OMUBAKA Fox Odoi akulira akakiiko ka palamenti ak’eddembe ly’obuntu ategeezezza nti bakkaanyizza ab’amakomera okukkiriza Besigye okumuleetera emmere okuva wabweru w’ekkomera oluvanyuma lw’okugaana okulya efumbirwayo.
Bakkanyizza ku bantu 3 ab’omunda mu famire ya Besigye be yeerondedde, ensonga zitubuulidde nti beyalonze aludde nabo ebbanga ddene era bakkanyizza ku lw’ebyokwerinda kwabwe n’omusibe, amannya gaabwe gasirikirwe. Bano emmere balina okugimutwalira wonna w’agyetaagira nga kuno baakugattako ebintu by’akozesa mu bulamu obwa bulijjo.
Ensonda zongeddeko nti ab’amakomera bategeezezza ababaka nti okugaana buli muntu okuleetera Besigye emmere, nabo babadde batya nti omubi ayinza okukozesa omukisa ogwo n’amutuusaako obulabe ate omusango ne baguteeka ku bo.
Munnamawulire John Kakande alumiriza nti abasibe bangi ab’ebyobufuzi abatwalibwa mu makomera naddala e Luzira bavaayo balumiriza nga bwe basimattuse obutwa ng’omu ku bo ye yaliko omumyuka wa pulezidenti Pulof. Gilbert Bukenya.
Kakande ategeezezza nti Bukenya yategeeza nti waliwo omusibe eyamutuukirira n’amwegayirira obutagezaako kulya mmere efumbiddwa munda mu makomera ng’alumiriza nti waliwo olukwe lw’okumuwa obutwa afiire mu kkomera.
Bukenya mu kkomera baamutwalayo ku misango gy’okwenyigira mu kubulakanya ssente z’okutegeka emikolo gya CHOGM mu 2007, wabula pulezidenti Museveni yategeeza nti okusiba Bukenya, mwalimu ebyobufuzi era mu kiseera ekyo baali balwanira ntebe ya Bwapulezidenti nga balowooza nti essaawa yonna Museveni awummula.
EMMANDUSO EYATTA MUKAZI WA KIYINGI
Kakande agasseeko nti n’okutuusa kati, waliwo abakkiriza nti Pte John Atwine eyali avunaanibwa okunyiga emmanduso y’emmundu gye baakozesa okutta munnamateeka Robinah Kayaga Kiyingi mukyala w’omugenzi Dr.Aggrey Kiyingi yalimu obutwa.
Pte Atwine yafiira mu bbaasi y’amakomera ng’ava mu kkooti okudda e Luzira mu kkomera gye baali bamusibidde ne Dr Kiyingi gwe baali balumiriza nti ye yamupangisa okumuttira mukyalawe gwe baali bagugulana ng’omukyala atadde mu kkooti okusaba baawukanne mu bufumbo obutukuvu era bagabane okugabana ebyobugagga ebyali bibalirirwamu obuwumbi ekintu Kiyingi kyeyali tayagala.
Pte Atwine waliwo abaamugulira emmere gye yaliira mu kkooti nga balumiriza nti mwe mwateekebwa obutwa, Kakande ategeezezza nti okufa kwono kyayamba nyo Kiyingi okusimattuka omusango.
ABAKUGU ABATEGA OBUTWA BEETALA!
Kakande ayongeddeko nti mu Kampala mulimu balooya abaakuguka mu kukozesa obutwa okusanyawo abasibe ababeera mu makomera nga bagenda kuwa obujulizi mu kkooti ku bagagga ababeera bagguddwako emisango egyenjawulo.
‘NAGAANA OKULYA EMMERE Y’EKKOMERA NGA NTYA AKATWA!’
Munnamateeka Male Mabirizi atubuulidde nti omulamuzi Musa Ssekaana owa kkooti enkulu bweyamusindika mu kkomera emyezi 18 olwokuyisa olugaayu mu kkooti, yakimanyi nti bamafiya bamulwana nga baali basobola okumuttira mu kkomera era ebbanga lyonna lyeyamalayo teyalya ku mmere yaayo: yabeeraangawo ng’alya bbisikwiti, ebindaazi, amazzi n’okunuuna ggulukosi abantu be bye baamuleeteranga ku kkooti.
Mabirizi anyumya nti yatabuka n’abakulira ekkomera e Luzira abaamugaana okwefumbira emmere nga baagala alye efumbibwa abasibe baalumiriza nti yali tabeesiga wadde nga mu kkomera e Kitalya baali bamukkiriza okufumba.
