Pulaani Y’okukyanga Akalulu Mu NRM Esattiza Abanene: M7 Bamufunzizza Ku By’okulwana Kadaga, Kigongo Atabuse Ku Nabbanja ne Kasaija…

ABAKIISE ku lukiiko lwa NRM olw’oku ntikko lu Central Executive Committee (CEC), basazeewo okusisinkana mukama waabwe pulezidenti Museveni okukubaganya ebirowoozo ku lukwe lw’okubba akalulu mu kamyufu lwe balumiriza nti lulukiddwa abavubuka abaagala okubatwalako ebifo byabwe munda mu kibiina.

Doreen Menezer
3 Min Read

ABAKIISE ku lukiiko lwa NRM olw’oku ntikko lu Central Executive Committee (CEC), basazeewo okusisinkana mukama waabwe pulezidenti Museveni okukubaganya ebirowoozo ku lukwe lw’okubba akalulu mu kamyufu lwe balumiriza nti lulukiddwa abavubuka abaagala okubatwalako ebifo byabwe munda mu kibiina.

Ensonda mu CEC zitubuulidde nti mu lukiiko lwabwe olusembyeyo okutuuzibwa e Maya ku hotel ya Al-Hajji Moses Kigongo -omumyuka wa ssentebe waabwe, abakiise baasazeewo okusisinkana Museveni bakkaanye ku ngeri gye bagenda okukwatamu akamyufu kaabwe n’okulonda obukulembeze.

Bano baalemeddwa okukkaanya okusalawo oba akalulu kabeera ka kusimba mu mugongo, okuwanika emikono oba kabookisi nga bakkiriza nti okusalawo kwabwe kwebakola kulina okuba nga kutaasa emivuyo gy’okubba akalulu gyebasuubira.

Abamu ku bakulu tebeekakasa lijesita yaabwe eyateekeddwa mu kompyuta nga batya nti kuyinza okubeerako abantu b’empewo be bavuganya nabo naddala abavubuka be bayinza okukozesa okubabba akalulu.

Abamu baagala akalulu kabeere ka kuwanika mikono oba okusimba mu mugongo bannakibiina basobole bulungi okwetegereza abalonzi, abo abaliko akabuuza babalemese wabula nga kino kirina kusalwawo nga Museveni ssentebe waabwe y’akubiriza olukiiko.
Abakiise okwekengera, ng’abawagizi b’omumyuka wa ssabaminisita asooka era omumyuka wa ssentebe wa NRM akiikirira abakyala ku CEC mu ggwanga lyonna Rebecca Alitwala Kadaga beemulugunya nga sipiika wa palamenti Annet Anita Among bweyatandise okugaba ssente okusula omuntu waabwe.

AMONG NE KADAGA BIBABUGUMA
Bano balumiriza nti Among eyalangirira edda nga bwagenda okuvuganya Kadaga ssente asinze kuziwa babaka ba palamenti abava mu Busoga nga bagenda bazigabira abalonzi nga babategeeza nga Museveni bweyakoowa edda Kadaga ne bwe bataamulonde tagenda kubanyiigira.

Museveni bweyabadde e Busoga nga yeetegereza enkola ya Perish Development Modal eyateekebwawo gavumenti ye okulwanyisa obwavu, abavubuka baamutadde ku nninga nga baagala abakakase oba nga ddala yakoowa Kadaga era y’ali emabega wa Among.

Museveni ebyokuyeekera Kadaga yabyegaanye n’ategeeza nti singa yalina obuzibu bwonna ku Kadaga yalimugambye nga bwe yeewaana nti ye mulwanyi atatya kwatulira muntu yenna.

Wabula Museveni teyakakasizza bavubuka oba waakuwagira Kadaga nga bwe baamusabye nga baagala alemese omuntu yenna okumwesimbako ne Kigongo ekyaleeseewo ebibuuzo ebiwera.

Ebiseera bingi Museveni azze alemesa Kigongo okumuvuganya wabula nga Kadaga abadde avuganyizibwa, mu 2020 yawangula minisita Persis Namuganza eyamwesimbako.

ALABUDDE NABANJA NE KASAIJA ABAAGALA OKWEKWATA AMATAAYI
Ensonda zongeddeko nti Museveni ng’akyalwana okuzikiza olutalo lwa Among ne Kadaga, ate e Bunyoro kitokota nga ssaabaminisita Robinah Nabanja ayagala kwekwata mataayi ne minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija.
Bano ne ttiimu zaabwe Museveni yabayise mu State House n’abakunya oluvanyuma lw’okufuna lipooti okuva mu bitongole bya bambega nga bamulabula nti bwe batakomya kulwanagana, NRM egenda kukola bubi mu bitundu by’e Bunyoro mu kalulu ka 2026.

Kasaija ne Nabanja buli omu abadde alina ttiimu ya bakakuyege erwanyisa munne ekintu Museveni kyeyagambye nti kyawuddemu bannakibiina n’abalabula nti bwe batakikomya agenda kukolawo akatiisa nga bombi baakumuwulira.

Ensonda zitegeezezza nti Kasaija ne Nabanja buli omu alwana okulaba nga yabeera asalawo ku nsonga ez’amaanyi e Bunyoro.

Share This Article