Enyonta Y’akaboozi Etta Nambooze: MP Omusajja Mmuleeseeko Bwino Omukambwe…

OMUBAKA Mpindi Bumaali akiikirira abaliko obulemu mu palamenti alaze obulabe obwolekedde mubaka munne Betty Nambooze Bakireke [Mukono Municiplaity] olw’ennyonta y’akaboozi n’obutafuna mukwano ng’omukyala gy’ayitamu mu kiseera kino.

Joseph Luboyera
2 Min Read
Omubaka Betty Nambooze

OMUBAKA Mpindi Bumaali akiikirira abaliko obulemu mu palamenti alaze obulabe obwolekedde mubaka munne Betty Nambooze Bakireke [Mukono Municiplaity] olw’ennyonta y’akaboozi n’obutafuna mukwano ng’omukyala gy’ayitamu mu kiseera kino.

Ono anyonyodde nti ng’omusajja alina obumanyirivu mu nneeyisa y’abakazi, bw’atunuulira enneeyisa ya Nambooze, eragira ddala nti yeetaaga obuyambi. Era nti kino bwekitaakolebwe mu bwangu waakugenda mu maaso ng’akozesa obusungu ku bantu baalaba abeeraga omukwano n’okubeera mu ssanyu olwokuba ye omukisa ogwo tagulina.

Mpindi ategeezezza nti yeewunyizza nyo Nambooze okugenda ku mikutu gya yintanenti n’egyamawulire ng’amwogerera olwokuba kkamera za palamenti zaamukwata nga mubaka munne omukyala akiikirira abakyala b’ekibuga ky’e Masaka Juliet Kakande ng’amuweeweeta ku mutwe n’okumulaga omukwano n’akakasa nti ekyo kyabulijjo era abakazi bangi bazze bakimukola.

Nambooze mukazi mufumbo ow’empeta era omwamiwe ye Yinginiya omu ku basinga okuvuga ebimotoka ebizimba enguudo e Mukono Henry Bakireke. Wabula gyebuvuddeko yalaga ennaku gy’ayitamu okuva bakkomando mu ggye lya SFC erikuuma pulezidenti bwe baamukolako effujjo ne bamukuba ne bamumenya omugongo bweyali alwana okulemesa ababaka ba NRM okuyisa etteeka erijja ekkomo ku myaka gya pulezidenti 75 gyalina okubeerera mu ntebe mu 2017.
Nambooze yategeeza nti omukazi okumumenya omugongo kitegeeza kinene ku bulamu bwe n’obufumbo era abatunuulizi balowooza nti kye kyaleetedde Mpindi okumulumiriza nga bw’asubwa akaboozi akalungi n’omukwano.

NAMBOOZE YEERWANYEKO

Wabula Nambooze yaddizza Mpindi omuliro n’ategeeza nti talabanga musajja mugwenyufu nga ye akukuta n’abakazi nga Kakande bamanyi obulungi nti bafumbo n’asaba abalema okwekubamu ttooci kubanga omuntu gwe baasindika okubakiikirira ali mu kwegadanga n’abakazi mu palamenti mukifo ky’okuleeta amateeka n’ebiteeso ebibayamba.

Ono ategeezezza nti okuva Mpindi ayingira mu palamenti, tayogerangako nsonga ya muggundu ne bw’anaafa, palamenti egenda kubonaabona okufuna ekifaananyi kye ng’ayogera mpozzi nga banaakozesa kye baamukuba ng’alayira oba ekyomubaka Kakande ng’amuweeweeta omutwe n’okwekola obusolosolo.
Abamu ku bategeera Nambooze bamusaasira engeri gy’akikwasaganyaamu, kubanga omugongo gwekaaka, ate n’ebimotoka bya bba Bakireke by’atera okuvuga ng’akutte kontulakiti y’okuzimba enguudo n’ebirala yabiwummuza mu maka agamu e Mukono nga takyafuna bulungi kontulakiti ebiseera ebisinga abeera waka ng’omukyala abeera alina okumubeesabeesa obulungi!

Share This Article