- Abalwanira kaadi; Chairman Nyanzi, Zambali, Pokino w’e Buddu, Mulyanyama, Mufumbiro, Balimwezo bibasobedde
OMULOODI wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago ne banne bwe bakulembera ekisinde kya People’s Front for Transition (PFF), ekyeyubula okuva mu FDC y’e Katonga, baakutandika enteeseganya ku ngeri gyebagenda okukwataganamu okusobola okunyweza ekitundu kya Buganda obutabatwalibwako pulezidenti Museveni n’ekisinde kya Democratic Alliance (DA) akikulemberwa Mathias Mpuuga Nsamba omubaka wa Nyendo-Mukungwe.
KINO KY’EKISEERA OKUGATTA OPOZISONI -LUKWAGO
Lukwago yakozesezza omukolo gw’okuziika abadde MP wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya e Kaddugala-Masaka, n’asaba Bobi Wine okulwana enyo ng’akulira ekibiina ekisinga amaanyi ku ludda oluvuganya mu ggwanga ekya National Unity Platform (NUP) okukozesa enteekateeka y’okujjuza ekifo kya Ssegirinya mu palamenti okugatta oludda oluvuganya nga basimbawo omuntu omu okuttunka n’agenda okusimbibwawo NRM ya pulezidenti Museveni.
Julius Mucunguzi ayogerera akakiiko k’ebyokulonda, yategeezezza nti balina ennaku 60 zokka okujjuza ekifo omubadde Ssegirinya okuva ku lunaku Adolf Mwesigye omuwandiisi wa palamenti lwagenda okubawandiikira mu butongole ng’abategeeza okufa kwa Ssegirinya n’okubasaba okujjuza ekifo kye abantu b’e Kawempe basobole okukiikirirwa mu palamenti.
Ensonda mu kakiiko k’ebyokulonda zitubuulidde nti ekifo kya Sseggirinya kigenda kujjuzibwa obutasukka March wa 2025, Lukwago yakakasizza Bobi Wine nti ye mwetegefu nyo okusooka okuyimiriza emirimu gyonna gyaliko mu PFF okunonyeza akalulu omuntu oludda oluvuganya gwerunaabeera lusimbyewo.
Ono anyonyodde nti kino waakukikola okulaga pulezidenti Museveni nti Kampala mwasula abantu baamu baamukoowa dda nti era abantu baamwo babuufu nyo nga tebasobola kukkiriza bufere bwa bubbi bwa bululu nga bwe bazze babukola mu bitundu by’eggwanga ebirala nga Kisoro gye bakyasembyeyo okujjuza ekifo ky’omubaka omukyala abakiikirira mu palamenti.
BAABANO ABASINZE OKUTUNUULIRWA OKUDDA MU KYA SSEGI
Ensonda mu NUP zitubuulidde nti ku ntandikwa ya wiiki ejja, abakulu mu NUP bagenda kutuula okusalawo omuntu omutuufu gwebagenda okukwasa kkaadi yaabwe mu kujjuza ekifo kya Sseggirinya, abasinze okutunuulirwa kuliko looya Erias Nalukoola, Umal Magala ne Alex Luwemba abasinga gwe baakazaako ‘Mr. Kawempe’ ng’ono y’abadde omuyambi wa Sseggirinya.
Ensonda mu PFF zitubuulidde nti Lukwago mu kiseera kino agezaako nga bwekisoboka okutondawo enkolagana ey’amaanyi wakati w’obukulembeze bwe obutuula e Nakasero-Katonga mu Kampala ne Bobi Wine naddala mu kiseera kino nga Dr Kizza Besigye abadde abakiikirira obutereevu mu kwogerezeganya ne Bobi Wine ali mu kkomera.
Lukwago yagenze okusaba Bobi Wine okukolaganira ewamu ng’ensonda e Magere zitukakasa nti Bobi Wine ali mu kaweefube w’okumatiza bakulu banne mu NUP obutasimba muntu yenna ku Lukwago wabula bamukozese okubayambako okuwangula ebifo by’ababaka ba palamenti ne bakkansala mu Kampala.
