Abagagga Beeswanta Kusenda Butale Bwa Kampala: Eyeesimbye Mu K’e Nakasero Afulumizza Pulaani Efaanana Pioneer Mall…

OMULOODI wa Kampala, Ssalongo Erias Lukwago akakasizza nti abagagga b'omu Kampala n'abanene mu gavumenti bamaliridde okusendawo obutale bw'omu Kampala bazimbewo zi akeedi ezitemya ng’abantu.

Timothy Nyanzi
5 Min Read

OMULOODI wa Kampala, Ssalongo Erias Lukwago akakasizza nti abagagga b’omu Kampala n’abanene mu gavumenti bamaliridde okusendawo obutale bw’omu Kampala bazimbewo zi akeedi ezitemya ng’abantu.

Lukwago ategeezezza nti olukwe lw’abagagga okweddizza ettaka ly’obutale lwatandika pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyaggyawo obukulembeze bw’abasuubuzi mu butale n’aleeta etteeka erirung’amya enzirukanya y’obutale erya 2023 ne bateekamu akawaayiro akagamba nti abasuubuzi tebajjanga kwerondera bukulembeze.

Olwo gavumenti n’ereeta ba Market Masters okuddukanya obutale ku lwa gavumenti nti yali nsobi nnene nnyo kubanga abakulembeze b’obutale baagezaako okutegeka abasuubuzi n’obutale nga kyali kizibu okubuwamba.

OMUNENE EYEESIMBYE MU BASUUBUZI B’E NAKASERO AFULUMIZZA PULAANI ENKAMBWE

Lukwago ayasizza ebyama n’ateeka abasuubuzi mu katale k’e Nakasero ku bunkenke, bw’ategeezezza nti ofiisi ye yakitegeddeko nti waliwo olukwe olw’amaanyi olulukiddwa omu ku bakoddomi b’eggwanga lino eyawasa omu ku bawala ba pulezidenti Museveni bwe yeesimbye mu katale k’e Nakasero.

Lukwago alumiriza nti omukoddomi ono yafulumizza dda pulaani egenda okugobererwa mu kuzimba, kyokka nga efaanagana n’eyo eyagobererwa nga bazimba ekizimbe kya New Pioneer Mall ekiri okumpi n’ekizimbe kya Mapeera okuli bbanka ya Centenary okumpi ne City Square ekisinga okwaka naddala ekiro, nti era essaawa yonna ekibaati kyandikubibwa ku katale kano, kyokka eby’embi gavumenti ekyalemeddwa okufunira abasuubuzi abakolera mu katale kano ekifo ekipya.

Bino webijjidde nga KCCA ekyagaanye okuwa abasuubuzi b’e Nakasero ekyapa kyabwe ekibakakasa ku bwannanyini kyebalumiriza nti lino kkobaane okuwa omugagga omukisa abasende.

ABAGAGGA ABALWANIRA ETTAKA LY’AKATALE K’E NATEETE BAWADDE KCCA WIIKI 2

Abagagga abaludde nga bagulumbya KCCA n’abasuubuzi mu katale k’e Nateete bongedde okutabuka, ku Lwokutaano abagagga okuli Shaka Augustine omusuubuzi w’amafuta, Abdallah Aziz Kamoga, Musa Numba baayitiddwa ku KCCA ne basisinkana minisita wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda ne Loodi Mmeeya Lukwago bamalewo obutakkanya obuli ku ttaka lino KCCA kweyazimba akatale.

Buli mugagga yazze n’ebiwandiiko ebiraga nti ye nannyini ttaka omutuufu. Ettaka erikaayanirwa liweza yiika emu nga lisangibwa e Nateete mu Central D zooni okuliraana ebitaala. Kigambibwa nti abagagga bano buli omu akaayana nti ettaka lirye Shaka agamba nti ye mutuufu kubanga alina ekyapa ekiri origino, Kamoga naye agamba nti ettaka lya famire yaabwe.

Mu nsisinkano gye baabaddemu ne minisita Kabanda ne Lukwago ku City Hall, KCCA yasigazza ekyapa kya Augustine Shaka nga bagenda kukitwala mu bakugu b’ekitongole ky’ebyettaka bakikebere bazuule oba ddala ebikiriko bikwatagana n’ettaka ly’akatale. Singa kivaayo nga ye nnanyini omutuufu, yawadde KCCA wiiki bbiri bategulewo akatale akulaakulanye ekifo. Kino kitabudde abasuubuzi abasoba mu 600 abakolera mu kifo kino nga basobeddwa kubanga tebamanyi waakudda.

MINISITA KABANDA AYISE OLUKIIKO OLWAMANGU OKUTAASA AB’EWA KISEKKA

Minsa Kabanda ayise olukiiko olw’amangu mwagenda okusisinkanira abasuubuzi mu katale ka Kisekka ababuulire ekituufu ekiri ku ttaka ly’akatale kano eriweza yiika bbiri n’ekitundu KCCA weyeddizza.

Kino kiddiridde abamu ku basuubuzi okuddukira ewa Genero Salim Saleh nga baagala ababuulire ekituuufu oba ddala ye yeesimbye mukutwala ettaka lyabwe, kyokka mu nsinsikano eno Saleh yagaana okusisinkana abasuubuzi bonna wabula n’ayita abamu ku bakulembeze abaaliwo ne yeegaana eby’okuwamba akatake ka Kisekka.

Wabula abasuubuzi teebamattira n’abigambo bya Saleh kubanga yabiyisa mu bantu balala, kati abasuubuzi batadde minisita Kabanda ababuulire ani eyeddizza ekitundu ku ttaka lyabwe kubanga okuva KCCA we yeddizaawo magye ge gakuumawo ate waliwo n’ebiwulirwa nti omugagga John Bosco Muwonge naye ayagalawo azimbewo ppaaka ya bbaasi.

HAM AYONGEDDE OKUSATTIZA ABA OWINO

Embeera mu katale ka St Balikuddembe (Owino ) yeeyongedde okwewanisa abasuubuzi abakolera mu katale kano emitima, oluvannyuma lw’omugagga Hamis Kigundu amanyiddwa ennyo nga HAM owa Ham Shopping Grounds eyaakamala okuzimba akeedi ku mwala oguli ku katale kaabwe n’afunza ekitundu kya katale kano. Abasuubuzi emitima okubeewanika kiddiridde Ham okuteekayo okusaba mu KCCA ng’asaba KCCA emwongere olukusa ayongere okuzimba nga balumiriza nti singa Ham KCCA enamukkiriza, ajja kwongera okuziba emiryango egiyingira n’okufuluma akatale ng’ekinaddako kuzingako katale konna.

Lukwago era akakasizza nti KCCA yafunye ssente era okuddamu okuzimba akatale ka USAFI kati kye bazzaako ng’akakadde bagenda kukamenya.

Share This Article