POLIISI eri ku muyiggo gw’omukazi Florence Muduwa 32, era ng’ono emuyisizzaako n’ekibaluwa bw’omulabako mukwate omutwale ku Poliisi ekuli okumpi! Muduwa, mukozi wa nnakyewa nga mutuuze w’e Kawuku, ku luguudo lw’e Entebbe.
Muduwa akyaliira ku nsiko okuva nga 15, September, 2024 ayiggibwa olw’okwenyigira n’okusaasaanya omuze gw’okulya ebisiyaga ng’omuze guno gwafuuka musango mu Uganda.
Muduwa ng’alina omwana omulenzi ow’emyaka 3, baamusanga lubona nga bakyekola n’omukazi omulala Priscilla Ahereza ng’ono kati mugenzi eyali omutuuze w’e Kisaasi ku nkingizi za Kampala. Ababiri abo, baamenya akawaayiro 48 ak’etteeka lya Penal Code Act, era omusango gw’okwenyigira mu kulya ebisiyaga gwaloopebwa ku Poliisi y’e Kisubi ku fayiro Namba: SD REF: 97/19/09/2024.
BAABASANGA LUBONA NGA BALI BWEREERE KU BULIRI
Omupoliisi ow’amaanyi ng’ono teyayagadde kumwatuukiriza mannya, olw’okubeera ng’omusango gukyagenda mu maaso, yategeezezza nti bba wa Muduwa, yamusanga lubona ng’ali ne Ahereza mu kisenge kyabwe nga bonna bali bwereere nga bava kwegadanga kyokka nga bonna bakazi! Kyokka ku lunaku olwo lwe beerya ebisiyaga, ge gaali amazaalibwa ga Ahereza nga 15, September.
“Okusinziira ku kunoonyereza kwaffe, twakizuula nti Muduwa ne Ahereza, babadde balya ebisiyaga okumalira ddala emyaka 4,” Omupoliisi bweyategeezezza.
Ku lunaku ababiri bano lwe baabagwamu nti balya ebisiyaga, bba wa Muduwa yali agenze kukola, wabula n’akomawo nga talina gw’agambyeko, ho ho, kwe kusanga amawano nga mukazi we akyekola ne Ahereza ekintu ekyamutiisa ennyo. Abafumbo bano, baali babeera mu nnyumba ya bisenge 3 ng’eriko n’ekikomera e Kawuku.
Magomu agamba nti, “Mukazi wange yankubirawo nga nnakamulaba, ekisa kye n’okubeera omuwombeefu bye bimu ku byansikiriza.” Wabula ono agamba nti nga n’omwaka tegunnawera nga batandise okubeera bombi, embeera z’omukazi zaatandika okukyuka yenna nga boggola ebitasaana ate nga ne mu buliri ekintu kibulamu. Yabeera muguminkiriza ng’alowooza mukazi we anaakyusaamu wabula yalinga afuuyira endiga omulere.
“Nagezaako okukola buli kye nnali nsobola okumusanyusa, wabula buli lwe nnabikolanga, ng’ate ye yeeyongera kundaga mutima na mpisa mbi n’obutankombyangako”
OMUSAJJA ATANDIKA OKWEKENGERA MUKYALA WE
Obufumbo bwa bano bwafuuka kagumba weegoge nga buli kaseera basiiba mu nnyombo olwa Muduwa okugaana okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’omu kisenge ng’omukazi nga buli kaseera yeekwasa obusongasonga mbu leero ndi mu nsonga, olubuto lunnuma n’ebiringa ebyo, ono yagaana n’omusajja okwongera okumuzaalira abaana abalala, ng’asaba ebintu eby’okumukumu ate nga takyayagala kwewa musajja wadde okwogera naye ekiri awo. Wano omusajja we yatandika okwekengera nti omukazi yandibeera nga amwendako nga yafunayo abasajja abalala abamukwana nga be bamweyinuza.
“Nze nvuga ttuleera ezitambuza ebyamaguzi” Magomu ayongerako nti ttuleera zino zijja eby’amaguzi okuva ku myalo nga Mombasa oba Dar es Salam olwo ne bibireeta e Kampala, Rwanda, Congo, South Sudan n’amawanga agaliranyewo.
Olwomulimu guno, omusajja oluusi amala wiiki 3 oba 4 nga tannadda waka. Omusajja yali yakomya n’omukazi obutaddamu kukola, asobole okusigala awaka alabirire omwana waabwe. Muduwa yali yakolalerako mu kampuni ya Wefunile Driving School ng’akwanaganya kampuni eyo ne bakasitooma.
