Emboozi Ya Byabakama Ne ONO BWINO Nkambwe! Teri Kukombya NUP Ku Ssente Za IPOD: Agumizza Abasibe N’abali Ku Kyeyo Okulonda Mu 2026…

AKULIRA akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama asekeredde abo bonna abakulira ebibiina bya opposition abaagala okufuna ssente za IPOD omuli n’aba NUP, kyokka nga bavuma ate n’obutaagala kwetaba mu nkiiko z’ekibiina ekyo n’ategeeza nti omulundi guno yafunye ebiragiro ebikambwe okuva ewa pulezidenti Museveni era pulezidenti wa IPOD.

Joseph Luboyera
9 Min Read
Akulira NUP Bobi Wine n'akulira akakiiko k'ebyokulonda Byabakama

AKULIRA akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama asekeredde abo bonna abakulira ebibiina bya opposition abaagala okufuna ssente za IPOD omuli n’aba NUP, kyokka nga bavuma ate n’obutaagala kwetaba mu nkiiko z’ekibiina ekyo n’ategeeza nti omulundi guno yafunye ebiragiro ebikambwe okuva ewa pulezidenti Museveni era pulezidenti wa IPOD.

Ono agamba nti ekibiina ekitali kiwandiise mu IPOD tekitagenda kuweebwa ssente, ekintu ekyaviiriddeko ne minista w’ebyamateeka Norbert Mao okutegeeza nga bwagenda okugenda ku NUP afukaamirire Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) amukkirizise okuyingira n’okuteesa ne Museveni nga bali mu IPOD.

Omulamuzi Byabakama yabadde ayogerako n’omusasi wa ONO BWINO Joseph Luboyera era emboozi yaabwe yatambudde bweti ng’eggwanga lyetegekera akalulu ka 2026…

ONO BWINO: Abakulira ebibiina bya opozisoni beemulugunya, lwaki omulundi guno mugaanyi okubawa ssente za IPOD?

BYAMUKAMA: Etteeka kwetubadde tutambulira ligamba nti, ebibiina ebirina abakulembeze mu palamenti birina okufuna ssente okuva mu gavumenti era nga ssente ze bafuna zisinziira ku bungi bw’ababaka ebibiina ebyo bye balina mu palamenti, naye omwezi oguwedde etteeka eryo lyakoleddwamu ennongoosereza nga kati ligamba nti; ekibiina kyonna okufuna ssente za gavumenti, kirina okubeera nga kyewandisizza mu butongole era nga ba mmemba mu IPOD, era naffe ng’akakiiko k’ebyokulonda, minista w’ebyamateeka yatuwandikidde mu butongole ng’atutegeeza ku nsonga eno.

Sentebe w’ekibiina ekigatta ebibiina byonna ekya IPOD era pulezidenti w’eggwanga naye yatuwandikidde ebbaluwa ng’etulambika n’okutulaga ebibiina byonna ebiri mu IPOD era ebirina okufuna ssente.

ONO BWINO: Ku lukalala pulezidenti lwe yakuwadde, aba NUP kwebali, bwe babeera tebaliiko, lwaki?

BYAMUKAMA: Ku lukalala olwatuweereddwa ng’akakiiko, aba NUP tebaliiko naye naawe osobola okubabuuza, mu IPOD mwebali oba nedda? Bwe babeera nga beewandiisa ng’ekibiina tujja kubawa ssente, bwe babeera tebaliimu, ate sente tubeera tubawa za ki, etteeka litugamba nti ekibiina kyonna ekirina abakulembeze ate nga kiwandiise mu IPOD kye kirina okufuna ssente.

ENKAKU KU SSENTE ZA ‘DIASPORA’

ONO BWINO: Mwe ng’akakiiko k’ebyokulonda, mulina engeri gye muyinza okulambikamu engeri ebibiina gye birina okufunamu ssente okuva ebweru wa Uganda naddala nga tugenda mu kulonda?

BYABAKAMA: Tewali kibiina kyonna kikkirizibwa kufuna ssente oba obuyambi bwonna okuva mu bubiina bw’abatujju oba okuva eri abayinza okuba nga balwanyisa gavumenti eriko, etteeka n’ebibonerezo weebiri.

