Munamawulire era omuzannyi w’ebinayuganda Rehema Nakitto – Ray P, gyebuvuddeko yayolekera mu ggwanga lya America n’omwami we Raymond Bindeba. Kiteeberezebwa nti era mu ggwanga eryo gye yazaalira omwana waabwe ow’okubiri.
Oluvanyuma lwa Ray P okuva mu Uganda, byatandika okubungeesebwa nti nga tannava mu ggwanga, Ray P yakung’aanya ssente okuva mu bawala 45 era buli omu yasasula emitwalo asatu okusobola okuzanyako mu firimu ze zaakolera mu kibiina kye ekya Assuage Film Production.
Okusinziira ku omu ku bawandiisi ba Ray P, (amannya tugasirikidde), yatutegeezezza nti “Abawala beeyiwanga ku ofiisi za Ray P nga takoze yadde akalango nti anonya bazannyi ate nga buli omu mwetegefu okusasula ssente. Abamu beetemanga okumuwa emitwalo ataano abalala asatu (30) abalala ana (40) nga ye talina zaabasabye ate ng’abaana be bamu bw’obagamba nti jangu onzannyire nina ekibiina, nga tobalabako. Beesiba nga ku Ray P lwa linnya lye,”
Munamawulire Jane Namukasa ye alumiriza Ray P nti yamulaba n’amaaso ge ng’asolooza abaana ssente z’okuzannya mu firimu ye bweyali akyakolera ku Baba TV.
N’ABALALA BASOLOOZA
Okusinziira ku baana baagala okuyingira ensiike y’okuzannya firimu, abantu bangi bazze nga babasaba ssente okwewandisa mu bibiina byabwe ate ne batabawa na mukisa kuzanya mu filimu zaabwe.
MUBARAK KIGOZI: Mutuuze we Nansana, ng’ono alina ekirooto ky’okuzannya filimu agamba nti waliwo ekibiina ekimu e Nansana era nga bano firimu zaabwe ziragibwa ku Top TV ne KBS TV, kyeyayagala okwegattako ne bamusaba emitwalo asatu mu esatu (33) ez’okwewandiisa. Zino agamba sente yalaba nga bamusabye nyingi kwekubeerekereza. Mubarak agamba nti mukwano gwe yazisasula era ne bamuwandiisa naye olwatuuka okuzannya teyalabikiramu.
VJ MOON BAMULUMIRIZA OKUJJA KU BAANA SSENTE
Ono ayogerera firimu ku TV ez’enjawulo abazanyi naye bamusonzemu olunwe. Bwaba ali ku ntimbe gaggadde ng’ayogerera filimu ze, ayita abaagala okumwegattako gy’akolera firimu e Kasubi okumpi n’Amasiro era n’abawa n’ennamba z’essimu kwebaba bayitira okumwegattako. Bwe bamukubira nga abagamba omutemwa gwayagala era bwotasasula nga n’omukisa oguzannya ogwerabira.
AISHA NAKABUUKA: KIBAGWANIDDE Ono muwandiisi, muzannyi ate mutendesi wa binnayuganda agamba nti abaana be basaba ssente ne baziwaayo kibagwanidde kubanga tebaagala kuzimba talanta zaabwe wabula baagala nnyo okubuukira abo abakozi ba firimu abakolerera ettutumu. Ono agamba nti bwobayita abazanyi mukole mwembi, ne bakizuula nti tolina ssente oba linnya, nga bakutunuulira kyamuli.
ATENDEKA FIRIMU AWABUDDE
Okusinziira ku Aisha Namatovu, omukulembeze w’ekibiina kya Pearl Wood, ekibiina omwegattira abakozi ba firimu, abazanyi abasasula ssente okuzannya be bakola ensobi.
Agamba oyo abeera akola firimu y’aba alina okusasula abaana abagenda okumuzannyira, ayongerako nti osanga omuntu ng’agezezzaako okufuna aw’okuzannyira emirundi mingi nga tebamuwa kuba talanta eng’ebulamu kati mu kifo ky’okwerwanako n’atereeza talanta ye, bwafuna amusaba ssente, ye amugamba sasula asatu ogenda kuzannya kati olwokuba ayaggayagga asasula naye kibi nnyo tewali alina kukiyitamu,” bwanyonyodde.
LWAKI BABASASUZA?
Ku bibiina ebisasuza abazannyi okubyegattako, Muky. Namatovu yategeezezza ONO BWINO nti, “Si kituufu naye kiddayo ku bananyini. Bwoba ng’osasudde okubeera mu firimu ekyo kikyamu, bwoba nga osasudde omutemwa okwegatta ku kibiina ekimu, buli kibiina kirina amateeka agakifuga. Osanga oluusi abaana abazze bagenda kubayigiriza okuzannya naye ekyokusasula ssente ozannye mu filimu y’omuntu kikyamu nnyo era tukivumirira ku Pearl Wood era tewali mukozi wa firimu mu kibiina kyaffe akkirizibwa okukikola era bwakikola, tumutwala mu bakwasisa empisa era omuzannyi addizibwa ssente ze,”
SOOKA OMPE AKABOOZI OLYOKE OZANNYE FIRIMU
Ono yakkaatirizza nti abakozi ba firimu naddala abasajja beegumbulidde omuze gw’okusaba abazannyi abawala akaboozi olwokuba baavu.
“Abatendesi babikola nnyo kyokka ekizibu abaana bwe bavaayo okwogera ng’abantu babamalamu amaanyi. Abamu babakwata n’okubakwata kyokka abantu ne bakiteeka ku baana mbu bambala bubi oba nti baagala kwonoona linnya oli lyazimbidde ebbanga. Kati ebiseera ebisinga osanga omwana eyandigenze ku poliisi okuloopa n’okuyambibwa nga asirise, ne babera eyo mu kutya. Abantu bano omuntu bwavaayo n’agamba nti gundi yankozesa oba yankwata, bamusalira omusango era kino kitiisa nnyo atannavaayo.
Abasajja abamu abakola firimu bategeeza abawala nti ne bwatasasula ajja kumussa mu firimu ensi yonna emulabe kasita asooka okumuwa ku kibala ng’olwo kiggwa.
BUULE AVUDDEYO
Ye munamawulire Buule Gabriel yasuubizza okubeera eddoboozi eri abazanyi abasabibwa omukwano, abakakibwa omukwano wamu naabo abasabibwa ssente okuzannya firimu. Agamba nti buli anonya obwenkanya ku nsonga eno amusange ku mikutu gye egyamugatta bantu oba amukubire essimu kubanga ye mwetegefu okubalwanirira.


