OMULAMUZI wa kkooti enkulu mu Kampala, Bonny Isaac Teko agaanye okunyonyola kw’omumyuka w’omuwabuzi wa gavumenti ku by’amateeka Charles Ouma nti ebiragiro minisita omubeezi ow’ebyettaka Dr Sam Mayanja by’azze awa ku ttaka ly’Obwakabaka n’ebitongole ebirala eby’Obwakabaka bwebibeera bimenya amateeka tewali mukozi wa gavumenti yenna agenda kubiteekesa mu nkola nga tewalina kubeerawo kutya kwonna wadde okweraliikirira.
Ouma bino yabitadde mu kirayiro kyeyakubye mu kkooti ng’awakanya okusaba kwa Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ng’ayagala kkooti emuwe ekiragiro ekiyimiriza ebiragiro bya minisita byonna byeyawa ku ttaka ly’e Kkaazi mu Wakiso biyimirizibwe okutuusa ng’omusango omunene mw’awakanyiza okusaalimbira ku ttaka ly’e Kkaazi nga gumaze okuwulirwa n’okusalibwa.
Mu bujulizi Kabaka bweyatutte mu kkooti ng’ayita mu kirayiro ekyakubiddwa Omukungu Bashir Kizito Juma omumyuka w’akulira ekitongole kya Buganda Land Board -BLB, nga nakyo kiwaabi mu musango guno, yategeezezza nti ng’omukulembeze ow’oku ntikko mu Buganda tasobola kutunula nga minisita wa gavumenti awa ebiragiro ebitisatisa okutwala obugagga bw’Obwakabaka bweyasikira ate ng’alina okubukuumira Abaganda abalijja mu maaso.
Ono yalumirizza nti eby’obugagga bya Buganda biri mu matigga nga minisita Mayanja mumalirivu nyo okubitwala mu bumenyi bw’amateeka. Mayanja bweyagenda e Kaazi ku ttaka ly’Obwakabaka erisangibwa ku Block 273 Plot 5 yalagira munne gweyali naye Phiona Birungi omuyambi wa pulezidenti Museveni ku nsonga ez’enkizo okulaba nga ebiragiro byeyawa okusazaamu ebyapa bye biteekeebwa mu nkola.
Ono anyonyodde nti okuva minisita bweyawa ebiragiro ebyo, abasaatuusi ababbi b’ettaka beesenzezza ku ttaka ly’e Kaazi nga kkooti yokka yeerina obusobozi okukoma ku bakozi ba gavumenti okuteekesa mu nkola ekiragiro kya minisita mukama waabwe.
Kabaka yeewunyizza nyo minisita okulangirira nti ettaka eryogerwako si lya Kabaka ate nga kkooti enkulu yalangirira dd anti ettaka lya Bwakabaka ng’Abalangira ba famire ya ssekabaka Daudi Chwa bagezaako kwagala kulibba nga baliyita eryabwe.
GAVUMENTI ETADDEWO OLUTALO
Balooya ba gavumenti abaakulembeddwamu George Kalemera ne Mark Muwonge baataddewo okuwooza okwamanyi nga beesigama ku kirayiro Ouma kyeyakuba ng’awakanya okuyimiriza ebiragiro bya minisita okuteekesebwa mu nkola, yategeezezza nti kino bwekikolebwa kugenda kubeera kuyingirira mirimu gya minisita ng’akulira abakozi mu bitongole bye batwala.
Ono ategeezezza nti minisita ku lwa pulezidenti afuna okwemulugunya kungi okuva mu bannayuganda abeetaaga okuyambibwa, okubayamba akozesa biragiro byawa abakozi baatwala wabula bano okubiteekesa mu nkola balina kugoberera mateeka.
Ouma yabuulidde kkooti nti abakozi ba gavumenti bano babeera beetongodde n’awa eky’okulabirako kya Mercy Kainobwisho akulira ekitongole kya gavumenti ekiwandiisa amakampuni ekya Uganda Registration Service Bureau (URSB) eyagaana okuteekesa mu nkola ekiragiro kya minisita Mayanja okuggalawo BLB nga alumiriza nti kyawandiisibwa mu bumenyi bw’amateeka.
Ono yategeezezza nti Kainobwisho yawandiikira minisita ng’amutegeeza nti engeri yokka BLB gyesobola okuggalwawo kubeera kufuna kiragiro kya kkooti nga kino bwe banaakimuwa butereevu Buganda Land Board agenda kugiggala.
OMULAMUZI ATABUKIDDE MAYANJA NE BIRUNGI
Omulamuzi akkirizza okusaba kwa Kabaka n’awa ekiragiro ekiyimiriza abakozi ba gavumenti bonna obutagezaako kukwata ku byapa bya Kabaka eby’e Kaazi, obutaddayo kukolera mulimu gwonna ku ttaka lino okutuusa nga okwemulugunya okunene Kabaka kweyateekayo nga kuwuliddwa.
Omulamuzi yanyonyodde nti wadde Kainobwisho yayimirira ku magulu ge n’agaana okuteekesa mu nkola ekiragiro bya minisita, waliwo abakozi ba gavumenti abayinza obutabeera na buvumu nga ye bweyalina ne bateekesa buteekesa buli kiragiro kyebabawa nga bwebatuuka okubuuzibwa nga beekwasa nti tebalina kyakukola nga mukama waabwe minisita alagidde.
Omulamuzi anyonyodde nti ekiragiro ky’okuggalawo BLB kyali kyabulabe nyo nga kkooti erina okusooka okukitaputa obulungi kubanga omulimu gw’ekola gw’amaanyi nyo okuddukanya ettaka ly’Obwakabaka era bangi abafunyeko liizi nga okugiggalawo kwalireeseewo akasambattuuko ng’abafunako liizi basattira.
Ono ategeezezza nti ensonga y’ettaka yeetagaa okukwata n’obwegendereza bwamanyi nyo, teesanye kubamira kuba eyinza okuvaako akatabanguko mu ggwanga nga Kabaka kyeyakoze okugenda mu kkooti ng’alengedde akabi akajja kyabadde kyamuwendo nyo.
BAMINISITA BABAWADDE AMAGEZI
Omulamuzi asabye baminisita okubeera abeegendereza nga bakola emirumu gyabwe kubanga abasinga bamala geekolera kubanga bakimanyi nti ne bwebakola ensobi bo tebavunanyizibwako ng’abantu wabula gavumenti gyebakolera nga basobola n’okuwa ekiragiro eky’obulabe ne batwalibwa mu ofiisi ya gavumenti endala ne baleka obuzibu nga tebabutereezezza .
Balooya ba gavumenti baakulembeddwamu Usama Ssebuufu owa kampuni ya bannamateeka eya K&K Advocates ng’eno eddukanyizibwa ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka ne v mukoddomi wa pulezidenti Museveni, Edwin Karugire.
Minisita Myanja ne Birungi mu kkooti tebaakiikiriddwa nga Ssebuufu yabuulidde kkooti nti obutabaawo kwabwe mu kkooti nga ebayisaako ebiragiro tekibanyiga engeri bwebali abakozi ba gavumenti ate nga baakiikiriddwa balooya okuva mu ofiisi ya ssaabawolereza wa gavumenti n’eyomuwandiisi w’ebyapa.


