AHMED KATEREGGA MUSAAZI RDC w’e Butambala akakasizza ONO BWINO nti akalulu ka 2026 tekagenda kubeera ka muzannyo ng’abavubuka ba National Unity Platform (NUP) n’abalala abavuganya gavumenti ya pulezidenti Museveni nti babeetegekedde okufaafaagana nabo mu ngeri yonna.
NE NRM NAYO EZIMBYE EGGAALI NG’EZA NUP
Mu mboozi ey’akafubo ku ssimu, Kateregga nga munnamawulire omutendeke amaze emyaka ng’asaka amawulire g’ebyobufuzi, atubuulidde nti pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bweyalangirira nga bw’atandise okukola eggaali nga bino by’ebibinja by’abavubuka nti bimuyambeko n’ekibiina kye mu kalulu ka 2026, nabo baatandikirawo okuzimba eggaali zaabwe okubayambako mu kalulu ke kamu nga tebaagala nsobi ezaakolebwa mu kalulu ka 2021 ne zibaviirako okuwangulwa mu Buganda okuddamu.
Kateregga atubuulidde nti eggaali zaabwe zigenda kubeera n’obutendeke obumala okulemesa abavubuka ba NUP okulemesa abantu baabwe okwetaba obulungi mu kalulu nga balina okukalondoola n’okukakuuma mu ngeri yonna.
Kateregga akulira securite mu disitulikiti y’e Butambala agenze okwogera bino, nga ne minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda atukakasizza nti essaawa yonna ayanjula eggaali z’abavubuka ezigenda okumuyambako okunyweza obuwanguzi bwe mu Kampala Central mwagenda okwesimba ku kifo ky’omubaka wa palamenti.
Minisita anyonyodde nti abavubuka bano baakumuyambako ku bavubuka ba ssaabawandiisi wa NUP David Lewis Rubongoya gwasuubira okuvuganya naye abaatandika edda okumwewerera nga bakolera ku biragiro bya pulezidenti waabwe Bobi Wine.
Bobi yalagira abakulembeze ba NUP okwetoloola eggwanga okukola eggaali ezigenda okunyweza securite y’abagenda okwesimbawo ku tiketi y’ekibiina kyabwe n’okukuuma obululu bwabwe n’okunyweza obuwanguzi nga bwe baakola mu kujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North NRM n’eremererwa okubatwalako obuwanguzi bw’omuntu waabwe Looya Erias Nalukoola Luyimbaazi.
Wabula ono Kateregga amulabudde nti ng’oggyeeko abavubuka abali mu kutendekebwa okuyambako mu kalulu, ebitongole by’ebyokwerinda okuli poliisi, amagye, ekitongole ekikuuma ebisolo by’omu nsiko n’ekitongole ky’amakomera bawandiisizza abasirikale abamala ng’omulimu gwabwe kuyambako kunyweza mirembe mu kaseera k’akalulu.
M7 MU FFUJJO MULALAMU
Ono awaze nti Bobi Wine ne banne balina okukimanya nti Museveni ne NRM be bakabaka b’effujjo nga bwe basalawo okulikola mu Uganda n’amawanga agaliranyewo tewali abasobola.
Andrew Mwenda ayogerera ekisinde kya Patriotic League of Uganda (PLU) ategeezezza nti Museveni yasoma nyo Bannayuganda nga bw’abeera ayagala beetabe mu kalulu afuba okulaba nti kabeeramu effujjo nga kino kibanyiiza olwo ne bakayingiramu nga bajjudde obusungu nga teyeewunya kulaba nga mu kiseera kino effujjo lingi mu kalulu ketugendamu.
Omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda owa Kira Municipality asabye bannayuganda okukola ebiraamo ng’alumiriza nti akalulu ka 2026, bannayuganda bangi naddala abali ku ludda oluvuganya bayinza okukafiiramu.
LWAKI MUHOOZI MUKAMBWE KU EDDIE MUTWE
Wiiki ewedde omuduumizi wa UPDF era omuwabuzi wa pulezidenti Museveni ku bikwekweto ebyenkizo, Gen. Muhoozi Kainerugaba yafulumizza ekifaananyi kya Edward Ssebuufu (Eddy Mutwe) akulira securite ya Bobi Wine oluvanyuma lw’okumala ennaku 7 okuva bweyawambibwa mu disitulikiti y’e Wakiso.