BOBI ATABUKIDDE BAABA WE
Ensonda zitubuulidde nti Bobi yalagidde mukulu we Fred Nyanzi Ssentamu abadde awaga nga bwagenda okwesimba ku Lukwago nti bw’abeera waakukikola agenda kwesimbawo ku lulwe nga bo tebagenda kumuwa kkaadi yaabwe era amagezi gebamuwadde kugenda kwesimba Kawempe South eri omubaka Bashir Kazibwe Mbazira eyatabuka edda ne Bobi Wine.
Ensonda zitegeezezza nti Bobi Wine alina okukkiriza nti obutavuganya Lukwago kigenda kumuyamba okunyweza omutima gw’abalonzi Abasiraamu mu Kampala n’okuwagirwa enyo jjajja w’Obusiraamu Omulangira Dr Kassim Nakibinge Kakungulu enfunda zonna abadde ayimirira ne Lukwago mu kusoomooza kwonna.
MULYANYAMA EKYA LUKWAGO AKIKONGOSEEKO
Ensonda zitegeezezza nti oluvanyuma lw’okusoma pulaani ya Bobi, Ali Kasirye Mulyanyama mmeeya wa Makindye yawanise nga kati ayagala ekibiina kimuwe kkaadi avuganye Allan Ssewanyana ku kifo ky’omubaka wa Makindye West, wabula abamanyi eby’omunda batubuulidde nti abakulu kkaadi bwe batagiddiza Ssewanyana bagenda kugiwa Zaharah Luyirika sipiika wa KCCA nga Mulyanyama alina kuddayo ku bwammeeya bwe.
MUFUMBIRO BAMULAGIDDE AGENDE YEESIMBE E BUSOGA
Ensonda zitubuulidde nti Bobi Wine asazizzaamu pulaani gyeyabadde nayo okuleeta mukwano gwe Alex Waiswa Mufumbiro okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Nakawa East adde mu kifo kya Ronald Balimwezo gwebabadde basindika ku kifo kya Loodi mmeeya, Bobi Wine bamubuulidde nti kigenda kulabika bubi okuleeta Mufumbiro ne Rubongoya okuvuganya mu Kampala abalonzi gye batwala ng’ekibuga kya Buganda nga bamusabye Mufumbiro addeyo ewaabwe e Busoga gy’abeera yeesimba ate Rubongoya asigale ku kifo ky’omubaka wa Kampala Central nga kyebalina okukola kwekusaba Lukwago amuwagire.
Ensonda zongeddeko nti ebigambo by’obusagwa Mufumbiro byeyayogera ku mugenzi Ssegirinya ne Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga kigenda kumubeerera kizibu okuwangula akalulu mu Buganda.
LUKWAGO ASONZE KU BASAJJA BE BOBI B’ALINA OKUWAGIRA MU 2026
Ensonda zitubuulidde nti mu nteeseganya ze bagendamu, Lukwago asuubirwa okulwana enyo okumatiza Bobi Wine awagire basajjabe okuli Ibrahim Ssemujju Nganda omubaka wa Kira Municipality ng’ono NUP ebadde yalangirira dda nga bwegenda okumusimbako munnamateeka George Musisi, wabula agava e Kira galaga nti abalonzi baamugaanye nga bamusabye asigale ng’akubaganya ebirowoozo ku bimeeza bya TV, Leediyo n’okulwanirira eddembe ly’abavuganya Museveni ng’abawoleza mu kkooti nga bwe yeeyongera okuyigira ku Ssemujju ku ngeri palamenti bwetambuzibwamu.
Lukwago era asuubirwa okusimba nakakongo okulaba nga Bobi Wine awagira musajjawe Harold Kaija ku kifo ky’omubaka wa Nansana Municipality ekirimu Wakayima Musoke. Abalala ababadde balwanira kkaadi ya NUP ku kifo kya Nansana Municipality kuliko John Bosco Sserunkuma ne Zambali Bulasio Mukasa munnamawulire wa NBS.
Aba NUP abasinga Zambali tebamwesiga nga bamulaba nga mbega ayinza okukola Bashir Kazibwe byeyabakola engeri bwekiri nti ku NBS kwakolera abakozi balina enkolagana y’amaanyi nyo n’abanene mu gavumenti ya pulezidenti Museveni.
