EBY’OMULOODI wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago bibi ssabawandiisi wa FDC, Nathan Nandala Mafabi bwalangiridde nga bwagenda okukola kyonna ekisoboka omuli n’okutunda obuwale bw’omunda bwasoosa ku mubiri (paajama) nga tanayambala masuuti okusobola okuwangula olutalo olumugoba ku City Hall nga Loodi meeya wa Kampala.
Okulangirira kuno, Mafabi yakukoledde mu zimu ku nkiiko ezaasembyeyo n’abakulu mu FDC nga bakkaanya okumukwasa fulaaga y’okukulemberamu FDC okuvuganya ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2026 era ono yakakasizza banne nti singa tebyali bikolwa bya Lukwago FDC teyandyekutuddemu.
Ensonda mu FDC zitubuulidde nti obusungu Mafabi enzaalwa y’omu bitundu by’e Mbale bwalina ku Lukwago businga bwalina ku bannabyabufuzi abalala naddala abo abeekutula ku FDC ne bakola ekibiina kyabwe ki People’s Front for Freedom (PFF) Lukwago kyakulembera era ono ne bwabeera ayogera ku linnya lye olaba obusungu obumutudde mu kifuba nga n’emitaafu gimwesimbye mu kyenyi.
Ensonda zongeddeko nti mu lukiiko luno, Mafabi yategeezezza nti ne bwekinaabeera kuteeka ssente mu muntu atasimbiddwawo FDC naye ng’amulaba nti alina obusobozi okuwangula Lukwago agenda kukikola n’asaba bannakibiina ekyo bakimusonyiwe nga bukyali.
FDC EREESE KASOZI
Ku kifo kya Lord Mayor, FDC esuubira okusimbawo Ibrahim Kasozi eyali omubaka wa Makindye East wabula ng’abatunuulizi b’ebyobufuzi bakakasa nti okuvuganya okwamanyi kugenda kubeera wakati wa Lukwago ne Ronald Balimwezo owa NUP omubaka wa Nakawe East.
ONO BWINO akitegeddeko nti enteseganya Lukwago zaabadde asuubira okukola ne NUP baleme kumusimbako muntu kirabika tezikyasobose ng’abakulu mu NUP basazeewo okusimbawo omuntu ku kifo kyonna ekigenda okubaako okuvuganya.
Ensonda zitubuulidde nti n’abanene mu gavumenti naddala Gen Salim Saleh omuwabuzi wa pulezidenti Museveni ow’okuntikko bawera nti kino ky’ekisanja kya Lukwago ekisembayo nga yamuwandiikirako n’obubaluwa bweyayisanga mu minisita omubeezi owa Kampala Joseph Kabuye Kyofatogabye ng’amwewerera okumukolako mu 2026.
Wabula wadde Balimwezo ne banne beewerera Lukwago, abatunuulira eby’obufuzi bakakasa nti Lukwago akyalina ku banne enkizo bannakampala bangi bakyakkiriza nti y’engabo yaabwe.


