Ekikolimo Mu Famire Y’omugagga Kiwanuka Owa Radio One n’Akaboozi Kubiiri? Lwaki Mukyala Muto Eyali Minisita Alwana Ne Mugyawe…

JIMMY SHUNU Chepkurui ku lwa ssaabaduumizi wa poliisi Abas Byakagaba, yawandiikidde Richard Echega omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano okulwana enyo okukakasa ng’ekiragiro ky’akulira abalamuzi ba kkooti enkulu era eyaakalondebwa ku bumyuka bwa ssaabalamuzi Dr Flavian Zeija kye yayisizza ku mugagga Mohan Kiwanuka nnanyini leediyo One, Akaboozi ku Bbiri FM, kampuni ya Oscar Industries ekola ebitabo, alina ebizimbe ebingi mu Kampala, n’ebitundu by’eggwanga ebirala nga kiteekesebwa mu nkola awatali ffujjo lyonna kukolebwa.

Sengooba Alirabaki
8 Min Read

JIMMY SHUNU Chepkurui ku lwa ssaabaduumizi wa poliisi Abas Byakagaba, yawandiikidde Richard Echega omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano okulwana enyo okukakasa ng’ekiragiro ky’akulira abalamuzi ba kkooti enkulu era eyaakalondebwa ku bumyuka bwa ssaabalamuzi Dr Flavian Zeija kye yayisizza ku mugagga Mohan Kiwanuka nnanyini leediyo One, Akaboozi ku Bbiri FM, kampuni ya Oscar Industries ekola ebitabo, alina ebizimbe ebingi mu Kampala, n’ebitundu by’eggwanga ebirala nga kiteekesebwa mu nkola awatali ffujjo lyonna kukolebwa.

Ono okuwandiika ebbaluwa kyaddiridde bannamateeka ba bannyina b’omugagga Kiwanuka okuli Sarah Nsereko, Jalia Muwanga, Yudaya Nantege Nsereko ne Bart Nsereko Kawooya okwekubira enduulu mu offisi ya ssaabaduumizi wa poliisi nga balumiriza mulamu waabwe omuto era eyali minisita w’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga mu gavumenti ya pulezidenti Museveni, Maria Naabasirye Kiwanuka okubalemesa okuteekesa mu nkola ekiragiro kya kkooti ku mwanyinaabwe.

BIKI OMULAMUZI BYE YAYISIZZA KU MUGAGGA W’AKABOOZI?

Omulamuzi Dr Zeija yalagidde bonna abakuuma omugagga mu bwangu ddala okukkiriza banyina n’aboluganda abalala okumusisinkanako oluvanyuma lw’okumala emyaka egikunukkiriza mu 7 nga babalemesa, kino okukikola kyaddiridde okumatiza kkooti nti mwanyina bwe yatabuka omutwe nga takyategeera bigenda mu maaso ku nsi ate abantu baabeera nabo mu makage e Kololo mu Kampala tebamufaako.

Balooya b’omugagga aba kkampuni ya Buwuule Mayiga and Company Advocates bakkiriza nti ddala omuntu waabwe yatabuka omutwe wabula wadde kkooti yawadde ekiragiro, Maria Kiwanuka yaabadde alemesezza banyina b’omugagga okumutuukako ng’alumiriza nti bagenda kumukolako effujjo nga lye bazze bakola okuli n’okukuba amayinja ku ggeeti yaabwe ey’ebbeeyi.

