PULEZIDENTI wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alagidde abakulu mu kibiina mu bwangu okutandika okusunsula n’okwekebejja ttiimu y’abavubuka egenda okubeera ku securite ye ng’atandise okunonya akalulu k’Obwapulezidenti okuviira ddala mu October okutuuka nga 12 January, 2026 akalulu bwekagenda okukubibwa.
Ensonda ez’omunda mu NUP zibuulidde ONO BWINO nti August ono ng’aggwako, abavubuka abagenda okubeera nga basunsuddwa baakusooka batwalibwe okwongera okutendekebwa mu bukodyo bw’okukuuma pulezidenti waabwe okumala omwezi mulamba mu kifo kye bakyakuuma nga kya kyama nnyo.
Ensonda zitegeezezza nti omuvubuka omukambwe Gen Gaza ye yakwasiddwa obuvunanyizibwa bw’okusunsula abavubuka abagenda okubeera ku securite ya Bobi Wine wabula nga balina okulekawo ttiimu y’abavubuka egenda okukuuma ekitebe kyabwe e Makerere- Kavule naddala mu kiseera ky’okugaba tiketi ng’abakulu balina okutya nti abamu ku baasabye kkaadi naddala ku kifo ky’obubaka bwa palamenti ababadde bazimbye eggaali ez’amaanyi bayinza okuzikozesa okukola effujjo ku kitebbe olw’okubamma kkaadi ate nga bataddemu nnyo.
MUHOOZI AWEZE KU SECULITE Y’ABAAGALA OBWAPULEZIDENTI
Enteekateeka eno bwerangiriddwa nga Gen Muhoozi Kainerugaba aduumira UPDF awaga nti securite erondoola etambula za Bobi Wine zonna nga yalangiridde nti bakkomando by’eggye lya Special Forces Command (SFC) be bagenda okukuuma bonna abagenda okwesimba ku bwapulezidenti era nti tewabaawo omuntu n’omu awakanya kiragiro kye.
Mu bululu obuwedde, poliisi yeebadde evunanyizibwa ku securite y’abeesimbawo ku bwapulezidenti wabula ensonda zitubuulidde nti abasecurite balina okutya nti omulabe ayagala okutabula emirembe mu Uganda asobola okukozesa emiwaatwa mu securite y’oyo abeera yeesimbye ku bwapulezidenti naddala nga Bobi Wine n’amutuusaako obulabe olwo abawagizi be ne beeyiwa ku nguudo okwekalakaasa ekiyinza okuvaako okuyiwa omusaayi n’obusambattuko mu ggwanga.
‘TERI KUKKIRIZA BIRAGIRO BYA MUHOOZI’
Wabula omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda ategeezezza nti byonna Muhoozi byakola agezaako kucookooza baludda luvuganya bawakanye ebiragiro bye olwo abakoleko effujjo nga bweyakola mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North akaawangulwa Munna NUP Erias Nalukola Luyimbazi.
Ono ategeezezza nti Muhoozi ne bwanaakola atya tebagenda kukkiriza biragiro bye n’akakasa nti nabo ng’abali ku ludda oluvuganya bamwetegekedde nga bawandiisizza n’okutendeka abavubuka baabwe abagenda okubayambako okunyweza securite yaabwe.
Ssemujju ayongeddeko nti olwokuba tebalina maanyi mangi, kyebagenda okukola kwekwetegereza abo bonna abagenda okubakolako effujjo olwo babalumbe ssekinnoomu babakoleko nga ewuwe e Kira yeetegekedde nyo Mamerito Mugerwa eyaliko mmeeya w’e Kira gwagamba nti y’atuuza enkiiko ez’okumukolako effujjo mu kalulu nga kino yakikakasa ne pulezidenti Museveni bweyagamba nti Ssemujju amuvuma bagenda kumumukolerako mu kalulu.
Ono ategeezezza nti bonna abeetegese okubakolako effujjo balikole nga bamanyi nti bo ku ludda oluvuganya bamanyi obugagga bwabwe bwebakoze nga buno bwe bagenda okutandikirako nga tebanabatuukako ng’abantu.
Wabula mukujaguza emyaka 32 nga Kabaka Mutebi ali ku Nnamulondo ya bajjajjaabe ku kasozi e Kibuli, Jjajja w’Obusiraamu Omulangira Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu yasabye bannayuganda bonna okukuuma emirembe beewale okuyiwa omusaayi mu kalulu kubanga abantu be bagenda okulwanagana nabo bagenda kusigala nga be bannaabwe.