Muhoozi yawaze nti Mutwe ng’omuduumizi w’aba foot soldiers, yamukwata ng’enseenene nga yeewunyizza omujaasi omutendeke okubeera ng’okuva bweyakwatibwa abeera mu maziga n’okufukaafuka buli kiseera n’akakasa nti amukuumira wansi mu bbeesimenti ye nga bw’amusomesa olulimi Olunyankole era agenda aluyiga nga buli ku makya nga tanatandika kulumusomesa asooka kumulagira kukubira kifaananyi kya kitaawe Museveni ssaluti nti kimunyumira nyo okukola.
Mu kifaananyi, Mutwe yalabise ng’atidde nyo nga bamusazeeko enviiri n’ebirevu, Muhoozi yategeezezza nti ekifaananyi kyamukubiddwa ng’afuka ekintu ekyasanyudde enyo minisita w’abaana n’abavubuka Balaam Bagaruhare n’amutendereza okubeera omusomesa w’Olunyankole asinga mu nsi yonna era agende mu maaso n’okusomesa abantu nga Mutwe nga ne bw’anaakwata Bobi Wine amukole kyekimu.
Wabula ku Mmande, Mutwe yaleeteddwa mu kkooti e Masaka wakati mu bukuumi obutagambika nga yenna yabadde awenyera ne bamusomera omusango gw’obubbi n’atwalibwa mu kkomera.
MBU MUHOOZI AGENDA KUKWATA BOBI
Muhoozi yaweze nti essaawa yonna ne Bobi Wine agenda kumukwata nga waakumujja mu maka ge e Magere, nga wano we yamubuulizza oba ddala akyayagala basisinkane bakubagane ebikonde nga bweyamusaba gyebuvuddeko.
Muhoozi yategeezezza nga bwagenda okulaawa Mutwe ne yejjusa ensonga lwaki Barbie Itungo Kyagulanyi omukyala Omunyankole yakola ensobi okufumbirwa omuntu nga Bobi Wine atalina magezi gwagenda okukwata amukubeekube.
Munnamateeka Kassim Male Mabirizi asabye Bobi Wine ne banne okubeera abeegendereza eri ebigambo bya Muhoozi n’annyonyola nti agezaako okubacookooza basobole okumuddamu olwo alyoke asibe Abaganda n’okubatta ng’alumiriza nti babadde balwanyisa gavumenti era akakodyo ako omugenzi Milton Obote keyatega Ssekabaka Sir Edward Mutesa eyali pulezidenti wa Uganda mu 1966, Abaganda bangi ne battibwa n’abalala ne baddukira mu buwang’anguse.
BASAJJA BA BOBI ABASINGA BABAKUTTE
Bino webituukiddewo nga ttiimu y’abakuumi ba Bobi esinga ekwatiddwa nga kuno kuliko Bobi Young, Smart Wakabi, Achilleo Kiwanuka Kivumbi nga baggulwako emisango gy’okubba essimu ya munnamawulire wa NBS Namusaazi ey’emitwalo 73 n’essweeta y’okwambala eya kiragala.
ATEGEERA EBYA SECULITE ANNYONNYODDE
Charlse Rwomushana omutunuulizi w’ebyobufuzi ne securite atubuulidde nti Muhoozi okukwata Mutwe ne banne akikozesa bukugu kubanga akimanyi nti waliwo akabinja k’abatujju Abazungu kebazimba mu mawanga ga East Africa ng’ekigendererwa kyabwe kyakutabangula mirembe mu mawanga ago nga mu Uganda bakozesa NUP.
Ono anyonyodde nti bano okubakwata agezaako kugezesa maanyi g’akabinja ako n’alabula nti n’abalala bangi bakyakwatibwa nga ne Muhoozi ategeezezza nti abavubuka ba foot soldiers bwe batawanika agenda kubanonya yonna gye beekwese abakwate abasibe.
BIRIMU OKUTWALA MUHOOZI NE KITAAWE MU KKOOTI Y’ENSI YONNA
Wabula ensonda mu securite zitubuulidde nti Muhoozi alina obusungu ku Mutwe nga yamufunako amawulire g’ekikessi nti akalulu ka 2021 nga kawedde yanoonya abavubuka mu byalo n’abatwala e Kenya ku biragiro bya Bobi Wine nga bano mu kiseera kino batwalibwa mu mawanga g’Abazungu ng’omulimu gwe babategekedde kuwa bujulizi ku Muhoozi ne Museveni mu kkooti y’ensi yonna singa gavumenti yaabwe eneebera evudde mu buyinza.
Bobi Wine yatwala dda okwemulugunya kwe mu kkooti y’ensi yonna ng’asaba enoonyereze ku Muhoozi ne kitaawe Museveni okutyoboola eddembe ly’obuntu mu Uganda nga Rubongoya atubuulidde nti byonna Muhoozi by’akola mu kiseera kino byakukola ng’obujulizi mu kkooti ng’ekiseera ekituufu kituuse.
