Abasuubuzi Ku Mukwano Arcade Basattira: Omugagga Bosco Muwonge Aduumudde Renti, Alaze Pulaani Emenya Ekizimbe…

OMUGAGGA John Bosco Muwonge eyaguze ekizimbe kya Mukwano Arcade ekitudde ku yiika ssatu atadde abasuubuzi abakolera ku kizimbe kino ku bunkenke. Abamu ku basuubuzi abakolera ku kizimbe kino batutegeezezza nti Muwonge yayongezza renti buli musuubizi gwabadde asasula okusinziira ku mwaliriro gw’akolerako.

Timothy Nyanzi
5 Min Read
Ekizimbe kya Mukwano arcade. Mu katono ye mugagga Bosco Muwonge

OMUGAGGA John Bosco Muwonge eyaguze ekizimbe kya Mukwano Arcade ekitudde ku yiika ssatu atadde abasuubuzi abakolera ku kizimbe kino ku bunkenke. Abamu ku basuubuzi abakolera ku kizimbe kino batutegeezezza nti Muwonge yayongezza renti buli musuubizi gwabadde asasula okusinziira ku mwaliriro gw’akolerako.

ENGERI GYEYAYONGEZZA

Andrew Kyamagero atunda ngoye ku Mukwano Arcade, ategeezezza nti abakolera ku mwaliro ogusooka ababadde basasula 5,000,000 yabongeddemu 3,000,000 nga kati bagenda baasasula obukadde 8000,000 buli mwezi, abakolera ku mwaliro ogw’okubiri ababadde basasula 2000,000 yabongeddemu 800,000 nga kati basasula 2,800,000. Abasuubuzi abalina amaduuka naye nga balina abalala be bapangisa ebifo mu busonda bw’amaduuka nabo yabongeddemu 3000,000 nga wano teyasosodde mwaliro.

Muwonge ekizimbe kya Mukwano yakigula ku Bayindi aba Famire ya Mukwano omwezi oguwedde ku buwumbi obusoba mu 95 eza Uganda ezeewuunyisa banna Kampala ne bagagga banne ne beewuunya gy’aggya ssente, ekizimbe kino kikwata ku nguudo bbiri okuli olw’e Nakivubo ne Ben Kiwanuka okuliraana ppaaka ya ttakisi enkadde.

AKYUSIZZA ENNAKU ABAPANGISA KWEBASASULIRA RENTI

Olwamalirizza okwongezza renti, Muwonge yakyusizza ennaku z’omwezi abasuubuzi kwebabadde basasulira yaggyewo olwa nga 15 buli mwezi n’ateekawo olwa nga 5 buli mwezi nga nsalesale abasuubuzi bonna nga bamaze okusasula, yenna agaaana okugondera ebiragiro bino waakugobwa ku kizimbe, kyokka abamu ku basuubuzi batubulidde nti Muwonge yataddewo obukukwakulizzo buno akibakyayise asobole okukimenyawo azimbe ekipya.

AKYUSIZZA ERINNYA

Muwonge yakyusizza erinya ly’ekizimbe okuva mu Mukwano Arcade n’akituuma City Base Complex n’alaalika abasuubuzi nti agenda kukimenyawo azimbewo ekipya, nga kigambiwa nti Muwonge ayagala kuteekawo ekizimbe ekiri ku mutindo gw’ebibuga ebyakula edda nga kirimu buli kimu ng’ekiriwo kati agamba tekisaana mu kibuga.

DRAKE NAYE AYONGEDEE OKUNYIGA ABASUUBUZI KU BIZIMBE BYE

Abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Drake Lubega basattira olw’okubategeeza nti okutandika n’omwezi guno ebizimbe bye okuli Energy Center, Qualicel Bus Terminal n’ebirala abyongeddemu ensimbi 1000,000 buli mwaliro era atasobola amuviire, amaduuka agafunire abagasobola, abasuubuzi batubuulidde nti ku luno Drake yakambuwadde nnyo nti abaagezezzaako okumutuukirira bamwegayirire yabayise basiru abaagala okumusuula n’agaana okubasalira ku renti ekirese abasuubuzi ku bizimbe nga basobeeddwa eky’okuzzaako kubanga buli alina ekizimbe mu Kampala ayogendde okutabuka.

