Olutalo Lw’okulya Mu Uganda Empya: Baabano Abanene Abeekuba Enkokola Basigale Mu Kintu Kya Muzeeyi…

NORBERT MAO minisita wa ssemateeka n’essiga eddamuzi, era ssenkaggale wa DP akakasizza ONO BWINO nga baminisita n’abanene bangi mu gavumenti ya pulezidenti Museveni balwana okufiirawo okulaba ng’endagano kwe baateeka emikono mu 2023 okukolera ewamu nga asazibwamu olwokuba batya nti bwasigala mu gavumenti agenda kubatwalako ebifo byabwe ebisava.

Sengooba Alirabaki
7 Min Read
Norbert Mao, Mathisa Mpuuga, Rebecca Kadaga and Anita Among
NORBERT MAO minisita wa ssemateeka n’essiga eddamuzi, era ssenkaggale wa DP akakasizza ONO BWINO nga baminisita n’abanene bangi mu gavumenti ya pulezidenti Museveni balwana okufiirawo okulaba ng’endagano kwe baateeka emikono mu 2023 okukolera ewamu nga asazibwamu olwokuba batya nti bwasigala mu gavumenti agenda kubatwalako ebifo byabwe ebisava.
Ensonda zitegeezezza nti Mao akazito kano ke kaamuleetedde okutwala bannakibiina kya DP okusisinkana Gen Salim Saleh muganda wa Museveni era omuwabuzi we ow’oku ntikko okumulaga nti akyali mugonvu eri obukulembeze bwabwe era mwetegefu okusigala ng’akolera wansi waabwe.

EKIBALO KYA MAO

Ensonda zitubuulidde nti Mao abala mu kisanja ekiddako singa Museveni abeera awangudde akalulu, ayinza okumuwa obumyuka bwa pulezidenti muk iseera kino ekirimu Jessica Alupo, obwassaabaminisita ekirimu Robinnah Nabanja oba ekyasipiika wa palamenti ekirimu Annet Anita Among wabula kino okukirya alina kusalawo obutavuganya ku bwapulezidenti avuganya ku kifo ky’obubaka bwa palamenti mu kalulu ka 2026 ekintu abamuli ku lusegere kyebagamba nti kisobokera ddala.
Among yatandika dda okwekengera Mao ng’ensonda zitubuulidde nti enfunda nyingi amusisinkanye n’amusaba obutamulyamu lukwe nti omuntu gwatwala nga mwanyina kigenda kumuluma nyo okulaba nga gwe bakozesezza okumulwanyisa n’okumugoba ku bwasipiika.

MAO EBITAALA BYAMUTA

Okuva Mao bweyayingira gavumenti, embeera y’obulamu ekyuse, yatuuka n’okuwasa omukyala omupya Beatrice Kayanja gweyasigula ku musajja nkubakyeyo e Bungereza gweyasooka okuzaalamu abaana, kyokka bwe yali tannagenda wa Museveni, ng’asiiba ku kitebe kya DP mu Kampala ne ku Balintuma e Mengo ng’ayayuuya. Abamuli ku lusegere batubuulidde nti Mao takyasobola bulamu bwakubonabona nga ali wabweru wa gavumenti ng’alina okulwana enyo okulaba nga asigala mu kintu.
Mao alina endowooza nti bwasigaala munda mu gavumenti kiyinza n’okumuyamba n’atuukiriza ekirooto kye okubeerako pulezidenti wa Uganda nga bweyasuubiza banne nga bakyali e Makerere gya yabeerako omukulembeze w’abayizi, era kino yakisuubiza ne mukazi we Kayanja nti agenda kumufuulako First Lady wa Uganda.
Ensonda zitegeezezza nti pulaani y’okugoba Among ku bwasipiika yatandika dda, ababala olukwe luno bamatiza Museveni nti kibeera kyabuswavu nyo okubeera ne sipiika atasobola kugenda mu mawanga okuli Bungereza, America, Dubai n’amawanga g’omukago gwa Bulaaya olwokumuteekako nnatti nti ye n’omwamiwe Moses Magogo pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga ki FUFA era omubaka wa Budiope East benyigira mu bikolwa by’obuli bwenguzi n’okutyoboola eddembe ly’obuntu nga n’obugagga bwabwe bungi obuwerako bwaboyebwa.

OBOTH YEEPIKIRA KYA AMONG

Ensonda zirumiriza nti minisita w’ebyokwerinda Jacob Oboth Oboth naye alwana okulaba ng’atwala obwasipiika ekisanja ekijja nga balumiriza nti ekisnde kya Patriotic League of Uganda (PLU) wansi w’obukulembeze bwa Gen Muhoozi Kainerugaba be bamuli emabega,  bweyakulembeeramu okuyisa etteeka erizza abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye Muhoozi yamwogerako ng’omukulembeze alina ebisanyizo byonna ebimufuula pulezidenti wa Uganda.
Among okusobola okunyweza ekifo kye naye kati alwana okufulumya Rebecca Alitwala Kadaga ku lukiiko lwa NRM olw’okuntikko olwa Central Executive Committee (CEC) ng’alumiriza nti sipiika yaalina okuluutulako ng’omumyuka wa ssentebbe mu ggwanga lyonna akiikirira abakyala nga kino kyakumuyamba okukikozesa okulwana okusigala mu kifo kye.
Wabula kinajjukirwa nti wadde Kadaga yali atuula ku CEC, Museveni ne banne baamulemesa okuddamu okwesimbawo ku bwasipiika kkaadi ne bagikwasa omugenzi Jacob Oulanyah.
Bombi Among ne Kadaga baagendako ewa Gen Saleh, ensonda zirumiriza nti bonna ekyabatwalayo kwekulaba ng’abawandako eddusu okusigala mu gavumenti empya.

