Abaaluka Ddiiru Y’okusiba Dr. Besigye Basattira: M7 Atabuse Ku Bambega Abamuwa Obujulizi Bw’ekifere N’aswala Mu Nsi Yonna…

OMUWAABI w’emisango gya gavumenti atanywa guteeka, Richard Birivumbuka, wadde bulijjo mu kkooti e Nakawa ayogeza maanyi n’obukambwe ng’oyinza okulowooza nti ye mulamuzi, naye ku luno yannyogoze n’atandika okutabukira balooya abawolereza Dr Kizza Besigye, Obed Lutale Kamulegeya n’omujaasi Capt. Denis Oola abakulemberwamu Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago.

Sengooba Alirabaki
7 Min Read
Dr Kizza Besigye ne Pulezidenti Museveni

OMUWAABI w’emisango gya gavumenti atanywa guteeka, Richard Birivumbuka, wadde bulijjo mu kkooti e Nakawa ayogeza maanyi n’obukambwe ng’oyinza okulowooza nti ye mulamuzi, naye ku luno yannyogoze n’atandika okutabukira balooya abawolereza Dr Kizza Besigye, Obed Lutale Kamulegeya n’omujaasi Capt. Denis Oola abakulemberwamu Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago.

Ensonda zitubuulidde nti Birivumbuka ne mukamawe ssaabawaabi w’emisango gya gavumenti omukulu omulamuzi Jane Frances Abodo baabadde tebakisuubira nti omulamuzi omukulu owa kkooti y’e Nakawa Christine Nantege agenda kugaana okuwulira okusaba kwabwe okubakkiriza okukebera amasimu g’abasibe naddala eya Dr. Besigye okusobola okuggyamu obujulizi obugenda okubayamba okumulumiriza mu misango gy’okulya mu nsi olukwe ng’apanga okutta pulezidenti Museveni ng’akozesa ennyonyi ekika kya Drone obwevuga bwokka n’okuwa abanene mu gavumenti obutwa.

Ingrid Turinawe omu ku bakazi minywanyi nnyo gya Besigye, yakakasa dda nga bwewaliwo abakozesa essimu z’omusibe nga bano baweereza n’obubaka ku nnamba z’amasimu agali mu ssimu ye nga kino ensonda mu securite zaatukakasizza nti ddala essimu ya Besigye baagisumulula ne babaako obubaka bwe bafunamu wabula balooya mu ofiisi ya ssaabawaabi wa gavumenti baabakakasizza nti obubaka obwo tebasobola kubukozesa ng’obujulizi obuluma Besigye olwengeri gye baabufunamu.

Balooya baabuulira abasecurite nti balina kufuna kiragiro kya kkooti okukebera essimu za Besigye nga kino kikolebwa ne balooya be weebali olwo ne bulyoka bukozesebwa ng’obujulizi mu kkooti era omulamuzi okugaana okuwulira okusaba kwa gavumenti okukebera essimu za Besigye olwokuba fayiro y’omusango gwe yasindikibwa dda mu kkooti enkulu okutandika okuwulirizibwa nga gavumenti ekakasizza nti obujulizi bwonna ebulina obumusiba kitegeeza nti takyagirinako buyinza bwonna ng’okusaba okwo balina kukola mu kkooti enkulu.

Lukwago ategeezezza nti okunonyereza kwonna kwaggwa nga tewakyali mulamuzi ategeera obulungi akyasobola kukkiriza kukebera ssimu ya Besigye. Ensonda mu ofiisi ya ssabawaabi wa gavumenti zitubuulidde nti lino kkonda ddene eryabakubiddwa mu mu musango guno wabula vvulugu yenna ne bamuteeka ku bambega b’amagye abaasooka okukola kufayiro eno nga ekyali mu kkooti y’amagye Besigye.

ABAPANGA FAYIRO YA BESIGYE BASATTIRA LWAKUSWAZA M7

ONO BWINO akitegeddeko nti obunkenke bw’amaanyi ddala ku kitebe kya bambega b’amagye ki Defence Intelligence and Security (DIS) ekyali kimanyiddwa nga CMI e Naguru, essaawa yonna batya nti Museveni agenda kulagira okukwata bonna abaapanga pulaani y’okukwata Dr Besigye ne Lutale e Nairobi mu Kenya mu 2024.

Ensonda zitukakasizza nti Museveni alina obusungu bungi ku bambega ba DIS bweyakizudde nti obujulizi obusinga bwe bamuwa ku Dr Besigye bweyasinziirako okulagira okubakwata bwali bufu ekintu ekyamuswaza enyo era baabukola ng’ekigendererwa kyabwe kyali kulya ssente z’ekikwekweto kino.

ONO BWINO akitegeddeko nti Omuzungu eyali emabega wa pulaani yonna gwe baatwala ewa Museveni n’amukakasa nga bwakola obwabbulooka bw’ebyokulwanyisa ebitundibwa n’okugulwa mu nsi yonna nga Besigye gweyali afunye okumuyambako okuggusa pulaani y’okutemula Museveni, taddangamu kuwulizibwako okuva Besigye bwe baamukwatira e Kenya ate nga y’omu ku bajulizi abaamaanyi oludda oluwaabi kwe beesigamye.