ABAJJA ‘INDEPENDENT’ TETUGENDA KUBAGAANA

ONO BWINO: Ebibiina omuli NRM, NUP n’ebirala byayisizza ebiragiro eri ba mmemba obuteesimbawo oluvannyuma lw’okuwangulwa mu kamyuufu, singa bajja mugenda kubagoba?

BYABAKAMA: Buli kibiina kirina eddembe okuyisa ebiragiro n’engeri bamemba mu kibiina ekyo gye balina okweyisaamu naddala nga bakolera munda mu bibiina byabwe. Okuwabula kwaffe ng’akakiiko eri ebibiina bino kuli nti, ebintu ebikkirizibwa oba ebitakkirizibwa birina kukola mu bibiina bino kuba ebimu tebiri mu ssemateeka ffe gwe tugoberera.

Ssemateeka n’amateeka akakiiko k’ebyokulonda ge tugoberera gakkirizza buli munna Uganda awezezza emyaka 18 okwesimbawo yadde nga talina kibiina mwajidde, n’olwekyo ffe tugoberera ssemateeka sso ssi nkola n’ebiragiro by’ebibiina.

ONO BWINO: Abantu bangi abagala okwesimba kubwa pulezidenti, biki ebikulu akakiiko bye kasinga okwagala?

BYABAKAMA: Etteeka ligamba nti omuntu okwesimba ku bwa pulezidenti alina okubeera ng’aweza emyaka 18, ng’alina obuyigirize obutali wansi wa S6, wabula singa abeera yasomera bweru wa Uganda empapula abeera alina okuzitwala mu kitongole ekikola ku by’enjigiriza ebyawaggulu okusobola okubikakasa nti ddala obuyigirize obwo bwenkanankana n’obwo obwetagisa okwesimbawo.

Singa omuntu abeera talina S6 naye ng’alina ebiwandiiko eby’enkanankana ne S6 era abeera alina okutwalibwa mu kakiiko ako ne kakakasa nti ddala obuyigirize obwo bwenkanankana S6 ya Uganda.

Abakulu mu kitongole ekivunanyizibwa ku by’amatendekero agawaggulu babeera balina okumuwa ebbaluwa ekakasa nti ddala alina obuyigirize obuli ku mutindo, era ebbaluwa eyo obeera olina okugireeta mu kakiiko k’ebyokulonda ng’etteeka bwe ligamba nga wabulayo emyezi ebiri olunaku lw’okwewandisa lutuuke.

Omuntu oyo abeera alina okufuna emikono 100 egimusemba mu disitulikiti zonna eziri mu Uganda ate nga bonna balonzi. Amannya gonna aganaatuweebwa, tulina okugekennenya nga tukebera ku lijesita y’abalonzi gye tulina, era singa tusangamu abatali balonzi, omuntu oyo tubeera tusobola okumusazaamu olw’obutatuukiriza bisanyizo by’akakiiko.

AKALULU KA 2026 SIKATIDDE

ONO BWINO: Ekibiina kya NRM kyabadde n’okusunsula abanaakikwatira bendera mu kalulu akajja era bangi tebaamatidde n’ebyavudde mu kulonda, ggwe totidde mu kulonda kw’abonna kwe tugendamu?

BYAMUKAMA: Twagala okwebaza ebibiina ebyasobodde okutegeka akamyuufu mwe bAalondedde abagenda okubakwatira bendera, tusaba abo abalina okwemulugunya nga kuva mu kulonda okwo, tubasaba endoliito ezo zonna okuzimala amangu nga tetunatuuka mu kulonda kwa 2026, kuba mu kulonda kwa 2021, akakiiko k’ebyokulonda twafuna obuzibu ng’emisango n’entalo mu bibiina by’obufuzi era twatuusa ekiseera eky’okwewandiisa ng’ebibiina ebimu tebinnasalawo ku ani abikwatira bendera.

Omulundi guno tulina essuubi nti engeri gye bakozeemu obumyufu bwabwe ng’obudde bukyali, bwe wanaabeerawo obuzibu bwonna banaafuna obudde obumala okubimaliriza.

NAYE KAMPEYINI TEZIIBEEREMU OKUYIWA OMUSAAYI?

ONO BWINO: Lwaki ng’akakiiko mwasazeewo okukyuusa mu nnaku z’okwewandiisa n’okulonda okuva ku kakiiko ke zaasooka okulangirira?

