MUNNAMAWULIRE Sir. Simon Muyanga Lutaya akakasizza nti ssente kyabadde kyakulwanyisa ky’amaanyi nyo okuwangula akamyufu ka NRM era wiiki eyasembyeyo buli eyabadde yeesimbyewo yagenze mu bbanka n’aggyayo ebisawo bya ssente ze yabadde aterese ku akawunti era kati banka ezisinga nkalu.
BALAZE ERYANYI LYA SSENTE MU BANK
Muyanga atubuulidde nti okulaga amaanyi ga ssente, obwedda abeesimbyewo bwe batuuka mu banka balagira kubawa bupapula bwa ssente bupya bwokka ng’abasinga baatutte obubapula okuva ku k’olukumi okutuuka ku k’e 50,000, n’okutuusa kati engoye ze baabaddemu n’emmotoka zaabwe zikyawunya kawoowo ka ssente mpya.
Omubaka Muhammad Muwanga Kivumbi awagidde Lutaaya n’ategeeza nti amaanyi ga ssente okusinga gaabadde mu bitundu bya Ankole, Kabale ne Kisoro olwokuba abanene abava eno be basinga okubeera mu bifo bya gavumenti ebisasula ssente enyingi obwedda buli omu alwana okulaga munne nti y’asinga ssente nga kino bwe kyagaanye ne batandika n’okukozesa emmundu.
Ono atubuulidde nti buli omuntu obwedda asimba emabega w’eyeesimbyewo mu bitundu ebyo obwedda asasulwa ssente wakati wa siringi 5000 okutuuka ku 50,000 ng’omulonzi asimba ennyiriri nga gwe bakwasa ssente. Obwedda osooka kuwandiikibwa mu kitabo, kuno nga bagattako okumuteekako bambega abamutambulirako okukakasa nti ddala asimbye mu mugongo gw’omuntu oyo amusasudde.
EWA TUMUKUNDE KYASUSSE!
Looya Isaac Atukunda ayawanguddwa Lt. Gen Henry Tumukunde ku kifo ky’omubaka wa Rukungiri Municipality ategeezezza nti okumanya ssente yabadde nyingi mu kalulu, abalonzi obwedda bwe bamala okubawa ssente nga tebabakkiriza kuzigulamu mwenge kubanga baabateereddewo ekifo obwedda we banywera omwenge ogw’obwereere.
Wano baabadde tebakirizaawo ccupa ne bagula obukopo obuzungu obwedda mwebabayiira nga bw’omalawo ng’okomawo. Kino kyakoleddwa nti ne bwe bagangayira bwe balwanagana tebasobola kwekuba macupa ne beetuusaako obuvune.
Maj Gen Kahinda Otafire olwamulangiridde ku buwanguzi e Ruhinda n’akakasa abawagizi be nti ekiro ekyo yabadde agenda kubagulira walagi owa buli kika bamunywe kubanga omwenge ssi gwe gwabattira bannyinaabwe ekintu kye yatuukirizza ne banywa ne basenza bigere.
Minisita wa securite, Jim Muhwezi naye yalaze amaanyi ga ssente e Rujumbura. Ono abalonzi yabasimbisizza layini nga buli omu amukwasa akapapula ka ssente ak’e 5000, era nga bw’omala okukafuna nga bakuwandiika erinnya n’okukugoberera ppaka lw’osimba layini.
LWAKI MU BUGANDA SSENTE TEZAAYIISE NNYO
Kivumbi ategeezezza nti mu Buganda ssente mwe zaasinze okubeera entono kubanga bannabyabufuzi abasingamu beeyiiya tebalina mirimu misava mu gavumenti n’abagagga abalimu nabo tebarya ku ddiiru za gavumenti nsava nga bannaabwe abavu mu Ankole, Kisoro ne Kabale.
Wadde Kivumbi alumiriza nti mu Buganda abeesimbyewo tebaalaze sente wabula e Mawogola West balumiriza nti minisita Hajjat Anifa Kawooya yasumuludde ssente, ku lunaku lw’okulonda buli mulonzi obwedda enjala gweruma ng’amukwasa akapapula okuli ekifaananyi kye okugenda mu bifo we bafumbira emmere weyabadde abategekedde balye ya bwereere.
