BADDAYIREKITA abakulira ebitongole eby’enjawulo mu KCCA bali mu kusattira, olwa nnankulu w’ekitongole kino, omukazi Hajjati Shifrah Buzeki okugwa mu ddiiru mwebabadde bakukusizza ssente ezisinga emisaala gyebafuna buli mwezi okukola obugagga obuwunya.
Ensonda zitubuulidde nti Buzeki yeekanze nnyo bweyakizudde nti abakulira ebitongole mu KCCA ofiisi baziyingira kikeerezi, bangi basiiba mu Hotel z’e Kampala nga bakutula ddiiru ensava n’abagagga b’omu Kampala, abalala ofiisi bazireetamu babbulooka ababalira ewali ddiiru ekiremesezza enzirukanya y’emirimu mu KCCA.
Buzeki bano okubagwamu, kyavudde ku kaweefube gwaliko mu KCCA ow’okulondoola ebitongole bya KCCA gyebikolamu emirimu mu lutalo lwaliko okulwanyisa obubbi n’obuli bwengunzi obujjudde mu kitongole kubanga kyekimu ku bisubizo bye yeeyama nga yaakalondebwa.
Kyokka bw’otunuulira emisaala emisava abanene gye basasulwa kyokka ne balemererwa okulongoosa Kampala era kigambibwa singa Museveni anaafuna lipooti eno ku ngeri ba dayirekita gye baferera mu Kampala, nabo bandisibira mu kkomera e Luzira nga Dorothy Kizaka Buzeki gweyaddira mu bigere n’eyali omumyuka we David Luyimbaazi Ssali.
Omwogezi wa KCCA Daniel Nuwabine ategeezezza nti kaweefube Buzeki gwaliko okulambula ebitongole mu KCCA akyagenda mu maaso okulaba nga vvulugu alemesa ekitongole okukola obulungi nga wekisuubirwa aggwaawo.
ABAKULIRA EBITONGOLE OMUSAALA GWE BAFUNA GUUGUNO
Ensonda zitubuulidde nti dayirekita wa KCCA Sharifah Buzeki afuna obukadde 45 buli mwezi, aweebwa obujjanjabi, aweebwa ssente z’ennyumba, emmotoka ekika kya V8, aweebwa abakuumi ne ba dereeva basatu abasasulwa wakati wa 2,000,000, ne 3,000,000, ekitongole kiweerera abaana be ku masomero ag’ebbeeyi, ate omumyuka we n’aweebwa Benon Kigenyi n’aweebwa obukadde 33 buli mwezi n’emmotoka n’ebirala.
Kyokka abakulira ebitobgole eby’enjawulo buli mwezi bafuna obukadde abiri, bw’oggyako emisolo ne NSSF nekalonda omulala dayirekita asigazaawo obukadde 18,000,000 zaatwala awaka.
ENGERI GYE BAKUTULAMU DDIIRU
PUBLIC HEALTHY ( Ebyobulamu)
Ekitongole kino kikulirwa Sarah Zalwango eyasikira Daniel Okello Museveni gweyagoba olw’obulagajjavu obwaviirako kasasiro w’e Kiteezi okubumbulukuka n’atta abantu abaasoba mu 30 n’okusuula amayumba.
Kigambibwa nti Okello ng’ali mu kitongole kino yakozesa bubi ssente akawumbi kamu gavumenti zeyateekanga mu bajeti okuseeteeza kasasiro ekyamuviirako okwetuuma.
ZE BASOLOOZA MU BBAALA
Ensonda zitubuulidde nti Buzeki yafunye lipooti eruma abakulira ekitongole kino abapya nti bakung’aanya ssente mu mabaala okusinziira ku bunene bw’ebbaala, ennene bagikunga’anayamu wakati wa 100,000 ne 200,000 buli Ssande ne bakkiriza bannanyini mabaala ne balekanya ebidongo, ensonda zitubulidde nti Zalwango akulira ekitongole asattira kugambibwa nti enkambi ye erya mu kasasiro w’omu Kampala .
