Bitabuse Ewa Kabaka: Minisita Ssebuggwawo, Abalangira n’abataka baluse pulaani egoba Mayiga…

OWEK. Juliet Nabbosa Ssebuggwawo nga ye minisita omubeezi owa tekinologiya n’okulung’amya eggwanga, akakasizza abataka abakuku ab’ebika mu Buganda, Abalangira n’abakulu mu kkanisa ya Uganda nga bwagenda okukola kyonna ekisoboka okulaba nga mu bwangu Owek. Charles Peter Mayiga agobwa ku bwa Katikkiro bwa Buganda.

Kisekka Ronald
12 Min Read
Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ne Katikkiro Mayiga

• Babitaddemu ddiiru Katikkiro gye yakutudde mu kufa kwa sipiika Kawalya

OWEK. Juliet Nabbosa Ssebuggwawo nga ye minisita omubeezi owa tekinologiya n’okulung’amya eggwanga, akakasizza abataka abakuku ab’ebika mu Buganda, Abalangira n’abakulu mu kkanisa ya Uganda nga bwagenda okukola kyonna ekisoboka okulaba nga mu bwangu Owek. Charles Peter Mayiga agobwa ku bwa Katikkiro bwa Buganda.

Nabbosa obumalirivu buno, yabutegeezezza abataka abaagenze ewuwe e Naalya omwezi oguwedde ogwa December okumukubagiza olw’okufa kw’omwamiwe Ying. Daniel Ssebuggwawo n’abasaba okumuwagira mu ngeri yonna okulaba ng’Abaganda beddiza Obuganda ejjoogo ly’abantu obuntu abeeyagaliza ebyabwe nga bakozesa Buganda okufeebya abantu nga ye [Ssebuggwawo] abaakola ennyo okulaba ng’obukulembeze bw’ennono naddala Obwakabaka nga bukomezebwawo mu Uganda oluvannyuma lw’okuwerebwa mu 1966.

NABBOSA MUNYIIVU OLWA MMENGO OBUTASIIMA BBA!

Omu ku bataka abakulu b’ebika mu Buganda atubuulidde nti bino Nabbosa yabibategeerezza mu kafubo akatakkirizibwamu bannamawulire ng’eno gyebasalirawo nti Nabbosa alina okuvaayo mu lwatu n’ayogerako eri ab’amawulire okusobola okutuusa obubaka eri Abaganda bonna ng’alaga obutali bumativu eri abakulu e Mengo olw’obutasiima mwami we ate nga yakola kinene nyo okuzzaawo Obwakabaka.
Okumanya Nabbosa yalina obusungu bungi, bweyali ayogera eri ab’amawulire, Kabaka yatuuka n’okumwatula erinnya lye limu erya Mutebi nga tanuwadde kitiibwa kye, n’amujjukiza nti bweyakomerawo mu Uganda nga pulezidenti Museveni amaze okuwamba obuyinza, abantu bangi baamwekweka nga tebaagala babalabe nga batambula naye, wabula ye n’omugenzi ne basigalawo okubeera naye.

Ensonda zitubuulidde nti oluvannyuma lwa Ssebuggwawo okuwanda omuliro, omu ku bayambi be alina enkolagana ey’omunda n’obukulembeze bw’e Mengo yatandise okukubira bannamawulire mukamawe beyabadde yaakoogera nabo ng’abasaba obutafulumya mawulire ago nti bwebakikola bagenda kulaga mukamawe ng’alwanyisa Obuganda ng’alumiriza nti byonna ebyayogeddwa byayogeddwa mu busungu.

Ku lutikko e Namirembe, Owek. Patrick Luwagga Mugumbule sipiika wa Buganda ye yasoma obubaka bwa Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi nga kino minisita Ssebuggwawo ne banne baakiraba ng’okubayisaamu a maaso nga baali basuubirwa obubaka bwa Kabaka okusomwa omuntu ow’amaanyi mu bukulembeze bw’Obwakabaka gamba nga Katikkiro, abamyuka be oba Abalangira ab’amaanyi mu lulyo Olulangira.

KYASUSSE MU KUZIIKA KAWALYA
Mu kuziika Owek. Kawalya ng’ono yaliko sipiika w’Olukiiko lwa Buganda e Nkumba, omumyuka wa Katikkiro asooka Owek.Pulof. Twaha Kawaasi Kigongo ne baminisita b’e Mengo abalala baaliyo wabula ng’omu ku bo atubuulidde nti baaliyo ku lwabwe ng’abantu abalina omukwano ku famire ya Ssebuggwawo wabula si ku lwa bukulembeze bw’e Mengo.