LWAKI ABAGAGGA BONGEZA RENTI OW’EJJENJEERO?

Edward Ntale ssentebe w’ekibiina ky’abasuubuzi ekya UATEA, ategeezezza nti abagagga balina puleesa okuva mu bakama baabwe abali mu gavumenti bannanyini bizimbe ababawa ebiragiro.

Abagagga abalala abalina ebizimbe balina amabanja ga bbanka, bapeeka abapangisa ssente ez’okumukumu basasule amabanja agabatudde mu kifuba.

EBIRI MU PULAANI ABASUUBUZI GYEBALEESE OKUKWERWANAKO

Abasuubuzi ku bizimbe abagagga bye bayongezza renti bakoze enteekateeka okutandika nga 4 bagenda kuggalawo amaduuka beekalakaase bawakanye ebikolwa by’abagagga okubongezza lenti buli lwe baagala, abasuubuzi kyebagamba nti kimenya amateeka kubanga etteeka erirung’amya omupangisa ne landi loodi lirina akawaayiro akalagira landi loodi okusooka okutegeeza omupangisa nti agenda okwongezza renti omupangisa ne yeetegeka.

Ensonda zitubuulidde nti okwekalakaasa kw’abasuubuzi, kululembeddwamu ekibiina ky’abasuubuzi ekya KATA ekikulemberwa Godfrey Katongole nga kisuubirwa okumala wiiki emu ng’abasuubuzi baggaddewo ebizimbe nga we baakola nga bawakanya enkola EFRIS.

ENTALO ENDALA EZIRI MU BASUUBUZI, KABANDA WA FUTA AKUTTE SSEKITTO AMATAAYI

Wazzeewo olutalo wakati wa ssentebe w’ekimu ku bibiina ekikulembera abasuubuzi ekya Federation of Uganda Traders Associations (FUTA) John Kabanda n’omwogezi w’ekibiina kya Kampala City Traders Associations (KACITA) Issa Ssekitto ng’obuzibu buva ku kkonteyina z’abasuubuzi URA ezisoba mu 100 URA zeeremedde olw’omusolo.

Ensonda mu basuubuzi zitegezezza nti abasuubuzi e China baakubira Kabanda essimu abayambe ayogere n’akulira URA John Rujoki Musinguzi kkonteyina zaabwe azibawe kubanga omusolo n’emisoso gyonna baagisasula nga tewali nsonga lwaki kkonteyina zaabwe zikyalemedde mu mikono gya URA era newabaawo ensisinkano eyategekebwa abakulira abasuubuzi basisinkane aba URA. Kyokka Ssekitto n’alagira Kabanda amulekere ddiiru y’okwogerezeganya ne URA kubanga singa aba URA banaamulaba nga y’omu ku bali mu nteeseganya tebajja kukkiriza kubanga Kabanda abanene mu URA bamurinako obuzibu.

Kabanda yakkiriza n’asigala ebbali olw’okuba yali ayagala obwenkanya mu mmaali y’abasuubuzi eteebwe ereme kuvundira mu konteyina za URA, kyokka Kabanda agamba nti Ssekitto ddiiru yamulemye okuggusa emmaali eve mu mu mikono gya URA, kati abasuubuzi bamulaajanira olw’okubasuulawo n’atuma Ssekitto atalina mugongo.

Kigambiwa nti Kabanda yakitegeddeko nti Ssekitto nebanne we batuuka ewa Rujoki bamuddako ne bamukolako olugambo mu kifo kyokwogera ensonga eziyamba obusuubuzi. Olutalo lwa Kabanda ne Ssekitto luludde nga bombi baagala okwekwata amataayi olwa Ssekitto okulumiriza Kabanda nga bwatali musuubizi era taasanidde kweyita mukulembeze w’abasuubuzi kubanga talina dduuka aliwo kuwabya basuubuzi.

Share This Article