LIIGI ya Uganda ey’oku ntikko eya Uganda Premier League etuuse wenyumira olwa puleesa abatendesi gyebaliko.
Abatendesi okuli Abdullah Mubiru -Mutabbuliiki owa KCCA FC ne Morley Byekwaso owa SC Villa bali ku puleesa y’amaanyi olw’abawagizi baabwe ababagoba okuva mu kiraabu zaabwe olw’engeri gye bavuyaamu.
Mu ngeri y’emu omutendesi wa Lugazi FC Steven Bogere eyasambirako Uganda Cranes ne SC Villa avuddeyo n’ategeeza omusasi waffe lwaki abadde ku katebe okumala ebbanga ddene. Bogere agamba nti alina pulaani nnene eri kiraabu ya Lugazi FC era emboozi ye yagenze bweti;
ONO BWINO: Tageti yo sizoni eno ki?
BOGERE: Okusigaza ttiimu ya Lugazi FC mu Liigi.
ONO BWINO: Nsonga ki eyakuweesa omulimu ku Lugazi FC?
BOGERE: Lwa nsonga ssatu okuli, okusigaza ttiimu mu Liigi, okukulaakulanya ebitone by’abaana n’okusamba omupiira ogunyuma.
ONO BWINO: Bukodyo ki bw’ogenda okukozesa okusigaza Lugazi FC mu Liigi?
BOGERE: Bungi era obumu ku bwo kwekuwangula emipiira gyange.
ONO BWINO: Oyogera ki ku Liigi ya sizoni eno?
BOGERE: Erimu ebbugumu lingi ku baagala ekikopo n’okuddayo.
ONO BWINO: Bizibu ki by’ofunye mu Lugazi FC?
BOGERE: Okuba nga ssaatandika na ttiimu mu ‘pre season ‘ nga kino kitegeeza nti ssaali musaale mu kugula abazannyi.
ONO BWINO: Mupiira ki ogukyasinze okukukaluubirira sizoni eno?
BOGERE: Omupiira nga tusamba Wakiso Giants nga gwaggwa 1:1.
ONO BWINO: Lwaki obadde nnyo ku katebe?
BOGERE: Emirimu gibuze ng’abagagaa tebampa mirimu.