Abakungubazi beewuunya nnyo okulaba ng’Abalangira tebaalabikako ku mukolo gw’okusabira, okuziika wadde okukubagiza Nabbosa ate nga mu famire eno Ssebuggwawo gye yawasa, y’avaamu Maama Sylivia Nagginda Luswata.

ABALANGIRA BALANGIRIDDE OLUTALO KU MAYIGA

Mu kafobo e Naalya mu maka g’omugenzi Ssebuggwawo, ensonda zitubuulidde nti mwalimu n’omu ku balangira ab’amaanyi enyo era abatava ku lusegere Kabaka ng’era alina enkolagana ya maanyi nyo ne gavumenti ya pulezidenti Museveni.

BAKOONEDDEMU MBIROZANKYA: Ono yabuulira abaali mu luliiko nti Kabaka agoberera bulungi byonna abigenda mu maaso e Mengo nga yamutegeeza nti ebimu tebimusanyusa n’asaba abataka okukwatiza ewamu n’abantu ba Buganda abatakkiriziganya na ngeri Mayiga gy’akulemberamu Buganda basitule eddoboozi Kabaka asobole okubawulira mu kifo ky’olutalo okululekera abantu sekinnoomu.
Ono yeebazizza omutaka Yusuf Mbirozankya akulira ekika ky’effumbe, omutaka Bbosa ow’ekika ky’endiga olwokukunga n’okuteekamu bannaabwe essuubi ne batuuka n’okugenda e Namibia okulambula ku Kabaka n’abategeeza nti kye baakola kyalaga Kabaka nti bakkiriza nti ali mu buwambe ng’okutaasa Obwakabaka alina okubeegattako.

Ono ategeezezza banne nti abalangira abasinga batandise okudda ku mulamwa nga y’ensonga lwaki baataddewo embeera Mayiga bweyabadde agezaako okubalemesa okutegeka omukolo gw’okusabira Kabaka nga 2024 aggwako.

Ensonda zongeddeko nti Mayiga bweyafuna ebbaluwa emuyita okubaawo ku mukolo gw’okusabira Kabaka, yennyini yakubira Ssaabalangira Austine Musanje essimu ng’amusaba okusazaamu omukolo ogwo n’amunyonyola nti bwakikola kigenda kuteekawo embeera mu Baganda eraga nti Kabaka akyalumizibwa ate ng’abadde agenda atereera.

Ensonda zitubuulidde nti Musanje yasaba Mayiga obudde asooke yeebuuze ku banne bwe babadde bategeka omukolo, bonna baagoba okuwabula kwa Mayiga ne bamutegeeza nti okusaba kulina okugenda maaso nga balumiriza nti tebasobola kukolera ku biragiro by’omuntu gwebayita omupakasi era omukopi mu Buganda.

Musanje yategeeza Mayiga nti banne beeremye wabula bakyusizza omukolo tebagenda kuguyita gwakusabira Kabaka wabula bagenda kusabira Buganda yonna ekintu nakyo Mayiga kyeyawakanya.

MAYIGA ALUMBA BISHOP BANJA OW’E NAMIREMBE

Ensonda zongeddeko nti Mayiga bweyalemagana n’Abalangira, yasalawo okukubira Bishop Moses Banja omulabirizi w’ekkanisa y’e Namirembe essimu ng’amusaba okumusisinkana mu bwangu ddala ne bakkaanya okusisinkana ku ofiisi ya Banja e Namirembe.

Mayiga okugenda e Namirembe yatambulira mu kamotoka akatono keyatuulamu n’omujaasi ow’emmundu ennene amukuuma nga kino yakikola obutatambula na luseregende lw’emmotoka okuli n’abajaasi abamuwerekera olwokutya abantu okutegeera nti agenze e Namirembe nga waliwo okusika omuguwa n’Abalangira.

Ensonda e Mengo zitubuulidde nti Mayiga yasaba Banja obutakkiriza Balangira kutegekera kusaba kwabwe e Namirembe ng’anyonyola nti kigenda kuzza Kabaka mu mawulire ate ng’abadde awummudde nga balina n’omukolo gw’amaanyi gwe baali bategese gwe baagala amawulire wegalina okumuwandiikako wokka.

Ensonda zitubuulidde nti Banja ekintu kyamuzitowako n’addukira ewa Ssaabalabirizi Dr. Stephen Kazimba Mugalu okumutaasa ng’ono yawagira omukolo gusazibwemu.

