Paasita Ssenyonga Baagala Kumuyoola Ngwala: Eby’okugula Hotel La Grande e Bwaise Bimuzaalidde Eminyira…

AKASATTIRO k’amaanyi ewa Paasita Jackson Ssenyonga ow’ekkanisa ya Christian Life Church e Bwaise, abakozi be bwe beekyanze ne bassa wansi ebikola ne bamussa ku nninga nti baagala kusasulwa ssente zaabwe tebaagala kubawoleza kintu kirala kyonna bakooye ejjoogo lya Ssenyonga!

Timothy Nyanzi
6 Min Read
Paasita Jackson Ssenyonga ow’ekkanisa ya Christian Life Church

AKASATTIRO k’amaanyi ewa Paasita Jackson Ssenyonga ow’ekkanisa ya Christian Life Church e Bwaise, abakozi be bwe beekyanze ne bassa wansi ebikola ne bamussa ku nninga nti baagala kusasulwa ssente zaabwe tebaagala kubawoleza kintu kirala kyonna bakooye ejjoogo lya Ssenyonga!

Obuzibu bwonna, buvudde ku Ssenyonga kussa ku mmeeza obuwumbi 4 agule Hotel ya La Grande ey’omugagga J.B Ssennoga eriraanye ekkanisa ye e Bwaise, ekitabudde abakozi kubanga amaze emyezi egisoba mu 4 nga tabasasula musaala ng’abawoleza jjo jjuuzi bamulindemu.

Ensonda ezeesigika mu kkanisa ya Ssenyonga, zikakasizza ONO BWINO nti abakozi babadde bamuguminkirizza nga yabakaabirira nti ssente ez’okubasasula emisaala abadde akyaziyigga, kyokka beeridde omuguju, bwe baakitegedde nti omukulu ayagala kugula Woteeri ya La Grande ayongere okugaziya ekkanisa ye.

Ddiiru eno etabudde abakozi ba Ssenyonga abakola ku kkanisa ye abasasulwa emisaala n’abo abaweereza ku mikutu gy’amawulire gye okuli Top Tivvi, Top Radio ne bassa wansi ebikola ne beegugunga nga bagamba bakooye ejjoogo lya Ssenyongo okubakozesa nga tabasasula kyokka ye ng’ayongera kwegagawaza ne famire ye nga ne gye buvuddeko mutabani we yamukolera embaga ey’ebbeeyi ku ntuuyo zaabwe, kati emyezi gigenda kuwera 5 naye nga tebalaba ku musaala.

Omu ku bakozi abakola ku mikutu gya Ssenyonga egy’amawulire atubuulidde nti batadde wansi ebikola okutuusa nga bafunye ku ssente kubanga nabo balina ebyetaago omuli okusomesa abaana, okusasula rent w’amayumba n’ebirala.

Omukozi omulala atubuulidde nti bategeka kuggula misango ku Ssenyonga egy’engasi (Civil Suit) mu kkooti abaliwe ssente zaabwe ng’ataddemu n’amagoba olw’okubamalira ebiseera, tebagenda kubeera ng’abakozi abamu abazze beegoba bokka nga musajja wa Katonda tabasasula!

OBA SSENYONGA SSENTE Z’AGGYA MU NDIGA AZITEEKA WA?

Ayongeddeko nti beewunya Ssenyonga gy’atwala ssente z’akungaanya ku kkanisa kubanga buli Ssande abeera n’enkungaana ez’amaanyi ssaako n’okusaba okubeerawo buli lunaku okuyitibwa P5 mwasabira abantu ab’enjawulo emikisa, abantu mwebasondera ssente empitirivu , okusaba wekuggwa abavunanyizibwa ku bibbo ebinene abantu mwebasuula ebirabo babiyingzza mu ofiisi ye nga bawerekebwako abaserikale b’emmundu ne babala ssente wakati ku bunkenke kyokka nga n’ababala ebisawo bya ssente bino nabo babanja ennaku ebaluma. Balumiriza okubala ssente bwekuggwa nga zitwalibwa mu bbanka eyo gyeziva nezikola emirimu gya Paasita abakozi ne basigala nga beeyaguza lujjo.

ENDIGA ZA SSENYONGA ZIYOMBA

Endiga era ziyomba olwa Ssenyonga okulemererwa okuzimba ekkanisa ey’omulembe kubanga ekkanisa mwebasabira tennaggwa ebisolo omuli ente n’embuzi bizanyiramu kyokka ssente z’abakungaanyamu azikozikozesa bibye.

PULAANI YA PAASITA SSENYONGA KU HOTEL LA GRANDE

Kigambibwa nti Paasita Ssenyonga ayagala kugula Hotel La Grande agaziye ekkanisa ye ate ebizimbe omuli Hotel mwaba asengulira situdiyo ya Top Tivvi, ne Radio ya Top ne Kampala FM.