ABA NRM BATABUSE KU BIKOLWA BYA MUHOOZI
Isaac Kayonde kakuyege wa NRM mu disitulikiti y’e Gomba n’ekitundu kya Buganda okutwaliza ewamu atubuulidde nti ebikolwa bya Muhoozi bigenda kubakosa nyo mu kalulu ka 2026 kubanga bireeta obusungu mu bantu n’okwongera okukyawa enyo NRM.
Ono ategeezezza nti babadde bagezaako okukomyawo emitima gy’abalonzi naddala mu Buganda okuddamu okuwagira Museveni nga naye musajja wattu atambula eggwanga lyonna n’atuuka ne ku muntu asembayo wansi ng’amusaba okumulonda naye ekintu omwana ye ayonoona kyonoone.
Ono yeewunyizza Muhoozi okubeera nga yeeyisa mu nneeyisa gye yeeyisaamu nga byakola akimanyi nti biyinza okukozesebwa ng’obujulizi mu maaso ate nga kitaawe yalwana nyo okumusomesa mu masomero agasingayo obulungi mu nsi yonna n’amutwala ne mu bantu ab’amaanyi nga pulezidenti Paul Kagame owa Rwanda, Uhuru Kinyatta eyali pulezidenti wa Kenya naye n’asigala nga yeeyisa ng’ekyeneena.
Ono yasanyukidde nyo omulamuzi Mariam Wangadya akulira akakiiko k’eddembe ly’obuntu ka Uganda Human Rights Commission (UHRC) olwokuyisa ekiragiro eri Muhoozi okuyimbula Mutwe mu bwangu ddala n’asaba naabo bonna abali ku lusegere lwa Muhoozi okumugambako naye byakola bimuswaza kubanga takyali mwana muto nga bw’alowooza musajja mukulu agenda okuweza emyaka 60.
Ono awagiddwa munnamateeka Nicholas Opio ategeezezza nti Muhoozi okukwata n’okutulugunya Mutwe talowooza nti kigenda kumumenya n’anyonyola nti mu 2018, yakulemberamu balooya abaagenda e Gulu okununula Mutwe ku misango gy’okulya mu nsi olukwe nga bakibateekako nti baakuba emmotoka ya Museveni amayinja mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Arua Municipality oluvanyuma lw’okufa kw’omubaka Ibrahim Mustaffa Abiriga nga yamusanga musajja mugumu wadde nga yali atulugunyiziddwa byansusso.
Opio ategeezezza nti Mutwe yamutegeeza nti abamukutte n’okumutulugunya batiitiizi nyo nga tebagenda kumuggya ku mulamwa gw’okununula Bannayuganda abatya Museveni ne Muhoozi ng’okuva olwo enfunda nyingi azze asibwa ng’akakasa nti ku mulundi guno agumye.
ABAPOLIISI NABO BAGAANYE EBIRAGIRO BYA MUHOOZI
Munnamawulire eyawummula John Kakande ategeezezza nti wadde Gen Muhoozi yalangirira dda nga okubeera omuduumizi wa poliisi bwekitegeeza nti yaaduumira ne poliisi nga ssaabaduumizi wa poliisi alina okubeera wansi we nga atwala n’ebiragiro bye wabula kirabika kigaanye okukola nga y’ensonga lwaki waabaddewo olutalo olwamanyi wakati wa bakomando ba SFC n’abapoliisi ku poliisi y’e Lubowa ku luguudo lw’Entebbe.
Atwala poliisi y’Entebbe ASP Sunday yakubiddwa bubi nyo bweyagaanye okutwala ebiragiro ebyabadde bimuweebwa bakomando ba SFC okusiba abasajja be baabadde bakubye obubi enyo nga bonna batonnya musaayi nga yabadde ayagala okusooka okunyonyolwa lwaki asiba abantu abo.
OBUNKENKE BW’AMAANYI MU POLIISI, BULI OMU ATYA
Ensonda mu poliisi zitubuulidde nti okwegendereza kw’amaanyi mu bofiisa ba poliisi nga batya okuteekebwako nnatti nga bannaabwe okuli eyali ssaabaduumizi wa poliisi Gen Edward Kale Kayihura ne AIGP Frank Mwesigwa kati aduumira ebikwekweto mu poliisi nga tebakyakkirizibwa kulinnya bigere byabwe mu America oba mu mawanga g’omukago gwa Bulaaya ne Bungereza lwakutyobola ddembe lya buntu.
Kituma Rusooke ayogerera poliisi n’okutuusa kati akyawakanira poliisi nti teyabadde na mukono mu kukwata Mutwe ekintu kyekimu Maj Jimmy Omara ayogerera SFC wadde nga komanda we Gen Muhoozi akakasa nti ye yamukutte.
