gen Tumusiime mu poliisi yali ayagala kukkakkanya kazito amawanga g’Abazungu ke gaali gamutaddeko nti abamagye beyateeka mu poliisi okukwasisa amateeka batulugunya nnyo bannansi naddala abali ku ludda oluvuganya.
Abapoliisi nabo baali bayitirizza okwemulugunya nti ebifo by’obuduumizi byonna Museveni yabiteekamu ab’amagye ekyaddirira bonna n’abggyayo ne wasigalayo Brig Gen Christopher Sserunjogi Ddamulira akulira obukessi mu poliisi. Ensonda zirumiriza nti ono Gen Muhoozi ye yamutaasa kubanga baamukwano.
Maj Dr Tom Magambo akulira ekitongole kyabambega ekya Criminal Investigation Department (CID) naye yasigalayo nga ye Gen Salim Saleh ye yamusemba.
MAJ GEN ABEL KANDIHO ALI KU KI?
Ono ebizibu bye byatandika mu 2022, pulezidenti Paul Kagame bweyateekawo akakwakkulizo nti okukomyawo enkolagana ya Uganda ne Rwanda eyali eggadde n’ensalo, Maj Gen Kandiho alina okugobwa mu kitongole ky’amagye ekikessi CMI.
Kagame obusungu ku Kandiho bwakumulumiriza nga bweyateekanga emisango emifu ku Banyarwanda abawangaalira mu Uganda, okubasiba ng’alumiriza nti Uganda tesobola kubeerawo ne Rwanda ng’akyali mu CMI. Kandiho, Museveni yasooka kumusindika South Sudan ng’akulira eby’okwerinda ku kitebe kya Uganda.
Ono yalagyanira Museveni okumutaasa okumuggya e South Sudan ng’abalabe ba Uganda beyalemesa okutabangula emirembe baali bagenda kumuttirayo ate nga tasobola na kutambuza ssente mu banka okuva e Uganda okumutuukako e South Sudan engeri Abamerica ne baywanyi baayo bwe baali bamutaddeko nnatti olw’okutyoboola eddembe ly’obuntu mu Uganda naddala ery’abali ku ludda oluvuganya gavumenti ya Museveni.
Museveni yamukomyawo n’amutwala mu poliisi ng’akulira emirimu wabula mu 2024 yamugoba era mu kiseera kino talina kyakola abeera ku nyimbe ewaabwe mu Ankole n’okukeera ku kitebe ky’amagye e Mbuya okusoma amawulire nga ONO BWINO asobole okutambula n’okumanya.
MAJ TRAVOR KIBUUKA
Ono okumugoba, yali yaakulira ebikwekweto ebirwanyisa okutambuza amanda mu Acholi naddala mu bitundu bya Apaa.
Okumuwumuza yafuna obutakkaanya ne bakama be abaamuloopa ew’omuduumizi w’ekibanja ky’amagye eky’okuna eyatiisatiisa n’okumuggulako emisango gy’obusiiwuufu bw’empisa mu kkooti y’amagye.