Ensonda zitubuulidde nti ddiiru eno nga tebanagiguza Muzungu eyabuze, baasooka kugiguza David Greenhalgh eyali muganzi w’omukyala omudigize mu Kampala Shanitah Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black n’agitya.

Museveni baamuwa ebifananyi n’obujulizi obulumiriza Besigye nga bwatendeka abayeekera mu Zambia, Kenya nga bano baagenda okukozesa okumuyambako okuwamba obuyinza mu Uganda ng’ayambwako n’omusajja Joel Wakayima omu ku baali abayambi ba nnaggagga Dr. Aggrey Kiyingi eyagezaako naye okuwamba gavumenti ya Museveni ng’ono yamutuusa mu bagagga ab’okuteeka ssente mu pulaani yonna.

Byonna bye baabuulira Museveni ensonda zitegeezezza nti byazuuse nga byali bifu ng’eno ye nsonga lwaki Maj. Gen James Birungi eyali aduumira DIS yagobwa nga kati yatwaliddwa Burundi okukulira ebyokwerinda ku kitebe kya Uganda. Abasinga kino baakitutte ng’okumubonereza olw’ensobi eyakolebwa mu bukulembeze bwe.

MUHOOZI ATABUSE, AGOBA BULI AMUNYIIZA!

Abanene bangi mu DIS mu kiseera kino bakwatiddwa ku biragiro bya Gen Muhoozi Kainerugaba omuduumizi wa UPDF era omuwabuzi wa pulezidenti ku bikwekweto ebyenkizo nga bateeberezebwa nti be babadde emabega w’okuwa pulezidenti amawulire g’ekikessi amafu bo okusobola okulya ssente.

Kyazuuliddwa nti bano balimbalimba pulezidenti ne bamwogeza obulimba nga omu ku baduumira ADF oluvanyuma lw’okukwata mukama waabwe Jamil Mukulu Kyagulanyi, Meddie Nkalubo bweyali attiddwa mu bikwekweto bya UPDF mu gabira g’e Congo ekitali kituufu.

Bambega Abamerica aba CIA be baabuulidde Muhoozi nti Nkalubo akyali mulamu era akyakwasaganya ebikwekweto bya ADF ne Al-Shabab e Somalia ne Congo, obusungu buno bwe bwaleetedde Muhoozi okulagira okukwata omusajja Hamza Lyavara eyali omuyeekera wa ADF wabula oluvanyuma ne bamuwa ekisonyiwo.

Lyavara bakimuteekako okubeera nti yabadde akolagana n’abanene mu DIS okupanga amawulire g’ekikessi amafu bo balye ssente nga muno mwemuli n’okupanga bbomu ez’ekifere ng’ezaabwatukira e Munyonyo ne ku Kalerwe.

M7 ANNAKIRIZA OKUVUGANYA N’OMUSIBE BESIGYE KU BWAPULEZIDENTI MU KALULU KA 2026?

Enteekateeka zonna zinaatera okumalirizibwa ekibiina kya People’s Front for Freedom (PFF) okuleeta Dr Besigye okuvuganya ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2026 oluvanyuma lw’Omuloodi Lukwago n’omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda okutya okukavuganyamu.

Wiiki ewedde Lukwago yakakasizza nga bweyatwalidde Besigye ebiwandiiko ebikwata ku kibiina kyabwe ekya PFF n’abiteekako omukono, ensonda zirumiriza nti kyebaliko kati kwekunonya emikono egigenda okumusemba okuvuganya ku bwapulezidenti okwetoloola eggwanga lyonna.

BALOOYA BALANGIRIDDE

Abavubuka abalwanirize b’eddembe ly’obuntu nga bakulemberwamu looya Eron Kizza ne Male Mabirizi baalangiridde ekikwekweto okuteeko akazito ku kkooti okuyimbula Besigye ku kakalu kaayo nga mu kkooti bateekayo okusaba kwa mirundi ebiri ayimbulwe wabula n’okutuusa kati abalamuzi abaaweebwa fayiro zino batya okuziwuliriza.

Micheal Kabaziguruka akulira akakiiko k’ebyokulonda mu PFF yategeezezza nti tekyetaagisa muntu kwetuukira ku kitebe kyabwe okusaba okuweebwa fulaaga ng’asobola bulungi okuweereza ebiwandiiko yonna gy’abeera ng’ensonda zitegeezezza nti kino kyakoleddwa kuyisaawo Dr.Besigye.

Guno si gwe mulundi ogugenda okusooka okuwandiisa Besigye ng’ali mu kkomera, mu 2005 baamuwandiisa okuvuganya ku bwapulezidenti ne mu kalulu ka 2006 ng’ali mu kkomera e Luzira n’akwata kyakubiri, wadde ye agamba nti yawangula ne bamubba.

Share This Article