State House Ewuuma, Bwino Lwaki M7 Yeetondedde Buganda Nga Yaakava Ew’omusambwa Nakayima N’okwemulugunya Ku Bitiibwa Bya Kabaka…

PULEZIDENTI Yoweri Museveni ne mukyala we era minisita w’ensonga z’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Kataha Museveni, baasinzidde ku kisaawe ky’ameefuga e Kololo mu Kampala, ne bonna babiri ne basoma ekiwandiiko eky’awamu ku muzindaalo obwedda oguweereza amaloboozi agaasaanikidde ebitundu ebiriranyewo okuli Nakasero ne Kamwokya okwetondera Bannayuganda bonna naddala Abaganda olw’ebikolobero ebibakoleddwako mu kiseera we babeeredde mu buyinza bw’eggwanga ebbanga erikunukkiriza emyaka 40.

Sengooba Alirabaki
11 Min Read
Muwala wa Museveni Patience eyategese okusaba. Mu katono ye Museveni ne mukyala we Janet ku lunaku lwe beetonda

PULEZIDENTI Yoweri Museveni ne mukyala we era minisita w’ensonga z’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Kataha Museveni, baasinzidde ku kisaawe ky’ameefuga e Kololo mu Kampala, ne bonna babiri ne basoma ekiwandiiko eky’awamu ku muzindaalo obwedda oguweereza amaloboozi agaasaanikidde ebitundu ebiriranyewo okuli Nakasero ne Kamwokya okwetondera Bannayuganda bonna naddala Abaganda olw’ebikolobero ebibakoleddwako mu kiseera we babeeredde mu buyinza bw’eggwanga ebbanga erikunukkiriza emyaka 40.

Bamuseveni baasoose kwebaza Katonda olw’obulamu bw’abawadde ne bakulembera Uganda kati emyaka gikunukkiriza mu 40 awatali kusumbuyibwa nga kuno baagasseeko okweyanza ezzadde ly’abaana okuli Gen Muhoozi Kainerugaba kati omuduumizi wa UPDF, Patience Rwabwogo omusumba ow’amaanyi mu ggwanga nga Museveni yategeezezza nti y’asoose mu famire yakitaawe Amos Kaguta okubeera omusumba ng’essaawa yonna mbu agenda kufuuka Bishop amuweeseza ddala ekitiibwa okwetoloola ensi yonna nga kuno kwamugattiddeko n’abazzukulu.

BA M7 BAKKIRIZZA ENSOBI ZE BAKOZE NE BEETONDA

Bamuseveni era beebazizza obulamu Katonda bw’abawadde ne bamutendereza nyo wabula ne bannyonyola mu kiwandiiko kyabwe nti balina ensobi zebakoze ku bantu ba Buganda bo ng’abantu benyini, abayambi baabwe n’abaweereza baabwe ne basaba okusonyiyibwa kubanga byonna tebabikoze mu bugenderevu.

Bamuseveni ebirayiro bino baabikubye mu maaso g’Abasumba abaakulembeddwamu Omumerica omubuulizi w’engeri nnakinku Osborn Ladonna. Abalala kwabaddeko Dr.Joseph Sserwadda, David Kiganda, Dr. Moses Odongo, Micheal Kimuli, Pulofesa Simeone Kayiwa, Robert Kayanja n’abalala bangi ababakubidde emizira olw’okukkiriza okusoma ekiwandiiko ewamu.

M7 AGENDA KUWAAYO OBUYINZA?

Bamuseveni olwamaze okusoma ekiwandiiko, baatadde omukono ku ndagaano empandiike nga bakkiriza mu maaso g’abaabaddewo nti bagenda kukola kyonna ekisoboka okulaba ng’obukulembeze mu Uganda bukyuka ewatali kuyiwa musaayi. Kuno baagasseeko okuyiwa amazzi ag’omukisa abasumba ge abagambye nti mafuta ge beetoolozza ekifo kyonna we baateeredde emikono ku ndagaano nga basaba Katonda ababeere byonna bye bakkiriziganyizzaako bituukirizibwe nga bwe bakkaanyizza.