LWAKI BOBI ALINA OKWANGUYIRA LUKWAGO
Ensonda zitubuulidde nti Bobi Wine okumatiza Lukwago okumwegattako kigenda kumunyweza mu kitundu kya Buganda mwasinga amaanyi naddala mu kiseera kino ng’alina okusomoozebwa oluvanyuma lw’okwawukana obubi enyo ne Mpuuga eyali omumyukawe mu Buganda.
Mpuuga yalangirira dda nga DA bwegenda okusimbawo abantu ku bifo byonna ebirondebwamu mu kalulu ka 202.6 Ensonda zitubuulidde nti abantu bano baasuubirwa okubasimbirawo mu kibiina kya People’s Democratic Party(PDP) ekikulemberwa mukwano gwe Dr Abed Bwanika oba okukola omukago ne PFF ya Lukwago.
Mpuuga asuubira okusimbawo Henry Lubowa e Nansana Municipality ku kifo ky’omubaka wa palamenti, Samuel Lubega Mukaku amutwala Lubaga South, Mike Mabikke amutwala Makindye East ate Moses Kasibante amutwala Lubaga North.
Ensonda zongeddeko nti Bobi ng’enteeseganya ne Lukwago tezinatandika, basajja ba PFF okuli Ssemujju babadde boogerezeganya ne Mpuuga nga bakakasa nti basobola okukozesa emirandira gy’Obwakabaka bwa Buganda okuviira ddala ku mwami wa Kabaka ow’ekyalo okubawagira nga kino kyangu okutuukiriza engeri gyebalina enkolagana ey’amaanyi ne Mayiga.
Ensonda mu securite zirumiriza nti emirandira gy’Obwakabaka bwa Buganda mu kalulu ka 2021 gyayamba nyo Bobi Wine okuwangula Buganda nga Mpuuga ne Ssemujju wano we baagala okuyita nga bakyalowooza n’okusimbawo omuntu ku bwapulezidenti.
EKIBALO KYA MPUUGA EKY’OBWAPULEZIDENTI
Ensonda zitubuulidde nti Mpuuga okulangirira nga bwagenda okwesimbawo ku bwapulezidenti ayagala kusooka kukakasiza ddala nti abaamusuubiza ssente bagenda kuzimuwa okusobola okutambuza obulungi akalulu nga bwebatazimuwa agenda kuddayo e Nyendo-Mukungwe yeesimbewo ku kifo ky’omubaka wa palamenti.
Bweyeesimbawo ku bwapulezidenti ensonda mu DA zitubuulidde nti babeera bagenda kusimbawo Owek. Jude Muleke Pokino atwala essaza lya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ery’e Buddu nga ye Bobi Wine akyanoonya omuntu omutuufu agenda okugoba Mpuuga mu byobufuzi nga kati eriiso erisinga alitunuulizza munnamateeka Samuel Muyizzi mutabani w’eyaliko Pokino w’e Buddu.
LUKWAGO YAGUZA EKIBALO KYA BESIGYE EWA BOBI WINE
Ensonda zitubuulidde nti Bobi okukolagana ne Lukwago kigenda kumuyamba okuwamba emitima gy’abalonzi b’e Rukungiri, Kabale, Ankole ebiseera byonna ababadde bawagira Dr Besigye okuva bweyalangirira nga bwayagala entebe y’Obwapulezidenti.
Abatunuulizi b’ebyobufuzi batubuulidde nti mu kalulu ka 2026, Mpuuga ne banne basuubirwa obutakola bulungi olw’ezzambi eryabateekebwako olwokukkiriza okulya obukadde 500 gavumenti ya pulezidenti Museveni byeyawa Mpuuga ng’akasiimo olwokukulembera obulungi oludda oluvuganya wabula bonna bakkiriza nti mu bululu obuddako Mpuuga agenda kubeera nsonga nkulu okusalawo awangula obululu naddala mu Buganda kubanga abantu abava wabweru wa Buganda bamulabira ddala nga agwanidde okukulembera Uganda okusinga Bobi Wine.


