Mbalamusizza nnyo baganda baffe mwenna.
Olwaleero njagala bw’oba osoma Amazima Agakaawa nga munda mu gwe owakanya bye yubagamba, olwaleero nkusaba mu buwombeefu obungi, lekera awo okuwakana kubanga ebintu ssi birungi mu nsi yonna.
Emboozi eno nayagadde njogere ku Drone zokka mbaleke mwe abayagala okusoma ebya New World Order ne IUlluminati nga mbachamudde naye nga sibawadde kya kukola.
Naye mu mutima gwange nawulidde nga nina okubalabula nga nkozesa ebigenda mu maaso mu nsi, era nsaba emboozi eno ogisome nobwegendereza okuva w’etandikira okutuusa w’ekoma.
Nkimanyi bangi bwe musoma okuyiga kuno musisinkana abantu bangi ababuzabuza, naye ffe nga Amazima Agakaawa, tetuliiwo kubabuzabuza. Tuliwo kubalabula, era bye tubagamba bituufu.
Bye tubagamba, Musa yabigamba ab’omulembe gwe nga bakyali em Misiri, Ezekyeeri yabigamba abomulembe gwe, Yeremiya yabigamba aboomulembe gwe, Zerubaberi, Nehemiah, Ezra babigamba ab’omulembe gwaabwe nga bakyali e Babylooni, kubanga mu buli mulembe, Omutonzi abeerako eddoboozi ly’ayogera okutaasa abantu be ng’abakowoola badde gy’ali.
Zabbuli/Psalms 100:5, “5 Kubanga YaHUaH Omutonzi mulungi; Okwagala kwe okutajjulukuka kubeerawo mirembe na mirembe, N’obwesigwa bwe bulabikira mu mirembe egy’enjawulo.”
Zabbuli/Psalms 119:90, “90 Obwesigwa bwo tebuggwaawo era butambula okuyita mu mirembe gyonna; watonda ensi era enyweredde ddala.”
Ebyawandikibwa bino bitulaga ekintu kimu, nti Buli mulembe, Omutonzi ayamba abantu be okubataasa okuzikirira. Nsaba tutandike bwetuti leero:
KITUUFU DRONE ZA ALIEN ZITANDISE OKWETALA MU BWENGULA BW’ENSI? Omwaka oguwedde bwe gwali gunaatera okugwaako, waliwo amawulire agafulumizibwa Security ya Uganda nga bagamba nti waliwo Drone y’abamerika eyali eyingidde obwengula bwa Uganda mu bumenyi bw’amateeka era nga baagikuba.
Omwaka era oguwedde nga gunatera okugwaako, drone ezitategerekeka gye zaava zaalumbye obwengula bwa Amerika mu masaza okuli New Jersey, New York, Connecticut, Pennsylvania, Virginia, Ohio.
Ekyasinga okwewuunyisa buli muntu, ekitongole kya Federal Bearau of Investigations (FBI) kyategeeza nti Drone tezaali za kitongole kya Amerika eky’obyokwerinda (US Military)
Abaalaba ku Drone zino bagamba nti zaali zakayakana nnyo era nga zidduka ku supiidi ey’ekizungirizi. Bnagi basasanyiza obutambi nga balaga nti zino ssi drone, wabula byabadde bifaanana ebisowaani bye baludde nga babalaga mu firimu Alien, oba obusajja obwa kiragala mwe butambulira.
Nga tuvudde mu Amerika, Drone zino era zaalabiseeko mu bitundu okuli: Australia, Canada, Mexico, China, United Arab Emirates.
Kyokka era omwaka gwabadde gwakatandika, ekitpongole kya Kenya ekya Kenya Space Agency (KSA) ne kifulumya ekiwandiko nga 3 January 2024 nga batangaza ku kipapajo kya ekyombo ekyabadde kiweza kiro 500 ekyavudde mu bwengula ne kigwa ku kyalo Mukulu mu gombolola ya Makueni mu ggwanga lya Kenya.
Brig. Hillary Kipkosgey, akulira KSA yategezezza nti ebitongole bya Kenya eby’ebyokweinda biri mu kukolera wamu bizuule ekipapajjo kino kyavudde wa okulumba obwengula bwa Kenya era ani alina obuvunaanyizibwa ku nsonga eno.
