Okusattira Ewa Kabaka: Baminisita, Abakulira CBS, BBS, BLB N’ebitongole By’Obwakabaka Basattira Lwa Mayiga Kwagala Kubagoba…

OWEK. Isreal Kazibwe Kitooke nga ye mwogezi w’Obwakabaka, akakasizza nti Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga agenda kubeera mukambwe nyo ku baminisita n’abakungu abakulira ebitongole by’Obwakabaka ebyenjawulo abatalina kye bagatta ku gavumenti ya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.

Sengooba Alirabaki
7 Min Read
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga

OWEK. Isreal Kazibwe Kitooke nga ye mwogezi w’Obwakabaka, akakasizza nti Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga agenda kubeera mukambwe nyo ku baminisita n’abakungu abakulira ebitongole by’Obwakabaka ebyenjawulo abatalina kye bagatta ku gavumenti ya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.

MAYIGA AGENDA KUGGYAYO OLWEYO

Ono okwogera bino, abadde ayanukula ku bunkenke n’okusattira baminisita n’abakulira ebitongole kwebaliko oluvanyuma lw’okukitegeera nti essaawa yonna Mayiga agenda kusaba Kabaka amukkirize abeeko enkyukakyuka ssinziggu zaakola mu gavumenti gy’akulembera okusobola okweggyako abo abatalina mugaso ne bassemugayaavu.

Mayiga bweyabadde ajaguza emyaka 12 ku Bwakatikkiro, yategeezezza nti omwaka gwe ogw’e 13, agenda kugutandikira mukuteeka maanyi mu bitongole by’Obwakabaka okuli leediyo ya CBS FM, Telefayina ya BBS, Majestic Brands, Buganda Land Board -BLB, amazzi g’Olwendo, kampuni ya Emmwanyi terimba n’ebirala okulaba nga bikola amagoba n’okweyimirizaawo nga kino wakukikola ng’abiteekamu abakulembeze n’abakozi baakakasa nti obusobozi obwo babulina.

Mayiga yategeeza Olukiiko lwa Buganda olwatuula ku ntandikwa y’omwezi guno nti abakozi abatalina busobozi bugatta ku Buganda bagenda kusalwako n’anyonyola nti kino akikola okusobola okutuukiriza ekirooto ky’okuzza Buganda ku ntikko.

Kitooke ategeezezza ONO BWINO nti ebitongole by’Obwakabaka bingi bibadde tebikola magoba nga buli kiseera bitambulira mu kufiirizibwa ate nga byetaaga ssente okusasula abakozi n’okuwa omusolo gwa gavumenti. Ayongeddeko nti ebyokugendanga buli kiseera ne beegayirira abakulu mu gavumenti okubasonyiwa emisolo abikooye ng’alumiriza nti kino kye kireetera Obwakabaka okujoogebwa n’okuyisibwamu amaaso.

BULI MUKOZI ALINA OKUBA N’EBIWANDIIKO

Kitooka atubuulidde nti abakozi mu bitongole by’Obwakabaka bonna balina okuba n’ebbaluwa ezibawa emirimu nga zirambika bulungi n’engeri gyebalina okusasulwamu buli mwezi n’ebirina okugobererwa nga bakola emirimu gyabwe nga bwekikolebwa mu bitongole eby’obuvunanyizibwa mu nsi yonna.

Minisita atunyonyodde nti abakozi mu bitongole by’Obwakabaka balina okuba nga babasasulira ssente z’okweterekera mu bukadde bwabwe mu kitongole kya NSSF kubanga kino obutakolebwa gubeera musango eri omukozesa nga Katikkiro tayagala abakulu mu kitongole kyonna bagwe mu kalippo ako.

NAYE LWAKI MAYIGA MUKAMBWEMU?

Ensonda zaffe e Mengo zitubbiddeko nti Mayiga okukambuwala, kyaddiridde okukizuula nti ebitongole by’Obwakabaka ebisinga tebikola magoba. Embeera eno yamuleetera n’okusika omuguwa n’obukulembeze bw’ekitongole ekisolooza ky’omusolo ekya URA ekyali kitiisizza nga bwekigenda okutandika okusolooza omusolo ku ssente z’oluwalo abantu ba Kabaka ze bawaayo okuddukanya emirimu gy’Obwakabaka.

BWE BAAGOBA OWEK. KIWALABYE MALE BLB N’EDDIRIRA

Ensonda zongeddeko nti ekitongole kya BLB kyekimu ku byali bisinga okukola obulungi nga bireeta akasente akawerako akabeezaawo abakulu n’emirimu gy’Obwakabaka naye okuva Oweekitiibwa Kiwalabye Male eyali akikulira bwe baamuwa obwaminisita nekiddirira nga kati ebiseera ebimu ne ssente ezisasula abakozi zirwawo okufunibwa.

Obuzibu abasinga babuteeka ku misango abantu nga looya Male Mabirizi gye baggula ku Kabaka nga baagala kkooti erangirire nti talina buyinza kusolooza busuulu ne ssente endala ku bantu abali ku ttaka ly’Obwakabaka nti lyabwe nga Abaganda nti Kabaka abakuumira kkuumire.