BYAMUKAMA: Twasazeewo okusembeza ennaku z’okwewandiisa n’okusunsula naddala eri abaagala obwa pulezidenti okuva nga 23/09/2025 okutuuka nga 24/09/2025 era akakiiko ne kasalawo kampeyini z’abaagala obwa pulezidenti okutandika nga 4/10/2025 zikomekkerezebwe nga 12/01/2026, bino tubikoze nga tulina okuteekateeka eby’okugezesa ng’obukonge, n’ebifaananyi by’abo abeesimbyewo nga bwe birina okufaanana, okusobola okufuna obudde obumala okulongoosa ensobi ezisobola okulabikira ku bukonge bw’okulonda.

Abeesimbyewo naddala ku bwa pulezidenti balina okutuula ne bakkanya engeri gye bagenda okutambuzaamu kkampeyini zaabwe n’ebitundu buli omu gyalina okubeera okusobola okwewala okulwanagana n’okuyiwa omusaayi. Abakulu abo era tubaagala n’okussa omukono ku ndagaano omuli okukola kampeyini nga batambulira mu mateeka n’okugoberera ebiragiro by’akakiiko ate n’okukkiriza ebinaabeera bivudde mu kulonda.

OKULONDA KWA NRM KWABADDE TEKUSANYUSA

ONO BWINO: Nga ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda era agenda okukulembera okulonda kw’eggwanga lyonna, oyogera ki ku mivuyo omwabadde okuyiwa omusaayi n’okutta abantu ebyabadde mu kampeyini n’akalulu ka NRM?

BYABAKAMA: Njagala okusaba banna Uganda okukuuma emirembe, twewale emivuyo egiyinza okutuviirako okuyiwa omusaayi n’okwetta. Ebyalabikidde mu kunoonya akalulu ne mu kulonda kwa NRA byabadde tebisanyusa, abantu baakubiddwa, ebintu byabbiddwa awamu n’okwonoonebwa, ebikolwa ebitongera ku nkulaakulana ne demokulasiya wa Uganda.

Ffe twagala eggwanga lyaffe okusigala nga lya mirembe, ate mu biseera by’okulonda ffenna tutambulire ku mateeka ate tubeere n’obuntubulamu, okulonda ssi y’enkomerero y’obulamu bwa buli muntu, tujja kusigala nga tuli banna Uganda nga tweyagalira mu ggwanga lyaffe nga mulimu emirembe n’obwenkanya.

ONO BWINO: Akakiiko ko kalina enteekateeka yonna eri banna Uganda abasibe mu makomera engeri gye bayinza okwetaba mu kulonda?

BYAMUKAMA: Buli kintu akakiiko kye kakola nga kikwatagana n’okulonda tubeera tugoberera mateeka. Amateeka agaliwo teganateekawo nkola etuukiriza okuteeka ekifo ekirondebwamu munda mu kkomera oba okukkiriza abeesimbyewo okugenda mu kkomera okunoonya akalulu. Tetukkirizibwa kuteeka kulonda mu kifo kyonna omuli abeby’okwerinda ku mitendera egyenjawulo, n’ewankubadde nga mu bitongole by’okwerinda ebyenjawulo mulimu banna Uganda, naye tulagirwa okulonda okubeera ebweru wa barakisi.

ONO BWINO: Abamu ku bakulira ebibiina by’obwanakyewa bemulugunya bagamba nti mwagaana okubakkiriza okulondoola n’okusomesa abantu ebikwata ku by’okulonda, ddala kituufu?

BYAMUKAMA: Tulina ebibiina 50 bye twakkirizza okugenda nga basomesa abantu ebikwata ku kulonda okwetolola eggwanga lyonna. Abo abatuwaayiriza nti twagaana okubakkiriza nti era ebbaluwa zaabwe ne tuzisuula mu kasero ssi bituufu, ffe tuli kitongole ekikulembera eby’okulondesa abantu buli kye tukola kirina okubeera mu mateka.

ABA ‘DIASPORA’ BAYOMBA

ONO BWINO: Abantu ababeera ebweru wa Uganda nabo baagala abakiikikirira mu palamenti, waliwo enteekateka yonna gyebali?

BYABAKAMA: Ekitongole ky’ebyokulonda ssi kye kisalawo ku ani ateekwa okuweebwa ekifo mu palamenti, aba boda, bamalaaya, abasuubuzi, abasawo b’ekinnansi naye ssi ffe tusalawo ku ani alina okugenda mu palamenti.

Share This Article