Bino byonna byakoleddwa mu maaso g’Omulangira David Kintu Wasajja muto wa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II era mukwano gwa famire ya Museveni engeri bwekiri nti maama we bamuzaala mu Ankole.

Museveni n’omukyala be baabadde abagenyi abakulu ku mukolo gw’okuggalawo olukung’aana olwategekeddwa omusumba Patience n’omwamiwe Odrek Rwabwogo abasumba ekkanisa ya Covenant of Nations esangibwa e Ggaba mu Kampala olwamaze ewiiki ennamba nga basabira Uganda. Baategeezezza nti enkung’azna bwezityo bagenda kuzitambuza ekitundu kya Buganda kyonna nga basaba abantu baamwo babasonyiwe baddemu okubalaga omukwano gwe baasooka okubalaga nga bakyali mu nsiko n’ekiseera nga bawambye obuyinza.

NAYE DDALA LWAKI MUSEVENI AKUBYE EKIRAYIRO KINO?

Museveni agenze okukuba ekirayiro kino nga yaakatandika okulambula ekitundu kya Buganda okwetegereza engeri abantu gye baganyuddwa mu nkola ya Parish Development Modal -PDM eyatandikibwawo okugoba obwavu mu maka ga Bannayuganda nga yatandiikidde mu bitundu by’e Luwero gyeyalwanira olutalo lw’ekiyeekera.

M7 AGENZE EW’OMUSAMBWA NAKAYIMA

Museveni bweyabadde eno, ekiro ekimu yakimaze ku lusozi Boma mu Mubende disitulikiti awasangibwa omuti ogw’ebyewuunyo Nakayima, era nga guno gwe gulimu omusambwa gwa Maama Nakayima era omusasi waffe Tumusiime Mutebile weyagendayo, baamutegeeza nti ku lusozi luno kwekuli omusambwa ogwo ogwa Maama Nakayima ogumu ku gisinga amaanyi mu Buganda, Bunyoro ne Toro nga ku lusozi okwo kwe kwazimbwa amaka g’Obwapulezidenti e Mubende nga Museveni gyeyasuze.

Ensonda zitubuulidde nti ennaku Museveni zeyamaze mu kitundu kino ku lusozi lwa Nakayima, waabadde tewakkirizibwawo kukolerawo mukolo gwonna okutuusa bweyavuddeyo nga bakkomando ba SFC be baabadde bakumayo yonna.

Ku ntandikwa y’omwaka guno, ettabi ku muti guno lyagwa neritta abantu abaali bagenzeeyo okukolerayo emikolo gy’ebyobuwangwa ne batandika okuwanuuza nga Nakayima bw’ali omunyiivu nti alina ky’alagula ekitagenda bulungi mu ggwanga era abagendayo okukola emikolo basooka ne bayimirizibwamu naye kati baddamu okugendayo okusaba obuyambi okuva ew’omusambwa gwa Maama Nakayima.

Museveni okugenda ewa Nakayima, yasoose kwogerako eri bannamawulire ne yeewunya abantu b’e Mengo okutandika okuyita Kabaka ekitiibwa kya ‘His Majesty’ nga tebamutegeezezzaako nga ye omulwanyi eyakulemberamu olutalo olwakomyawo Obwakabaka bwa Buganda n’anyonyola nti mu kukomyawo Obwakabaka baali bakkaanya nti Kabaka bamuyite His Highness.

N’ENJUKI NAZO ZEEKALAKAASA!

Museveni agenze okwetonda nga ku mukolo ogumu mu disitulikiti y’e Lwengo, bannakibiina kya NRM gye baali nga bamunonyeza akalulu enjuki zaalumba omukolo ne zeezinga ku kkamera za bannamawulire ekintu ekyateeka abanene okwali baminisita Haruna Kasolo, Ruth Nankabirwa Ssentamu ne ssaabawolereza wagavumenti Kiryowa Kiwanuka ku bunkenke nga bangi ku batunuulizi b’ebyobuwangwa buli omu yakitaputa lulwe n’okwewuunaganya, ng’abamu bategeeza nti emizimu gya Buganda minyiivu eri Museveni ate abalala nti bweza nti emizimu misanyufu nyo n’obukulembeze bwa Museveni.