NAYE KIKI EKIGENDA MU MAASO? Gwe ayinza okubeera n’ekibuuzo kino mu mutwe, tukusaba tukuddemu bwetuti; Baagala kunoonya ngeri gye bapangamu obulumbaganyi bwa Alien ku nsi (Alien Invasion).
Ebintu bino baludde nga babibalaga mu firimu. Temulowooza nti babnadde babalaga firimu munyumirwe, nedda, babadde babateekateeka n’okukibateekamu nti essaawa yonna waliyo ebitonde ebiri mu bwengula, bye baakazaako alien ebigenda okulu,mba ensi.
Ky’ova olaba firimu ezisinga eza Alien babateekateeka nti mu lutalo luno, abantu balina okulwana okutaasa ensi yaabwe ku bulumbaganyii bwa Alien.
Bannyabo ne bassebo byonna baagala bituukirire era pulaani batandika dda okuzikola.
DRONE OKUTANDIKA POKULUMBA OBWENGULA: Gwe sooka weebuuze, eggwanga nga Amerika, eririna Intelligence oba Obukessi obw’ekika ekya wagulu, livaayo litya ne ligamba nti Drone ezaabalumbye nabo tebamanyi gye zavudde.
Kyokka ng’abantu abasinga mu bifo ebyalumbiddwa bagamba nti tezabadde drone wabula byabadde bisowaani (Flying Saucers) nga bye balaga mu firimu za Alien. Waliwo ekitagatta era waliwo kye bagezaako okukweeka.
KINO KYE MULINA OKUMANYA: Pulaani ya Alien okulumba ensi eri mu ggiya nenne w’osomera bino. Baagala kutandika kuteeka bantu ku bunkenke nti Alien zigenda kulumba ensi n’olwekyo balina okutandika okukola mangu amateeka agagenda okuyamba abantu okulwanyisa zi Alien.
Nga bwe baakola ku Covid-19, banoonya ekintu ekirala kye basobola okukozesa nga emmanduso okulaba nga bateekawo amateeka amakakali nga ge bateekawo ku Covid-19 era oluvannyuma baleete pulaani endala egenda okubayamba okukendeeza obungi bw’abantu ku nsi.
BALINA PULAANI 3: Abasajja ba Brotherhood balina pulaani 3 ze bali mu kuyiiya.
PLAN 1: Esooka baagala kukozesa kirwadde. Ky’ova olaba bali mu kuyiiyaayo kirwadde kirala. Basooka Monkey Pox, kati bali ku Bird Flu, banoonya kirwadde kye basobola okukozesa okusiba abantu nga bab ateekako amateeka amakakali agagenda okubaleetera okukkiriza eddagala lyonna lye baleeta.
Kyokka era eddagala lino ligenda kwongera kulwaza na kutta bantu.
PLAN 2: Pulaani eyookubiri baagala kunoonya engeri gye baleeta olutalo olwamaanyi oluyinza okjutwaliramu amawanga gonna abangi lwe bagambye nti egenda kubeera Ssematalo wakusatu (World War III).
Kye muva mulaba nti muwulira engombo z’entalo ng’amawanga gaagala kulumba mawanga malala. Israel erwana na Iran n’amawanga g’abasiraamu amalala, Japana eyagala kulwana ne Taiwan, Amerika eyagala kulwana na China, Russia esiiba nayo erabula Amerika, Nato eyagala kulwana na Russia; byonna bagezaako okubikola kubanga banoonya emmanduso y’olutalo olugenda okuleeta sematalo agenda okubayamba okutta abantu abawera mu nsi yonna.
PLAN 3: Pulaani eyokusatu ya bulumbaganyi bwa zi Alien ku nsi. Baagala bakozese drone zino, nga balimbye abantu nti za Alien, zisinziire mu bwengula zitandike okusindika zi bbomu ezirimu omukka ogw’obutwa ku mawanga ag’enjawulo.
Drone zino zigenda kusuula bbomu ezirimu omukka ogw’obutwa era amawanga agawerako gagenda kulugwaamu. Wabula tezigenda kubeera Alien, be bagenda okubeera nga babipanze okuteeka okutya mu bantu basobole okuleeta amateeka amakakali ge bagenda okukozesa okufuga abantu n’okutta abantu abawera kubanga pulaani yaabwe kukendeeza bungi bw’abantu ku nsi.