E BUSOGA KYATOKOSE
Minisita omubeezi ow’ebyettaka Persis Namuganza ategeezezza nti ssente gyeyalabye mu kalulu kano e Busoga abadde tagirabangako. Ono alumiriza nti abalonzi baatandika okulya ssente nga bannakibiina kya NRM balonda abakulembeze ku byalo.
Ono alumiriza sipiika wa palamenti Annet Anita Among okusumulula ebisawo bya ssente ebyatabudde akalulu e Busoga ng’ekigendererwa kyakusuula abo bonna abawagira omumyuka wa ssaabaminisita asooka era minisita w’ensonga za East Africa Rebecca Alitwala Kadaga.
Ibrahim Kitatta eyawanguddwa e Bukoto West ategeezezza nti waliwo ekiseera we kyatuuse ssente n’eremererwa olwo eryanyi n’emmundu nerivaayo nga boofiisa mu magye batadde abakulira ebyokulonda mu NRM okulangirira abantu be baagala okuyitawo wadde nga babadde tebawezezza bululu bwetaagibwa.
SSEKIKUBO BAAMUKUBYE AKALULU AKYALI MU MAZIGA!
Omubaka Theodoro Ssekikubo alumiriza nti muto wa pulezidenti Museveni Michael Nuwagira amanyiddwa nga Toyota bweyakitegedde nti Ssekikubo aleebya musajjawe Brig Gen Emmanuel Rwashande e Lwemiyaga, n’ayisa ekiragiro obutamukkiriza kutuuka mu kifo we baagattidde obululu n’okulangirira omuwanguzi ng’alumiriza nti kino kyakoleddwa okumulaga nti bo be balina amaanyi.
Pulofesa Elijah Dickens Mushemeza alumiriza nti tebaamukkirizza kugenda kweronda ng’abasirikale nga bakolera ku biragiro bya pulofesa Ephraim Kamuntu mukwano gwa Museveni kuba mutabaniwe yali yawasa muwala wa Museveni, baamugaanye nga bamulumiriza okwagala okutabula akalulu.
Banno baabadde bavuganyiza Sheema South era Kamuntu yawangudde. Embeera y’emu balumiriza nti ye yakoleddwa minisita omubeezi ow’ebyensimbi Henry Musasizi e Rubanda eyakozesezza emmundu okulangirirwa ku buwanguzi.
OMUSAJJA Y’ANSINZE OKUBBA OBULULU
Lutaaya ayongeddeko nti Mutebi Bernard Mugoya gwe baabadde battunka naye e Bulamogi, yamusinzizza amagezi n’obukodyo bw’okubba akalulu n’okubeera n’eryanyi mu banene abasinga wadde ng’ensonda zirumiriza nti yabadde awagirwa Gen Muhoozi Kainerugaba aduumira UPDF era akulira ekisinde kya Patriotic League of Uganda (PLU).
MUSAJJA WA KAIHURA AKAABA
Eyali ofiisa wa poliisi avunanyizibwa ku kulwanyisa obutujju mu biseera bya Gen Edward Kale Kayihura, AIGP John Ngaruye Ndungutse yagguddewo omusango ku poliisi ng’alumiriza abajaasi ba UPDF okumusamba tteke mu kabutobuto ne batwaliramu n’okumunyogootola obusajja bwe.
Ono alumiriza Lt Patrick Zirimo okuduumira abajaasi ba UPDF abaamukozeeko effujjo ate nga yabadde yabeeyanjulidde dda nga bwali omu ku baabadde beesimbyewo ku kifo ky’omubaka wa Kinkizi West mu disitulikiti y’e Kanungu.
ENGERI MUSEVENI GYEYABADDE APANZE OKULEMESA ABABAKA OKUTWALA SSENTE MU KALULU
MP Kivumbi ayongeddeko nti ababaka abasinga abaabadde muk amyufu ka NRM ssente zaabadde zibaweddeko nga beesunga kukozesa za musaala gwa June gwebabadde balina okusasulwa ku ntandikwa ya July era akalulu kaagenze okukubwa ku Lwokuna lwa wiiki ewedde nga tebannasasula.
