Baabano Abanene Bannanyini Takisi  Z’olinnya: Minisita Kasaijja Alina Drone Ezisoba Mu 100, Betty Kamya, Kadaga Battunka, Eza Mirundi Ziri Ku Ki?

EKIBIINA kya UTOF omwegattira ebibiina bya takisi byonna mu ggwanga kyatandise enteekateeka ez'okubala mmotoka za takisi ezikola omulimu gw'okusaabaza abantu mu ggwanga. 

Editor Ono Bwino
8 Min Read
EKIBIINA kya UTOF omwegattira ebibiina bya takisi byonna mu ggwanga kyatandise enteekateeka ez’okubala mmotoka za takisi ezikola omulimu gw’okusaabaza abantu mu ggwanga.
Ssentebe wa UTOF, Rashid Ssekindi yategeezezza nti enteekateeka eno egendereddwamu okuteeka sitiika ku mmotoka okusinziira ku bifo gyezikolera mu bitundu bya Kampala, Mukono,Wakiso, Lyantonde, Masaka, Mityana, Mubende, Mbarara n’ebitundu ebirala.
 Kyokka ensonda mu UTOF zitubuulidde nti waliwo abamu ku  banene abasinga ttakisi mu ggwanga abasimbidde enteekateeka eno ekkuuli nga tebaagala mmotoka zaabwe ziteekebweko sitiika ekireseewo  obutakwatagana.
Kigambibwa nti abamu ku banene bano bafumbivubidde okusanyaawo ekibiina kya UTOF nga bagamba tekiri mu mateeka,  wabula ONO BWINO akoze okunonyereza n’azuula abanene abasinga takisi mu gwanga n’engeri gye bawa aba ttakisi ebiragiro ne bawakanya enkola za gavumenti zeereeta okulung’amya omulimu gwa ttakisi mu ggwanga.
1. MINISITA W’EBYENSIMBI MATIA KASAIJJA ALINA DRONE EZISOBA MU 100: Ensonda zitubuulidde nti Kasaijja alina ttakisi ezaakazibwako ekika kya Drone ezisoba mu 100 nga zisinga kusaabaza bantu abagenda eng’endo empanvu nga e Bunyoro, Mubende, Fort Portal n’ewalala.
Kasaijja ssente eziggye mu by’obufuzi ng’omubaka ssaako n’ekifo ky’obwa minisita w’ebyensimbi ekifo kyamazeemu ebisanja ebisoba mu 3 kwogatta bizinensi endala nga Hotel zaalina e Fort Portal.
2. BETTY NAMISANGO KAMYA Ono ye kalisoiiso wa gavumenti, abamumanyi obulungi batubulidde nti Kamya alina ttakisi ezisoba mu 200 ng’ezisinga zikolera mu paaka za ttakisi mu Kampala. Takisi ze zisinga kusaabaza bantu abagenda ku Lubaga Road n’ebitundu ebiriranyeewo.
BETTY KAMYA SSENTE AZIGGYA WA? Kamya ava mu famire erinamu ku ssente, era yamala ebbanga ng’alwana nnyo mu by’obufuzi ng’alwanirira  enkyukakyuka ng’asinziira mu kibiina kye ekya Uganda Federal Alliance ne FDC nga kigambibwa nti mu kulwanirira enkyukakyuka Kamya yakutula ddiiru nnyingi n’afuna ssente , eno gyeyava ne yeesogga gvumenti ya NRM n’aweebwa obwa minisita wa Kampala ekifo kyebagamba nti kyekimu ku bisinga okubaamu ddiiru ensava ate nga minisitule eno era yevunanyizibwa okuteekerateekera Kampala abamu kyebagamba nti Kamya yagikozesa okumanya omulimu gwa ttakisi omuntu waayinza okugufunamu kwekusalawo okuguyingira.
Ttakisi ze okusinga yazikwasa nnyo abavubuka  mu Lubaga North gyeyali yeesimbye ku kifo ky’omubaka w’ekitundu kino  ng’alowooza banaamuyiirawo omubiri mu kalulu ka 2021 olw’okuba yali abawadde emirimu.
3. REBECCA KADAGA: Ono ye mubaka omukyala owa disitulikiti  y’e Kamuli. Kadaga alina ttakisi eziwerako nga okusinga zikolera ku Jinja Road ne zidda e Busoga. Abamanyi Kadaga batubuulidde nti ttakisi ze okusinga yazikwasa bavubuka abatalina mirimu e Kamuli mu nteekateeka y’okukendeeza ebbula ly’emirimu mu Busoga, Kadaga sente zakozesa okugula ttakisi zino bagamba azigye mu byabufuzi kubanga abadde omubaka wa Kamuli okumala ebisanja ebisoba mu 5, yaliko omumukya wa sipiika n’abeera sipiika omujjuvu ebisanja bisatu kwogatta ne wooteeri zaalina mu Busoga.
4. FRED BYAMUKAMA: Ono ye minisita omubeezi ow’ebyentambula. Bamulumiriza okubeera nanyini ttakisi ekika kya Drone era nanyini kampuni ya Fly Express taxi Travellers Association Ltd, ttakisi zino zisimba okuliraana ofiisi ya Train ku Nasser Road nga zisinga kusaabaza bantu abagenda ku luguudo lwe Entebbe. Kigambibwa nti Byamukama ssente aziggye mu byabufuzi kubanga mubaka wa palamenti, musajja mulimi nnyo ate mulunzi nga gyebuvuddeko pulezidenti Museveni yakyalako ku faamu ye e Kakumiro mu Bunyoro Byamukama n’ategeeza pulezidenti nti buli lunaku akung’aanya obukadde obusoba mu 8 mu kutunda amagi g’enkoko.