OBULIPPO NYANZI BWEYATEGA AKAKIIKO K’EBYOKULONDA MU NUP BUSATTIZA ABANENE
Ssaabawandiisi wa NUP David Lewis Rubongoya asattira bwakitegeddeko nti abantu be basuubira okugenda okwebuuzaako mu bitundu eby’enjawulo mu ggwanga lyonna okuyamba akakiiko k’ebyokulonda mu NUP okuwa kkaadi y’ekibiina omuntu alina obuwagizi wansi mu bantu ku ‘ggulaawundi’ bonna batambulira ku biragiro bya Chairman Fred Nyanzi mukulu wa Bobi Wine nga y’akulira ensonga z’ebweru w’eggwanga mu kibiina.
Okusinziira ku John Marry Ssebuufu kamisona ku kakiiko k’ebyokulonda mu NUP, ggulaawundi ekola ebitundu 60% ate abakulu ku kitebe bawaayo ebitundu 40% kwalina okuweebwa kkaadi nga bonna abeesimbyewo balwana okuzimba ggulaawundi okukakasa akakiiko akabanonyerezaako wabula nga bonna beebuuza nti baani be beebuuzaako.
NAYE NUP ESUNSULA ETYA BAKANDIDEETI BAAYO?
Alex Waiswa Mufumbiro omumyuka w’omwogezi wa NUP atubuulidde nti sisitiimu etalabika weeri ng’eno yateekebwa dda mu bitundu byonna era yeegenda okuwabula akakiiko ku muntu asinga obuwagizi ku ggulaawundi.
Ensonda zitubuuldide nti okutya okuliwo kwekubeera nti sisitiimu Mufumbiro gyayogerako yazimbwa Nyanzi ng’akyakulira enkola ya Kkunga mu ggwanga lyonna ng’ono olwategeera nti bagenda kumugoba ku kifo kya ssaabakunzi n’agobamu abo beyali alowooza nti tebakyamuwulira n’ateekamu ababe era n’okutuusa kati batambulira ku ntoli ze.
Ensonda zirumiriza nti olwokuba abantu bano abasinga tebeesoma nga bwe bawagira NUP nga batya securite okubakwata, Nyanzi gwabeera ayagala bamuwe kkaadi amutuma wa muntu oyo ayogere naye ng’eno gy’aleka n’ettu Nyanzi lyatwala ew’abakulu abalala okuyambako omuntu we okuwangula kkaadi.
RUBONGOYA MUKAMBWEMU
Kino Rubongoya bweyakitegedde ensonda zitubuulidde nti yatabuse nyo kubanga ku mulundi guno abadde tayagala byakifere mukusunsula abagala kkaadi za NUP ng’okuswala kwe baayitamu mu 2021 ng’abantu baatuuka n’okwesoma mu lwatu nga bwe baawaayo sente okuweebwa kkaadi tayagala biddemu.
Rubongoya yategeeza nti mu 2021 baliko ensobi ze baakola ezaabalemesa okuwa kkaadi abantu abatuufu nga ye nsonga lwaki ababaka nga Twaha Kagabo, Jimmy Lwanga, Bashir Kazibwe Mbazira, Mbwatekamwa owa Entebbe Munucipality baafuna kkaadi ate nga bawagizi ba Museveni wabula emivuyo egitandise gimutabudde.
Ensonda zongeddeko nti Rubongoya akawuzi akasibidde ku Bobi Wine ne ttiimu okutuula abamyuka be abatwala ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo abasembayo n’ekigambo ku ani alina okuweebwa kkaadi.
BOBI YASINDIKA ABANTU BE MU BYALO
Ensonda zitegeezezza nti Bobi Wine alina abantu be ab’omunda enyo mu byalo beyasindikayo edda nga bano ebiseera ebisinga be bamuwabula ku nsonga ezigenda maaso mu bitundu byabwe nga bano bamukkiririzaamu kubanga omukwano gwabwe guvudde wala ng’akyayimba. Era bano bye bamubuulira by’atwala okubeera ebituufu ate abeesiga nti tebamulimba.
Col. Edith Nakalema eyakulirako securite ya pulezidenti Museveni yategeeza nti abakulembeze babeera n’abantu baabwe mu byalo eyo b’otasuubira nti balina nabo enkolaganna nga bano be beebuuzaako nga banaakola okusalawo okw’amaanyi ne bateebesigama nyo ku lipooti za bambega ezitera okubaamu obufere.
