PULEZIDENTI Yoweri Museveni yakitegedde mu nkiiko zaatuuza okusala amagezi ku ngeri gy’asobola okuddamu okuwangula Buganda n’ekibiina kye ekya NRM nti wadde pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu(Bobi Wine) yamuwangula mu Buganda, wabula obululu bweyafuna busingala wala bweyafuna mu bitundu by’Acholi, Lango, Karamoja ne Busoga nga kino kyamuwa essuubi nti bw’akyusaamu asobola okuddamu okufuna obuganzi mu Buganda.
Emmanuel Lumala Dombo akulira eby’amawulire ku kitebe kya NRM mu Kampala atukakasizza nti pulaani eno baagitandikako dda ng’akalulu ka 2021 kaakaggwa ne basisinkana mu kyama abakulembeze b’ennono, bannaddiini n’abantu ab’ensonga mu Buganda abaababuulira amazima lwaki Bobi Wine yabamegga kyabugazi n’enkoona n’enywa mu Buganda.
Lipooti eyo baagiwereza dda mu kakiiko kaabwe ak’ekibiina ak’oku ntikko ka Central Executive Committee (CEC) ng’okubaganya ebirowoozo kukyagenda maaso.
EFFUJJO LISUSSE KU BANTU BA BULIJJO
Ono ategeezezza nti emu ku nsonga enkulu eyaweebwa bannaddiini ab’amaanyi mu bitundu by’e Masaka n’abakulembeze b’ennono ly’effujjo erikolebwa ab’ebyokwerinda ku bantu ba bulijjo nga balumiriza nti kino kyanyiiza nyo abantu mu Buganda kubanga ebikolwa bino mwe byasinga okukolebwa ne basalawo okuwagira Bobi Wine.
OBWAVU BUWUNYA MU BUGANDA KYOKKA NRM ESIRISE!
Obwavu obuyitiridde n’ebbula ly’emirimu mu Buganda nakyo kyayogerwako nga pulezidenti yasuubizza okukimalawo ng’alagira abakozi ba gavumenti ye ne NRM okukubiriza abavubuka okwenyigira mu kutendekebwa okwobwereere mu masomero agatandikibwawo pulezidenti Museveni okubayigiriza emirimu gy’emikono basobole okutandika okwekozesa nga beetandikirawo emirimu.
Museveni yayongera amaanyi mu nkola ng’eya Perish Development Modal (PDM) ng’abalimi n’abalunzi gavumenti ebawa akakadde ka ssente kamu okwongera ku nfuna yaabwe, enkola eno omumyuka wa pulezidenti w’ekibiina kya Democratic Party (DP) mu ggwanga lyonna Fred Mukasa Mbidde ategeezezza nti Museveni alinga eyagireetera abantu b’omu Buganda n’ebitundu ebitali by’ewaabwe mu Ankole kubanga bo bagagga bavundu. Nti omuntu alina ffaamu y’ente teyeetaaga kakadde ka ssente za Museveni era ensonga eno Abaganda balina okugitunuulira n’eriiso ejjoji.
Ensonga y’okutulugunya abavubi ku nnyanja, Dombo akkiriza nti y’emu ku zaawanguza Museveni ne NRM mu Buganda wabula minisita w’amasannyalaze n’obugagga obw’omuttaka Ruth Nankabirwa ategeezezza nti pulezidenti bagenda kumusaba agitunulemu abavubi abakwatibwa mu misango egyekuusa ku nvuba embi basonyiyibwe n’ebikozesebwa byabwe mu buvubi bibaddizibwe.
Wabula Mbidde ategeezezza nti kino kigenda kubeera kizibu okutuukirizibwa ng’alumiriza nti Museveni bambega bamuwa lipooti nti abatujju ba Allied Democratic Forces (ADF) abaagala okuwamba gavumenti ye babadde bakozesa ennyanja okukola ssente nga bawanyisiganyamu n’abavubi ne babawaamu eby’enyanja bye batunda ku ssente enyingi mu Congo gyebazimba enkambi zaabwe ate bo ne babawaamu eby’obugagga by’omu ttaka bye basimayo.
Robert Migadde Ndugwa omubaka w’e Buvuma era nga y’akulira ababaka ba NRM mu palamenti abava mu Buganda ategeezezza nti Museveni ne Buganda buli omu yeetaaga munne obutasanaawo nga balina okwataganira ewamu ku lw’obulungi bwa buli omu ng’akakasa nti singa bakola ebyo ebibasuubirwamu abantu ba bulijjo, NRM esobola bulungi okuwangula Buganda mu 2026.