Sente zaatandise okugwa ku akawunti z’ababaka ku Lwokutaano ng’akalulu kawedde. Embeera eno yaleetedde ababaka okudduka ew’Omuyindi atuula ku bimu ku bizimbe ebiriraanye palamenti okumwewolako sente z’akalulu. Wabula abaaluddewo okutuuka baasanze ssente n’Omuyindi zimuweddeko olwo ne baddukira mu bawola sente mpa ente nkuwe akamyu.
Kivumbi ategeezezza nti Museveni yakikoze mu bugenderevu okulwisayo ssente ezirina okusasulwa omusaala gw’ababaka ba palamenti kubanga yabadde tayagala bagende mu kalulu nga balina ssente nyingi kubanga baabadde bagenda kukatabula.
OMUNTU YEETAAGA SSENTE MMEKA OKUWANGULA
Kivumbi ayongerako nti okuwangula akalulu naddala ak’obwa MP mu bitundu bya Ankole, Kabale ne Kisoro eyeesimbye ku bubaka bwa palamenti yeetaaga ssente ezitakka wansi wa buwumbi 3 wadde nga mu Buganda ne Busoga akozesezza obuwumbi bwa ssente 2 abeera asaasaanyizza sente nyingi.
Pulezidenti Museveni enfunda nyingi azze alabula ba MP okwewala okuteeka ssente enyingi mu kalulu ng’alumiriza nti ababaka okwagala okuggyayo ssente zaabwe ze babeera baagabira abalonzi mu biseera by’akalulu, kye kibaleetera okwenyigira mu bikolwa by’obuli bwenguzi n’obufere ng’abamu batya n’okudadyo mu bantu nga balowooza bagenda kubasaba ssente.
Ensonda zitubuulidde nti engeri Uganda gyesaliddwako enyo obuyambi amawanga g’Abazungu n’ebitongole by’ensi yonna, Museveni atya nti ssente enyingi bwezinaggwa mu banka nezibeera mu bantu kigenda kuleetera senta ya Uganda okugwa omuwendo.
Ensonda zitegeezezza nti eno ye nsonga lwaki agenda kukozesa obukambwe bungi ku bakulira obukiiko bw’ebyokulonda mu NRM abaalidde sente ne balangirira abatawangudde olw’okuba babaguliridde. Wetwagendedde mu kyapa ng’abakulira ebyokulonda mu disitulikiti omuli Mayuge, Buyende, Kapchorwa, Pader, Oyam, Rwampara, Kareenga ne Mbarara nga bakwatiddwa.
E BUSOGA KITOKOTA, KADAGA NE AMONG BATTUNKA
Kadaga ku Mmande yakedde ku kitebe kya NRM e Kyadondo mu Kampala okukakasa nti akakiiko ka looya John Musiime akaateereddwawo pulezidenti Museveni okutaawulula enkaayana ezaavudde mu kalulu nga tekalangirira Henry Kibalya eyamulyamu olukwe ne yeegatta ku ttiimu Among emulwanyisa.
Kadaga yawangudde okukwatira NRM fulaga ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kamuli era bonna abamuwagira baakoze bulungi mu Busoga okuggyako abatono nga minisita Namuganza ne Bradon Kintu abakyalwanirira obuwanguzi bwabwe mu kakiiko ka Musiime.
Namuganza eyawanguddwa Emmanuel Maganda alumiriza nti ku kifo ky’omubaka wa Bukono mu disitulikiti y’e Namutumba atiisatisiizza nti bwatafuna bwenkanya mu kakiiko ka Musiime agenda kwesimbawo ku lulwe era akakasa nti amaanyi agawangula agalina.
Namuganza atubuulidde nti bwateesimbawo kibeera kitegeeza nti ttiimu Mulamu sipiika Among gw’alumiriza okugiduumira okugoba Kadaga mu byobufuzi egenda kubeera ebawangudde.
Ono alumiriza nti Among mu Busoga yajjamu n’ekigendererwa nga ye nsonga lwaki ku myaka 50 yasendasenda Moses Magogo omubaka wa Budiope East okumuwasa n’akakasa nti amuzaalamu abalongo asobole okuwamba obulungi Busoga atuukirize ebigendererwa bye mu byobufuzi ekintu kyagambye nti tebagenda kukikkiriza.
