OMUSIBE BESIGYE: Lwaki Securite Etya Okumuyimbula Okugenda mu Bazungu Okujjanjabwa: Ebibaddewo Emyaka 25 Ng’azoganya Muzeeyi…

OMUTUNUULIZI w’ebyobufuzi era mbega omutendeke, Charles Rwomushana, asabye Gen Muhoozi Kainerugaba omuduumizi wa UPDF akkakkanye obusungu akkirize Dr. Kizza Besigye atwalibwe mu ddwaliro afune obujjanjabi obusinga bw’afunira mu kkomera e Luzira gye baamusibra ku misango egyekuusa ku kugezaako okutabangula emirembe n’okukozesa eryanyi okuggyako gavumenti ya pulezidenti Museveni.

Editor Ono Bwino
15 Min Read

OMUTUNUULIZI w’ebyobufuzi era mbega omutendeke, Charles Rwomushana, asabye Gen Muhoozi Kainerugaba omuduumizi wa UPDF akkakkanye obusungu akkirize Dr. Kizza Besigye atwalibwe mu ddwaliro afune obujjanjabi obusinga bw’afunira mu kkomera e Luzira gye baamusibra ku misango egyekuusa ku kugezaako okutabangula emirembe n’okukozesa eryanyi okuggyako gavumenti ya pulezidenti Museveni.

SINGA BESIGYE AFIIRA MU KKOMERA…

Rwomushana ategeezezza nti amanyi obusungu Muhoozi bwalina oluvanyuma lw’okukitegeera nti Besigye yalina pulaani etta kitaawe, wabula n’amulabula nti singa Besigye afiira mu kkomera e Luzira, obusungu obugenda okwabika ng’abantu naddala abawagizi be nga batunudde ku mulambo gwe nga gufulumizibwa ggeeti y’ekkomera e Luzira bugenda kuleetera eggwanga okutabanguka nga kigenda kumubeerera kizibu ye ne banne okuzza embeera mu nteeko ng’abantu batabuse.

Ono awagiddwa omunonyereza w’ebyobufuzi Dr Godber Tumushabe ategeezezza nti Besigye kasita afiira mu kkomera, abawagizi be bayinza obutawoolera ggwanga nga yaakafa wabula ne bwekinaatwala ebbanga eryenkanawa, bagenda kuwoolera ekintu eky’omutawaana enyo eri Bannayuganda ababadde bagezaako okwegatta oluvanyuma lw’ebyobufuzi ebyayita okubaawulayawulamu.

Rwomushana asabye n’aba famire ya Dr Besigye naddala mukyalawe Winnie Byanyima okukkakkana baleme kukozesa mbeera ya Besigye kutandika kuyisaawo byabufuzi byabwe nga bweyalabye Doreen Nyanjura omumyuka w’Omuloodi wa Kampala ne Ingrid Turinawe nga beekalakaasa mu Kampala n’abakazi nga bakunga abantu okubeegattako bagobe gavumenti ya Museveni mu buyinza n’ategeeza nti bino Muhoozi ne banne bwe babiraba ng’obusungu bubeeyongera.

Ono anyonyodde nti Byanyima kyeyakoze ne balooya ba Besigye abaakulembeddwamu Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago okuvuma minisita omubeezi owa tekinologiya Dr Chris Baryomunsi olw’okugenda e Luzira okulambula ku Dr Besigye kyabadde kikyamu ng’alumiriza nti Baryomunsi okugenda e Luzira Museveni alina okuba nga ye yabadde amutumye okugendayo okwetegereza embeera ya Besigye gy’alimu mu kkomera ng’omusawo.

Bano we boogeredde bino ng’aba famire ya Besigye nga bakulembeddwamu mulamuwe Edith Byanyima baakavaayo ne balabula nti singa omuntu waabwe afira mu kkomera, Museveni yaagenda okuvunanyizibwa ku kufa kwe ng’omusaayi gwe gwakubeera mu ngalo ze.

ABASAWO BALWANA OKUTAASA BESIGYE

Ensonda e Luzira zitubuulidde nti abasawo b’ekkomera balwana okulaba nga bataasa obulamu bwa Besigye eyagaanye okulya emmere y’ekkomera ng’abeerawo ku mazzi gokka nga bino byonna babikola nga bayambwako abasawo be abagenda mu kkomera okumukeberako.

