Obunkenke Mu Basajja Ba M7: Olukwe Trump Lw’apanze Okuwamba Obugagga Bwe Babbye Mu Uganda Ne Babukweka Mu Amerika…

ADONIA Ayebare omubaka wa Uganda mu kibiina ky’amawanga amagatte ki UN, akakasizza nga Uganda bweyayingidde enteeseganya ne gavumenti ya pulezidenti Donald Trump owa Amerika okulaba ng’ekkakkanya ku bukwakkulizo obyateereddwa ku bannayuganda n’ebyamaguzi ebitundibwa mu America ne mu banywanyi baayo.

Mubiru Dickson
10 Min Read
Pulezidenti Donald Trump ne Museveni

ADONIA Ayebare omubaka wa Uganda mu kibiina ky’amawanga amagatte ki UN, akakasizza nga Uganda bweyayingidde enteeseganya ne gavumenti ya pulezidenti Donald Trump owa Amerika okulaba ng’ekkakkanya ku bukwakkulizo obyateereddwa ku bannayuganda n’ebyamaguzi ebitundibwa mu America ne mu banywanyi baayo.

ENKALU ZA UGANDA NE AMERIKA ZAJJA ZITYA?

Mu June wa 2025, bambega mu kitongole kya Central Intelligence Agency(CIA) baakola lipooti ne n’esembebwa minisitule ya America ey’ensonga z’ebweru n’etwalibwa ku mmeeza ya Trump nga baagala ateeke omukono ku kiragiro okugaana oba okukendeeza ku muwendo gwa bannansi okuva mu mawanga 36 okuyingira mu America nga kwagwo 25 ga Africa nga munno mulimu Uganda ne Tanzania.

Bambega balumiriza nti bannansi abava mu mawanga ago babulabe nyo eri Abamerica, abakulembeze b’amawanga ago benyigira nyo mu bikolwo by’obuli bw’enguzi, obutujju, okutyoboola eddembe ly’obuntu n’obufere. Era wano gavumenti ya Trump yagawa ennaku 60 okuva lipooti eno bweyakolebwa gennyonyoleko lwaki tegasaanye kuteekebwako nnatti.

Embeera eno yatuukira mu kiseera ky’obunkenke enyo nga Gen Muhoozi Kainrugaba omuduumizi wa UPDF atadde akazito ku mubaka wa America mu Uganda William Popp ng’amutiisatiisa nga bwagenda okulagira mu bwangu bamutikke ku nyonyi bamuzze ewaabwe lwakunyoma n’okutyoboola pulezidenti Museveni nti okumusonyiwa alina okwetondera Museveni mu buntu.

LWAKI MUHOOZI YATABUKIRA AMBASADA WA AMERIKA

Ensonda mu State House zitegeezezza nti Muhoozi okunyigira Popp kyaddirira okufuna amawulire nga bwaliko enkiiko z’atuulamu eziteekateeka okulung’amya engeri obuyinza bwebusobola okukyusibwamu mu mirembe mu Uganda nga kino Muhoozi yakitwala ng’Omumerica okweyingiza mu nsonga za Uganda wabula oluvanyuma mutabani wa Museveni ono yakkakkana n’ategeeza nga bwatakyalina lutalo lwonna ku Popp. Oluvannyuma baasisinkana ku ofiisi ye esangibwa e Kasenyi mu Municipality y’e Entebbe mu disitulikiti y’e Wakiso.

Museveni ye yasooka okusisinkana Popp ng’okusinga yali ayagala kutegeera engeri gyesobola okuyambamu gavumenti ya Uganda ne bannayuganda obutanyigirizibwa nyo biragiro ebipya gavumenti ya Trump byeyali eteekateeka okubateekako.

Popp yayogera n’abakulu mu America nebamuwa olukusa okutandika okwogerezeganya ne gavumenti ya Uganda, ttiimu ya Uganda ekulemberwamu Ramathan Ggoobi omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyensimbi, abalala kwaliko boofiisa okuva mu minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga, mu minisitule y’ebyensimbi n’obusuubuzi, mu minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga, ofiisi ya ssaabawolereza wa gavumenti, Ayebare ne State House nga Museveni enteseganya zino azigoberera butereevu.

M7 YEEGAYIRIDDE TRUMP, TUTAASE

Ensonda mu State House zitubuulidde nti Museveni yalagidde ttiimu ye okusooka okuperereza Popp ne banne basabe Trump akendeeze ku musolo gw’ebitundu 10% gweyateeka ku by’amaguzi bya Uganda ebitundibwa mu katale ka America wabula kino kikyaliko enkalu nga Abamerica balumiriza nti Uganda ebafunamu nyo ate nga bo tebalina ky’amaanyi kyebatunda mu Uganda.

