OLUTALO ku mmaali y’omugagga Mohan Musisi Kiwanuka asinga ebizimbe n’ettaka eringi mu bitundu by’abaloodi e Kololo ne Nakasero lweyongedemu ebbugumu abaana ba mukyala muto Maria Nabasirye Kiwanuka eyaliko Minisita w’ebyenfuna, bwe bazzeeyo mu kkooti nga basaba ekiragiro ekiyimiriza mukulu waabwe Jordon Ssebuliba Kiwanuka okuddukanya obugagga bwa kitaabwe obubalirirwamu Trillion za ssente.
Eddin Musisi Kiwanuka omu ku batabani ba Maria Kiwanuka, ye yakubye ekirayiro ng’awagira okujulira kwa kitaawe mu kkooti ensukkulumu ng’awakanya ensala y’abalamuzi ba kkooti ejulirwamu abaakulemberwamu Cheborion Barishaki abaalangirira nti omugagga Kiwanuka yatabuka omutwe nga takyasobola kuddukanya bugagga bwe ne balagira famire okulonda omuntu agenda okubuddukanya ku lulwe.
Wadde mu kujulira omugagga Kiwanuka yawakanya ensala ya kkooti ejulirwamu, wabula obujulizi obuwagira okujulira kuno bwateereddwa mu kirayiro Eddin kye yakubye n’ategeeza nti yakikoze olw’obukugu bwalina mu nsonga ezikaayanirwako mu kkooti n’okubeera nti omugagga yamulonda mu 2019 okubeera omu ku bantu abaddukanya obugagga bwe oluvanyuma lw’okufuna ekirwadde ekimulemesa okuddukanya obulungi emmaali ye.
Ono yakkiriza nti kituufu kitaawe alumizibwa ekirwadde ekitamusobozesa kuddukanya bugagga bwe, wabula abalamuzi ba kkooti ejulirwamu baamusala ensawo bwe bataamuwa mukisa kusooka kuwulirwa okukakasa oba ddala takyalina busobozi buddukanya bugagga bwe ne bawa n’omwana Ssebuliba obuyinza bw’okukuliramu banne okulonda omuntu agenda okuddukanya obugagga bwa kitaawe ekintu ky’ataasaba mu musango gwebali bawulira.
Ono yeegayiridde abalamuzi ba kkooti ensukkulumu okusooka okumuwa ekiragiro ekiyimiriza mugandawe Ssebuliba okuteekesa mu nkola ebiragiro ebyamuweebwa kkooti ejulirwamu okutuusa ng’okwemulugunya okukulu kitaawe kweyateeka mu kkooti ensukkulumu nga kuwedde okuwulirwa.
ABAANA BA MUKAZI MUKULU BATUUZA OLUKIIKO KU KIFUBA
Ono agenze okusaba kkooti okuyimiriza ebiragiro bya kkooti ejulirwamu okuteekesebwa mu nkola, nga Ssebuliba ebisinga abimalirizza nga muno mulimu okutuuza olukiiko lwa famire Maria n’abaana be lwe baagaana okwetabamu wabula olwokuba nga mukyala mukulu Beatrice Luyiga Kiwanuka n’abaana be be basinga obungi, baalutuuza ku kifuba era ne balonda Ssebuliba nga gwebakwasizza obuyinza okuddukanya obugagga bwa kitaabwe.
Ebyakolebwa byonna mu lukiiko Ssebuliba yabitwalira kkooti nga bweyalagirwa era mu kiseera kino atandise ku nteekateeka ewaliriza Maria ne banne bwe babadde baddukanya obugagga bwa Kiwanuka okumuwa embalirira yonna ku ngeri gyebabadde bakolamu emirimu okuva mu 2019 nga kkooti bweyalagira. Kino bwekinaabalema ono ateekateeka kweyongerayo mu kkooti Maria ne banne baggulweko emisango gy’okuyisa olugaayu mu kkooti basibwe mu kkomera.
ONO BWINO alabye ku biwandiiko ebiriko omukono gw’omugagga Kiwanuka nga mu 2019 alonda Maria, mutabaniwe Eddin, mutabaniwe omulala Bawa Batenda n’omugenzi Dr. Muhammad Buwule Kasasa okuddukanya obugagga bwe n’okusalawo ku nsonga enkulu zonna ezikwata ku bulamu bwe ekintu Ssebuliba ky’awakanya ng’alumiriza nti bino byonna byagenda okukolebwa ng’omusajja omutwe gwatabuka dda takyategeera bigenda mu maaso ku nsi.
ENKALU KU AKAWUNTI ZA SSENTE
Ssebuliba yawandikira dda banka ng’azitegeeza nga kkooti bweyaggyeko edda Maria ne banne obuyinza bwonna obw’okuddukanya akawunti okuteekebwa ssente eziva mu bugagga bwa Kiwanuka nga bano tebakyakkirizibwa kuggyayo ssente nga n’abakulira amakampuni ga Kiwanuka babawandiikidde nga babategeeza nga bwewaliwo enkyukakyuka ezaakoleddwa mu bukulembeze bw’amakampuni gaabwe waggulu.
MARIA ASIMBYE NNAKAKONGO
Kino Maria yakiwakanyizza n’asimba ne nnakakongo n’awandikira bonna bekikwatako ng’abakakasa nti ye n’abaana be be bakyalina obwananyini obwenkomeredde mu kuddukanya obugagga bwa Kiwanuka n’abategeeza ng’ekiragiro kya kkooti kye yeesigamako okubawandiikira amabaluwa okwewa obwananyini kimenya mateeka.
Maria okuwandiika ebbaluwa eno, nga balooya mu kampuni ya Kampala Associated Advocates (KAA) baakasaba omuwandiisi wa kkooti ejulirwamu abayambeko okutabaganya omuntu waabwe Maria ne Ssebuliba, kino Ssebuliba yakigaana n’ategeeza nti tewakyaliwo nsonga gye bateesaako okuva kkooti bweyasalawo n’awabula balooya ba Maria okumuwa amagezi mu bwangu okuteekesa mu nkola kkooti byeyamulagira okukola mu kifo ky’okumalira kkooti ebiseera.