Bagenda kuteeka ensi ku bunkenke nga babagamba nti Alien zirumbye ensi era buli muntu alina okusigala awaka. Ekyokubiri, bagenda kufiisa amawanga n’ebitundu ebimu babagambe nti ebitundu ebyo tewakyali akkirizibwa kugendayo batandike okuteekawo kye bayita ebiyumba (Shelters) we bakunganyiza abantu.
Kino kitegeeza, ebitundu ebimu buggya kubeera ku Lockdown nga tebakkiriza muntu yenna kugendayo.
Buli kye baakozesa okulwanyisa Covid-19, kirina omulimu gwe kigenda okukola mu Pulaani zonna essatu ze tubagambye. Twabagamba nti Covid-19 kwali kwegezaamu (It was an experiment).
EBIYUMBA (SHELTERS) KYE KI? Ebiyumba pulaani nene nnyo eya New World Order (NWO). Era mu mawanga ag’enjawulo nga China, Amerika, United Kinddom, Australia, Canada n’awalala baatandika dda okubizimba.
Ebiyumba bino mu Amerika biri wansi w’ekola ya Federal Emergency Management Agency (FEMA) Camps. Ebiyumba bino batandika okubizimba mu biseera bya Covid-19. Era baali baagala kukozesa Covid-19 okulekawo enkola eno eya FEMA Camps nga babiyita Isolation Camps oba ebifo gye batereka abalwadde ba Covid-19.
Isolation Camps zino zaalina ekigendererwa kinene kubanga mu biseera ng’ensi bagitabudde ze bagenda okukozesa okuterekamu abantu. Ng’ebitundu ebimu mu nsi tebakyakkirizaayo bantu kubanga bagenda kulimba abantu nti Alien zaalumba ebitundu ebyo era zisanyaawo buli muntu agendayo. Oba mbu ebitundu ebyo birimu ekirwadde tebasobola kugendayo kubanga biri mu Lockdown.
Temulaba nti ebiyumba bino byali bya balwadde mu biseera bya Covid-19, mu New World Order ebiyumba bino bagenda kuterakamu balamu.
Kati mu biyumba bino, bagenda kuteekayo amateeka amakakali ennyo. Naye tulifuna olunaku ne twogera ku pulaani y’ebiyumba (FEMA Camps).
Leero twagadde kubategeeza nti bye mutandise okuwulira nti Drone ezitategerekeka zitandise okulumba ensi; nti oba ebintu bitandise okuva mu bwengula nga bigwa ku nsi nga bwe kyabadde e Kenya, byonna pulaani. Batandise okubafumba babateekemu okutya kwa Alien nti zigenda kulumba ensi.
Era amawanga g’Abazungu mangi batandise okutya.
BINO BYONNA BABIKOLA NGA BEKWESE MU LINYA LYA ‘OKULEETA EDDEMBE (PEACE): Abasajja ba Brotherhood abafuga ensi wansi w’ebiragiro bya sitaani bwe babeera batuukiriza pulaani zaabwe bazikweeka mu kutaasa bantu na kuleeta ddembe.
Ndowooza mwenna mwakiraba ku Covid-19. Bebaleeta omupango gwonna ogw’ekirwadde, ne baleeta amateeka nti galina kuziyiza kirwadde bbo benyini kye beeletera, nga bagamba nti bataasa bantu kufa. Bwe bamala ne baleeta eddagala abantu abasinga lye bakyakaaba na kati mu nsi yonna.
Kati n’ebintu ebisatu bye tubagambye omuli entalo n’obulumbaganyi bwa Alien, be bali mu kupipanga. Kati bwe binaatuukirira nga baleeta amateeka aganyiga abantu wabula nga bagamba nti bataasa bantu. Eyo ye nkola ya mukama waabwe sitaani, akozesa bulimba okusanyaawo abantu kubanga yajja okubba, okutta n’okuzikiriza.
Ate bw’aba abalimba, abalaga nti abalumirirwa nnyo.
OMWANA WA OMUTONZI OLINA KUKOLA KI? Buno obubaka bugende eri buli ayagala okubeera omwana wa Omutonzi, TOGENDA KUKWATIBWAAKO NGA SITAANI BAMUWADDE OLUKUSA KU NSI.