STATE HOUSE ENYONYODDE EKIRINA OKUKOLEBWA

Hajji Faruk Kirunda omumyuka w’omwogezi wa pulezidenti Museveni ne State House, abuulidde ONO BWINO nti wadde anyolwa olw’embeera y’obulamu Besigye gy’ayitamu, wabula okuyimbulwa balooya be balina okugoberera emitendera gyonna egyateekebwawo mu mateeka nga gavumenti yatandise okuteekawo ebyetaagisa okulaba ng’abantu bonna nga Dr Besigye ababadde mu kkooti y’amagye ng’emisango gyabwe gitwalibwa mu kkooti z’abantu ba bulijjo.

Kirunda ategeezezza nti ssaabawaabi wa gavumenti omulamuzi Jane Frances Abodo yataddewo ttiimu y’abawaabi abagenda okwetegereza fayiro eziva mu kkooti y’amagye bazitwale mu kkooti y’abantu nga balooya ba Besigye balina okukozesa omukisa guno omuntu waabwe ayimbulwe.

Ono asabye aba famire okwegayirira Besigye alye emmere okutasa obulamu bwe.

LWAKI SECURITE ETYA OKUMALA GAYIMBULA BESIGYE?

Gen David Sejusa mukwano gwa Dr Besigye bwe baalwana mu lutalo olwaleeta gavumenti ya Museveni, ategeezezza nti gavumenti bwebeera erina obujulizi obukakasa nti emisango egyaggulwa ku Besigye weebuli, tegenda kumuyimbula abawagizi be ne bwe banaakola batya.

Ono ategeezezza nti ekirina okukolebwa kwekulaba ng’emisango egyaggulwa ku Besigye gitwalibwa mu kkooti y’abantu ba bulijjo mu bwangu olwo balooya be bamusabire okweyimirirwa awoze ng’ava bweru w’ekkomera nga bwafuna obujjanjabi nanyonyola nti ebyokukuba enduulu n’okuvuma abantu ku mitimbagano tebisobola kutaasa Besigye.

Sejusa yeewunyizza abavubuka b’ennaku zino abalowooza nti gavumenti esobola okukyuka olwokuba bavumye omuntu ku mitimbagano n’alagula nti omuntu yenna ne bwanakungu bannansi okweyiwa ku nguudo okwekalakaasa era abagenda okubeerayo tebagenda kusukka 30.

BESIGYE TASOBOLA KUSABA M7 KISONYIWO

Ssejusa ategezezeza nti Besigye gwamanyi asobola okwerwanirira nga y’ensonga lwaki ayagala bamutwale mu kkooti z’abantu n’asekerera abo abalowooza nti Besigye asobola okuKkiriza emisango oba okusaba Museveni ekisonyiwo n’agamba nti kino tekisoboka.

Ensonda zitubuulidde nti kyasaliddwawo nti Besigye ne bwabeera ali muyi nyo talina kumala gayimbulwa, wabula bannamateeka be balina okugoberera emitendera okumusabira okweyimirirwa. Eno y’ensonga lwaki ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka akolaganye bulungi ne balooya beyali omubaka wa Nakawa Mike Kabaziguruka okufunza ebiragiro ebyaweebwa kkooti ensukkulumu nga bayimiriza abantu ba bulijjo okuwoleza mu kkooti y’amagye.

Samuel Muyizi Mulindwa omu ku balooya abali mu musango guno, ategeezezza nti okufunza ebiragiro bya kkooti ensukkulumu kigenda kubayamba okununula abantu baabwe ababadde bawoleza mu kkooti y’amagye mu bwangu.

Wabula Sejusa ayongeddeko nti olugendo lw’okununula Besigye alaba nga lukyali luwanvu nga y’ensonga lwaki yalabula bannayuganda obutasanyukira kyakuwera bantu ba bulijjo kubawozesa mu kkooti y’amagye ng’alumiriza nti kuno kwali kubabuzaabuza nga waliwo ekinene ekyali kiyisibwawo ekigenda okubanyigiriza enyo.

UPDF YAZIMBIBWA KU MUSAAYI

Ono ategeezezza nti UPDF yazimbibwa n’amusaayi ng’omuntu yenna agezaako okusattulula emisingi kwe baazimbira eggye lino, naye alina kuyiwa musaayi nga kino bannayuganda balina okukimanya nga buli kyebakola bakikola n’obwegendereza mu kifo ky’okudda mu kuwemula n’okuvuma abantu abakulu nga balowooza nti kyekigenda okubayamba okutwala obuyinza bw’eggwanga.

