Besigye Alokokedde Mu Kkomera e Luzira…

MU February wa 2025, akulira akakiiko k’eddembe ly’obuntu Mariam Wangadya yakulemberamu ttiimu ye okugenda mu kkomera e Luzira okulambula ku Dr. Besigye okukakasa nti eddembe lye ery’obuntu terityoboolwa.

Sengooba Alirabaki
3 Min Read
Dr. Kizza Besigye

MU February wa 2025, akulira akakiiko k’eddembe ly’obuntu Mariam Wangadya yakulemberamu ttiimu ye okugenda mu kkomera e Luzira okulambula ku Dr. Besigye okukakasa nti eddembe lye ery’obuntu terityoboolwa.

Mu kiseera ekyo Besigye yali azizze emmere ng’awakanya okusibirwa mu kkomera ate nga kkooti y’amagye emuvunaana, kkooti ensukkulumu yali yagisazaamu n’okulagira nti emisango gyonna egyali mu kkooti eyo giyimirire.

Ensonda mu kakiiko zitubuulidde nti Wangadya olwatuuka mu kkomera ne beeyanjulira Besigye n’okumusaba okubabulira embeera gy’ayitamu, Besigye yabatunuulira butunuulizi n’abasaba bafukamire bufukamizi basabire Uganda ekintu kye baakola ne bavaayo.

Omu ku basirikale b’ekitongole ky’amakomera aludde enyo mu Upper Prison gye basibidde Besigye atubuulidde nti ku nfunda enyingi zaabadde ne Besigye e Luzira tamulabangako ng’alina eddiini nga bweguli kat inga yenna mwoyo mutukuvu Dokita amujjudde.

BESIGYE ASIIBA ASABA

Ono atubuulidde nti omu ku basirikale abasemberera Besigye baamubuulidde nti ebiseera bye ebisinga abimala mu kusaba n’okusoma Bayibuli, gyebuvuddeko balooya be nga bakulemberwamu Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago baatabukidde nyo akulira ekitongole ky’amakomera Dr Johnson Byabashaija okulemesa omuntu waabwe buli Lwassande okwegatta ku banne okusaba ng’abasibe.

Ensonda mu kkomera e Luzira zitubuulidde nti abamu ku basirikale abaalengera Besigye ng’asaba, baasooka kulowooza nti akolimira bannayuganda obutateekawo mbeera ate ng’okusibwa kwe abeera agezaako okubalwanirira wabula bwe baamubuuza n’abategeeza nti olutalo lw’okununula Uganda okuva mu ky’ayita obukulembeze obubi alulwana ku lulwe ng’omuntu naye si Bannayuganda nga tasobola kubakolimira olw’obutamwegattako.

Mukwano gwa Besigye nga yaliiko omubaka wa Kawempe South Mubrak Munyagwa –‘Mugaati gwa bbata’ akakasizza nti Besigye yamutegeezezza nga bweyalabye ekitangaala n’alokokera mu kkomera gy’ali kati.

Winnie Byanyima mukyala wa Besigye yategeeza nti bannaddiini okuva e Rukungiri ne Kabale baabadde bagenda mu kkomera okusabira ku Besigye n’okumuzzaamu amaanyi nga bamukakasa nti Katonda w’abasibe ali naye era essaawa yonna agenda kuggula enzigi z’ekkomera afulume ng’omuwanguzi Mukama amukolere eky’amagero.

Ekiseera kitono Besigye agenda kuweza emyaka 70, omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda yategeeza nti omuntu bw’aweza emyaka 60 abeera afuuse muddu wa Katonda nga buli kiseera abeera amusaba nyo n’okwewala okwenyigira mu bikolwa ebimunyiiza kubanga akimanyi nti essaawa yonna amwegattako. Kino ne Museveni yakitegeeza Bannayuganda nti ye musajja akuze anaatera okugenda ewa Katonda.

Balooya wiiki ewedde baatutte okusaba mu kkooti enkulu nga baagala kkooti ekkirize Besigye ne munne Hajji Obed Lutale Kamulegeya bwe baakwatibwa e Kenya bayimbulwe ku kakalu ka kkooti bawoze emisango egyekuusa ku kugezaako okulya mu nsi olukwe nga bava bweru.

Kkooti tennateekawo lunaku lwegenda kutandikirako kuwuliriza kusaba kwa Besigye ne munne okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti.

Share This Article