KIGAMBIBWA nti mu baagalana, abakazi be basinga okwagala era be basinga n’okulwanirira omukwano obutasaanawo kyokka ng’omukazi yakukooye, oyinza okwebuuza oba nga yali akwagaddeko.
Olunaku olwaleero, tukuleetedde ebintu abakazi byebakola nga bakooye obufumbo oba ng’omuntu gwali naye mu mukwano takyamwagala.
AKWEGGYAKO: Atandika okukweggyako nga bw’otamukubira ssimu naye takuba, bwotaweereza bubaka ku ssimu naye tabuweereza ate nga oluusi takuddamu. Akweggyako mpola mpola era oluusi ogenda okumugwamu ng’omukwano gwasaanawo dda era nga tolina kyosobola kukola kuguzza.
Omukazi bwaba ebbanga lyonna abadde ayomba era nga buli kimu akyogerako, bwatuuka ng’akooye, omulaba kusirika nga ne bwoba okoze ensobi akutunuulira kyamuli ng’essalambwa ery’ensenke. Aba tafaayo oba okomyewo ewaka oba osuzeeyo ate ayinza n’okukuyisa obulungi ennyo n’okusinga bweyakuyisa nga akyakwagala nnyo.
Buli musajja kyakola aba takisiima. Jjukira nti omukazi bwaba ayagala omusajja alaga. Yeeteekamu sente, tanyiiga era ne bwaba omusajja oyo gwayagala amusobezza, amusonyiwa tanamwetondera. Naye bwakukoowa n’ebirungi byo aba alaba nga temuli.
AKUWA EDDEMBE LYO Era ogenda buli wooyagala, n’okola buli kyoyagala nga takubuuzizza nti olaga wa. Ne bwakusanga n’omukazi nga wamugambye ogenda kusisnkana basajja banno era tafaayo. Akatijjukano keyabeeranga nako luli ng’akyakwagala eby’ensusso mu kaseera kano abeera takyakalina.
ABA YEEFAAKO NNYO. Omukazi bwayagala omuntu, essanyu lyoyo omuntu n’okubaawo kwe okulungi by’akulembeza. Ky’ova olaba abantu abamu bagamba nti omukazi bwafuna omusajja aba takyefaako. Kyokka bwakukoowa, nga atandika okwesoosowaza. Ye nsonga lwaki bwoyawukana n’omukazi anyiririra nnyo era aba alabika bulungi n’okusinga bweyali naawe.
EBY’OKUKUWAAKO ABYESAMBA: Bwemuba bafumbo, aba takyayagala kunyumya naawe kaboozi ate bwemuba nga mubadde mweyagala bweyagazi, akendeeza emirundi gyemusisinkana okwesanyusaamu era abeera n’ebyokwekwasa, mbu ate ompunyira bubi, mbu ndi bbize. Ku olwo ne bw’abeera tali mu nsonga akugamba yazigenzeemu jjo naye ng’akulimba aleme kukuwaako ku bintu bye.
Ebiseera ebisinga, abakazi baagala okutegeerera abasajja baabwe. Naye bwaba akukooye, kyonna ky’osalawo kyemugenda nakyo anti buli kimu aba agamba ggwe amanyi.
AFUUKA KYETWALA: Akulaga nti kyetwala era buli kimu asobola okukyekolera oba omukwatiddeko oba nedda. Beebo boowulira abagula ettaka mu kasirise, n’azimba nga abeera naawe naye nga essaawa yonna akuviira.
Omukazi ng’akukooye era aba alowooza nnyo ku biseera by’omumaaso. Bwaba akwagala, aba afaayo nnyo ku mbeera gyemulimu akaseera ako era aba akugumya buli kaseera. Naye akukoowe, ajja kubuuza lwokyala ewaabwe, okwanjula kwa ddi ssaako n’embaga ate nga akimanyi nti essaawa eyo tolina busobozi bubimukolera. Kati bwakulekawo n’owulira nti yafunye omulala, nga otandika okugwesalira nti yakulekawo lwa bwavu kumbe yali akukooye.
Buli kaseera omukwano gwammwe aba agwogerako eri mikwano gye n’enganda ze nga anoonya oyo anaakuba ebituli mu mukwano gwammwe era anaamuwa ensonga okukuleka.
Buli kaseera aba akulaga nti kyokola tekimala era aba yetaaga kyingi ate nga akugerageranya oba nga agerageranya omukwano gwammwe ku gwabalala.
Oba tokyamukyamula nga nebwofuna buwanguzi alaba tebimukwatako era nga omukwano gwamwe takyagutekamu manyi.