BOBI WINE ATABUSE KU BYA M7 OKWETONDA

Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) nga y’alwana okujja Museveni ku bwapulezidenti abuulidde ONO BWINO nti omukulu n’omukyala okwetonda, bukadde bwe bubatawaanya nti bombi batuuse mu myaka egyogera amazima nga munda mu bo balina ekintu ekibakaabirira.

Ono yabadde mu bitundu bya Lango ne Acholi n’ategeeza nti Abaganda baayagala nyo Museveni ne bamukolera buli kimu omwali n’okumuyambako okumulwanirako entalo z’Abacholi n’Abalango abaali baagala okuwamba gavumenti ye nga yaakakwata obuyinza, wabula n’abeefuulira nga mu kiseera kino abaana ba Buganda be basinga mu makomera nga bawambibwa mutabaniwe Gen Muhoozi n’abatulugunya olw’okuba bawakanya obukulembeze bwa kitaawe nga kuno kwatadde okwewaana nti abasomesa Lunyankole nga kino yakikoze ku Edward Ssebuufu (Eddy Mutwe) omu ku bakuumi ba Bobi Wine.

Bobi era yalabudde abantu b’eLango ne Acholi nti kati Museveni abatijjisa olwokuba Abaganda baamugwamu olw’obulimba bwe naye bw’anaamala okubakozesa by’ayagala nabo ng’abasuulawo n’abasaba okumwegattako okulwanirira enkyukakyuka mu ggwanga.

‘M7 ALINA KY’ABALA’

Sarah Birete munnamateeka era omutunuulizi w’ebyobufuzi ategeezezza nti Museveni okwetonda tekwavudde ku mutima gwe wabula alina ky’abala ku bantu ba Buganda naddala mu kiseera ky’akalulu kino ng’ayagala kubalowoozesa nti alabye ensobi ze yeekubye mu mutima bamuwagire.

Museveni bweyabadde e Luwero yategeezezza nti awulira okulumwa mu mutima okulaba ng’abantu mu Buganda bagobwa ku bibanja byabwe ate nga yayisa dda ebiragiro ebikomya okubagoba ku bibanja byabwe mu bumenyi bw’amateeka.

Ye Mathias Mpuuga, yategeezezza nti Museveni bw’aba abitegeeza okwetondera abantu b’omu Buganda, yandibabuulidde biki by’abasobezza okusinga okwebuzaabuza ne kiyamba okukkakkanya emitima gy’abantu b’omu Buganda.

LWAKI BUGANDA NE BUSOGA TEBAAWAGIRA NRM

Ku ky’abantu mu Buganda ne Busoga obutamuwagira, Museveni yategeezezza nga bw’atasobola kubanenya n’alumiriza nti obujulizi bwonna yabufunye obukakasa nti ab’oludda oluvuganya baamubbako akalulu ke era agenda kulwana nga bw’asobola okubalemesa okukola ky’ekimu mu kalulu ka 2026.

OMUKO ATABUKIDDE MUHOOZI AYINGIZA EMISAMBWA EMICHWEZI MU STATE HOUSE

Mu kusaba e Kololo, Rwabwogo yatabuse nyo ku bantu abakulembeza emisambwa Emichwezi nga bagisembeza mu bukulembeze bw’eggwanga ne yeewunya abantu ab’ekika ekyo okukomyawo ebyawongo ate nga baagenda okuzaalibwa nga famire zaabwe zaayiibwako dda amafuta olwa bajjajjaabwe okulokoka.

Bano Rwabwogo yabaweerezza essaala enkambwe ebagobamu emizimu batandike okukulembeza Katonda mu buli kyebakola ng’ebigambo bye byanyiizizza nyo abawagizi ba Gen Muhoozi naddala abavubuka b’ekisinde ky’akulembera ki Patriotic League of Uganda (PLU) ne batandika okuyisaamu Rwabwogo eggaali ng’enjogera y’ennaku zino bweri.

Bano balumiriza nti Rwabwogo yabadde alumba muntu waabwe kubanga y’akulembeza Abachwezi nti be bamulwanira entalo ze nga naye kenyini yatadde obubaka ku mutimbagano gwe nti yabadde yeebase Abachwezi nebamuzukusa mu bwangu nti yeebaka ki nga tannamaliriza ‘Ka Bobi Wine’ kaagamba nti kakozesebwa abalabe b’eggwanga.

