Amapenzi Ga Valentayini: Bawadde Abakazi Obukodyo Bw’okwetega Abasajja Ku Lunaku Lw’abaagalana…

Leero mu muko gwa Ssenga, tukuleetedde ebintu by'osobola okukolera omwami wo ku valentayini eno, okumulaga nti y'abakira abalala omuli n’obuwala obumwetega nga bwagala abukwane.

Editor Ono Bwino
6 Min Read
Abaagalana nga beelaga amapenzi ku Valentines

NG’ABAAGALANA beetegekera olunaku lwabwe olwa Valentine olubeerayo nga February 14 buli mwaka, omwezi guno, abasajja balaajanye nga bagamba nti nabo baagala kufiibwako ng’abakazi bwe baagala okuyisibwa buli kadde.
Leero mu muko gwa Ssenga, tukuleetedde ebintu by’osobola okukolera omwami wo ku valentayini eno, okumulaga nti y’abakira abalala omuli n’obuwala obumwetega nga bwagala abukwane.

MWEBAZE OLW’OKUKULAGA OMUHABBATI
Omusajja wo tandika ng’omwebaza olwokukwagala n’okukulabirira. Osobola n’okunokolayo ku bintu ebyo byeyakukolera ne bikuleeta essanyu oba engeri gy’akuleetera okuwulira nga muli mwembi, nga mwogera ku ssimu, ng’omutunuddeko oba kale ng’omulowoozezzaako.

Okumwebaza ngeri ya maanyi gy’oyinza okuleetera omusajja wo okuwulira nti wa muwendo era asiimibwa. Kino kigenda kumuleetera okwongera okwekkiririzaamu wamu n’okukkiririza mu mukwano gwammwe era agenda kuwulira nti naye ayagalwa era alina amubiita.

Mulage nti omukkirizaamu era omujjukize nti amalako mu byonna byateekateeka okukola. Ne bwaba tafunye buwanguzi mu ekyo kyakola, okumukkiririzaamu n’okumuwagira kimuleetera okuwulira nti wa muwendo, kiyambako naye okwekkiririzaamu.

MWATULIRE NTI AKUKUBA
Mulage nti omwegomba nti era naawe akukuba. Okulaga nti omusajja wo omwegomba kimuleetera okuwulira nga wa muwendo, era naye abeera ‘ajeewulira’ ne bwabeera mu banne awulira nga wa kitiibwa, era n’akola na maanyi mubeere bulungi. Mutegeeze ky’omwegombako, ndabika ye, kisa kye, okukusesa, enkula ye, oba amagezi ge. Beera wa nnamaddala era ow’enjawulo mu kutendereza kwo, era fuba okussa essira ku bintu ebyenjawulo.

Muwulirize n’obunyikivu obwekika ekyawaggulu. Omusajja wo bw’omuwuliriza n’obunyiikivu era n’okufaayo kimuleetera okuwulira nti tali yekka. Mulage nti otwala ebirowoozo bye n’endowooza ze nga bya muwendo. Weewale okusalako oba okugoba endowooza ze, era fuba okubuuza ebibuuzo ebisobola okumukubiriza okweggula gyoli n’ayongera okukweyabiza. Okugeza, osobola okumugamba nti, “Njagala nnyo okuwulira ebisingawo ku ndowooza zo ku nsonga eno. Osobola okumbuulira ebisingawo ku by’olowooza?” Okuwuliriza okw’amaanyi okw’ekika kino kuyinza okuyamba okuzimba obwesige n’omukwano, n’obera nga oli mwagalwa we ate era mukwano gwe ow’okulusegere.

MUTEGEKERE OLUNAKU OLUSUKKULUMU
Okutegekera omusajja wo buli kiseera kijja kukuyamba okuddamu okukwatagana n’okunyweza omukwano gwammwe. Mu kaseera kooba otegese, fuba okulaba nga mukola ekintu mwembi kye munyumirwa. Kiyinza okuba eky’angu ng’okutambulako, okugezesa eky’okulya ekipya, oba okulaba firimu nga muli wamu. Olunaku lw’abaagalana bweruggwa, weemanyiize okutegekangawo obudde obw’omutindo nga muli wamu n’okubufuula ekitundu ku bulamu bwammwe obwabulijjo.

Wagira omusajja wo by’ayagala ate bwoba nga ggwe tobyagala tolaga nnyo kumuleetera kuggwamu maanyi.

Mukubirize okukola ebintu by’ayagala ennyo era mulage nti oli mukwetabamu oba okumuwagira mu ngeri yonna gy’osobola. Okugeza bw’aba muyimbi oba munakatemba oyinza okugenda mu bivvulu bye.

