PLU Ya Muhoozi Esattiza Tayebwa, Nabanja Ne Minisita Baryomunsi…

EKISINDE ky’ebyobufuzi ki Patriotic League of Uganda (PLU) ekikulirwa Gen Muhoozi Kainerugaba omuduumizi wa UPDF kisattiza abanene mu NRM naddala abo abalwana okusigala ku kakiiko k’ekibiina ak’oku ntikko ka Central Executive Committee (CEC).

Editor Ono Bwino
2 Min Read
Gen. Muhoozi, Nabbanja ne Minisita Baryomunsi

EKISINDE ky’ebyobufuzi ki Patriotic League of Uganda (PLU) ekikulirwa Gen Muhoozi Kainerugaba omuduumizi wa UPDF kisattiza abanene mu NRM naddala abo abalwana okusigala ku kakiiko k’ekibiina ak’oku ntikko ka Central Executive Committee (CEC).

Obunkenke obwamanyi PLU ebutadde ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM akiikirira abantu b’omu Western Uganda ng’ono atwala ebitundu okuviira ddala e Kisoro, Kabale, Bunyoro n’ebiriranyawo. Okuvuganya okwekimpowooze kubadde wakati wa minisita w’amawulire n’okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi, omumyuka wa sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa ne ssabaminisita Robinnah Nabanja.

Minisita w’abavubuka n’abaana Balaam Bagaruhare yalina obwagazi okuvuganya ku kifo kino, wabula ensonda mu State House zitubuuldide nti bwe yeebuza ku pulezidenti Museveni n’amugaana n’amuwa amagezi amaanyi agamalire mu kukungira NRM obuwagizi mu bavubuka.

Ensonda mu PLU zitubuulidde nti ono olwava mu lwokaano Gen Muhoozi n’alagira musajjawe gwayagala enyo omugagga Micheal Mawanda Maranga okwambala essuuti avuganye ku kifo kino ekintu kyeyatadde mu nkola nga yalangiridde ku ntandikwa ya wiiki eno.

Okulangirira kwa Mawanda kuleeseewo obunkenke naddala eri Tayebwa abadde asuubira obuwagizi bwa Muhoozi nga ye Baryomunsi abadde akimanyi nti omusajja tasobola kumuwagira ng’enfunda nnyingi azze awakanya ekya Muhoozi okusikira kitaawe Museveni nga tayise mu kalulu ka bonna.

Ekizibu Mawanda kyaleetedde Tayebwa kwekubeera nti bonna bava mu kitundu kya Ankole ekitegeeza obuwagizi bagenda kubwawuzaamu nga kino kigendeeza emikisa gye okuwangula wadde ate nga yadyagadde nyo okutuula ku kakiiko ka CEC okutegeera ebiteeseddwako n’ebisaliddwawo awabule bulungi palamenti ng’agikubiriza.

Wabula wadde Mawanda alina obuwagizi bwa Museveni, naye alina ekizibu kyabamulumiriza okubeera omufere omuli w’enguzi ng’emisango gye gikyali mu kkooti.
Naye anyonyodde nti abaamuleetera okumusibwa ku by’okulya enguzi baali baaagala kusannyalaza birooto bye mu byobufuzi n’okunafuya PLU n’awaga nga bwekigenda okubeera ekizibu okuwangulwa.

Share This Article