SSAABASAJJA Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi awadde akulira ekitongole kya Buganda Land Board omukungu Simon Kaboggoza ebiragiro ebikambwe okusobola okutaasa emmaali y’omugenzi Hajji Bulaimu Muwanga Kibirige (BMK) omu ku baali mikwano gye egy’omunda.
Kabaka okuwa ebiragiro bino, nga minisita w’abaana n’abavubuka Balaam Bagaruhare awaga nga bwagenda okukozesa ekiragiro ekyamuweereddwa kkooti enkulu ey’ebyobusuubuzi okutunda ku nnyondo ebimu ku byobugagga by’omugenzi BMK asobole okununula ssente ze ezisoba mu kawumbi kamu n’obukadde 500 (UGX 1.5 bn) z’alumiriza nti yaziwola omu ku bamulekwa ba BMK, Harunah Kibirige Kalule ng’amusuubiza okuzimusasula mu bwangu ddala ekintu kyataatuukiriza.
Minisita Balaam yategeezezza ONO BWINO nga bwatagenda kukkiriza kutiiisibwatisibwa olwokuba minisita afiirwe sente ze ze yatuuyanira nga n’okuziwola Kalule yakikola mu mutima mulungi olw’enkolagana ennungi gyeyalina ne BMK. Balaam yalowooza nti omugenzi amazima geyalina n’abaana ge balina nga talowoozezza ku lugero lw’Abaganda olw’embwa enjizzi ezaala enkolwa.
Balaam si ye yekka alina ekiragiro kya kkooti okuwamba n’okutunda eby’obugagga by’omugenzi BMK ku nnyondo olwa bamulekwa okubisingayo ne balemererwa okusasula, bbanka ya YAKO nayo ng’eyita mu bannamateeka baayo abakulemberwamu eyali omumyuka wa ssaabawolereza wa gavumenti ya Museveni, Rukutana Mwesigwa nabo baagala kubitunda.
MUSAJJA WA KABAKA AYIIRAWO OWA BMK OMUBIRI
Wiiki ewedde Kaboggoza yatadde ebiragiro bya Kabaka mu nkola bweyawandikidde omuwandiisi w’ebyapa mu minisitule y’ebyettaka ng’amusaba okuteeka envumbo ku byobugagga bya BMK naddala ettaka okulaba nga terikyusibwa bwannannyini okutuusa ng’obufere obwalikolebwako nga butereezeddwa era kino kyakoleddwa era nekirangwa ne mu mawulire okukakasa nti envumbo –‘caveat’ yateereddwako.
EBY’OBUGAGGA BYA BMK BYE BAATADDEKO ‘CAVEAT’
Ebyobugagga ebyateereddwako envumbo bisangibwa ku ttaka okuli; Kyadondo Block 273, Plot 46 ne 44 Mulamula Road, Kyadondo Block 254 Plot 770 Kansanga n’ekibanja ekyawandiisibwa ku BLB\01\1162 ekisangibwa e Buziga Katuuso.
Okusinziira ku bbaluwa ya Kaboggoza ONO BWINO gye yalabyeko, anyonyola nti omugenzi BMK yakola endagaano ne Kabaka Mutebi okumuwa liizi ku ttaka eryo lyonna ne bakkaanya nti okulitunda, okulipangisa oba okulyewolerako ssente zonna okuva mu banka alina kusooka kufuna lukusa okuva gyali nga nanyinni ttaka nga kino omugenzi yakituukiriza era enfunda nnyingi yawuliziganyanga n’abakulu mu Buganda Land Board -BLB ku lwa Kabaka buli lweyaba ng’aliko kyayagala okukolera ku ttaka eryo.
Ensonda e Mengo zitubuulidde nti BMK ng’abasawo bamaze okumukakasa nti ddala ekirwadde kya kkansa kimusensedde omubiri essaawa yonna agenda kufa, yagenda e Nairobi mu Kenya okubeera nga gy’ajjanjabirwa okutuusa Allah we bw’anaamujjulula mu bulamu, eno gye yasinziiranga n’ayogerezeganyako ne Kabaka n’abakulu e Mengo ku ssimu ng’abanyonyola ku nkulaakulana gyeyali ayongera okuteeka ku ttaka ly’e Buziga n’e Munyonyo minisita ne banka lye baagala okutwala.
Kaboggoza mu bbaluwa ye, annyonyola nti BLB ebadde eyimiridde ku ndagaano BMK gye yakola ne Kabaka Mutebi ng’amuwa liizi ku ttaka lye, wabula beewunyizza nyo ate bwe baasomye mu mawulire ng’ettaka eryo lyabadde litundibwa ku nnyondo, bwe baagenze mu minisitule y’ebyettaka okukakasa oba teryazannyirwako gye baakizulidde nti lyakyusa dda obwananyini okuva mu BMK nga baliwandiisa mu mannya g’abantu balala ekintu kyalumiriza nti kyakolebwa mu bufere n’obumenyi bw’amateeka ng’alumiriza nti bonna abenyigira mu bikolwa bino baakukolebwako ng’amateeka bwegalagira.
