KARIM KHAN omuwaabi omukulu mu kkooti y’ensi yonna eya International Criminal Court Of Justice (ICC) akakasizza nga wiiki ennamba gyeyamaze e Congo, yabadde akung’aanya bujulizi n’okwetegereza embeera egenda okumuyamba okuggula emisango ku bantu bonna omuli abaduumira obubinja bw’abatujju n’ababuwagira okukola ebikolobero ku bannansi b’e Congo n’ekigendererwa ky’okunyaga obugagga n’okuwamba gavumenti ya pulezidenti Felix Tshisekedi owa Congo.
Ono yasisinkanye Tshisekedi, ssaabawaabi w’emisango gya gavumenti mu Congo, ssaabawolereza wa gavumenti, ssabalamuzi n’abalamuzi bakkooti ensukkulumu ne bakkaanya ku ngeri gyebagenda okukwatamu n’okuvunaana bonna abenyigira mu bikolobero by’okutyobola eddembe ly’obuntu mu Conga, yasuubizza nga bwebasobola n’okutondawo kkooti ey’enjawulo abantu abo oba okubatwala butereevu e Netherlands bawolereze eyo.
Guno si gwe mulundi ogusoose kkooti y’ensi yonna okuwozesa abaduumira obubinja bw’abayeekera mu Congo, mu 2019 ssaabayeekera John Bosco Ntaganda yasingisibwa enisango gy’okutyoboola eddembe ly’obuntu mu Congo nga kati ali mu kkomera e Nertherlands ku kibonerezo.
Omuwaabi wa kkooti y’ensi yonna waabeeredde e Congo nga America yaakateeka nnatti kw’eyali omuduumizi w’eggye lya Rwanda era minisita mu gavumenti ya Paul Kagame, Gen James Kabarebe nga bamulumiriza okuyambako abayeekera ba M23 abaagala okuwamba pulezidenti Tshisekedi nga kati baakamuwambako ebibuga eby’amaanyi bibiri okuli Bukavu ne Goma ate nga bakyalumba.
Gen Kabarebe musajja mulwanyi nyo ate nga kafulu mu kubala entalo era yayambako nyo pulezidenti Museveni okuwamba obuyinza mu Uganda mu 1986 ne Kagame mu 1994, yaliko n’omuduumizi w’amagye ga Congo ng’omugenzi Lawrance Kabira ali mu buyinza.
Bungereza ye yasoose okuteeka nnatti ku nkolagana yaayo ne Rwanda ne bayimiriza enkolagana mu byokwerinda, ebyenfuna nga kye basigazizza kwe kuwaayo obuyambi eri abantu abali enyo mu bwetavu, baataddewo obukwakkulizo nti okuddamu okukolagana ne gavumenti ya Kagame erina okukomya okuwagira M23 ekintu Rwanda ky’ewakanya ng’ekakasa nti ensi yonna egiwaayiriza.
Rwanda ebadde n’enkolagana y’amaanyi nyo ne gavumenti ya Bugereza nga baagezaako n’okuleeta mu Rwanda abagwira abayingira Bungereza mu bumenyi bw’amateeka, wabula kkooti e Bungereza ne ziremesa ddiiru eno, Rwanda era eteeka ssente mu ttiimu y’omupiira eya Arsenal ekintu ekibaleetera abalambuzi abayingiza ssente mu Rwanda.
Ensonda zitegeezezza nti gavumenti z’amawanga mu mukago gwa Bulaaya nabo batandise enteekateeka z’okuteeka nnatti ku Rwanda nga balabira ku Bungereza, America n’amawanga amalala.
Munnamawulire omunonyereza Timothy Kalyegira ategeezezza nti Bungereza n’amawanga g’omukago gwa Bulaaya balina okulaga obukambwe ku Rwanda okulemesa amawanga amalala okugirabirako okutandika okukola obulumbaganyi ku gannewaago nga balumiriza nti Rwanda yalabira ku Russia eyakola obulumbaganyi ku Ukraine.
BAKIRIMAANYI BASATTIRA
Abategeera ebyobufuzi by’ensi batubuulidde nti abakulembeze b’amawanga agasinga amaanyi mu nsi yonna bali mu kutya nga balowooza nti entalo ezitandise wakati w’amawanga n’amawanga ziyinza okuviirako okubalukawo kwa ssematalo 3 nga pulezidenti Donald Trump bweyalabudde bweyabadde awaanyisiganya ebigambo ebisongovu ne Volodymyr Zelenskyy pulezidenti wa Ukraine wiiki ewedde mu America.
Wabula pulezidenti Kagame yalabula nti tewali kigenda kumutiisatiisa yenna anaamwesimba mu maaso okumulemesa okulwanirira Abanyarwanda yonna gyebali agenda kumuwandulira amalusu mu maaso n’asaba Tshisekedi okukkiriza nti abalwanyi ba M23 Abatuusi bannansi ba Congo wabula si Banyarwanda nga bwagezaako okulaga ensi yonna.
TSHISEKEDI ATWALIDDE TRUMP DDIIRU ENSAVA OKUMUTAASA
Ensonda zitukakasizza nga Tshisekedi bweyasindikidde munne owa America Trump obubaka ng’amwegayirira okutwala ddiiru y’okumuwa eby’okulwanyisa okumuyambako okunyweza gavumenti ye ng’okumusasula waakumuwa byabugagga by’ensi ye.
Congo emanyiddwa ng’ensi esinga okusimwamu ebyobugagga obutambuza ensi yonna, abamanyi obulungi Trump bakakasa nti ddiiru ya Tshisekedi agenda kugitwala ng’ekyamutabudde ne pulezidenti Zelenskyy kugaana kumuwa ddiiru yakusima byabugagga mu nsi ye bamuwe ebyokulwanyisa.
Wiiki ewedde Tshisekedi yayolesezza ebyokulwanyisa eby’amaanyi okwabadde emmundu empya, ebikompola n’ebimotoka ebirwanyi ku nguudo z’ekibuga ekikulu Kinshasa, abamu balumiriza nti byebimu ebyamuweereddwa America.
South Africa nayo yayingizza eby’okulwanyisa eby’omulembe okutaasa Tshisekedi wadde nga waliwo abalumiriza nti essaawa yonna South Africa eggya amagye gayo mu Congo olw’obunkenke obubateekeddwako bannabyabufuzi e South Africa nga banyolwa olw’abaana baabwe okufiira mu lutalo lwebatafunamu.
Ensonda zirumiriza nti abajaasi ba South Africa abasukka 30 be baakafiira e Congo ate bangi basimattuse n’ebisago eby’amaanyi, bayisibwa mu Uganda okuddizibwayo ewaabwe okufuna obujjanjabi obulungi.