Ensonda zitegeezezza nti aba securite batya okumala gayimbula Besigye omuntu eyatandikawo ekibiina ky’obuyeekera ekya People’s Redemption Army mu 2003 n’ekigendererwa ky’okukozesa emmundu okuggyako gavumenti ya Museveni n’eryanyi nga kino bwebakikola abalala abaagala okukola nga ye basobola okulowooza nti osobola okwegeza mu gavumenti n’okozesa amateeka okusimattuka ekkomera.

WADDE BESIGYE AKADDIYE NAYE AKYALUMYE M7 OMUTWE

Bano batubuulidde nti Besigye wadde akaddiye, naye akyalina ekirowoozo ky’okukozesa eryanyi okuggyako Museveni ng’ayinza n’okudamu okukunga abantu okwekalakaqsa nga bweyakola mu 2011 ne bateeka gavumenti ku bunkenke.
Ensonda zitubuulidde nti aba famire ya Besigye balina pulaani nti bwe bamuyimbula bagenda kumutwala e Bulaaya okusisikana abasawo be ababadde bamujjanjaba nga kino kyabulabe eri gavumenti kubanga ayinza obutakomawo mu ggwanga oba okukozesa omukisa ogwo okuddamu okusisinkana abagagga abaali bamusuubizza eby’okulwanyisa okuggyako gavumenti ya Museveni.
Besigye okusibwa mu kkomera, bambega mu bitongole ebikessi baamukwatira Kenya mu November wa 2024 nga balumiriza nti yaliko baddiira abatunda eby’okulwanyisa beyali agenze okusisinkana n’ekigendererwa ky’okumuyambako okutta Museveni ne famire ye. Wadde ye agamba yali agenze kutongoza katabo ka Munnakenya mukwano gwe Martha Karua.

BADDIIRA BATANDISE OKWAGALA OKULIIRA KU BESIGYE

Ensonda mu State house zitubuulidde nti waliwo abantu abatandise okuweereza Museveni obubaka n’okumusaba okumusisinkana boogere ku nsonga za Besigye wabula bano bonna tewali akakasa nti Besigye y’abatumye.
Wiiki ewedde eyali minisita wa securite Lt Gen Henry Tumukunde yasabye abantu b’e Rukugiri Besigye gy’azaalwa okumwegattako okugenda mu State House basisinkane Museveni bamuperereze asonyiwe Besigye ng’aluumiriza nti wano wokka webasobola okumutaasiza.

EMBEERA YA BESIGYE MU KKOMERA ETIISA

Winnie Byanyima mukyala wa Dr Besigye ategeezezza nti ku Mmande abakulu mu kkomera e Luzira baamukkiriza okulambula ku mwamiwe mu kasenge mwe baamusibira, yamusanga yeebase ku kakeeka nga yeetoloddwa ebibookisi ebijjudde empapula z’amawulire enkadde.

Mu kasenge mwalimu akameeza n’akatebe kwatuula nga yamutegeeza nga bweyali amaze ennaku 5 nga talya mmere nga yeekalakaasa olw’okuwambibwa mu Kenya n’akomezebwawo mu Uganda mu bumenyi bwamateeka n’okubeera nga asibiddwa mu bumenyi bwamateeka nga kino kyamuleetedde okukoga enyo ng’alinga omusokoolemu ebyenda.
Byanyima ategeezezza nti Besigye yamugambye nti ab’amakomera baakozesezza kifuba okuyingiza Dr Chris Baryomunsi munisita w’amawulire n’okulung’amya eggwanga mu kasenge ke kubanga okukatuukako oyita mu ggeeti mukaaga nga kazimbibwa kusibiramu abatujju ab’omutawanna ennyo.

Ono ategeezezza nti Besigye yamutegeezezza nti talina kigambo kyonna kyeyayogedde ne Baryomunsi ng’obwedda amubuuza nga ye tamuddamu okutuusa bweyenyudde n’atambula n’afuluma, bweyagenze Besigye yatabukidde nyo abasirikale okukkairiza omuntu gwatayise okuyingira mu kasenge ke ku kifuba.
Byanyima yeewunyizza nyo Baryomunsi okusaasaanya obulimba nti yayogeddeko ne Besigye ng’ono alajanidde Museveni ne Gen Muhoozi okutaasa omwamiwe bamuyimbule agende afune obujjanjabi obusingawo.

Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu(Bobi Wine) n’abakulu ku ludda oluvuganya ku Mmande nabo baagenze e Luzira wabula tebaasobodde kulaba ku Dr Besigye nga yabasindikidde munne bwe baakwatibwa mu Kenya Hajji Obed Lutale Kamulegeya eyabategeezezza nti Besigye mulwadde nyo nga ne ku makya g’olunaku olwo yazirikidde mu kkomera.

M7 BAMUWADDE SSAAWA NG’AYIMBUDDE BESIGYE

Bobi Wine ne banne baawadde Museveni ne gavumenti ye essaawa 48 nga bayimbudde Besigye n’abasibe b’ebyobufuzi ababadde n’emisango mu kkooti y’amagye nga kino bwe bataakikola bagenda kukolawo akatiisa.

ENGERI BESIGYE GY’AZZE ATOBAMU NE M7

Munnamawulire Daniel Kalinaki eyawandiika ekitabo ekikwata ku Dr Besigye kyeyatuuma ‘Kizza Besigye and Uganda’s Unfinished Revolution’, ategeezezza nti mu Uganda tewali muntu alwaniridde nfuuga ya demokulasiya ng’awakanya obukulembeze bwa Museveni nga Dr Besigye.

Ono ategeezzeza nti Besigye okubeera nti yali musawo wa Museveni ow’obuntu nga bakyali mu nsiko kyatondawo enkolagana ey’amaanyi ddala ng’eno y’ensonga lwaki ne bwe baawamba obuyinza yamuwa ebifo by’obuvunanyizibwa wadde nga yali akyali mwana muto.

Kalinaki ayongerako nti Besigye ku myaka 29, Museveni eyalina emyaka 41 mu 1986 yasooka kumulonda nga minisita omubeezi ow’esonga z’omunda mu ggwanga ng’akolera wansi w’omugenzi Dr Paul Kawanga Ssemogerere wabula nga ekigendererwa kya Museveni ekikulu kyali kyakukozesa Besigye okubega Ssemogerere eyali munnakibiina kya DP era nga teyalwana nabo.
Besigye yalina emyaka 31, Museveni n’amulonda okukulira eby’obufuzi mu magye ng’omulimu omukulu gwali gwakutegeka byabufuzi bwebirina okutambula mu bukulembeze bwabwe, olukiiko olwakola ssemateeka bwerwalondebwa Besigye yatuulamu ng’akiikirira amagye.

Ono yawakanya nyo okulondebwa kw’omugenzi Al-Hajji Azizi Kasujja eyakulemberako akakiiko k’ebyokulonda, Bidandi Ssali, omulamuzi eyawummula Faith Mwondah, eyali minisita Miria Matembe n’omulamuzi eyawummula George Wilson Kanyeihamba okukiika obutereevu mu lukiiko olwakola ssemateeka nga balondeddwa pulezidenti Museveni ng’omulimu gwabwe omukulu gwali gwakusalawo ebirina okuyisibwa mu lukiiko luno.

BESIGYE AFULUMYA EKIWANDIIKO SSONSOMOLA

Obutakkanya buno bwatabula Besigye mu 1999 n’afulumya ekiwandiiko ekikambwe ng’avumirira ekkubo Museveni lyeyali akutte mu kutambuza eggwanga ng’alumiriza nti ebyabalwanya baali babivuddeko.
Ekiwandiiko kino yakiweereza baminisita bakiteeseeko wabula Museveni n’abalemesa ng’alumiriza nti Besigye akiyisizza mu makubo makyamu, eno y’ensonga lwaki yasalawo okukiwa ab’amawulire ne bakifulumya ensi yonna n’etegeera obutakkanya bweyali afunye ne mukamawe.

Obutakkanya bwe bwanyinyitira enyo, Besigye yateekamu okusaba okuwummula amagye Museveni n’agaana nga wano yalagira Besigye bamugguleko emisango mu kkooti y’amagye ng’abakulembeze ab’ekizo okuva ewaabwe e Rukungiri be baataasa Besigye bwe baasisikana Museveni ne bamusaba asonyiwe omwana waabwe.
Museveni yateekawo obukwakkulizo okwali okulagira Besigye amwetondere olw’okumuswaza mu kiwandiiko kyeyali afulumizza ekintu Besigye kye yagaana ng’agamba nti bwaba alina omusango gw’azzizza Museveni amusibe.