‘M7 TUTAASE OGAMBE KU MUTABANI WO MUHOOZI’
Maj Gen Mugisha Muntu eyaduumirako UPDF nga y’akulira ekibiina ky’ebyobufuzi ki ANT asabye Museveni mu bwangu abeeko ky’akola ku Gen Muhoozi okutaasa embeera n’okusanyawo ebyabatwala mu nsiko mu 1980.
Obunkenke obuteereddwawo olwakalulu ka 2026, minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga mugavumenti ya Donald Trump mu America yafulumizza ekiwandiiko ng’erabula bannansi baayo okwewala okujja mu Uganda bwe babeera bakyayagala obulamu bwabwe.
BAABANO BAGENERO NE BAMBEGA M7 B’AZZE AKOZESA N’ABASUULA NG’AWANGUDDE AKALULU
Muhammad Muwanga Kivumbi omubaka wa Butambala mu palamenti ategeezezza nti byonna Muhoozi by’akola si bipya kubanga ebbanga lyonna Museveni abadde aliko abanene baakozesa okulwanyisa abamuvuganya nga babatuusaako obuvune n’okubatta kati ekyenjawulo ekiriwo nti akozesezza mwana we yenyini ekitegeeza nti bamutuusizza ku kisenge nga takyalina muntu mulala gwe yeesiga.
SEJUSA BAAMUKOZESA KATI ASIIBA MU BUNYONYI
Ono ategeezezza nti Museveni yakozesa Gen David Ssejusa okulwana bannabyabufuzi abava mu Acholi ne Lango mu kiseera ky’olutalo lwa ssaabayeekera Joseph Kony nga abalumiriza nti bamuwagira okujjako gavumenti ye.
Gen Sejusa yakwata eyali minisita Omara Atubo n’amwambula mu maaso g’abantu n’asigala bukunya n’amulagira okwevulunga mu bisooto ne bannabyabufuzi abalala, olwamala n’amulagira okubuuka ng’embaata n’alagira abajaasi abawansi okumukuba kibooka nga bino byonna byaliwo nga ye bwaseka ng’eno asenya amannyo ge oluvanyuma lwokulya ennyama y’embuzi. Wabula kati Sejusa ebiseera ebisinga abimala ku ffaamu ye mu kyalo nga yeetegereza bunyonyi ng’ebyokulwana Museveni alinga eyabivaako.
Ensonda zitubuulidde nti embeera bwetyo ne ssaabalamuzi aliko Owiny Dollo yagiyitamu nga Museveni neb anne balowooza nti awagira Konny olwokuba yali looya we.
Munnamawulire Peter Kibazo ategeezezza nti ekyennaku kati Ssejusa alinga ali mu busibe nga lumu yamuyita okugenda balye ku nnyama y’embuzi enjokye wabula yeewunya abasirikale abaamuteekebwako okumukuuma okumulemesa okuyingira nga n’omukulu alaba wabula ng’abatya okubagambako.
Omugenzi Brig Gen Noble Mayombo, omubaka Ssemujju alumiriza nti Museveni gweyakozesa okukola effujjo ku Dr Kizza Besigye nga yaakalangirira nga bw’agenda okwesimba ku Museveni ng’ebikolwa byeyamukolako byaleetera ne mutowe Joseph Musaasizi Kifefe okufa.
Gen Kayihura naye baamukozesa okutulugunya aba Opozisoni, Museveni yamusasulamu kumusiba mu kkomera nga kati baamuteekako ne nnati takyasobola kugenda mu mawanga agamu ng’essaawa yonna basobola n’okumuggulako emisango mu kkooti y’ensi yonna.
Abalala kuliko Abdallah Kitatta eyali akulira bodaboda 2010 eyakola effujjo ku bawagizi ba Besigye gye byaggwera nga bamusibye mu kkomera ku misango eminene.
GILBERT AINAITWE BWANA Yaakasimattuka ekkomera ku misango gy’okukwata omukazi n’eryanyi ng’ono yakola effujjo ku Besigye bweyamufuuyira kaamulali mu maaso ge e Mulago.
MAJ KAKOOZA MUTALE OMUJJUKIRA?
Yakola effujjo ku mugenzi Paul Kawanga Ssemogerere ne Dr Besigye ng’akuba abawagizi baabwe kibooko naye kati ebirwadde bimulumira mu kyalo e Nakaseke.
Abalala kuliko Col Frank Bagyenda Kaka, Maj Gen Abel Kandiho n’abalala bangi abali mu mbeera etiisa.