Banja olwabuulira Abalangira ng’okusaba kwabwe bwekusaziddwamu, baamutabukira ne bamusaba ssente eziri mu bukadde ze baali bawaddeyo nga babateereddemu n’amagoba nga kuno baamugattirako nga bwe bagenda okutegeeza Obuganda nga bw’abagobye e Mengo gye babadde bagenze okusabira Kabaka omuyima wa Lutikko eyo.

NABBOSA ABIYINGIRAMU

Banja yali akyakukuta ku ky’okusesema ssente, n’afuna essimu enkambwe okuva ewa minisita Ssebuggwawo ng’amutegeeza nti singa alemesa Abalangira okutegeka okusaba kwabwe ku lutikko, ebiddirira tamunenyanga kubanga bagenda kumukolako ye ng’omuntu.

BANJA ATANDIKA OKUSATTIRA
Ensonda zitubuulidde nti Banja yasattira n’akubira Kazimba essimu eyamutegeeza nti afunye amasimu mangi okuva mu banene mu gavumenti n’amulagira akkirize okusaba kugende mu maaso.
Banja yagaana okukulemberamu okusaba nga bweyasooka okusuubiza n’alagira Ssaalongo Dr. Jonathan Kisawuzi Dean wa lutikko okukulemberamu okusaba wabula naye n’agaana olwokuba y’omu ku baali basazeewo okusaba obutabaawo.

Ensonda zongeddeko nti Kazimba yalagira Bishop w’e Mukono eyawummula Eria Luzinda okukulemberamu okusabira Kabaka e Namirembe wabula n’asaba Abalangira tebakulembeza kyakusabira Kabaka wabula Obuganda.

Mu kusaba, Luzinda yakkiriza nti obunkenke bwali bwa maanyi okutegeka okusaba okwo n’asaba abantu okuwuliziganya n’okukkakkanya obusungu nga wano weyategeereza nga bwasoose mu kafubo ne Dr Kazimba mu ofiisi ye e Nakasero era amanyi bulungi byonna ebigenda mu maaso e Namirembe.

ABATAKA BONGEDDE OKULUMYA MAYIGA OMUTWE

Mayiga yali akyalwana n’Abalangira, ate abataka abakulu b’ebika nga bakulembeddwamu Mbirozankya nga nabo bamulumya omutwe olw’omukolo gw’okutongoza ekitavvu mwebatereka ssente z’okwekulaakulanya kye baatuuma ‘Busolya Mutindo SACCO’.

Mayiga olwafuna ebbaluwa okuva ewa Ian Kajubi Kabali Katikkiro w’ekika ky’enseenene eyali akulembeddemu okutegeka omukolo guno ng’amuyita okubeerawo ng’omu ku bagenyi abayite n’atabuka n’akubira jjajja Ssaalongo Augustine Kizito Mutumba omukulu w’ekika ky’ekkobe era omukubiriza w’olukiiko lw’abataka essimu ng’amulagira mu bwangu okuyimiriza omukolo ogwo kubanga Kabaka yali tagumanyiiko.

Okumanya Mayiga yali mumalirivu, yawandiika ebbaluwa ng’abuuza Mutumba oba omukolo gwe baali bategeka Kabaka agumanyiko, Mutumba naye kyeyakola okwetaasa n’awandiikira Kabali ng’amubuuza oba Kabaka omukolo gwebategeka nga mukama waabwe agumanyiko. Kabali yaddamu ebbaluwa ng’amutegeeza nga byonna bye bakola Kabaka bw’abimanyi obulungi wabula olutalo lw’ebigambo lwabalukawo Mutumba bweyalagira Mbirozankya okusangula obubaka bweyali atadde ku mukutu gwabwe ogwa WhatsApp nga bulaga pulogulaamu y’omukolo gwabwe bwegenda okutambula.

Mbirozankya obubaka yagaana okubusiimuula olwo Mutumba n’asaasaanya ebbaluwa gyeyawandiikira Kabali nga baasindikira abawerezaako obubaka nti omukolo teguliiyo era yenna anaagwetabamu agenda kubeera akikoze ku lulwe nga ne Kabaka byonna ebikolebwa tabimanyi.

Wabula omukolo gwagenda mu maaso era abataka abasoba mu 20 baagwetabako ng’Owekitiibwa Ssewava Sserubiri ye yali omugenyi omukulu oluvanyuma lwa Emmanuel Magoola eyeesimbawo ku bwa MP wa Busiro East okulemererwa.

MAYIGA ATTUNKA NE KABALI KU MULAMBO GWA KAWALYA

Mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Owek. Nelson Kawalya ku lutikko e Namirembe, Kabali yawunikiriza abakungubazi bweyalumiriza nti ekizimbe kya Bulange okuli ekitebe ky’Obwakabaka bwa Buganda abakijjuddeko bafere abataagaliza Buganda.