“Nnafuba nga bwensobola okulabirira famire yange nga tebajula, wabula mukazi wange bino byonna teyabiraba, nga buli kiseera annangira nga bwendi omwenzi ow’ebbaluwa abakazi abakyusa ng’akyusa ebikooyi”, omusajja bweyenyamidde.
OMUKAZI BY’AYOGERA BIKANGA
Wabula Magomu eby’okumulangira obwenzi, yali takimanyi nti mukazi we abikkirira bikolwa bye byakulya bisiyaga ne mukwano gwe Priscilla nga bano beerabira ku Yunivaasite.
Bano ku ‘Campus’ baali ba mikwano era nga ne famire zaabwe zaali zikimanyi. Baateranga okugendako awutu okulambula ebifo ebyenjawulo, olwo omukazi n’aleka omwana ne banneyiba, bba bwe yeemulugunyangako, ng’omukazi aboggoka ng’omusajja bw’alekeredde amaka ge ng’abeera mu kuvuga bituleera. Nti kino kyamuleetera okuwulira ekiwuubaalo, ekyaleetera mukwano gwe omukazi Priscilla okuziba eddibu ly’omusajja.
“Mukazi wange eby’okunyumya akaboozi nange yali tabyagala, nga mmwegayirira wabula ng’agaana”. Ayongerako nti kyokka n’ennaku ze yabeererangawo awaka, ng’amumma nga yeekwasa obusonga nga yeefuula ali ku ssimu n’asalawo okuyiiya akakodyo okukwata ababiri bano nga yeebuuza mukazi we abeerawo atya nga tamuwaako ku bintu?
Ku lunaku lwe yabagwamu, yakitegeera nti mukazi we yali ategekedde mukwano gwe Priscilla akabaga k’amazaalibwa, era awo we baakyekolera. Wabula bano ggeeti n’amadirisa beerabira okubiggala, omusajja bwe yakomawo n’abakwata lubona nga beerya ebisiyaga.
Ono agamba nti yali takikkiriza ng’alaba mukazi we ng’anyumya akaboozi ne mukazi munne, era mu busungu obw’ekitalo, yabayisaamu empi, agakonde n’emigere ne baleekaana ekyaleetera banneyiba okukung’aana okwelabira ku mawano gano!
MUDUWA ADDUKA: Omupoliisi agamba nti baafuna essimu ey’amangu okuva ew’omu ku batuuze ng’abayita banguwe bataase abakazi 2 abatuuze be baali baagala okukuba babatte olw’okubasanga nga balya ebisiyaga. Wabula Poliisi egenda okutuuka mu kifo, Muduwa ng’adduse n’okutuusa kati ekyamuwenja, nga Ahereza ali awo wansi aboyaana olw’ebiwundu ebyali bimutuusiddwako abatuuze.
ABASIYAZI BASAANA KUFA
Abatuuze baawaga nga bagamba nti abasiyazi basaana kutta bussi, kubanga bw’obalekawo babeera bagenda kusaasaanya omuze guno mu baana abato.
Oluvanyuma Ahereza Poliisi yamuddusa mu ddwaliro ekkulu e Mulago era ne bategeezaako n’abooluganda lwe, wabula ne wayita ennaku 2 n’afa.
Omupoliisi ayongerako nti ab’oluganda lw’omugenzi, baalumiriza Muduwa okuyingiza omwana waabwe mu muze gw’okulya ebisiyaga era n’abimuyigiriza omuze ogwamuviirako okufa.
MUDUWA BAKYAMUYIGGA BUSEENENE
Ssenga w’omufu nga ye Judith Atuhaire, yaggulawo omusango ku Poliisi, ng’eno y’ensonga lwaki Poliisi emuyigga buseenene nga bano ensonga bagenda kuzongerayo mu kkooti ewerennembe n’emisango.
EBISIYAGA MUSANGO MU UGANDA
Omuze gw’okulya ebisiga, gukyali musango mu mateeka ga Uganda okuviira ddala ng’eggwanga lyakafuna obwetwaze, era omusango ogwo, ne mu ssemateeka w’eggwanga owa 1995 gwateekebwamu nga bwe bakusanga osibira mu kkomera.
Pulezidenti Museveni, yateeka omukono ku tteeka erirwanyisa ebisiyaga erya ‘Anti- Homosexuality Act’ mu May wa 2023. Etteeka lino, bw’olimenya osobola okuwanikibwa ku kalabba, okusiwa amayisa oba n’osibwa emyaka 20 olw’okuvujjirira, okuyingiza abantu mu bisiyaga oba obufumbo obw’ekikula ekimu.
Ate bwe bakusanga ng’ogezaako okulya ebisiyaga, bakusiba emyaka 14 bweddu. Museveni yategeeza nti abasiyazi nti baava ku butonde era omuze guno tebalina kwekwasa nti gwa butonde.