LWAKI OMUGAGGA AYAGALA KWEGGYAKO LA GRANDE HOTEL

Omu ku bakulembeze mu Kawempe South Hotel La Grande mwesangibwa atubuulidde nti Ssenyonga aludde nga yeegwanyiza ettaka ewali Hotel eyo n’abalala abalinawo ebizimbe ng’ayagala abagule baveewo, wabula nga tebakkirizza kumuguza. Abatuuze abalala bakyalemeddewo nga bagamba Ssenyonga abawa ssente ntono.

Kigambibwa nti Ssenyonga mu ndiiru eno akozesa abamu ku banene omuli bannabyabufuzi n’abanene mu KCCA abakola ku bukiiko bw’ettaka okusendasenda omugagga amuguze.

Abalala bagamba olw’effujjo Ssenyonga ly’atadde ku mugagga Ssennoga, ayinza okuwalirizibwa n’amala gakkiriza ssente za Ssenyonga n’agenda n’akola ebirala ,ate abalala bagamba nti tasobola kugitunda kubanga emukolera ssente eziwera nga ne Ssenyonga z’amuwa ntono.

SSENYONGA AKYUSIZZA EMIZINDALO GY’EKKANISA N’AGITUNUZA MU BISULO BYA HOTEL

Kigambibwa nti Ssenyonga yakyusizza emizindaalo gy’ekkanisa ye n’agitunuza mu bisenge bya Hotel nga kati amaloboozi gonna galeekaanira bakasitoma abakozesa ekifo kino n’ekigendererwa eky’okugikyayisa bakasitoma abagyettanira nga baleetamu abantu baabwe, nanyini yo agyetamwe agimuguze ku mpaka. Ekikolwa kino kireeseewo olutalo wakati w’omugagga Ssennoga nanyini Hotel ne Ssenyonga olw’efujjo lyamutaddeko kyokka nga tagambwako olw’abanene bakozesa okumulwanirako atwale ekifo kino.

OMUGAGGA KY’AYOGERA

Omugagga Ssennoga tafunise kwogera ku nsonga eno, wabula omu ku bakozi be ataayagadde kumwatukiriza mannya atubuulidde nti eby’okutunda Hotel La Grande omugagga si byaliko wabula Ssenyonga y’amulwanyisa omugagga amunyiyise bizinensi asobole okutwala ekifo kino ku nyondo wabula tekijja kusoboka.

ENTALO ENDALA PAASITA SSENYONGA Z’AZZE ALWANA

Paasita Ssenyonga alina olutalo ne musumba munne Nnabbi Samuel Kakande ow’ekkanisa Synagogue Church of All Nations Uganda esangibwa e Mulago ku Bbiri, olutalo lwabwe lwava ku kazimbe Ssenyonga keyazimba okumpi n’ekkanisa ya Kakande wabula Kakande n’amuwangula akazimbe n’akaziba weyali azimba ekkanisa ye ggaggadde kwokomya amaaso.

SSENYONGA YATUFERA- BAPAASITA

Olutalo olulala Ssenyonga alulina n’abasumba okuva mu bitundu by’e Luweero, Lyantonde, Rakai ne Kamuli abakulemberwa Robert Nsereko owa Alpha Healing Centre e Luweero abamulumiriza okubafera bwe yabaggyako ssente ng’agamba nti agenda kubazimbira amakanisa ag’omulembe mu pulonekiti gyeyatuuma ‘BYE BYE BIWEMPE’, bano era balumiriza Ssenyonga okubaggyako ssente abaatwale basisinkane pulezidenti Museveni n’atakikola kyokka buli eyavaawo okumubanja ku bisuubizo bino ng’amutisatiisa okumutuusaako obulabe .

ALINA ENTALO N’ABA FAMIRE

Aba famire ya Ssenyonga nga bakulembeddwa ssenga we Keeti Kitta ow’e Ndejje eyamukuza yaalajana ku bigambibwa okubeera ebyokoola ebyali bimulumba nebimulemesa okwebaka mu nnyumba nga kigambibwa nti ebyokoola bino byali bya taata wa Ssenyonga ng’aba famire bagamba Ssenyonga yagaana okusabira ebyokoola bino bive mu famire, nga kigambibwa nti ebyokoola bino byalumba senga wa Ssenyonga ne bimuwunza.

PAASITA SSENYONGA AGAMBA KI KU BIMWOGERWAKO?

ONO BWINO bw’atuukiridde Ssenyonga ku namba y’essimu (0752399**5) eyiye okutangaaza ku nsonga y’okugula La Grande ne ku nsonga z’abakozi n’entalo za famire essimu ye tebaddeeko.

Share This Article