LWAKI ALUPO ALWANA AMONG AGOBWE KU BWASIPIIKA

Olutalo lw’amaanyi wakati wa Among ne Alupo ng’ensonda zirumiriza nti Alupo akimanyi nti Among bwasigala ku bwasipiika, Museveni ayinza okumugoba ku bumyuka bwa pulezidenti ekifo n’akiwa omuntu ava mu Buganda okusobola okukomyawo omukwano gwe n’Abaganda, okukiwa Mao ava mu Acholi nga tekisoboka bombi abavu mu Teso okusigala ng’omu ye sipiika ate omulala mumyuka wa pulezidenti.

NABANJA NAYE BAMUTWALAGANYA

Ensonda zitubuulidde nti okuva Museveni bwe yeetondedde Obuganda, Nabanja alina okutya nti ekifo kye essaawa yonna Museveni ayinza okukiteekamu ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka oba Gen Edward Katumba Wamala olwo ye basobola okumuwa obumyuka bwa pulezidenti singa Museveni asalawo okusigaza Among ku bwasipiika.
Abantu ba Nabanja batubuulidde nti kati alwana okulaba nga Matia Kasaija minisita w’ebyensimbi bamusuula mu gavumenti nga bwasigalamu Museveni abeera agenda kumulonda ku bifo by’omumyuka wa ssaabaminisita okusobola okusanyusa abantu b’e Bunyoro olwo ye bamusuule.

BARYOMUNSI ASATTIRA

Dr Chris Byaryomunsi asattira nti mu kabinenti empya bayinza okumusuula ekifo kye ne kitwalibwa Ofwono Opondo abadde akulira ekitongole kya Media Centre era omwogezi wa gavumenti eyalekulidde okuvuganya ku kifo ky’okukiikirira abakadde mu kitundu kya Eastern mu palamenti.
Abali ku lusegere lwa Opondo batubuulidde nti abala bwaminisita nga kino ne Museveni akifunamu kubanga abamanyi Opondo batya nti bwanaafuka omubaka wa palamenti ayinza okwegatta ku Theodora Ssekikubo omubaka w’e Lwemiyaga ne batandiika okusomooza gavumenti munda mu palamenti.

EBYA NAMUGANZA SSI BIRUNGI

Minisita Persis Namuganza ow’ebyettaka naye asattira n’okulwana okulaba nga Mariam Naigaga omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Namutumba nga takomawo mu palamenti ng’atya nti bayinza okumuwa obwaminisita ye ne bamusuula engeri bwekiri nti bombi bava mu disitulikiti yeemu.

ABA OPOZISONI ABALWANA OKUYINGIRA EKINTU

Ensonda zitugambye nti emu ku nsonga Gen Saleh ze bakkanyizzaako ne Mao kwekulaba nga mu gavumenti empya DP eyongera ku bantu abalya ebifo ebisava mu gavumenti ng’abamu ku basuubirwa okuganyulwa mu mbeera eno ye mumyuka wa pulezidenti wa DP mu ggwanga lyonna munnamateeka  Fred Mukasa Mbidde.

MPUUGA ALWANA

Ensonda zitegeezezza nti ne kamisona wa palamenti Mathias Mpuuga Nsamba naye alwana alye obwaminisita mu gavumenti eddako n’okulaba nga basajjabe nga Dr Abed Bwanika, Mike Mabikka, Samuel Lubega Mukaku nga balya obwa RDC n’ebifo ebirala mu gavumenti.
Omubaka Muhammad Nsereko eyalangirira edda nga bwatadda ku kifo ky’omubaka wa Kampala Central nti agenda kwesimbawo ku bwapulezidenti naye bamulumiriza nti abala kifo kya minisita, wadde ye alumiriza nti yatandiseewo n’ekisinde kye ekya Revolutionary Front.

ATE MAFABI ABALA KAKI?

Nathan Nandala Mafabi eyalangirira edda nga bwagenda okwesimbawo ku bwapulezidenti mu 2026 ku kiteki ya FDC naye abala bwaminisita oba okumusemba okugenda okukola mu bitongole by’ensi yonna ebyobufuzi bya Uganda abyesonyiwe.
Abdul Katuntu omubaka wa Bugweri mugandawe Abdul Waiswa bweyafa yalangirira nga bwasazizzaamu okuwumula ebyobufuzi nga waakubisigalamu okutuusa nga abaana abato mugandawe beyamulekera nga bakuze ng’ono asuubirwa okulya ekifo kya ssaabawolereza wa gavumenti oba minisita w’ensonga za ssemateeka.
Share This Article