Ono anyumya nti abakulu e Luzira gye baasibidde Besigye baagala nyo okunyigiriza abasibe abalina erinnya nga baagala okulaga nti mu kkomera be banannyini buyinza nga teyeewunya okuwulira n’okulaba nga Besigye ayita mu mbeera ey’okunyigirizibwa n’ategeeza nti naye y’embeera yeemu gye yayitamu n’asimattuka okufiirayo.
BESIGYE GYE BAAMUSIBIDDE WATIISA
Mabirizi ayongeddeko nti ekifo we baasibidde Besigye kiringa mpuku nga kizibu nyo okulaba akasana wabweru, kitulugunya obwongo kubanga obeera olengera banno abalala abasibe nga beetaaya nga gwe tebakukkiriza kubatuukako.
Omuloodi Lukwago yategeezezza nti Besigye akasenge mwe baamusibidde mulimu akatanda, ttooyi, era asulamu yekka nga n’okugenda okusaba tebamukkiriza nga batyo nti ayinza okwogerezeganya ne basibe banne n’abateekamu omutima ogwekalakaasa. Kyokka omukisa bwegubeera gukuweereddwa, omuntu abeera akukyaliddeko oyogera naye ng’okozesa ndabirwamu nga n’oluusi by’ayogera ggwe omusibe tobiwulira, eri eringa ggeyeena ya ku nsi.
ENNAKU ERIMUMIRA SSAABAYEEKERA JAMIL MUKULU E LUZIRA!
Ensonda zitubuulidde nti embeera Besigye gy’ayitamu, ne ssaabayekera Jamil Mukulu gyalimu nga tebamukkiriza kwogera na basibe balala nga ye okumufuluma okugenda okusaala bamala kukakasa nti banne Abasiraamu bamalirizza, waliwo omusibe gwe baakuba nga bamubonereza olwokumusanga ng’ayogera ne Mukulu nga talina lukusa.
Besigye n’abasibe abalala abakuumibwa mu kkomera omwo, okufuluma walina okubaawo omusirikale w’amakomera ow’amayinja 3 ne bakkomando. Kyokka ye Jamir Mukulu basooka kumusiba njegere ku magulu era enfunda nyingi kino kimuleetera obusungu n’abavuma n’okubawemula.
Mabirizi yeewunyizza nyo ababaka ba palamenti okuba nga tebakimanyi nti abasibe abamu e Luzira tebakkirizibwa kwogera na bagenyi baabwe nga bateekawo ebisimu kweboogerera nga beerabira mu galabirwamu aganene enyo agatayitamu maloboozi n’ategeeza nti kino kibaddewo kati emyaka gigenda mu 10 oba okusingawo.
Abasibe be basibira mu kifo kino abagenyi ababakyalina basooka kufuna lukusa okuva ku kitebe ky’amakomera mu Kampala, embeera eno ereetera abasibe okwenyiwa.
ABASIBE BEEWERERA OMUBAKA SSEGONA
Ensonda mu kkomera lya Upper e Luzira gye baasibira Dr Besigye, zitubuulidde nti abasibe bwe baalabye ku mawulire ng’omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa alagira akakiiko k’omubaka Odoi okugenda okusisinkana Besigye, baatandise okweswanta n’okwetegeka okusomesa omubaka wa Busiro East Medard Lubega Ssegona essomo n’okumumalirako essungu ly’ekkomera
Abasibe babadde beetegese waakiri okuwemula Ssegona bwe bataalisobodde kumutuukako bamuyiseemu empi n’agakonde. Obusungu bwe bamulinako lwakuleeta nnongoosereza mu mateeka ng’omusibe gwebasalira ekibonerezo ky’okusibwa amayisa alina kufiira mu kkomera ate ng’etteeka eryaliwo yasibwanga emyaka 20 n’ayimbulwa kasita abeera ng’abadde yeeyisa bulungi.
Ensonda zitegeezezza nti eno y’ensonga lwaki abasirikale b’amakomera babadde bakambwe ku banene ababadde bayingira mu kkomera okulaba Besigye n’Omuloodi Lukwago baasoose kumugaana wadde nga y’omu ku balooya ba Besigye nga balumiriza nti babadde tebamusuubira.
ABASIBE ABAFIIRIDDE MU MAKOMERA
Abamu ku basibe abafiiridde mu makomera kuliko munnamateeka Bob Kasango gwe baalumiriza okubba obuwumbi bwa ssente za gavumenti n’okufera Best Kemigisa maama wa Kabaka wa Toro.
Omugagga Omugermany Bernhard Glaser gwe baali balumiriza okusobya ku baana abawala n’abalenzi abatanneetuuka wabula ng’ensonda zirumiriza nti yalina entalo z’obuntu n’omugenzi Gen Elly Tumwine eyali minisita wa securite.
