ABAKADDE abatuula ku lukiiko lwa NRM olw’okuntikko olwa Central Executive Committee (CEC), baluse olukwe oluwanvu okulemesa abavubuka b’ekisinde ky’ebyobufuzi ki Patriotic League of Uganda (PLU) ekikulemberwa omuduumizi wa UPDF era omuwabuzi wa pulezidenti Museveni ku bikwekweto eby’enkizo Gen Muhoozi Kainerugaba okubagoba mu kintu mu 2026.
Gen Muhoozi yalagira dda basajjabe abeegwanyiza ebifo ebyenjawulo mu kalulu ka 2026 okweteekateeka n’abakakasa nga bwagenda okubawa obuwagizi bwonna obwetaagisa okubayamba okuwangula wabula nga balina kwesimbirawo mu NRM n’abateekako n’obukwakkulizo omuli obutagezaako kuwagira abo bonna abeegeza mu ntebe ya taata we pulezidenti Museveni.
Ensonda zitubuulide nti okuva Muhoozi bweyawa ekirangiriro kino, abakulembeze ba PLU batandikirawo okusala entotto ku ngeri gye bagenda okutwalamu obukulembeze bwa NRM okusobola okutegekera omuntu waabwe obulungi gavumenti gye bagamba nti gy’agenda okusikira nga kitaawe awummudde.
ABA PLU AMAANYI BAGATADDE KU CEC YA NRM
Amaanyi okusinga bagatadde ku bifo ebisalawo mu kibiina nga CEC n’obwassentebe bwa NRM ku disitulikiti, ebibuga n’obubaka bwa palamenti.
Ensonda zitegeezezza nti abavubuka ba PLU balina obusungu ku banene abatuula ku CEC mu kiseera kino be balumiriza okubeera nga tebaagaliza muntu waabwe kusikira kitaawe nga y’ensonga lwaki balina okubalwanyisa babagobeko basobole okumuteekerateekera obulungi.
Bano basindise basajja baabwe okuli minisita Haruna Kasolo nga ye mukwanaganya wa PLU mu ttundutundu ly’e Masaka – ono bamuleese avuganye ku kifo ky’omumyuka wa ssentebbe wa NRM atwala Buganda ekifo ekirimu Ssalongo Godfrey Kiwanda Ssuubi.
Minisita Chris Baryomunsi atwala ekitundu kya Western Uganda ekirimu Ankole bamuleeseeko mukwano gwa Muhoozi era omubaka wa Igara East Micheal Maranga Mawanda nga mu kusooka baali baleese minisita w’abavubuka n’abaana Balaam Bagaruhare omumyuka wa Muhoozi atwala ekitundu kya Western Uganda wabula ono Museveni n’amuwabula obutageza kwesimba ku musajjawe Baryomunsi amaanyi agateeke mu kunonyeza NRM obuwagizi okwetolola eggwanga.
TAYEBWA YEEGWANYIZA EKYA BARYOMUNSI
Wadde Mawanda yalangirira dda nga bwagenda okuvuganya Baryomunsi, ensonda zirumiriza nti n’omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa ekifo ekyo akyegwanyiza nga kwotadde ne ssaabaminisita Robinnah Nabanja wabula bakyabala mbeera.
MU K’LA KITOKOTA KU UHURU W’OMUCEERE NE MUTABANI WA BABU
Mu Kampala ensonda zitubuulidde nti Muhoozi ayagala mukwano gwe Cedric Babu mutabani w’eyali minisita Edward Francis Babu yaabeera avuganya Singh Katongole akirimu kati wadde nga ne mmeeya wa Kampala Central, era omufumbi w’omuceere gwa Pilaawo Salim Uhuru yeegwanyiza okukulira NRM mu Kampala.
Mariam Naigaga omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Namutumba mu Busoga, PLU gwereese okuvuganya Capt Mike Mukulu ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM Eastern Region. Mukula mu kiseera kino asattira ng’atandise okuyigga ssente mu mikwano gye mu mawanga g’ebweru okulwana akawala akaagala okumusuuza ogufo.
OBUKODYO BAMUZEEYI BWE BALEESE OKUSIGALA MU KINTU
Kiwanda atubuulidde nti okulangirira okwesimbawo ku kakiiko ka CEC ya NRM, kyangu wabula walina okubaawo emitendera egirina okuyitibwamu okusobola okuvuganya obutereevu nga oli tava eri ne bamukkiriza, waliwo n’akakiiko akasooka okukusunsulamu.