EKITONGOLE KY’AMATEEKA
Ekitongole kino kikulemberwa Frank Rusa Nyakaana abadde akola ng’akulira KCCA ow’ekiseera, kyekivunanyizibwa okuwoza emisango gya KCCA.Ensonda zitubuulidde nti akulira KCCA yakizudde nti bannamateeka ba KCCA webatuuka mu kkooti balemererwa okulwanirira ekitongole mu kkooti emisango ne gisinga KCCA kyokka tebajulira kubanga babeera beekobaanye ne bannanyini misango ne bateekawo empozza ey’ekiboggwe emisango ne gisinga ekitongole ne balagira okuliyirira ababeera bawoza ne KCCA, ssente ne bazigabana ne balooya ba KCCA.
Omuloodi wa Kampala Saalongo Erias Lukwago yalumirizza ab’ekitongole ky’Ebyamateeka mu KCCA nti tewali musango gwe baali bawozezza ne bawangula ku lwa KCCA olw’okuba beekoobana ne bananyini misango era ssente z’ekitongole balya za bwereere kubanga basambisa abiri.
GENDER: Ky’ekivunanyizibwa ku kikula kya bantu mu KCCA ,kikulemberwa Shirah Birungi. Era kye kivunaanyizibwa ku nsonga z’obutale ne Lufula mu Kampalam, ssente eziva mu gavmenti ez’okukulaakulanya abavubuka n’abakadde. Mu kunonyereza Buzeki kweyakoze mu kitongole kino yakizudde nti abakulu mu kibiina kino wekituuka mu kugaba ssente batondawo ebibiina ebyabwe omubeera abooluganda n’abemikwano mwe babbira ssente.
Abasuuuzi mu lufula ya City abattoir baalumirizza ab’ekitongole kino okuli Birungi ne Julius Kasirye maneja w’obutale mu Kampala maaso ga Buzeki ne minisita wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda nti Kasirye ne Birungi beekobaana ne Market Master Hadijja Natte ne babasolooza buli lunaku 3000,000 ne bazeezibika ekyaviiriddeko Kabanda okugoba Market master mu lufula.
‘PHYSICAL PLANNING’
Kye kivunanyizibwa ku pulaani z’ebizimbe byonna ebizimbibwa mu Kampala, wabula kyazuuliddwa nti abakulira ekitongole kino beekobaana n’abagagga b’omu Kampala ne babalyako ssente ne bava ku pulaani entuufu ze babeera baawaayo nga batandika okuzimba ne bamala gazimba, ekiviirako ebizimbe bino okugwa ne bitta abantu mu Kampala. Ensonda zitubuulidde nti Buzeki yakunyizza abakulu mu kitongole kino nti omulembe gwe tagenda kukkirizza bazimba nga tebalina pulaani.
AB’ENGUUDO BALI WAZIBU
Abakulira ekitongole ky’ebyenguudo ekikulemberwa Jastus Akakwansa nabo basattira, kye kirina obuvunanyizibwa ku nguudo z’omu Kampala. Buzeki yakizudde nti abanene mu kitongole kino ddiiru bazikubira mu ndagaano zebakola ne Kampuni eziweebwa okuzimba enguudo ng’emirimu bagiwa kampuni ezo ez’ekiboggwe ze bakubako enjawulo ennene ne balekawo kampuni ezirina obusobozi olw’okuba ziseera. Buzeki yakizudde nti ddiiru zino ziviiriddeko enguudo z’omu Kampala okufa amangu nga zaqkakolebwa.
Ekitongole ekivunanyizibwa ku misolo mu KCCA ekikulemberwa Robert Nowera. Ensonda zitubuulidde nti abawooza b’ekitongole kino balina ssente zebakuba ku basuubuzi n’abagagga b’omu Kampala kyokka nga ssente tezituuka mu akawunti za KCCA, zirina wezibulira ku akawunti endala ekifiiriza ekitongole ssente ne kizing’amya emirimu mu kitongole, abamu ne batandika okugamba nti mu kitongole mulabika mulimu gakalooli agavaabira ssente y’omuwi w’omusolo.


