MOSES Magogo akulira ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga ki FUFA, era MP wa Budiope East, aleese bwino omukambwe ku ngeri Nalongo we sipiika wa palamenti Annet Anita Among bweyabeererawo omumyuka wa ssaabaminisita asooka era minisita wa East Africa Rebecca Alitwala Kadaga ng’alumbiddwa ekirwadde ekikambwe.
Magogo okubaako ky’ayogera, kiddiridde abakulembeze b’ebyobufuzi mu Busoga nga bakulemberwamu minisita omubeezi ow’ebyamayumba Persis Namuganza, omumyuka wa pulezidenti wa People’s Front for Freedom (PFF) Proscovia Salaam Musumba n’abalala okumulumiriza okubaleetera omukazi omuzibu ayagala okuwamba Busoga ng’ayita mu kunafuya Kadaga.
Musumba ye yasooka okusaba Kyabazimba wa Busoga Wilberforce Gabula Nadiope okuvaayo okutaasa Kadaga ng’ayogerako ne bannabyabufuzi mu Busoga abakulemberwamu MP wa Kigulu South Milton Muwuma abeekobanye ne Among okumugoba ku lukiiko lwa NRM olw’oku ntikko lu Central Executive Committee (CEC).
Musumba yabuulira Kyabazinga nti singa teyali Kadaga kuteekawo mbeera n’okulwana nga bwamatiza pulezidenti Museveni okukkiririza mu Nadiope okubeera Kyabazinga wa Busoga, bannabyabufuzi kati abatikiza ne Among baali baagala Obwakyabazinga bugende mu bakulembeze b’ennono abalala.
Musumba okuvaayo nga Kadaga yenyini yaakalumiriza abakulu mu bwakyabazinga okumuyeekera nga balya ssente za Among okumugoba mu byobufuzi ekintu Joseph Muvawala Katukiro wa Busoga kyeyawakanya nga anyonyola nti tewali mukulembeze mu Bwakyabazinga gwebawagira okuvuganya Kadaga.
AMONG YE YEEKWANIRA MAGOGO
Namuganza alumiriza nti Among ye yeekwanira Magogo ng’ayagala okukozesa Busoga okutuukiriza ebigendererwa bye ebyobufuzi nga ye nsonga lwaki yatandika n’okweyita maama wa Busoga ate ng’akimanyi nti erinnya eryo libeera lya mukyala wa Kyabazinga.
Ebigambo bya bannabyabufuzi bano bye byaleetedde Magogo okuvaayo n’ategeeza nga bwewatali lutalo lw’amanyi wakati wa mukyalawe ne Kadaga obwedda gwayita ‘ssenga’ n’alumiriza bannabyabufuzi abawuzzi b’obunyama abaagala okuliira mu kavuyo okulukumamu omuliro.
Ono yanyonyodde nti Among bweyamusikiriza okuyingira ebyobufuzi yeesimbewo e Budiope, omuntu gweyasooka okwebuuzaako yali Kadaga nga ye yamuwa emikisa gyonna egyamuwanguza mu 2021.
Magogo ayongeddeko nti omukwano gwa mukyalawe ne Kadaga gwali gw’amaanyi nyo nga waliwo ekirwadde ekikambwe bwekyalumba Kadaga ne bamuddusa mu ddwaliro nga yagenda okudda engulu enkeera nga Among y’amuyimiriddeko kuk itanda nga mukazi wattu y’asula mu ddwaliro.
Magogo yabadde ku Leediyo emu e Busoga n’asaba abantu b’e Busoga Among okumutwala ng’omuntu abaagaliza ebirungi era olutalo lwe ne Kadaga kantu katono nyo.
Mu kiseera kino abantu ab’ensonga e Busoga balwana okusisinkana Museveni bamuperereze ayogere ne Among akkirize okuva mu lwokaano lw’okukiikirira abakyala ku CEC alekere Kadaga, Among aneesimbawo mu 2031 ng’awummudde.
Wabula aba ttiimu Among kino bakiwakanya nga bagamba nti guno gwe mukisa gwokka omuntu waabwe gwalina okutuula ku CEC n’okukolera obulungi NRM nga sipiika wa palamenti.