Minisita omubeezi ow’ettaka Sam Mayanja naye bakimuteekako nti agenda asaasaanya obulimba ku bantu abakolera n’okubeera ku ttaka ly’Obwakabaka nti tebalina kusasula ssente yonna nti era ekitongole kya BLB kikolera mu bumenyi bw’amateeka nga kino ne pulezidenti Museveni yakikakasa wadde ng’ayogerera BLB munnamateeka Denis Bugaya yakiwakanya n’ategeeza nti bakolera mu mateeka era byonna ebyetaagisa okubakkiriza okukolera mu Uganda babituukiriza.

NE KU CBS SSI BIRUNGI

Leediyo ya CBS nayo ebadde tekola magoba nga yeekwasa obutabeera na layisinsi nti kitiisa abaagala okulanga nabo, naye gyebuvuddeko akulira ekitongole kya Uganda Communication Commission Nyombi Thembo yakwasa leediiyo eno layisinsi eyali yagiggyibwako oluvanyuma lw’okwekalakaasa kwa 2009 Museveni bweyagaana Kabaka Mutebi okugenda okulambula Bugerere.

ABAKADDE BAGENDA KUGOBWA

Abakozi abamu bakaddiyidde ku mirimu kwebakola nga tebakyalina kye bagattako kipya, olwokuba abaabawa emirimu banene e Mmengo ate abamu ne tekinologiya omupya tebamutegeera nga bano bonna ensonda zitubuulidde nti bali mukusattira essaawa yonna bagobwa baddeyo ewaabwe mu byalo balime.

Ensonda zitegeezezza nti waliwo baminisita ababadde batakola bulungi mirimu gyabwe naddala okulondoola ebitongole bye bakulira ng’amaanyi bagamalira ku mirimu gyabwe egy’obusuubuzi ng’okubeera mu makampuni gaabwe ag’amateeka n’amasomero ag’obwannanyini ate nga Kabaka abasasula omusaala buli mwezi, okubawa obusimo, emmotoka ezibatambuza nga mulimu badereva n’okuteekawo abayambi mu ofiisi zaabwe.

Owek. Kitooke ayongeddeko nti ebitongole by’atwala okuli CBS ne BBS, yababuulira dda nti enteekateeka y’okwetereeza yatandise era abo abanatambula n’omulembeze be bagenda okusigala abalala bagende bagezeeko ewalala.

Gavumenti ya Kabaka esuubira obuwumbi 30 gavumenti ya Museveni zeyatadde mu bajeti ya 2025-6 nga zino zisasulwa ku bbanja ly’obuwumbi 160 Kabaka z’abanja gavumenti ya Museveni ewamu.

Ssente zino ezisinga ziva mu bupangisa gavumenti bwekola ku bizimbe by’Obwakabaka, n’ettaka, mukusooka Obwakabaka bwali bulaze nga bwebubanja obuwumbi 560 naye okubala okwakoleddwa ofiisi ya ssaabawolereza ne minisitule y’ebyensimbi byalaze nti babanja obuwumbi 160.

Ssente zino zaakuyambako ku kazito gavumenti ya Kabaka keeyitamu mu kiseera kino nga ssente zibeekubya mpi, Mayiga yanyonyola nti embeera eno y’ebaleetera n’okulwawo okusasula abakozi b’Obwakabaka naye n’agumya Obuganda nti embeera y’ebyenfuna embi enyiga ebitongole byonna ne gavumenti nyingi mu nsi yonna si Bwakabaka bwokka.

MAYIGA YALAYIRA OBUTAKOLA N’ABATASASULWA!

Mayiga bwe bamulonda ku Bwakatikkiro mu 2013, yalayira obutakkiriza kukola bwannakyewa ng’omukozi tasasulwa musaala gumanyiddwa. Kuno yagattako okuziba emiwaatwa gyonna ab’ebitiibwa mwe baayisanga ssente z’obufere nga kino kyamukyaya nyo abakozi n’abebitiibwa naddala abo abaagobwa.

Mayiga yakoma okukola enkyukakyuka mu gavumenti ya Kabaka mu 2023, mweyagobera baminisita okwali Prosperus Nankindu Kavuma, Moses Kiberu Ssekabembe ate ne Kiwalabye Male n’alekulira olw’ensonga enzibu ennyo.

AB’AMASAZA BATABUSE KU MINISITA ABAKUBA OLUSEKE

Abaami b’amasaza n’amagombolola bateekateeka kuloopera Mayiga minisitawe asussizza okubakuba oluseke buli lwagenda mu bitundu byabwe okukola emirimu gya Kabaka.
Minisita ono ku motoka Kabaka gyeyamuwa, yagattako kabangali nga omulimu gwayo kutikkibwako byassava ng’emmere, ente, embuzi, enkoko n’ebirala, era kibeera kya kkatala omwami w’essaza okukola enteekateeka emusiibula mu ssanyu.

Omu ku baami b’amasaza eyeevuma minisita ono, atubuulidde nti okusobola okuweza ebyassava ebisiibula obulungi minisita, abantu babakakasa nti ebyessava bye bawaayo babitwalira Kabaka ng’amakula naye ng’ekyamazima bya minisita ono nga kino bakikola okwewonya okubayombesa.

SSENTE MAYIGA ZAAKOZESA NG’ATAMBUDDE

Mayiga yategeeza nti bw’abeera agenda okutambula, ssente ezitakka wansi wa bukadde 20 ze zikozesebwa wadde nga ensonda zitubuulidde nti zibeera mu bukadde 50 ng’eno y’embeera ebeera ne ku baminisita nga balina okubawa sente ezikola ku ntambula zaabwe nga bakola emirimu gya Kabaka.

Share This Article