OMUGAGGA omusuubuzi w’emmotoka mu Kampala Muhammad Ssebuufu, era eyali nnanyini kibanda kya Pine atandise enteeseganya ne Maj. Simon Nsubuga Busagwa omu ku balooya abatiibwa mu UPDF okumutaasa okuva mu kkomera gye yaakamala emyaka 6 akomewo ebweru ataase emmaali ye bamafiya gye bamalawo.
Ssebuufu okutandika okuyigga Maj Busagwa, kyaddiridde abalamuzi ba kkooti ensukkulumu 7 okukakasa ekibonerezo ekyamuweebwa mu kkooti ejulirwamu okusibwa mu kkomera emyaka 19 olwokusingisibwa emisango gy’obutemu n’okubbisa eryanyi.
Mu 2019, omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Angeline Ssenoga yasingisa Ssebuufu omusango g’okutta omusuubuzi Betty Donnah Katushabe olw’okulemererwa okumusasula ebbanja ly’obukadde 9 zeyali amubanja ku motoka gye yamuguza n’amusiba emyaka 40. Wabula Ssebuufu yajulira mu kkooti ejulirwamu abalamuzi 3 ne bamukenderezaako ne bamusiba emyaka 19 ekintu kyeyagezaako okuwakanya mu kkooti ensukkulumu abalamuzi okujulira kwe ne bakugoba.
Ensonda mu kkomera e Luzira zitubuulidde nti wadde essuubi Ssebuufu alina ttono okuva mu kkomera ng’ekibonerezo ekyamuweebwa tekinaggwayo, wabula ye ng’omuntu alowooza nti kisoboka nga y’ensonga lwaki yayise Maj. Busagwa balabe bwe bagenda okukibalamu.
LWAKI SSEBUUFU ATUMIZZA MAJ BUSAGWA
Ono okutumya Maj. Busagwa, kyaddiridde engeri gye yayambamu abavubuka ba NUP abaali baasibwa mu kkomera e Luzira naye gye baamusibira ku misango gy’okulya mu nsi olukwe ne basonyiyibwa pulezidenti Museveni ne bava mu kkomera.
Ssebuufu era ayagala Busagwa ateeke mu kkooti ensukkulumu okusaba ng’ayagala abalamuzi ba kkooti eno bademu okutunula mu nsala yaabwe ng’alumiriza nti ayinza okuyita mu muwaatwa guno n’awoona ekkomera erimunyize enyo.
Pulezidenti amateeka gamukkiriza okuwa omusibe abeera asingisiddwa omusango ne bamuwa ekibonerezo ekitonotono era kino ky’ekintu ekikulu Ssebuufu kyagoba nga mu kiseera kino ye ssentebe wa NRM mu kkomera e Luzira era abeera akuutira abasibe okwagala enyo Museveni n’okulonda NRM singa akalulu kabasanga wabweru w’ekkomera.
Ssebuufu agenze okunonya Maj Busagwa nga mu kiseera kino yaawoza omusango gw’okulya mu nsi olukwe ogwaggulwa ku mujaasi munne Capt Oola nga bamafiya balwana okutwala obugagga bwonna bweyaleka wabweru.
Wiiki ewedde omulamuzi wa kkooti ejulirwamu Stellah Alibateesa, yalagidde Ssebuufu okusasula ekitongole kya KCCA ssente zonna zekisaasanyirizza mu musango gweyatwala mu kkooti ng’awakanya okumugobesa ekibanda ky’emmotoka kye ekya Pine ku luguudo lwa Lumumba kweyali akitadde.
KCCA yamatizza kkooti nti ekibanda kino Ssebuufu yakiteekawo mu bukyamu ng’olukusa lwe baali baamuwa mu 2013 lwali lwakusimba mmotoka mu kifo ekyo wabula si kuzitundirawo.
Ensonda zitubuulidde nti bizinensi y’okutunda emmotoka ze zimu ku bizinensi entono enyo Ssebuufu zaasigazza oluvanyuma lw’okutunda obugagga bwe obusinga naddala ebizimbe okuwona okumusingisa emisango ekitaasoboka.
Ono yejjusa okukkiriza amagezi g’okupangisa balooya ab’amaanyi ate nga waliwo omunene mu gavumenti eyali amuwadde ddiiru y’okukkiriza emisango bamuwe ekibonerezo ekisaamusaamu nga bwe baakola ku mugagga munne Matthew Kanyamunyu.