Okusinziira ku bibalo mu 2024, Uganda yatunda eby’obugagga bya buwumbi 472 ate nga yo Amerika yatunda bya buwumbi 60 bwokka ekintu ttiimu ya Uganda kyewakanya ng’erumiriza nti America etunda ebyamaguzi bingi mu Uganda.

Ensonda mu nteeseganya zitegeezezza nti Uganda yemulugunyizza nyo ku America okugiteekako omusolo omunene ate nga yo ebyamaguzi ebisinga ebitundibwa ku katale ka Uganda tebiggyako musolo okuggyako engoye z’emivumba nga zino pulezidenti Museveni yagezaako n’okwagala okuziwera wabula ne bamulabula nti bwanaakikola Abamerica bagenda kukyekwasa okumulwana.

DDIIRU MUSEVENI Z’ATADDEWO OKUKKAKKANYA OBUSUNGU BWA TRUMP

Ensonda zitubuulidde nti Museveni wadde yateekawo akakiiko ka Ggoobi, wabula era ayogera butereevu ne Robbie Kakonge omubaka wa Uganda mu Washington nga naye alina ttiimu gy’ayogerezeganya nayo okulaba nga gavumenti ne bannayuganda tebanyigirizibwa nyo mu bukulembeze bwa Trump.

Museveni yalagira Kakonge ng’ono mulamu wa Gen. Mugisha Muntu okuttusa ddiiru zonna Uganda zeyalimu negavumenti yapulezidenti Joe Biden nga munno mwemuli Uganda okugula enyonyi za America ezitambuza abantu n’emigugu eza Boeing zikozesebwe ekitongole ky’enyonyi ekya Uganda Airlines.

Diiru eno Museveni yali yagikwasa Mull Katende eyali omubaka wa Uganda e Washington wabula n’awummula nga tanagiggusa naye ensonda zitubuulidde nti ekizibu ekinene Kakonge kyasanze kwekubeera nti ebiseera ebisinga byateesaako n’Abamerica okusalawo basooka kwebuuza ku kitebe kyabwe e Kampala.

Ensonda zongeddeko nti Museveni yasisinkana abakulu mu kampuni ya Starlink ey’ebyempuliziganya n’agiguza diiru y’okusinzira mu Uganda okukola bizinensi mu Africa yonna nga enteeseganya zino zikyagenda maaso.

UGANDA EKKIRIZZA OKUWAGIRA AMERIKA OKUKUUMIRA TSHEKEDI W’E CONGO MU NTEBE

ONO BWINO akitegeddeko nti Uganda nneetegefu nyo okuwagira ddiiru Trump gyeyakoze ng’akkiriza okuwaayo amagye ga America gayambeko okunywereza gavumenti ya pulezidenti Felix Tshisekedi owa Congo mu ntebe.

Mu ndaganno eno, America egenda kusindika bakomando baayo mu Congo okulwanyisa bonna abaagala okuwamba gavumenti ya Tshisekedi nga okwesasula egenda kusindika amakampuni gayo okusima n’okutwala eby’obugagga by’e Congo. Trump yategeeza nti diiru eno nnungi nyo wabula nga mu kiseera kino alwana okulaba nga Qatar ekkirizisa abayeekera ba M23 abalwanyisa Tshisekedi okukola endagaano ekomya okulwanagana.

Ensonda zongeddeko nti America eyinza obutasindika magye gaayo kujja mu Congo wabula n’ekolagana ne Uganda okulaba ng’eyambako okunywereza Tshisekedi mu ntebe nga bweyagikozesa okulwanyisa abatujju ba Al-Shabab e Somalia ng’obukodyo buno Museveni abutegeera nnyo.

Ensonda zitubuulidde nti eno ye nsonga lwaki Gen Muhoozi ku ntandikwa ya July 2025 yagenda e Congo n’asisinkana Tshisekedi n’abaduumira ebitongole bya securite byonna n’alayira nga Uganda bwegenda okukola kyonna ekisoboka okunywereza Tshisekedi mu ntebe.

Muhoozi wiiki ewedde yabadde ku mutimbagano gwe n’ategeeza nga bwe basse abayeekekera abasoba mu 1000 okuva mu bubinja bw’abayeekera obwenjawulo obubadde bugezaako okutabangula emirembe mu Congo.

ABA STATE HOUSE BEESISEEMU

Wabula ensonda mu State House zitubuulidde nti okutya okuliwo kwekubeera nti Trump teyeesigika nga buli kiseera abeera akyukakyuka nga yeekwasa nti ye akulembeza America mu buli kimu.