Ono yategeeza nti abafere bakozesa abalamuzi abatuula ku kkooti ya Kisekwa okutulugunya abakulu b’ebika ne bakatikkiro baabwe nga bakibateekako nga bwe babeera balya ensowole.

MAYIGA AZZA OMULIRO
Ebigambo bya Kabali, Mayiga yabyanukuza busungu n’amutegeeza nti ku Bulange tekutuulako bafere nga bwayogedde n’amutegeeza nti baayita abafere be baali baakakola ensala mu ssaawa ntono nga bamunyweza ku bwakatikkiro bw’ekika ky’enseenene wadde nga banne mu kika baali baleese obujulizi obuwagira omusango gwe.

Mayiga yajjukiza Kabali nebbanne nti Kabaka Obuganda abukulembera n’abaami be wabula si bataka abakulu b’ebika.

BABIYINGIZZAAMU DDIIRU MU BULWADDE N’OKUFA KWA KAWALYA

Mu kusabira Owek. Kawalya e Namirembe, minisita Ssebuggwawo yakakasa Obuganda nga pulezidenti Museveni bwabadde omwetegefu enyo okuwaayo ssente z’obujjanjabi.

Ensonda zongeddeko nti eyali Katikkiro wa Buganda, Owek. JB Walusimbi bweyagenda mu State House nga bawannyondo ba kkooti bamuyigga n’okwagala okumusiba mu kkomera olw’amabanja, yategeeza Museveni nti bannaabwe bangi e Mengo balwadde nga beetaaga okuyambwako okufuna obujjanjabi obulungi.

Ono yamutegeeza nti Kawalya yali atawanyizibwa kkansa w’obusajja nga yeetaaga okuyambibwako kubanga obulwadde butwala ssente nyingi, Museveni yategeeza JB nti mwetegefu okukola kyonna ekyetaagisa okutaasa Kawalya nga bweyataasa Kabaka Mutebi ng’amuwa ssente z’obujjanjabi.
Museveni yasaba Walusimbi amutwalire Kawalya n’amusaba amuweeyo akaseera asooke ayogereko ne Kabaka oba Mayiga agendeyo nga bakimanyi nga tayagala ebyagwa ku bataka bimutuukeko.

Ensonda zitubuulidde nti Kawalya muzzukulu w’eyaliiko katikkiro wa Buganda Sir Apollo Kaggwa be bamu ku bantu Kabaka Mutebi baabadde asinga okwesiga n’okwebuuzaako enyo nga waafiiridde nga batera okusisinkana mu Lubiri lw’e Mengo okubaako ensonga z’omunda ze boogerako.

EKITUUFU EKYATABULA MAYIGA NE SSEBUGGWAWO

Obutakkaanya bwa Ssebuggwawo bwasajjuka bweyakulemberamu abataka okubatwala ewa pulezidenti Museveni n’abagulira ettaka lya buwumbi obusoba mu 9 e Mengo mu maaso ga Bulange n’okubawaayo ssente okwekubako enfuufu nga tasoose kusaba lukusa okuva ewa Mayiga ne Kabaka.

Mayiga alumiriza nti Nabbosa ye yawagaawaga maama Naabagereka okufulumya ekitabo ‘The Nnaabagereka Queen Sylivia Nagginda Luswata’ kyeyawandiika ku bulamu bwe n’obufumbo bwe ne Kabaka Mutebi ate nga Kabaka yali akigaanye okukifulumya nga mulwadde, era Mengo n’ezira n’omukolo gw’okukitongoza wadde okukyogerako ku mikutu gy’Obwakabaka nga CBS FM ne BBS TV.

Nabbosa okuyingira gavumenti kyaleetera Museveni okubeera nga gwe yeebuuzaako ensonga enkulu mu Buganda ng’ebisinga bisalwawo nga Mayiga ne banne tebamanyi nga kino kimufiiriza ddiiru ensava nyingi ze yaalibaddemu.
Mayiga akkiriza nti Nabbosa y’ateeka ssente n’okuwagira akabinja akamulwanyisa e Mengo ng’eno y’ensonga lwaki akyalwana okulaba ng’agobwa ku ttiimu y’abagagga bannanyini leediyo CBS.

Baminisita abatuukirira Museveni nga ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka, Ruth Nankabirwa, Gen Edward Katumba Wamala bakkiririza nyo mu Ssebuggwawo okusinga Mayiga nga kino kiteeka ekifo kye mu kattu.

Share This Article