OMWANA WA BMK GWE BALUMIRIZA OKUTUNDA EMMAALI
Ono agasseeko nti mu 2022, Kalule Muwanga gwebalumiriza okufera ebiwandiiko by’obugagga bya kitaawe n’abisinga ewa minisita Balaam ne mu Bbanka okulya ssente, yatwala ebbaluwa mu BLB ng’alumiriza nti kitaawe omugenzi BMK ye yagiwandiika mu 2021 ng’asaba Kabaka akkirize akyuse ebiwandiiko by’ettaka eryo abizze mu mannya ge ekintu ekyewunyisa enyo bannamateeka ba BLB nga bakulemberwamu abakulira Denis Bugaya ne bamubuuza lwaki kimutwalidde ekiseera ekiwanvu okubaleetera ebbaluwa, Baamukakasa nti kyasabye tebagenda kukikola olw’okwekengera obufere obuyinza okubeera mu bbaluwa gyeyali abaleetedde.
Kaboggoza anyonyodde nti waayita ennaku ntono ne bafuna ebbaluwa endala okuva mu bbanka ya Equity nga basaba Kabaka akirize okuwa Kalule olukusa okwewolera ssente ku ttaka kitaawe lye yafunako liizi mu BLB ekintu ekyayongera okubatiisa ne bazuula obufere nga beebuuza lwaki abaakwasibwa obuyinza okuddukanya obugagga bwa BMK si be babawandiikira wabula banka ne mulekwa aliko akabuuza era olukusa ne bagaana okuluwa banka.
Ono asabye omuwandiisi w’ebyapa mu bwangu asazeemu ebyapa byonna ebyateekebwa ku ttaka lya Kabaka lyeyawaako omugenzi BMK liizi ng’alumiriza nti byonna ebyakolebwa bwali bumenyi bw’amateeka.
Wabula minisita Balaam alumiriza nti yawola Kalule ssente ze ng’amukakasizza nti ssente zeyali amuwa zaali za kumuyambako okuggusa ddiiru y’obuwumbi 30 gyeyali afunye mu gavumenti ya Museveni okuzimba amalwaliro okwetolola ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Balaam ategeezezza nti okusalawo okutunda obugagga bwa BMK kibadde kimuyitiriddeko oluvanyuma lwa bamulekwa mu bugenderevu okugaana okumusasula era gyebuvuddeko gavumenti yabasasula obuwumbi 4 n’ekitundu nga zino kyekitundu ku buwumbi 30 mwe baazimba amalwaliro wabula ne bagaana okumusasulako.
M7 ABIYINGIDDEMU OKUTAASA FAMILE YA BMK
Balaam ayongeddeko nti Museveni bweyasoma mu mawulire nti Balaam agenda kutunda obugagga bwa BMK, yamuyita n’amusaba alindeko okutunda obugagga bwa bamulekwa ba mukwano gwe namutegeza nga bwagenda okubayambako okulaba nga basasula amabanja agababangibwa.
Ono anyonyodde nti obuwumbi 4.5 obwatereeddwa ku akawunta ya bamulekwa ba BMK nga zaasasuddwa minisitule y’ebyobulamu ze zimu ku ssente pulezidenti Museveni zeyasuubiza Balaam okusasulako aba famire ya BMK olwo nabo bamusasule ng’okugaana okumusasula abuyise bufere bwa bamulekwa abaagala okumuyisaawo.
‘EMMAALI YA BMK EGENDA KUGGWAWO’
Balaam akkirizza nti emmaali ya BMK eyinza okuggwawo kubanga abaana bagiriirako amabanja mangi ate ababawola si beetegefu kubalekera ssente zaabwe kubanga nabo bakozesa ntuuyo zaabwe okuzifuna n’abalabula okukomya okugenda nga baboogerako nga bwebalina emitima emibi ate nga bwe baali bazibeewolako tebaasooka kubakebera mitima.
Ensonda zitubuuldide nti balooya ba famire ya BMK nga bakulembeddwamu Derrick Bazzekuketta bakyalwana okutaasa obugagga bwa BMK nga basuubira okukozesa obujulizi obwaweereddwa Kabaka mu kkooti okumatiza omulamuzi nti bamafiya beekobaana ne muganda waabwe Kalule okukola obufere ku mmaali ya kitaabwe.
Wabula ne balooya b’ababanja naddala ababanka nabo bawera okuyigga n’okutunda obugagga bwonna obwa BMK nga bano batubuulidde nti batandise okugwa mu lukujjukujju lw’aba famire okukyusa obugagga bwa BMK okubuteeka mu mannya g’abantu abalala okubutaasa obutatundibwa ku nnyondo.


