BAMBEGA mu kitongole ky’amagye ekikessi ki Defence Intelligence and Security (DIS) n’abapoliisi okuva mu Criminal Investigation Department (CID) abaduumirwa Dr. Maj Tom Magambo n’abakessi ba Crime Intelligence (CI) abaduumirwa Brig Gen Christopher Ddamulira abaakwasibwa obuvunanyizibwa bw’okunonyereza ku misango egiteeberezebwa okuzzibwa basajja beyali ssabaduumizi wa poliisi Gen Kale Kayihura naddala okutemula omumyuka w’omuwaabi w’emisango gya gavumenti Joan Namazzi Kagezi bafunye obujulizi bwe baagala okweyambisa okusiba
Hajji Abdallah Kitatta akulira akabinja ka bodaboda 2010.
Mu 2020, kkooti y’amagye ejulirwamu yejjeereza Kitatta ku misango gy’okusangibwa n’emmundu ya zzaabu nga talina lukusa, wabula ensonda zitubuulidde nti okukwatibwa n’okusindika SSP Nixon Karuhanga Agasirwe mu kkomera e Luzira ku misango gy’okutemula Kagezi kyattusizza okuddamu okunonyereza ku banne bonna beyali akolagana nabo mu kiseera Kayihura bwe yaduumirira poliisi nga bateebereza nti benyigira mu bikolobero bingi.
Ensonda mu ofiisi y’omulamuzi Jane Frances Abodo omuwaabi w’emisango gya gavumenti omukulu zitubuulidde nti okutwala Agasirwe mu kkooti ku bikolobero ebyakolebwa basajja ba Kayihura buwanguzi bw’amaanyi nyo n’atukakasa nti bakyalina bangi be bagoberera omuli ne Kitatta.
Ono atubuulidde nti bakolagana bulungi ne bambega abanonyereza ku misango gino era buli bujulizi bwe bafuna babubaweereza okubawabula oba busobola okukozesebwa ng’obujulizi mu kkooti, okusinga beesibye ku masimu n’enkolagana abantu bano ze baalina mu kiseera obuzzi bw’emisango gino bwegyakolerwa.
Ensonda zitubuulidde nti obujulizi bwe bafunye ku Kitatta bulaga nti mu 2016, abanene mu poliisi nga bateebereza nti ne Agasirwe yaliko ku batta omugagga munnansi wa Eritrea Daniel Weldu ne bamutwalako obuwumbi bwa ssente obusoba mu 8 n’emmotoka ze ez’ebbeeyi.
Weldu abanonyereza balumiriza nti okumuwamba mu ofiisi ye e Naguru, Agasirwe ne banne baakozesa omusajja omutemu ow’omutawaana Kazahura eyakwatibwa ku misango gy’obutemu nga kati ali mu kkomera e Luzira okumutuusa ku ofiisi ya Agasirwe eyali esangibwa e Kololo mu Kampala.
Eno baamutulugunya nga bamukaka okuteeka omukono ku biwandiiko ng’akkiriza okuggya obuwumbi bwa ssente ku akawunti ye n’okubaguza emmotoka ze ez’ebbeeyi nga kino olwakimala ne bamutta, balooya ab’amaanyi mu Kampala n’abakozi mu banka emu be baabayambako okuggyayo ssente zonna ne bazigabana.
LWAKI KITATTA BAMUNOONYEREZAAKO?
Ensonda zitegeezezza nti ekireetedde Kitatta okunonyerezebwako, kwekubeera nti emu ku mmotoka z’omugenzi ezabbibwa Land Cruiser eya langi enjeru yalabwako nga Kitatta agivuga okumala emyezi 2.
Bambega kati baagala okumanya Kitatta emmotoka eyogerwako yagiggya wa era yagitwala wa kubanga okuva olwo teddangamu kulabwako. Bambega bateebereza nti eyinza okuba nga ze zimu ku motoka enyingi e’ebbeeyi era ezitemya ng’omuntu basajja ba Kayihura ze babbanga mu Uganda bannyini zo ne babatta ne bazitunda mu mawanga g’omulirwano olwo bo ne bagaggawala nnyo ku mulembe gwa Kaihura.
KITATTA KY’AGAMBA:
ONO BWINO agezezzaako okunoonya Kitatta okubaako ky’ayogera ku nsonga zino wabula ng’amasimu ge agamanyiddwa nga tegakwatibwa wadde nga bambega batukakasizza nti tanakwatibwa nga bakyamugoberera nga bwe bagoberera abagagga mu Kampala, abanene mu bitongole bya securite, balooya, bannabyabufuzi abateeberezebwa okwenyigira mu misango gino nga bakukwatibwa nga fayiro zaabwe zijjudde nga bwe baakoze ku Agasirwe.
Agasirwe ne banne bagambibwa okuba nga balina n’omukono mu kutemula eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi, eyali omuduumizi wa poliisi y’e Buyende Muhammad Kirumira, bamasheikh Abatabbuliiki n’abagagga okwetoloola eggwanga.