Abataka b’e Rukungiri baamatiza Museveni naasonyiwa Besigye namukiriza n’okuwummula amagye. Besigye yafuna obutakkanya ne bannabyabufuzi abava mu Ankole abaali bamuwakanya okwesimbawo ku bwapulezidenti mu 2001 nga bakimanyi bulungi nti ekyo kyekyali ekisanja kya Museveni ekisembayo nga baagala omusajja Besigye amuleke awummule mirembe.
Kalinaki alumiriza nti olukiiko lwa Besigye ne bannabyabufuzi abava mu Ankole lwatuula mu ofiisi ya Amanya Mushega e Wandegeya ku minisitule y’abakozi Besigye n’abakakasa nti ako ke kaali akaseera akatuufu ak’okuggyako Museveni ng’akyali munafu ng’alumiriza nti ekyo bwe batakikola Museveni yali agenda kukyusa ssemateeka aggyemu ebisanja afuge Uganda okutuusa bwalifa banne ne bamuwakanya nga bamutegeeza nti Museveni eyabakulembera okulwanyisa obwanakyemalira tasobola kukola kyeyali agezaako okumuteekako.

VVULUGU MU KALULU NGA BESIGYE YEESIMBYEYO

Besigye yasalawo okwesimbawo wabula akalulu kaalimu ebikolwa by’effujjo bingi era bwekaggwa yawakanya obuwanguzi bwa Museveni mu kkooti ensukkulumu, obujulizi bweyatwalayo bwalaga nti akalulu tekaalimu mazima na bwenkanya naye abalamuzi ne bategeeza nti wadde byonna byaliwo wabula obujulizi Besigye bweyatwala bwali tebubasobozesa kusazaamu buwanguzi bwa Museveni.

Besigye ebintu byamutabukako nga Museveni ayagala kumukwata amusibe nga wano weyasalira amagezi okudduka mu ggwanga n’agenda e South Africa gyeyava ne yeeyongerayo mu America okutaasa obulamu wabula yakomawo ng’akalulu ka 2006 kanaateera okutuuka.

Olwakomawo mu ggwanga Museveni yamuggulako emisango gy’okulya mu nsi olukwe, okukwata omukazi n’emirala nga kaabula kata obutamuwandiisa okuvuganya ku bwapulezidenti ssaabawolereza wa gavumenti mukiseera ekyo omugenzi Khiddu Makubuya bweyataputa nti omusibe tasobola kuwandiisibwa kuvuganya ku bwapulezidenti wabula omumyukawe Fred Ruhindi n’akola entaputa eyamenyawo eya mukamawe Besigye n’awandiisibwa n’avuganya ku bwapulezidenti.

Besigye era yaddayo mu kkooti ensukkulumu ng’awakanya obuwanguzi bwa Museveni era kkooti neegaana okubusazaamu wadde yatwalayo obujulizi obumala nga wano weyalangirira nga bwatagenda kudda mu kkooti ng’awakanya ebivudde mu kalulu k’Obwapulezidenti nga alumiriza abalamuzi obufere. Akalulu ako kaateeka nnyo Museveni ku bunkenke n’akogga n’okukogga Besigye bweyaleeta eng’ombo nti omusajja ku olwo yali agenda!

Besigye baamuggulako emisango gy’okuwagira ekibiina ky’obuyeekera ekya People’s Redemption Army (PRA) ekyali kisinziira mu Congo era abawagizi be bangi ne baggulwako emisango ne basibwa mu makomera n’abalala ne bafa omwali ne mugandawe Joseph Musasizi Kifefe.
Mu 2011, Besigye yaddamu okwesimbawo ng’akalulu bwekaggwa yateeka Museveni ku bunkenke olw’okwekalakaasa okwokumukumu omwali ‘walk to work’, bannabyabufuzi n’abantu ba bulijjo nga batambuza bigere okugenda okukola nga wano eyali ssaabaduumizi wa poliisi Gen Edward Kale Kayihura yalagira nga bwe babasanga nga babateeka mu mmotoka zaabwe okubatwala gyebakolera ku kifuba.

Besigye yalangirira nga bwatagenda kuddamu kwesimbawo ku bwapulezidenti wabula mu 2016 yaddamu okwesimbawo wadde nga waliwo abaamuwakanya bangi nga balowooza nti yalisimbye amabega wa John Patrick Amama Mbabazi eyaliko ssaabaminisita wa Museveni. Munnamagye Sejusa, mu 2016 yalabikiranga ku kampeyini za Museveni ng’agamba ky’ekiseera Muzeeyi agende.

TAGGED:
Share This Article