ENGERI GYE YEERANDIZA OKUFUNA SSENTE N’OBWANA BWAZO

Omugagga Kiwanuka obulamu bwe obuwa essuubi okufuka omuntu ow’omugaso mu nsi bwatandika bwe baamutwala ku ssomero ery’ebyafaayo erya Kings College Buddo ewasomera abaana b’abakungu, Bakabaka n’abagagga nga kino kyaddirira maama we okunoba ewa kitaawe omugenzi Rajab Nsereko ow’e Kasana mu disitulikiti y’e Mukono.
Maama w’omugagga ewa Nsereko yazaalayo abalenzi babiri n’abawala ng’olwafumbirwa omusajja omulala ekirabo kyeyamuwa kwali kutwala baana be bombi abalenzi e Buddo wabula eno kaabula kata okubagaana okusomerayo engeri gye baali Abasiraamu ng’eno y’ensonga lwaki omugagga kitaawe gweyali yatuuma Muhammad yakyusa erinnya ne yeetuuma Mohan asobole okugya mu mbeera.
Omugagga olwava e Buddo yagenda e Makerere n’asoma amateeka ne yeeyongerayo n’e Bulaaya. Bweyakomawo mu Uganda yakolako mu bbanka ne mu bitongole eby’amaanyi ng’eno gye yaggya ssente empitirivu n’agaggawala nnyo nga kiteeberezebwa nti y’omu ku basinga ebizimbe mu bifo okuli Nakasero ne Kololo ewasula abagagga abaakolamu.
Mu myaka gye 1990, omugagga ne famire ye baagwamu ekiyongobero mugandawe omulenzi yekka bwe baali baazaalwa mu maama waabwe abatemu bwe baamukubira amasasi e Lugogo n’afiirawo.

ENGERI EBIZIBU MU FAMIRE GYE BYESOMBAMU

Ensonda zitubuulidde nti omugagga Kiwanuka ava mu famire y’omusajja omulwanyi Bwana Lunyomo eyalwana entalo ennyingi mu Buganda n’ebweru waayo, era mu famire yaabwe mwemuva omusajja omulala omugezi ennyo Kassim Male eyasooka okubeera minisita Omusiraamu mu gavumenti ya Kabaka e Mmengo nga Ssekabaka Mutesa y’ali ku Nnamulondo.
Famire eno y’amaanyi nyo, era be baali bannanyini ttaka erisinga mu bitundu okuli Buziga, Bbunga, Munyonyo, Kamwokya, Najjeera, Naalya, Ntinda, Kawempe wabula erisinga abaana n’abazzukulu bazze balitunda.
Famire ya Bwana Lunyomo mwemuva munnamateeka ayuuguumya eggwanga ne Africa okutwaliza ewamu Kassim Male Mabirizi ne Paasita Solomon Male kitaawe omugenzi Mutumba gwe yanyiigira enyo olw’okulokoka n’ava mu Busiraamu mwe baamuzaalira.

KIWANUKA SSI Y’ASOOSE OKUGWA EDDALU!

Ensonda mu famire eno zitubuulidde nti omugagga Kiwanuka si y’asoose okugwa eddalu nga bangi bazze bagwa eddalu, kino bakiteeka ku nsonga y’okwerabira okukola ku nsonga jjajjabwe zeyatandika ezAabawa obugagga n’ettutumu.

LWAKI MUKYALA MUTO YEERALIIKIRIRA NYO AB’OLUGANDA LW’OMUSAJJA

Ensonda zitubuulidde nti ebbanga ddene omugagga abadde alina obutakkaanya n’abamu ku b’oluganda lwe abamulangirirako olutalo nti yabatwalako amaanyi ga jjajjaabwe Lunyomo nga y’ensonga lwaki ye mugagga nyo ate nga bo abasinga baavu.

Obutakkaanya buno bwe bwaleetera omugagga okugaana okuddayo okuziika abantu be ku kigya kya famile e Kasana nga ye abaziika Najeera mu Kampala waalina ettaka eddene.

Wabula banyina b’omugagga balwana nyo okulaba nga muganda waabwe atereera, era okufa kwa kojjaabwe omugagga Muhammad Kasasa Buwule kwabakuba wala kubanga ye yali abayamba, mu kiseera kino olukoba balusibidde ku mutabani w’omugagga omukulu Jordan Ssebuliba Kiwanuka.

