Kagame Akoze Ekiraamo Eky’entiisa: Ebyama Ku Ssimu Pulezidenti Wa Bufalansa Gy’akubye e Congo Eddwaniro Ne Linnyogoga…

MU MBOOZI ey’akafubo n’omukutu gw’amawulire ogwa Jeune Afrique, pulezidenti Paul Kagame owa Rwanda, akakasizza ensi nga bwatagenda kupondooka olw’okutiisibwatiisibwa okumuteekeddwako okusuulawo situlago y’okulwanirira Abanyarwanda mu nsi yonna naddala aba abawangaalira mu Congo n’ategeeza nti waakusigala ng’alwana abamuwalana bakole kyonna kye baagala.

Editor Ono Bwino
4 Min Read

MU MBOOZI ey’akafubo n’omukutu gw’amawulire ogwa Jeune Afrique, pulezidenti Paul Kagame owa Rwanda, akakasizza ensi nga bwatagenda kupondooka olw’okutiisibwatiisibwa okumuteekeddwako okusuulawo situlago y’okulwanirira Abanyarwanda mu nsi yonna naddala aba abawangaalira mu Congo n’ategeeza nti waakusigala ng’alwana abamuwalana bakole kyonna kye baagala.

Kagame okulayira bwati, ng’amaze okufuna amawulire nga palamenti ya Bulaaya eyisizza ekiteeso ekiwera bannamukago bonna obutaddayo kukolagana na Rwanda nga bagiwa obuyambi mu by’obulamu, eby’okwerinda n’enkulaakulana endala okutuusa ng’eggye amagye gaayo geyasindika mu Congo okuyambako abayeekera ba M23 abalwana okusuula gavumenti ya pulezidenti Felix Tshisekedi owa Congo.

America ne Bungereza agamu ku mawanga agasinga okuwa Rwanda obuyambi, baalangirira dda nga bwe bagenda okukomya okuwa Kagame obuyambi lwakutyoboola bwetwaze bwa Congo ng’awagira abayeekera abaawakula olutalo ku gavumenti ya Tshisekedi.

America, Bungereza n’amawanga g’Abazungu balumiriza nti Rwanda yasindika abajaasi abasoba mu 5000 okuyambako abayeekera ba M23 ekintu Kagame ky’awakanya ng’ayagala abamuteekako akazito bakateeke ne ku Tshisekedi akkirize okuteesa n’abamulwanyisa ekintu kye yagaana n’ategezea nga bwatagenda kuteesa n’abayeekera baayita abatujju nga waakulwana okutuusa bwalibamalawo.
Kagame yategezezeza nti omuntu yenna anaagezaako okumutisatisa ave ku by’okulwanirira Abanyarwanda agenda kumukola ng’omukazi omukadde Omutuusi kyeyakola Abahutu abaamubuuza ababuulire engeri gy’ayagala attibwe nga talina kigambo kyonna kyeyabaddamu okuggyako okubawandulira amalusu mu maaso gaabwe ne bamutta ng’omuzira nga naye kyagenda okukola abo abamulemerako.

NDI MWETEGEFU OKUFA

Kagame ategeezezza nga bw’atatya kufa era mwetegefu okufa mu ngeri yonna kasita abeera ng’alwanirira Banyarwanda ekintu abaabadde bamuwuliriza kye baagambye nti abadde ng’akola ekiraamo.
Ono ategeezzeza nti akazito Abazungu n’amawanga amalala ke bamutaddeko bakateeke ne ku Tshisekedi gwagamba nti entebe y’Obwapulezidenti yabba nzibe nga bannansi tebamulondangako.

ESSIIMU YA PULEZIDENTI WA BUFALANSA ENNYOGOZEZZA EDDWANIRO E CONGO

Ku Lwokutaano, emmundu yasuze etokota mu kibuga Bukavu ekimu ku bisinga obunene mu South Kivu mu Congo nga bwebwakeredde ku Lwomukaaga ng’abayeekera ekibuga bakiwambye nga abajaasi mugye lya Congo n’ababayambako okuva e Burundi nga badduse.

Wabula embeera yakyuseemu ng’abayeekera abaabadde basuubirwa okwegazanyiza mu kibuga nga bwebali e Goma bwe baatandise okutikkibwa ku bimotoka n’ebyokulwanyisa byabwe ate ng’abalala batambuza bigere okufuluma ekibuga okudda e Goma.

Mu ssaawa ntono amagye ga Burundi ne Congo gazzeemu okulabwako mu kibuga nga tewali wadde ssasi lyonna likubiddwa ng’ensonda zitubuulidde nti bino byonna okubaawo kyaddiridde essimu enkambwe eyakubiddwa pulezidenti Emmanuel Macron owa Bufalansa.
Macron oluvanyuma yatadde obubaka ku mitimbagano gye ng’akakasa nga bweyakubidde Tshisekedi essimu n’amulagira mu bwangu ddala okulaba nga emmundu zirekera awo okuvuga mu South Kivu.

Ensonda zongeddeko nti Kagame naye yafunye essimu okuva mu banene abafuga amawanga gakirimaanyi abaamulagidde mu bwangu okulagira M23 okudda emabega gyebava ekintu kye baatuukirizza.
Macron yalagidde obukulembeze bw’abantu ba bulijjo bulina okuddamu okukulembera e Bukavu nga mu kiseera kino Tshisekedi alumiriza nti ekitundu kino kyabazze mu ngalo.
Abakulembeze ba Africa wansi w’omukago ogubagatta ogwa African Union -AU ogwatudde mu Ethiopia wiiki ewedde, balagidde Kagame ne Tshisekedi okusisinkana maaso ku maaso bamalewo obutakkaanya bwebalina okusobola okuzza emirembe mu Congo.

Bano baalagidde ekyasalwawo bapulezidenti b’emikago okuli ogwa SADC ne EAC okugatta enteeseganya ezibadde mu Angola ne Kenya awamu bonna abaazeetabamu bakwatire wamu mu bwangu okusobola okwanguyako okumalawo okulwanagana.

Abayeekera ba M23 baagala Tshisekedi akkirize nti Abanyarwanda Abatuusi abali mu Congo Bacongo ng’abalwanyi baabwe balina okugattibwa mu ggye lya gavumenti n’okuweebwa emirimu mu bitongole bya gavumenti.

Share This Article