Christopher Obey eyali omubalirizi w’ebitabo mu minisitule y’abakozi, ono yali ku misango gyakufera buwumbi bwa gavumenti.
PULAANI YA KKOOTI Y’AMAGYE ESATTIZA BALOOYA BA BESIGYE
Obunkenke bw’amaanyi mu bannamateeka ba Besigye bwe bakitegedde nti waliwo pulaani erukiddwa kkooti n’amagye okulemeza omuntu waabwe mu kkomera.
Ssaabalamuzi Owiny Dollo yalangiridde nga bwagenda okukulemberamu abalamuzi ba kkooti ensukkulumu okuwa ensala yaabwe ku kujulira kwa ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka ng’awakanya ensala ya kkooti etaputa ssemateeka eyagaana abantu ba bulijjo okuwoleza mu kkooti y’amagye.
Okuva Besigye bweyakwatibwa e Nairobi mu Kenya mu November wa 2024 ne mukwano gwe Hajji Obed Lutale ne baggulwako emisango mu kkooti yamagye egy’okugezako okukozesa eryanyi okuggyako gavumenti ya Museveni, bannamateeka be nga bakulemberwamu omukazi omukambwe Marth Karua munnakenya bazze balumiriza nti ensala ya kkooti ensukkulumu mu musango guno ogwawaabwa Micheal Kabaziguruka eyaliko omubaka wa Nakawa yeebataasa omuntu waabwe okusimtatuka akalabba mu kkooti y’amagye.
Wabula munnamateeka Mabirizi atubuulidde nti alina okutya nti ensala ya kkooti ensukkulumu tegenda kutaasa Besigye ng’asuubira abalamuzi okulagira nti abantu ba bulijjo tebalina kuwozesebwa mu kkooti z’amagye wabula singa omuntu wa bulijjo akwatibwa n’omujaasi nga bakozesa emmundu oba ekintu ky’amagye ekirala okukola omusango, olwo asobola okuvunaanibwa mu kkooti y’amagye.
Balooya abalala abagoberera omusango gwa Besigye bawagidde Mabirizi ne batubuulira nti eno y’ensonga enkulu lwaki amagye gaayanguwa okugattako omujaasi Capt Dennis Ola okubayambako okunyweza Besigye ne munne nga balingizza mu binaasalibwamu kkooti ensukkulumu.
Bano batubuulidde nti Besigye bw’anaakomawo mu kkooti nga February 3, 2025, oludda oluwaabi lugenda kutandikirawo okuleeta abajulizi abalumiriza abakwate nga tewali kwekwasa kwonna era kino kyakubaggyako akazito k’okusibira Besigye ebbanga eddene mu kkomera olwo kadde ku balooya be abalina okumusabira okweyimirirwa awoze ng’ava bweru wa kkomera.
Balooya batubuulidde nti tebalowooza nti ddala Dollo ayinza okuyiwayo pulezidenti Museveni eyawandiika edda ekiwandiiko ng’alaga obulungi bwa kkooti y’amagye n’okuwagira okuwozesa abantu ba bulijjo.
BYANYIMA ADDUKIDDE WA MUKWANO GWA M7 AMUTAASE
Wiiki ewedde Winnie Byanyima mukyala wa Besigye yalabiddwako mu kafubo ne pulezidenti wa South Africa Cyril Ramaphosa. Ensonda zirumiriza nti yabadde amwegayirira ayogerezeganyeko ne mukwano gwe Museveni asonyiwe omwami we ave mu kkomera wadde ng’abamu bategeezezza nti yabadde agenzeyo ku mirimu gy’ekitongole ky’ensi yonna ekya UNAIDS ekirwanyisa okusaasaana kw’akawuka ka siriimu mu nsi yonna ky’akulira.
Byanyima okugenda e South Africa ng’ensonda zirumiriza nti yasooka kufuna butakkaanya ne Besigye ku ngeri y’okuva mu kkomera nga ye yabadde ayagala Besigye alagire balooya be bamusabire okweyimirira ekintu Besigye kyeyagaanye ng’alumiriza nti bwakikola abeera akakasizza nti kkooti y’amagye erina obuyinza okuwozesa abantu ba bulijjo.
Byanyima alina okutya nti embeera y’obulamu bwa Besigye tesobola kkomera nti ayinza okufunirayo obuzibu. Wiiki ewedde ababaka ba palamenti ku kakiiko k’eddembe ly’obuntu baagenzeeko mu kkomera e Luzira okumulambulako okulaba embeera gy’ayitamu oluvanyuma lw’okuzira emmere abakulu mu kkomera gye baabadde bamulagira okulya nga bagaanye abantu be okugimuleetera.


