Ho! Akatwa Kanyooka Mu Balokole! Owa Vva Mu Busibe e Nansana Alojja Bw’asimattuse Obutwa Bwa Bapaasita…

Entalo z’okulwanira ssente n’ebiweebwayo mu bapaasita b’Abalokole buli lukya zeeyongera. Kati abamu ku bapaasita bongedde okuddukira mu basawo b’ekinnansi abakugu okusobola okweganga olw’eddogo  n’okwagala okwetta nga bakozesa obutwa obukambwe, okusobola okusigala mu kintu.

Joseph Luboyera
5 Min Read
Abasumba Ssenyonjo owa Vva mu Busibe, Kiganda ne Sserwadda
Entalo z’okulwanira ssente n’ebiweebwayo mu bapaasita b’Abalokole buli lukya zeeyongera. Kati abamu ku bapaasita bongedde okuddukira mu basawo b’ekinnansi abakugu okusobola okweganga olw’eddogo  n’okwagala okwetta nga bakozesa obutwa obukambwe, okusobola okusigala mu kintu.
Omusumba Ssennyonjo ow’ekkanisa ya ‘Vva mu busibe Church’ esangibwa e Nansana alojja emirundi esatu basumba banne gye babadde bamwegezaamu okumuwa obutwa obukambwe nga baagala okumutta, kyokka ng’abusimattuka, ono abadde aludde ng’ali mu ntalo ne basumba banne omuli n’akulira Abasumba b’Abalokole mu ggwanga Bishop Joseph Sserwadda era owa Victory Church mu Ndeeba n’omusumba David Livingstone Kiganda owa Christianity Focus Centre e Mengo Kisenyi, bano ne batuuka n’okwagala okukozesa poliisi y’e Nansana n’abamu ku b’obuyinza mu Wakiso nga baagala okuggala ekkanisa ya Ssennyonjo olw’engeri gy’abuuliramu enjiri ate  n’okukolagana ennyo n’abasamize omuli maama Fiina ne Ssaabakabona Jjumba Lubowa Aligaweesa ow’e Mukono.
Nti Abasumba abo bategeeza nti byonna byakola byakifere era bo ng’Abalokole tebamumanyi abeerimbiseemu kwagala kutuukiriza bigendererwa bye. Entalo zino zaatuusa n’abasumba bano okumugeraganya ku Joseph Kibwetere eyayokera abantu mu kkanisa e Kanungu, ne bategeeza nti kye kiyinza okubeera ekigendererwa kya Paasita ono, ekintu ye Ssennyonjo ky’agamba nti bamulwanyisa lw’akubuusa ndiga ng’azibuulira ebituufu.

OLUTALO LWABWE WE LWAVA

Olutalo lw’abasumba bano lwava ku bigambo Paasita Ssenyonjo bye yayogera, bwe yali abuulira enjiri n’ategeeza nti, ye takkiririza mu njiri ya Yesu Kristu kuba yaleetebwa Bazungu n’ebigendererwa byabwe okusobola okusanyawo obuwangwa n’enzikiriza y’Omuddugavu era takkiririza mu sitaani kuba naye taliiyo ateekebwawo nga Yezu, ono era yavumirira nnyo n’ebigambibwa nti ssente zonna n’ebiweebwayo mu masinzizo nti babeera babiwadde Katonda nti era abasumba babitwalira Katonda, n’ategeeza nti bubeera bulimba, era ebirabo omuli ne sente ffe abasumba ffe tubirya n’okubikozesa.
Ebigambo bino byatabula ennyo abasumba b’Abalokole ne batuuka n’okwagala okumutwala mu kooti nga baagala ekkanisa ye eggalwe.
Ssenyonjo yategeezezza ONO BWINO nti, “Okuva lwe nnategeeza ensi nti abasumba bafere era ssente eziweebwa mu masinzizo tezigenda wa Katonda nga bwe balimbalimba abantu, wabula ffe ng’abasumba ffe tuzikozesa nga bwe twagadde,  Abasumba abamu bazikozesa mu kuwasa bakazi bangi, okukyusa mmotoka n’okwejalabya, ekibinja ky’abasumba omwali ba Sheikh, baffaaza,  n’ababuulizi baatandika okunnumba omwali n’okunkubira amasimu nga bantiisatiisa, n’okwagala ekkanisa yange eggalwe, naye nze abasumba abo ne baffaaza sibalinaako buzibu bwonna kuba ffenna tuli mu kazannyo ka bwongo, yadde nga bbo bakyalemeddwa okukategeera obulungi.
Ono yayongedde n’ategeeza nti, Abasumba nga bakulembeddwa omusumba omukaddekadde okuva mu kkanisa y’omu Ndeeba bwe baalemererwa okunteekako ebisangosango ebitaliiyo omwali n’okwagala okuttira abantu mu kkanisa nga kibwetere bwe yakola kyokka byonna ne balemererwa,  wano bazze bagezaako okumpa obutwa, emirundi esatu nga baagala okunzita kyokka nga Katonda w’abajajja ffe ng’antaasa,  bwe baalemererwa obutwa ne bakozesa eddogo kyokka nga byonna bye bagezaako okukola nga Katonda abindaga mu kirooto.

ENGERI GY’AZZE ASIMATTUKKA OKUFA OKUFA OBUTWA

Omusumba Sserunjoji ategeezezza ONO BWINO nti okuva lwe yayogera ku nsonga z’akabbo ne ku Katonda w’Omuddugavu, gwe tulina okusinza, baakamwegezaamu okumutta emirundi esatu  nga bamuwa obutwa.
“Omulundi ogwasooka obutwa baabuyisa mu b’amawulire ku mukutu gwa leediyo emu eyali etera okunkyaaza ne  babuteeka ku kazindaalo kwe nali ng’enda okwogerera, kyokkka Katonda w’abajajjaffe n’annyamba ne wabeerawo omuntu eyandabula obutakozesa muzindaalo ogwo, era n’engwewala bwentyo n’ensobola okubusimatukka.”
Ono era agamba nti ng’oggyekko okukozesa obutwa obwateekebwa ku muzindaalo, abasumba bano era baaguliriranga abakozi ku leediyo ezankyanzanga ne bampa amazzi n’ebyokulya omwalinga obutwa, kyokka era waalingawo abandabulanga, era nammwe kati mbeekengera ndowooza nti wayinza okuba nga waliwo abatumye gyendi nga muliko bye muleese okunkola. Obulamu bwange kati mbutambuliza mu kwekengera buli muntu.

OBA ONO MUFERE?

Abasumba bano bazze balumirizza ekkanisa ya Vva mu busibe okubeera nti ate y’esibira abantu mu busibe ekintu paasita Ssenyonjo ky’agamba nti abo okuli Sserwadda ne Kiganda bwe bakuze mu myaka be babyogera naye beeswaza nga boogera ebigambo ebiswaza emyaka gyabwe.
Ono asaba abeerimbika okubeera abasumba nti, muyige ekintu kye bayita okuvuganya n’engeri gyekirina okukwatibwamu naddala nga tuli mu bizinesi y’amakanisa, balina okuyiga engeri gye bagikwatamu, wabeerewo okuvuganya nga tuli mu bwongo omuli okuyiga n’okutegeeera sso ssi kweyawulamu n’okutiisatisa oba okwetta ng’abasumba abamu abatitiizi bwe baagala okukola.
Share This Article