PULAANI YA MUSEVENI ENKAMBWE KU BUGANDA
Omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda ategeezezza nti Museveni yategeeza bakulu banne mu lukiiko lwa CEC ng’akalulu k’okujjuza ekifo kya Kawempe North nga kawedde nti balina okukakozesa okulaga nti bakyali b’amaanyi mu Buganda ng’eno y’ensonga lwaki ataddewo embeera y’okutiisatiisa nga bwagenda okusiba bonna ab’enyigira mu mivuyo gy’akalulu ako akaawangulwa munnamateeka Erias Luyimbaazi Nalukoola.
Ono ategeezezza nti Museveni yabategeeza nti bwe watabaawo kyebakola mu bululu obuddako bagenda kubulwa abantu be basimbawo mu bifo by’obukulembeze mu Buganda nga bannNRM baabwe balina okubazzaamu essuubi nga bakwata abo bonna abeenyigira mu ffujjo ly’e Kawempe ng’alumiriza nti eno y’ensonga lwaki omubaka omulonde ow’ekitundu ekyo Nalukoola baaluddewo okumulayiza n’okumussa mu kyapa kya gavumenti.
ABAAFEZE MUSEVENI OBUWUMBI BWA SSENTE BASATTIRA
Ssemujju alumiriza nti mu kalulu k’e Kawempe, Museveni yataddemu ebisawo bya ssente bingi ezisukka obuwumbi obutano nga bamaze okumukakasa nti zisobola bulungi okukola omulimu akalulu nebakawangula mu ngeri yonna wabula abaana ba Foot Soldier ne babalemesa ku ssaawa esembayo ate nga ssente bamaze okuzikozesa.
Ono anyonyola nti akalulu bwe kaatuuka, Museveni yayita basajjabe okuli Brig Gen Christopher Sserunjogi Ddamulira aduumira obukessi mu poliisi ne Maj Emma Kutesa komando wa SFC nga bano beyakwasa omulimu gw’okumatiza abavubuka ba Ghetto okumuwagira ne NRM mu Buganda ng’ayagala okutegeera oba balina abantu abasobola okubawanguza e Kawempe.
Brig. Gen. Ddamulira ne Maj Kutesa okusinziira ku Ssemujju baakakasa Museveni nti balina abavubuka 20,000 nga balonzi b’e Kawempe North era beetegefu okuwagira omuntu waabwe Faridah Nambi gwe baali basimbyewo mu kalulu ako ekintu ekyazzaamu Museveni essuubi n’asumululu agasawo ga ssente ng’eno y’ensonga lwaki ne Nambi yali awaga nti akalulu bakayingiddemu n’emitwalo gy’abantu ebiri.
M7 MUNYIIVU NNYO
Ssemujju ayongeddeko nti obusungu kati Museveni bwalina kwekubeera nga ssente ze baazirya ate n’akalulu n’atakawangula nga bonna abaamufera alina okubeesasulizaako ng’abasiba mu makomera wabula ensonda mu State House zitubuulidde nti bonna be balumiriza okuyiwa ekintu kya Museveni beekwasa Hajjat Hanifa Karadi eyalemera mu kalulu wadde nga kkaadi ya NRM baali bagiwadde Nambi.
Bano balumiriza nti Karadi yakozesa mikwano gye naddala ba RDC n’abamyuka baabwe be baayiwa e Kawempe okuyambako okutuukiriza ddiiru okumubbirako ku ngeri olukwe lwonna bwerwali lulukiddwamu ng’ono naye olw’obusungu n’aloopa ewa Bobi Wine eyabuusa nga basajjabe abaakulemberwangamu David Lewis Rubongoya ssaabawandiisi wa NUP, Joel Ssenyonyi akulira oludda oluvuganya mu palamenti ne Nalukola yenyini.
M7 OLUKIIKO YALUMALAKO AKUBA MASIMU
Ssemujju alumiriza nti bammemba ba CEC bwe baateeka Museveni ku nninga nga bawakanya ebimu ku byeyali abagamba ku ngeri akalulu gyekatambulamu nga bamutegeeza nti abantu beyatuma okugoberera ebyali bigenda mu maaso amawulire bamuwa mafu, yakwata essimu n’atandika okukubira omu kw’omu kwabo abaali mu bifo ebirondebwamu okutangaaza aba CEC nga kino Ssemujju anyonyola nti kyekiraga obumalirivu bwa Museveni okwezza Buganda nga ab’oludda oluvuganya balina okukwatira ewamu.
LWAKI ALEESE KIRYOWA KIWANUKA OKUKULEMBERAMU EKIKWEKWETO
Ensonda zitubuulidde nti ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka y’omu ku babwongo abali emabega w’ekibalo kya ‘Buganda for Museveni 2026’ ababaka ba palamenti aba NRM abava mu Buganda mwebayise okununula Buganda.