Okutya okukyaliwo kwekubeera oba ddala Paul Kagame owa Rwanda anaagula ddiiru ya Uganda okuywereza Tshisekedi gwalumiriza okwagala okusangula Rwanda ku maapu y’ensi yonna.

Rwanda yategeezezza nti wadde yakola endagaano ne Congo okukomya okulwanagana wabula amagye gaayo tagenda kusooka kugaggya mu bibira by’e Congo okutuusa ng’akakasizza nti Tshisekedi takyalina bigendererwa bibi eri eggwanga lyabwe.

Kagame yategeeza nti abalwanyi ba M23 nzaalwa z’e Congo ssi Banyarwanda nga Tshesekedi bwagezako okumatiza ensi ng’alina okubakkiriza babeere mu ggwanga lyabwe oba ssi ekyo emmundu yakwongera okuseka.

ABAKWESE OBUGAGGA BWABWE MU AMERICA BASATTIRA

Ensonda zongeddeko nti abasinze okuteeka amanyi mu nteeseganya zino be bagagga bannayuganda abakwese obugagga bwabwe mu America abatya nti amateeka ga Trump lukwe olulukiddwa okubawambako obugagga bwabwe.

BITABUSE, TEKYALI KUMALA GAGENDA MU AMERIKA

Ekitebe kya America mu Uganda, mu July wa 2025 kyalangirira nti munnayuganda takyafuna Visa esussa myezi 3 ate nga mukusooka babadde bafuna Visa za myaka ebiri ng’embeera eno ebadde eyamba abagagga naddala abanene mu gavumenti oba abantu baabwe be basindika okusobola okulondoola obutereevu obugagga bwabwe bwe bakweseeyo ng’obusinga babubbye nga bayita mu kulya enguzi.

Bannayuganda tebakyabakkiriza kugenda mu America kuzaalirayo nga bwebabadde bakola nga baagala abaana baabwe bafuuke Abamerica okusobola okuddukanya obugagga bwabwe.

Abatwalayo abaana baabwe okusomerayo, ensonda zitubuulidde nti Abamerica bazzeemu okwetegereza engeri gyebagendayo okusoma nga abo abanaawona bwebamaliriza okusoma balina okudda mu Uganda.

AKASATTIRO KANGI MU BANENE MU GAV’T

Abanene mu gavumenti ensonda zitubuulidde nti bali mu kutya nga balowooza nti ekyatuuka kweyali ssabaduumizi wa poliisi Gen Edward Kale Kayihura, eyali omuduumizi wa CMI Maj Gen Abel Kandiho, eyali minisita w’ensonga z’ebweru Sam Kutesa, sipiika wa palamenti Annet Anita Among, omulamuzi eyawumula Moses Mukiibi, America beyateekako nnatti, obugagga bwabwe obuli mu buwumbi bwe baali baakwekayo n’ebubowa, nti nabo kiyinza okubatuukako.

Bano tebakkirizibwa kulinnya kigere kyabwe mu America wadde abaana baabwe era abo abaasangibwayo mu kiseera bwe baateekebwako nnatti nga be baali baddukanya obugagga bw’abazadde baabwe, ab’obuyinza mu America baalagira ne batikkibwa ku nyonyi ekiro ekyo ne bakomezebwawo mu Uganda.

Ekizibu ekyamanyi abateekebwako nnatti kyebafuna nti wadde America yatwala obugagga bwabwe naye n’amakampuni abaana baabwe gebaddukanya tegakkirizibwa kukola bizinensi yonna ne kampuni ya America nga kino kye kitiisa abanene mu gavumenti kati.

Abanene batya nti eby’okulemesa bannayuganda okugenda mu America, Trump ayagala abantu be be babadde bakolagana nabo mu bizinensi bazibatwaleko mu bufere nga abasinga bagenda kutya n’okuwaaba mu kkooti kubanga tebasobola kunyonyola bugagga obwo bwonna obutootoogana ng’obukolwa ngeri gye baabufunamu.

Pulezidenti Museveni yawagira America okubowa obugagga bw’abasajjabe bwe baakweka mu mawanga g’Abazungu n’ategeeza nti kyebakola kwali kulya mu nsi yaabwe lukwe lwaki basiga ssente mu mawanga amalala ate nga Uganda enonya bamusigansimbi okutonderawo abavubuka emirimu n’okukuzza ebyenfuna bya Uganda.

Omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda ategeezezza nti amawanga g’Abazungu gakozesa obukodyo bw’okuteeka nnatti ku bugagga bw’abakulembeze be balowooza nti babubbabubbi ne babukweka mu mawanga gaabwe nga kino baakikola ku bapulezidenti nga Mobutu Seseseko owa Congo n’abalala bangi okusobola okukuzza ebyenfuna by’amawanga gaabwe.

Share This Article