ABASOGA LWAKI MUKKIRIZA AMONG OKUBAJOOGA BW’ATYO?
Ono yeewunyizza Abasoga okutunula obutunuzi nga Among abajooga olwokuba alina ssente ng’alowooza nti agenda nakutwala ekitiibwa kya Maama Busoga ekiweebwa mukyala wa Kyabazinga abeera ku ntebe nga ye ejjoogo eryo lyagenda okulwanyisa wadde ng’akimanyi nti Among alina abanene bangi mu kakiiko k’ebyokulonda omuli n’akakulira Dr Tanga Odoi abamulwanyisa.
Namuganza yeewunyizza kyeyakola Tanga atamukwanangako nti n’amugaana oba n’amumma nga ye nsonga lwaki amuwalana n’anyonyola nti mu 2016 yasalawo okwesimbawo ku lulwe olwa Tanga okumuferako obuwangizi bwe.
Namuganza alabudde Museveni nti bwatakoma ku Among okukomya okulwanyisa Kadaga n’atuuka n’okumwesimbako ku kifo ky’okukiikirira abakyala ku lukiiko lwa NRM olw’oku ntikko lu Central Executive Committee (CEC), e Busoga tasuubirayo kalulu kubanga ejjoogo tebasobola kulikkiriza.
Obunkenke bukyali bw’amaanyi mu Busoga ng’abanene abasinga ababadde balwana Kadaga nga baminisita okuli Fredrick Ngobi Gume omubeezi ow’ebyobusuubuzi era omubaka wa Bulamogi North West, Fred Bwino Kyakulaga minisita omubeezi ow’ebyobulimi era omubaka w’e Kigulu North, Esther Mbayo eyali minisita w’ensonga z’obwapulezidenti era omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Luuka.
Ebya Mariam Naigaga omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Namutumba bikyali mu kakiiko ka Musiime ng’alumiriza nti yawangudde wabula ono abalonzi bamulumiriza nti y’omu ku balwana Kadaga.
ABALALA BE BAAWUJJIZZA AKALULU
Abalala abagudde kuliko Sauda Alibawo, Baroda Watongola owa Kamuli Municipality, Namukuta Brenda owa Kaliro disitulikiti ne Brandon Kintu owa Kagoma North ng’ono muwagizi wa Kadaga.
Abalala kuliko Moses Walyomu ow’e Kagoma South, Agnes Taaka omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Bugiri, Sanon Bwire owa Bulamogi County, Nathan Igeme Nabeta owa Jinja South, Kyoto Ibrahim owa Budiope West, Racheal Magoola omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Bugweri ne Milton Muwuma owa Kigulu South – ono bamulumiriza okubeera nti y’atambuza ssente za Among mu Busoga.
E KAYUNGA NANTABA ATTUSIZZA EBY’OKUFA KWA FFEFFEKKA N’ABIYINGIZAAMU MINISITA LUGOLOOBI
Obunkenke bweyongedde mu kalulu k’e Kayunga eyali minisita w’ebyettaka omubeezi era omubaka omukyala owa disitulikiti bw’alumirizza abanene okuli ne mukulu we Amos Lugoloobi okwenyigira mu kutemula Muhammad Ffeffekka Sserubogo [NUP] eyali ssentebe wa disitulikiti.
Nantaba yabadde Bbaale n’alumiriza nti Lugolobi enkiiko z’okutemula Sserubogo yazimanyako wabula olwokutya okuwangulwa mu byobufuzi by’e Kayunga n’asirika n’asalawo n’okutambula ne baayita abatemu.
Nantaba ali ku bunkenke bw’amaanyi nga NRM emusimbyeko Jacquline Birungi muwala w’omugagga Moses Kariisa Karangwa nga ye yalangirira nga bwagenda okwesimbawo ku lulwe nga bwazze akola okuva mu 2016.
E Kayunga batubuulidde nti obusungu Nantaba bwalina kwekubeera nti mugandawe Lugolobi yamusuulawo kati atambula ne Karangwa era pulezidenti Museveni bweyaliyo baamumma n’akazindaalo nga yalwanira kalwanire okwogerako eri pulezidenti ng’amuloopera ababbi n’abatulugunya abantu ku bibanja.