Ensonda zitubuulidde nti akakodyo k’akakiiko okusunsula abagenda okwesimba ku bifo kya CEC, ke kamu bannamukadde ke baleese okulemesa abavubuka okubeesimbako mu 2026 nga banno basuubirwa okuwagirwa enyo Museveni.
Ensonda zitegeezezza nti Museveni okugaana Balaam okwesimba ku Baryomunsi, yalina kyamutaasa ng’akimanyi nti abavubuka abasinga Muhoozi baaleeta mu CEC tagenda kubakkiriza era yaboogerako dda nga banakigwanyizi abeenonyeza ebyabwe mutabani we bamwagalako ssente.
Museveni kenyini yalemesaako mukodomiwe Odrek Rwabwogo okwesimba ku mumyukawe asooka mu ggwanga lyonna Al-Hajji Moses Kigongo wabula ate n’akkiriza minisita omubeezi ow’ebyettaka Persis Namuganza okwesimba kweyali sipiika wa palamenti Rebecca Alitwala Kadaga ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM asooka akiikirira abakyala ku CEC.
Museveni era yakkiriza Baryomunsi okwesimba ku Brig Gen Matayo Kyaligonza ku kifo ky’omumyuka wa NRM Western Uganda era n’awangula nga kati Kyaligonza yasigaza bwambasada bwa Uganda e Burundi ku CEC baamugobako, ye Kadaga yasimattuka wabula ku mulundi guno tekimanyiddwa oba anaawona sipiika Among eyalangirira edda nga bwagenda okumuvuganya.
BABU AGOBYE EBYA MUSEVENI OKUMULEMESA OKUVUGANYA KIGONGO EYAMUSIGULIRA OMUKAZI
Okumanya obunkenke bw’amaanyi ddala ku CEC, Mzee Babu ategeezezza nti ku mulundi guno tagenda kukkiriza Museveni ssentebe wa NRM okumulemesa okuvuganya Al-Hajji Kigongo nga bweyamukola mu 2020.
Ono agamba nti NRM kibiina kya demokulasiya buli alina obusobozi nga ye bamukkirize avuganya ku kifo kyonna kyayagala nga kino kyekigenda okwongera okukuza ekibiina n’okunyweza obwagazi bwakyo mu bantu.
Babu alina akakuku k’amaanyi ku Moses Kigongo nga balumiriza nti kaatandikira ku bigambibwa nti yamusigulira mukyalawe nalulungi Olivie Kigongo eyamuzaalira abaana okuli ne Cedric Babu n’omuwala akola mu kampuni emu ey’amasimu.
Al-Hajji Kigongo oluvanyuma yayawukanya ne Olive nga bino okubaawo nga Mzee Babu yawasa dda Magrete Nantongo Zziwa eyaliko sipiika wa palamenti egatta amawanga g’omukago gwa East Africa.
KIWANDA ALEESE JJAJJAWE OKUMUTAASA KU KASOLO
Jjajja Yusuf Walusimbi Mbirozankya omukulu w’ekika ky’effumbe omuva Kiwanda atandise okutalaaga ekitundu kya Buganda ng’akubiriza abazzukulu bannabyabufuzi aba NRM okulonda munnaabwe Kiwanda mu kamyufu ka NRM akajja.
Ono yatandikidde Singo era abazzukulu yabasisikanye mu maka ga Kiwanda agasangibwa e Mityana North era gyagenda okwesimba ku kifo ky’obubaka bwa palamenti n’asaba abaayo okumulabiranga ddala nga balina okulonda abantu abalina emirandira egimanyiddwa mu Buganda nga ne bwe bakola ensobi balina gyebasobola okubaloopa.
Ono yanyonyodde nti okusaba Abaganda okulonda Baganda bannaabwe teyakikoze mu ngeri ya kusoosola mu mawanga wabula okunyweza Obuganda n’asaba Kiwanda obutabeera nakutya kwonna olw’ebigambo byeyakozesezza.
Akamyufu ka NRM ensonda ku kitebe ky’ekibiina e Kyadondo zitegeezezza nti kasuubirwa okutandika mu July w’omwaka guno, olukung’aana lwa Ttabamiruka lwakutuuzibwa mu kisaawe e Namboole nga wano webagenda okulondera abagenda okutuula ku lukiiko lwa CEC.