Ensonda zitegeezezza nti Nabasirye alina okutya nti bannyina b’omugagga bwe bamusemberera bayinza okumumubbako ne bamutwala mu ssabo okumukolako emikolo okusobola okutereera kubanga bo balumiriza nti obuzibu obwamulwaza bulimu ensonga z’okunyinza Bwana Lunyomo jjajjabwe eyabalwanirira enyo okufuna ettuttumu n’obugagga.

Atya nti omugagga gye bamutwala ayinza okuddamu akategeera n’akola ekiraamo n’agabanya eby’obugagga mu kiseera kino byeyateekamu abaana be 3 ng’abalala omusajja beyazaala mu mukyala gweyasooka okuwasa yababigobamu ng’ayambwako bannamateeka ba famire aba Buwuule Mayiga & Company Advocates.

BATABUKIDDE NABASIRYE

Abaana abaagobwa mu by’obugagga bya kitaabwe balumiriza nti Nabasirye ye yakola olukwesikwesi kitaabwe n’akola ekiwandiiko nga yeegaana mutabaniwe Jordan nti si y’amuzaala wabula yayamba muyambe nga Paasita Male bwagezaako okukola mutowe looya Mabiriizi nti kitabwe omugenzi Mutumba si y’amuzala ng’okusinga yeesiba ku kiraamo Mabirizi ky’alumiriza nti kigingirire.

Jordan okubeera munnamateeka kye kyamutaasa, yaddukira mu kkooti eyalagira omugagga bamutwale ku DNA okuzuula oba yaazaala omwana. Ebyavaayo byakakasa nti yaamuzaala wabula Nabasirye n’agaana okumuzza mu bizinensi za kitaawe nga yeesigama ku nsala y’omulamuzi Musa Ssekaana owa kkooti enkulu gyeyakola mu 2019 ng’akakasa nti omugagga omutwe gwe mulamu era okugoba omwana mu bizinensi ze yakikola ategeera.

LWAKI BANYINA BALWANA OKUDDAMU OKUSISINKANA MUKULU WAABWE

Ensonda mu famire zongerako nti omugagga yaabadde alabirira bannyina abali munda mu ggwanga ne wabweru, okuva bwe baabalemesa okumusisinkana abasinga kati bali mu mbeera mbi ddala nga n’abaana baabwe abamu tebakyalina kyakukola n’obutasoma.

Bano balumiriza nti Nabasirye ebiseera bye ebisinga abimalira mu kukola bizinensi za famire n’okubeera mu bubaga ne bakazi banne abaasoma nga n’abasinga be bano ab’engezigezi z’abaasoma; nga Maama Nnabagereka wa Buganda Sylivia Nagginda Luswata omu ku basinga okubeera mikwano gye enyo, omusajja n’amulekera bakozi b’awaka nabo ebiseera ebisinga abatamufaako.

EBIRALA BANNYINA B’OMUGAGGA BYE BAAGALA

Bano baagala bateekebwe ku lukalala lw’abantu abalina okuddukanya emmaali ya muganda waabwe ng’etteeka bweriragira nti omuntu bw’agwa eddalu balondawo ttiimu y’abantu okuddukanya bizinensi ze okutuusa bw’atereera wabula nga buli luvanyuma lwa mwaka balina okuwa embalirira enyonyola bizinensi bwezitambudde mu kkooti gyebabeera baafunira obuyinza.

Bano era baagala Nabasirye ne banne bwe babadde baddukanya obugagga bwa muganda waabwe banyonyole engeri gye bubadde butambulamu nga balumiriza nti okuva bwe baabugobamu abaana abalala, ebyobugagga bingi bitundiddwa ate ebirala ne bikyusibwa obwannanyini.

Wabula ensonda zitubuulidde nti Nabasirye ne banne bakyalwana okulaba nga bafuna ekiragiro kya kkooti ekisazaamu ebyakoleddwa omulamuzi Zeija nga balumiriza nti abantu beyakkirizza okusisinkana omugagga ba bulabe nyo gyali nga balina okumubeera ewala.

Share This Article