MUKUBEKO BU ‘SAPULAYIZI’
Mwewunyise ng’otegeka Okuwummulako kwabadde tasuubira
Okuteekateeka okuwummulako mu kafo ak’enjawulo waabadde tasuubira kigenda oba okumugulirayo ekirabo ky’abadde tasuubira bimuleetera ebijjukizo eby’olubeerera n’okuleetera omusajja wo okuwulira nga wa njawulo. Tekirina kuba kyamanyi nnyo oba kya bbeeyi, ggwe kikole ng’oviira ddala ku ntobo ya mutima gwo ajja kukisiima. Ekikuku kwekutegeka ekintu ekigenda okumwewuunyisa n’okumusanyusa, n’okukakasa nti kye kintu mwembi kye musobola okunyumirwa nga muli wamu.

Nyumyako naye emboozi ez’amakulu. Teekawo ebiseera okwogera ku nsonga enkulu, gamba ng’ebiruubirirwa byo, by’oyagala, n’empisa zo. Gezaako okubuuza ebibuuzo ebiggule ebimukubiriza okugabana ebisingawo, era owulirize n’obunyiikivu by’alina okwogera. Emboozi ey’ekika kino ey’amakulu esobola okuyamba okuzimba obwesige, omukwano ogw’oku lusegere, n’okutegeeragana mu mukwano gwammwe.

Mulage omukwano ogw’omubiri ku omubiri ng’oyita mu kumunuuna naddala mu ngeri y’okuzannyikiriza ebitundu byammwe ebirimu amasannyalaze, ate sitegeeza gano aga UMEME. Okugeza oyinza okubbirira ka kkiisi ku ttama oba okumunywegera ng’oli emabega. Osobola n’okuzannyisa obusajja bwe oba entula wabula ng’okikola mpolampola bireme kumuluma. Omukwano ogw’engeri eno guyinza okumuyamba okuwulira nti ayagalibwa era nga wa muwendo.

Omusajja wo muwe ku birabo amanye nti ayagalwa era alowoozebwako, anti yakugamba nti bakazi bokka be bawa ebirabo, ggwe bw’okimuwa ofa, oba ovaako ki?.
Okuwa omusajja ebirabo kimulaga nti ofaayo gyali. Gezaako okugaba ebirabo ebirina amakulu. Weewale okuwa ebirabo ebya bulijjo. Osobola okumugulira essaawa, engatto, omusipi, bbokisa, vest, empale n’ebirala.

EBIBUUZO: Lwaki ndoota nneegatta n’abantu be simanyi?

EKIBUUZO: Gyebaleko ssenga. Nze Olivia, nsaba kundagirira ku ddagala ery’amazzi.
OKUDDAMU: Olivia amazzi ogalina, kye weetaaga ye musajja okukwata ku tap ezigasumulula. Mpozzi era weemanyiize okunywa amazzi agabuguma nga tonnaba kwegatta na mwagalwa wo. Era weemanyiize nnyo okunywa amazzi g’ofumbye aga okra, n’ekibwankulata.

EKIBUUZO: Ssenga ndi muvubuka muto eyakatandika okwegatta, bwemalamu akagoba ndwawo okugenda mu kalala, nkole tya?
OKUDDAMU: Ekisookera ddala waakatandika ensonga z’okwegatta n’olwekyo omubiri n’obwongo bwo bijja kumanyiira, ggwe biwe akaseera. Ekirala weewale okulya ebiikesiike era nywa nnyo eddagala erigogola emisuwa.

EKIBUUZO: Nze Maria e Mpigi, ssenga mpaayo enkola eya kizaalaggumba ey’ekinnansi, ez’ekizungu zimazeeko emirembe.
OKUDDAMU: Emu ku ngeri eya kizaalaggumba ey’ekinansi kwekubala ennaku zo n’omanya ddi lwogenda mu nsonga ne weewala okwegatta oba n’okozesa obupiira. Kyokka kisingako okugenda ew’omusawo omutendeke, n’akukebera era n’akuwa enkola ey’ekizungu etaakumaleeko mirembe.

EKIBUUZO: Wemba nga ndoota nga nneegatta n’omuntu gwesimanyi oba gwe manyi kitegeeza ki? ASADI MULUBA E KIBULI:
OKUDDAMU: Ekyo kitegeeza olina omukazi mu nsi y’emyoyo era ye yeegatta naawe. Omwoyo ogwo gusobola okukwavuwaza, okukulemesa okuwasa n’okukusiraanya. Bwoba mukkiriza mu Katonda saba nga tonnaba kwebaka era ozuukukeko n’ekiro osabe Katonda wo akutule enkolagana zonna wakati wo n’omwoyo ogwo.

ABANOONYA OMUKWANO..

Nze Rukundo Jaffet nina emyaka 22. mbeera Nsangi -Kasenge Ward, noonya omukyala ng’alina emyaka 22,35 nga yakolamu sisosola mu ddiini oba mu langi. Asiimye nkubiraako ku 0785355962,0750375816.

Alina Ekibuuzo, SMS/WhatsApp; 0774602433/0702153328.

Share This Article