OMU ku basomi baffe ng’asinziira mu kibuga ky’e Mukono, yatuwandiikidde ng’ayagala basomi banne bayige ku buzibu obuli mu kwegadanga n’omuntu gw’otamanyi nnyo kigenze wala. Ng’asinziira ku mboozi ya mukwano gwe, yanyonyodde bwati;
Nnina mukwano gwange omusawo eyakwanira omuwala ku mukutu gwa FACEBOOK era ne bakkiriziganya okusisinkana beesanyuseemu.
Naye ng’omuwala tanakyalira mulenzi, bakkaanya okusooka okusisinkana emirundi ebiri era oluvanyuma omuwala yasaba asisinkane omulenzi gy’abeera e Mukono era omulenzi yakkiriza.
Bakkaanya omuwala atuuke ssaawa kkumi ez’olweggulo kyokka nga obudde obwo omulenzi aba akyali ku ddwaaliro. Omulenzi yalagirira bulungi omuwala era ne bakkiriziganya nti omuwala bw’anaatuuka, omulenzi ajja kumulagirira ebisumuluzo webiri ne ssente zaanakozesa okutegeka bye banaalya.
OMULENZI KATA AGWEWO EKIGWO
Ekyaggye omulenzi enviiri ku mutwe kwekusanga omuwala ng’afiiridde mu nju ye! Okukebera ebintu by’omuwala ng’asangamu akuuma k’abalwadde ba Asthma.
Engeri omulenzi gye yali omusawo, yatwala omubiri gw’omuwala ku ddwaliro era ne yeefuula nti waliwo abaali bamuleese ne bamusuula ku ddwaliro ng’ataawa era nti yafa yaakatuuka.
Abazadde b’omuwala na buli kati beebuuza muwala waabwe gwe babeera naye e Kawempe, yabadde akimye ki e Mukono gye yafiiridde?
NAZZIKUNO NGA TERI KUKOMBAKO NGA TONNAKYALA
Nazzikuno ng’omwana ow’obulenzi tataganjula bisoobooza bya muwala paka nga bafumbiriganye. Naye ensi bw’ezze ekyukakyuka, ebyo baabivaako era abasajja kati ebintu babiriira ddala wadde nga babeera tebannakyala waabwe wa mukazi gwe babeera baagala. Newankubadde nga biri bityo, tukuleetedde akabi akali mu mukwano gw’ekipaku bwegutyo.
Wandibaawo obuzibu mu kugezaako okweggya ku muntu oyo kubanga ebigendererwa byammwe ku ntandikwa byali byawukana. Omu yandiba nga yali anoonya ssanyu lyakaseera ate omulala ng’anoonya mubeezi owaddala.
Omukwano bwegutyo gukomekkerera na kwejjusa. Ebiseera ebisinga abantu abasinkana n’ekigendererwa ky’okwegatta batera okwejjusa oluvanyuma, anti ebiseera ebisinga babeera tebeeyagala byaddala.
Oluvanyuma lw’omukwano guno okubaawo, abagwetabyemu naddala abawala batera okuwulira ng’abatalina mugaso kubanga omusajja atakwagala tasobola kukufaako oba kukuwambaatira ng’ekikolwa kiwedde ng’abaagalana aba bulijjo.
EBIRWADDE BISAASAANA NNYO
Embeera eno nnyangu nnyo mu kusaasaanya ebirwadde by’obukaba kubanga tewaba budde bwakwekebeza oba okuddayo okwekebeza nga wayiseewo akabanga ng’abasawo bwebalagira. Waliwo n’obulabe bw’okubeera mu mbeera y’okwegatta kyokka nga tewali bupiira era ne mugenda bugenzi LAYIVU.
Embuto zemuteetegekedde era ziva mu bikolwa ng’ebyo ate oyinza n’okutandika okwebuusabuusa ng’omuntu. Akaboozi kano aka ‘One Night Stand’ kooyinza okuvvuunula nga kasita nnakulyako ekiro kimu, kabeera nnyo ne mu bifo ebisanyukirwamu nga zi Hotel, Loogi, amakiraabu n’ebirala nga bwe weegomba omukazi kiggwera awo nga mwesandabula nga buli omu bw’amala ng’akwata lirye!


