OMWOGEZI w’ekitongole ekiwooza ky’omusolo ekya URA Robert Kalumba akakasizza nti URA ereese etteeka eppya ekkambwe n’egoba enkola ya kidoomoole abasuubuzi gye babadde bakozesa okubba omusolo nga bakozesa babbulooka abagagga ba ‘Container Leaders’ be bayitiramu okubatuusiza emmaali munda mu ggwanga.
LWAKI URA EGOBYE ABAGAGGA
Kalumba ategeezezza nti bafunye lipooti nnyingi eziraga nti nga ba ‘Container Leaders’ bakozesa obukodyo bw’okuleeta emmaali y’abasuubuzi abangi mu ngeri ya kidoomoole mu kkonteyina emu ne babba omusolo gwa gavumenti kubanga emmaali eno ebeera wamu URA n’egigerekera omusolo mutono, kyokka ng’ekituufu emmaali eno y’abantu balala abawerako abagirindiridde. Kalumba agambye nti bakizudde nti ba Container Leaders baggyako abasuubuzi ssente nnyingi ezikubisa mwezo ze basasudde URA mu misolo ku mmaali gye basubudde , kyokka nebakisa ku URA nti ebinika emisolo mingi ku mmaali Kalumba kyagamba nti si kituufu kubanga emisolo giteekebwa ku kintu okusinziira ku buzito bwakyo. Kati baagala buli musuubuzi yeetuukire ku URA yeesasulire omusolo okusinziira ku bungi bw’emmaali gy’asuubudde.
URA BY’ESAZEEWO
Kalumba agambye baagala buli musuubuzi y’aba yesasulira kalonda yenna omuli emisolo baleme kubiteekamu bakayungirizi kubanga kijja kumalawo obubbi bw’emisolo n’abasuubuzi okwewala abantu ababinika ssente enyingi nga beerimbise mu mbeera nti URA nabo ebasolooza nnyo .
BA ‘CONTAINER LEADERS’ BE BAANI
Edward Ntale ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu akeedi ki UTEA, atubuulidde nti ba Container Leaders be baggagga abalinamu ku ssente abeeyama okutuusizza abasuubuzi emmaali gyebasubudde ebweru w’eggwanga mu nsi nga China, Amerika, Japan,Taiwan n’ensi endala nga basasudde kalonda yenna eyeetaagisa emaali okuyingira munda mu ggwanga omuli emisolo gya URA olwo bannanyini maali nebabasasula oluvanyuma. Ekibiina kino kirina obukulembeze nga bakulirwa Keneth Ayebale.
ETTEEKA EKKAMBWE YE BALEESE
Kalumba ategeezezza nti bataddewo etteeka lye baatuumye House Bill eriragira buli musuubuzi okwesasulira emmaali ye weeba etuuuse ku kitebe kya URA nga takozesezza ba Container Leaders omusuubuzi yenna anaakawatibwako ng’akozesa enkola eno wakuweebwa ekibonerezo, waakusibirwa mu kkomera ku kibonerezo kya myaka 2 oba okukubibwa engasi ekubisiddwamu emirundi ebiri okusinzira ku maali ye oba okukola ebibonerezo by’ombi.
OMUGAGGA WA LYON CARGO ASUZE LUZIRA
Ssaalongo Dick Kanaakulya omugagga nanyini kampuni ya Lyon Cargo esaabaza ebyamaguzi okubijja mu mwanga nga China ,Taiwan ne Japan ebintu byamwononekedde olw’omusuubuzi eyateeka emmaali ye mu kkonteyina wabula abakozi mu kampuni ye nebamugerekera ssente nnyingi nti ze basasudde mu misolo mu URA. Kati aba Kampuni ya Lyon Cargo nebawamba emaali y’omusuubuzi ono nga bagamba alina kubasasula ssente zaabwe zonna zebamusasulidde mu mmaali ye,wabula omusuubuzi kyeyagaanye naddukira ku poliisi eyakutte Kanakulya paka mu kkooti eyamusindise mu kkomera ku misango gy’okubba omusuubuzi.
ABASUUBUZI BASATTIRA
Godfrey Katongole akola nga pulezidenti w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ekya Uganda National Traders Alliance (UNATA ) ategeezezza nti ekikolwa kya URA okuwera ba Container Leaders kigenda kubakosa nnyo kubanga babadde babeeyambisa nnyo okubatuusizza emmaali ku kibanja mpolo kubanga tebakyalina ssente kwetuusizza kkonteyina bokka kubanga obusuubuzi mu ggwanga bwafa dda. Ate Kabanda John akulira ekibiina ekigatta abasuubuzi ekya Federation of Uganda Traders Associations (FUTA ) ategeezezza nti bavumiridde etteeka lya House Bill lyagambye nti lyakoleddwa mu bukyamu kubanga URA weyabadde erireeta teyasoose kubeebuuzaako ng’abasuubuzi nabo bababuulire ensonga lwaki bakolagana ne ba Container Leaders kubanga babajjirayo emmaali ku kibanjampola.