Mbidde agambye nti Kiwanuka y’omu ku bantu Museveni baasinga okwesiga n’atuuka n’okumukwasa ebiwandiiko eby’ekyama omuli basajjabe ab’oku byalo ng’abamu yalwana nabo mu lutalo olwaleeta gavumenti ye mu buyinza abalina okumuyiggira obuwagizi mu byalo n’okumubuulira ebigenda mu maaso ku ‘ggulaawundi’.
Bano Kiwanuka kati agenda abakubira amasimu n’okubasisinkana nga kyayagala kwekutegeera ekyabanyiza n’okutegeera lwaki tebawagira Museveni ng’ono atubuulidde nti mu ntambula zebatandise okukola mu Buganda zaakubayambako okutegeera ebizibu ebiruma abantu b’omu Buganda biteekebwe mu manifesito yaabwe eyatandise edda okukolwako.
KIWANUKA YE BWONGO WA M7 OKUVA MU 2006
Kiwanuka y’omu ku balooya abazze bawolereza Museveni n’abanene mu NRM mu misango gy’obululu n’emirala okuviira ddala mu 2006 ng’ensonda zitubuulide nti okuva mu 2011, y’akulemberamu ttiimu ya bannamateeka ewabula Museveni ku byalina obutakola mu kampeyini okwewala okuzza emisango gy’ebyokulonda abamuvuganya basobole okugyesibako okumutwala mu kkooti.
Migadde ayongeddeko nti mu ntambula zino bo ng’ababaka ba NRM be beeteeramu ssente zaabwe nti temuli za Museveni era tebagenda kugenda mu bifo omuli ababaka b’oludda oluvuganya mu palamenti bagenda kugenda mwebyo ebya NRM byokka.
ONO BWINO wabula akitegeddeko nti ababaka abasinga mu NRM bakozesa enkola eno okusobola okutaasa ebifo byabwe ebya palamenti n’okulaba nga pulezidenti Museveni abongera obwaminisita mu bifo ebisava mu gavumenti eddako.
OKUSATIIRA MU KAKIIKO K’EBYOKULONDA
Ensonda zitubuulidde nti obunkenke bw’amaanyi mu kakiiko k’ebyokulonda ng’abanene bangi batya nti essaawa yonna bandiggulwako emisango egyekuusa ku mivuyo gy’ebyokulonda n’okugobwa ku mirimu gyabwe.
Okusattira kuno kuleeteddwa okunonyereza Museveni kwagenda mu maaso okukola ku kyawanguza NRM e Kawempe ng’abanene bangi baggyibwako sitatimenti nga kiteeberezebwa nti baayambako Nalukoola okuwangula.
Bano babalumiriza nti abalondesa abaalina okukola e Kawempe abaali bamaze n’okutendekebwa baayimirizibwa ku ssaawa esembayo nebaleeta abalala abaalondeesa nga bano abayimirizibwa be baaloopa ewa Museveni nti n’akasiimo kebalina okufuna tekabaweebwa.
Bambega balowooza nti luno lwali lukwe okuyambako Nalukola okuwangula ng’obunkenke obwateereddwawo bwaleetedde abamu ku banene mu kakiiko okugwamu ekitengo nebadduka mu ggwanga nga beekwasa nga bwebagenze okujjanjabwa.
Bino webibeereddewo nga abakozi mu kakiiko k’ebyokulonda 5 nga bakulembeddwamu Leonard Mulekwah ssaabawandiisi waako nga bayimiriziddwa ku mirimu nga okunonyereza kugenda mu maaso ku biteeberezebwa nti benyngira mu bikolwa by’obuli bw’enguzi.
AKAKIIKO K’EBYOKULONDA KAZZE KABEERAMU VVULUGU
Guno si gwe mulundi ogusoose obunkenke okubeera mu kakiiko k’ebyokulonda ng’akalulu kasembedde, mu 2021 Sam Rwakojo eyali ssaabawandiisi w’akakiiko n’omwogezi waako Jotham Taremwa n’abalala baagobwa ku mirimu gyabwe ku nsonga ezitaategeerekeka nga Bobi Wine ne banne balumiriza nti bano baagobwa lwakuwandiisa NUP ng’ekibiina ky’ebyobufuzi nga Museveni tamanyi.
BOBI WINE NAYE AWADDE EBIRAGIRO
Ensonda mu NUP zitukakasizza nti Bobi Wine yalagidde dda Muhammad Muwanga Kivumbi omumyukawe atwala Buganda okutandika okugenda nga balimbululu bweyayise obulimba obukolebwa Kiwanuka ne banne.