Mukusooka Bobi Wine yali yeesiga nyo abavubuka abatera okumubeera ku ‘kido’, wabula bweyakitegeera nti abamu bawandiisibwa ebitongole ebikessi okumubega, kati abeekengera ng’emboozi banyumya za bulijjo.
MP NAMBOOZE ASIMATTUSE EBIKONDE KU KITEBE
Obunkenke bwabadde bw’amaanyi ku kitebe kya NUP wiiki ewedde abavubuka abasoba mu 100 abaawerekeddeko omubaka wa Mukono Municipality Betty Nambooze okugenda ku kitebe okulaga obusiima eri abakulu olwokuwa Johnson Muyanja Ssenyonga kkaadi okuvuganya ku bwassentebe bwa disitulikiti y’eMukono bwe baamwefuulidde ne baagala okumukuba ebikonde.
Entabwe yavudde ku Nambooze okutegeeza abavubuka abasoba mu 50 nga bwatabamanyi nti era teyazze nabo okuva e Mukono, bano baatabuse nga bamulumiriza nti ye yabaleese era buli omu ng’amusuubizza 20,000 eza tulansipooti.
Embeera bweyatabuse, bano Nambooze ne babaka banne kati bateetera nabo okuli Fred Ssimbwa owa Nakifuma ne Abdallah Kiwanuka ‘Mulimamayuuni’ owa Mukono North n’abazza ebbali n’ayogera nabo ne bakkakkana.
Ensonda zitubuulidde nti bino byonna Nambooze abikola ng’ekigendererwa kyakulumya Peter Bakaluba Mukasa ssentebe w’e Mukono aliko gwalumiriza nti abadde amuyisaamu amaaso ng’alowooza nti wakitalo nyo nga tamanyi nti e Mukono, ye kwekutu kwa Bobi Wine.
EBYA JULIUS MUTEBI OW’E KIRA BIBI
Nga Bakaluba akyalaajana, ate n’ebya Julius Mutebi mmeeya w’eKiira Municipality tebitambula bulungi nga banne bamukozeeko lipooti ku kitebe nga bamulumiriza okukukuta n’abanene mu bitongole ebikessi naddala ISO.
Mutebi bakimuteekako okulya ssente za ISO okusirisa ensonga z’ettaka e Kirra bambega kwebaagala okuzimba ekitebe kyabwe ekipya ate ng’olukiiko lwakulembera ensonga eno baali baagisimbira ekkuuli.
Abawagira Norman Kaboggoza avuganya Mutebi ku kkaadi basiiba ku kitebe nga balaga abakulu nga Mutebi yeekubya ebifananyi ne ssaabawandiisi wa NRM Richard Todwong nga balina n’obutambi bw’amaloboozi nga Mutebi awaga nti okukolagana ne NRM si musango kasita babeera nga bakolera bantu.
Eno y’emu ku nsonga lwaki bagobye Bakaluba nga bamulumiriza okukukuta n’abanene mu NRM ate bwebamugambako n’abategeeza nga bwatasobola kwewala kukolagana n’aba NRM nti aba NUP yaakabalaba nabakakasa nti ye Museveni n’amuyita okumusisinkana agendayo ne banyumya ku nsonga z’ekunlakulana.
MUFUMBIRO BAAGALA KUMUYOOLA LWA LUGAMBO
Abanene e Kavule bangi beemulugunya ku nneeyisa ya Mufumbiro gwebagamba nti yeefunzizza Bobi Wine nga takkiriza bantu balala okuli ne ba foot soldiers okwogerako naye wadde okwekubya ebifaananyi n’Omubanda.
Nti Mufumbiro olutuuka ku kitebe kumakya ng’abuukira kabodaboda okumutwala e Magere okunona pulezidenti ng’ono akomawo nga y’atudde mu maaso nga n’okuggulira omukulu y’amuggulira.
Mufumbiro bamulumiriza nti kano akakodyo akakozesa kutambuza lugambo kubanga akimanyi nti omukulu yeesiga nyo omuntu gwatambula naye mu mmotoka era mu 2021, abaali baagala kkaadi baasasula Edward Ssebuufu (Eddy Mutwe) ssente eziwera okuboogerako n’okubawaanawaana mu mmotoka nga bali n’omukulu nti basobola nti era abasinga baafunamu.