ALINA ENTALO N’ABAKULIRA TTAKISI : Byamukama attunka n’abakulira ekibiina kya UTOF Rashid Ssekindi ne Mustapha Mayambala nga kigambibwa nti Minisita ayagala gavumenti ewere ekibiina kya UTOF aba ttakisi babeere n’obukulembeze bumu obwa SACCO ng’aba Kampuni mwebali  gavumenti esobole okuteekeratekera gwa ttakisi obulungi, Mayambala ne Ssekindi kyebawakanya nga bagamba  nti Minisita ayagala kampuni ye y’eba ekulembera omulimu gwa ttakisi.
5. GUARD MUGISHA: Ono ye ssentebe w’abagagga bonna abalina ttakisi, abamumanyi bagamba nti alina ttakisi ezisoba mu 500 mu Kampala n’emiriraano. Okusinga zikolera ku Bombo Road ne Masaka. Kigambibwa nti Mugisha okufuna ssente yatandikira mu bwa kondakita mu myaka gye 1980 eyo gye yava n’afuuka ddereva n’atandika okugula ttakisi enkadde n’azikanisa nga bw’ozitunulako ogamba mpya, n’agaziwa n’atandika okuzisuubuula okukkakkana nga bizinensi egaziye bagagga banne ne bamulonda okubeera ssente waabwe.
6. KAVUMA BONNY : Ye nanyini ttakisi eziriko ekigambo UJAMBO. Ttakisi zino zikolera ku luguudo lwa Bombo Road nga zisinziira mu Paaka ya ttakisi ya munnamagye Fred Boogere eya Bwaise Terminal. Abamanyi Kavuma bagamba nti ssente yatandika nga kondakita mu ttakisi ezigenda e Ntinda nadda ku bwa ddereeva n’atandika okugula ttakisi enkadde naye n’alandira awo, era kati y’omu ku boogerwako.
7. OMUPOLIISI ZIRABAMUZAALE: Owa poliisi ategeerekeseeko erya Zirabamuzaale ali ku ddaala lya kamisona ne munnamagye naye ategereekeseeko erya Kabira nabo boogerwako nga balina ttakisi eziwerako kigambibwa nti ttakisi za Kabira zikolera ku Masaka Road ate eza  Zirabamuzaale zikolera ku nguundo okuli olwa Masaka ne  Bombo.
9.OMUGAGGA KABAATA: Ono ye nanyini Kabaata Auto Garagi esangibwa e Kibuye, ayogerwako ng’alina ttakisi ezisoba mu 150 nga ezisinga yazikwasa aba ttakisi abakolera mu paaka y’e Kibuye, paaka empya, ppaka enkadde n’endala  be bazikoleramu ne bamuleetera  ssente  buli lunaku.
10. MUSOMESA: Matovu ye nanyini ttakisi eziriko ekigambo Musomesa waggulu ku ndabirwamu, kigambibwa nti Matovu yasooka kubeera musomesa eyo gyeyava ng’alaba tebimutambulira bulungi n’ayiga okukanika n’atandikawo garagi mu Kisenyi mu Kampala emukoledde ssente empya n’enkadde mwasobodde okung’anyirizza ssente empya n’enkadde n’asuubula ttakisi. Emmotoka ze zikolera ku luguudo lwa Entebbe.
11. MAJ. DDAMULIRA: Abalala aboogerwako kuliko akulira ekitongole kya Crime Intelligence Maj Christopher  Damulira kigambibwa nti naye alina ttakisi nga be yazikwasa  be be baziryamu ennyo.
12. TAMALE MIRUNDI: Omungezi Joseph Tamale Mirundi eyaliko munnamawulire wa pulezidenti Museveni  weyafiira naye ng’ayogerwako ng’omu ku baalina ttakisi enyingi mu ggwanga ,kyokka abamu bategezezza nti Mirundi weyafiira ng’ezisinga azitunze okwejjanjaba.
ENGERI GYE BAKUMA OMULIRO MU BA TTAKISI NE BATEEKA GAVUMENTI KU BUNKENKE: Omu ku baddereeva ba ttakisi amanya ge asabye gasirikibwe, atubuulidde nti abagagga bannanyini ttakisi bakoze kinene nnyo okulemeza entalo mu mulimu gwa ttakisi olwa ssente zebayiwa mu badereeva ababakolera ne beekalakaasa ne bawakanya ebiteeso ebibeera biyisiddwa nga balaba nti bibanyigiriza.
Mu ngeri yeemu abagagga bano bateekawo embeera mu ba ttakisi ne babakunga ne beeyiwa ku nguudo ne bawakanya enkola za gavumenti zeereese. Kigambibwa nti abanene bano be baawaze aba ttakisi ne bateekawo embeera nebawakanya enkola eya Automated Electronic Penalty System (EPS) poliisi mweyita okukuba ebipapula by’engasi ku misango egy’okunguudo n’eyimirizibwa.
ABAGAGGA BOOGEDDE ENGERI GYE BAKUUMYE SSENTE MU MULIMU GWA TTAKISI: Mugisha Guard ategeezezza ONO BWINO nti obumalirivu n’okwewaayo kye kibaviiridddeko okwekuumira mu bizinensi ya ttakisi etali nyangu kubanga gavumenti emisolo  mingi naye olw’okubeera n’obumanyirivu mu nzirukanya y’omulimu basobodde okumalako.
Share This Article