Muhoozi yategeezezza nti ye okutendereza Abachwezi tekitegeeza nti talina mutima gwa ddiini n’anyonyola nti akkiririza mu Yesu Kristo gw’atendereza mu nsi yonna nga kitaawe Museveni y’amuddirira mu maanyi wabula ono yalaalise nga bwagenda okutegeka olukung’aana lw’abawagizi be ayite Abalokole kale bamulage amaanyi gebakozesa okusuula abantu ebigwo n’alabula nti wabula singa balemwa okusuulayo n’omu bajja kumulaba akamufaamu.

BANO BONNA BAJJA KWETWALA

Muhoozi amaze ekiseera ng’agugulana n’omuko Rwabwogo nga waliwo weyateeka obubaka ku mitimbagano ng’alumiriza nti waliwo abantu abeefuula Abalokole naye nga babi nyo abamazeewo ssente y’omuwi w’omusolo nga n’emitima gyabwe mibi nyo nga tebasaanye kubeera mu bantu.

Ensonda zirumiriza nti bombi bano balwanira busika bwa ntebe ky’ekibasumbuwa.

BEBE COOL BIMWONONEKEDDE

Omuyimbi Moses Ssali (Bebe Cool) mutabani w’eyali minisita Jaberi Bidanda Ssali, embeera emwononekedde lwa ddiiru y’obukadde bwa ssente gyeyakutudde n’omuko Rwabwogo eyanyiiziza enyo Muhoozi mukwano gwe okumala ekiseera.

Ensonda zitubuulidde nti Muhoozi yakitegeera dda nti Bebe atijja n’omulabe we nga kino kyamuleetera okumwesalako na’labula banne mu kinywi kyabwe okumwegendereza ng’amulumiriza obutabeera muntu mulungi.

Bebe okukitegeera nti omukulu munyivu kyaddirira okubeera nga takyakwata masimu ge wadde okuddamu obubaka bwe obwa message nga ne bweyagezaako okugenda Entebbe ku ofiisi ze n’agaana okumusisinkana abayambi be ne bamutegeeza nga bwatalina budde bwe.

Cool ensonga yasalawo okuzitwala ewa minisita Balaam Bagaruhare ow’abavubuka n’abaana okwogerako ne Muhoozi nti bwabeera yamunyiiza mwetegefu okwetonda wabula ono kyamubuukako ne Balaam bweyatandika okwebuzaabuza ng’amusala bikuubo nga tamweyabiza.

Bebe yayongedde okunyiiza abawagizi ba PLU bweyagenze okuyimba ku kivvulu ekyategekeddwa Nelson Tugume eyatandikawo ekyuma ky’emmwanyi e Ntungano nga Museveni yategeeza nti kyakoleddwa kugatta mutindo ku mmwanyi za Uganda wabula Muhoozi yalumirizza nti bano bafere nga bakolera Rwabwogo gweyalangirira nga ssaabafere asinga mu ggwanga lyonna.

Tugume yategese empaka z’emisinde ng’oluvanyuma waabaddewo ekivvulu okwabadde abayimbi ab’amaanyi mu Uganda n’ebweru nga Diamond Platinum, Bebe Cool, Eddy Kenzo, ensonda zirumiriza nti abayimbi bokka baasasanyiriziddwako ssente ezitakka wansi wa buwumbi 3 nga kuno kwe baagasse bassereebu abalala abaavudde mu Kampala okubatwala e Ntungamo okunyumisa omukolo.

Ensonda zitubuulidde nti Bebe Cool y’omu ku bantu Muhoozi baabadde yeesiga engeri gyebakuze bonna nga mu biseera bye yabeerera omuvubuka ng’amuyita mu bifo ebisanyukirwamu n’amusanyusa ne mikwano gye wabula kyeyamukoze mu kiseera ky’asinga okumwetaagira ng’olutalo lw’entebe lukutte akati, abamuli ku lusegere batubuulidde nti kigenda kubeera kizibu okumusonyiwa.

Share This Article