Sitaani bagenda kumuwa obuyinza obujjuvu obusembayo ku nsi yonna, WABULA bagenda kumuwa amateeka nti talina kukwata ku buli muntu yenna aliko akabonero ka Omutonzi.
Mujjukira ekyaliwo e Misiri? Kigenda kuddamu kibeerewo mu New World Order (NWO). Byonna sitaani n’akabinja ka Brotherhood bye bali mu kupanga Omutonzi YABIMANYA DDA era agenda kubawaayo akaseera katono bituukirire nga bwe bipanze.
Tusome ebyawandikibwa ebiraga nti Omutonzi byonna yabimanya.
Tutandike ne Okubikkulirwa/Revelations 7:2-3, ” 2 Ne ndaba malayika omulala ng’ava ebuvanjuba ng’akutte akabonero k’envumbo aka Omutonzi omulamu, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba bamalayika abana abaali baweereddwa obuyinza okwonoona ensi n’ennyanja nti, 3 “Temukola kintu kyonna, ekinaayonoona ensi, n’ennyanja oba emiti, okutuusa nga tumaze okuteeka akabonero k’envumbo ka YaHUaH Omutonzi akakulu ku byenyi by’abaweereza ba YaHUaH Omutonzi waffe.”
Tubagamba bulijjo nti abali mu kupanga okuleeta New World Order bamalayika abaagwa wabula bakozesa bantu. Era kino n’ebyawandikibwa kye bitugamba. Era ebyawandikibwa bitugamba nti BAGENDA KUWEEBWA OBUYINZA OBWO BONOONE ENSI.
WABULA, tebagenda kukwata ku bateredwaako kabonero k’envumbo ya YaHUaH.
Tusome ne Okubikkulirwa/Revelations 9:2-4, “2 Bwe yabusumulula, omukka ne gufubutuka okuvaamu ng’oguva mu kikoomi ekinene ennyo, era enjuba ne bbanga lyonna ne bibuna ekizikiza olw’omukka ogw’omu bunnya. 3 Enzige ne ziva mu mukka ne zikka ku nsi ne ziweebwa obuyinza okuluma ng’enjaba ez’obusagwa. 4 Zaagambibwa obutakola ku muddo kabi konna, newaakubadde ebimera, wadde emiti; wabula zirumbe abantu abo abataalina kabonero ka Katonda mu byenyi byabwe.”
Enzige ezigenda okuva mu bunnya ssi balala okuggyako dayimooni n’emyoyo gy’ekizikiza. Bagenda kuggya n’obusungu bungi (obusagwa) era tebagenda kusonyiwa muntu yenna. Bagenda kukola effujjo ku buli kitonde kye bayita omuntu era bangi bagenda kufa.
WABULA tebagenda kukwata ku baana ba YaHUaH Omutonzi kubanga tagenda kubakkiriza.
KABONERO KI OMUTONZI K’AGENDA OKUTEEKA MU BYENYI BY’ABAANA BE? Kati ensonga eno ebadde etawanya abantu bangi. Naye olwaleero nayo katugiddemu bulungi mugitegeere.
Wabula nga tetunagiddamu, njagala tusooke tuddeyo emabega mu ndagaano enkadde mu kitabo kya Ezekyeri/Ezekiel ne ekitabo kya Musa ekya Okuva/Exodus.
Ezekyeeri/Ezekiel 9:3-6, “3 Awo ekitiibwa kya Omutonzi wa Isirayiri ne kiva mu bakerubi mwe kyali, ne kidda ku mulyango gwa yeekaalu. YaHUaH Omutonzi n’ayita omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu, 4 n’amugamba nti, “Genda ng’oyitaayita mu kibuga kyonna ekya Yerusaalemi, OTEEKE AKABONERO KU BYENYI BY’ABEESISIWADDE ERA ABANAKUWADDE OLW’EBINTU BYONNA EBY’EKIVVE EBIKOLEBWA WAKATI MU KYO. 5 Abalala n’abagamba, nga mpuliriza nti, “Mumugoberere muyiteeyite mu kibuga mutte, nga temusaasira newaakubadde okulaga ekisa. 6 Mutte abasajja abakadde, abavubuka n’abawala, n’abakyala n’abaana abato, naye temukwata ku aliko akabonero. Mutandikire mu watukuvu wange.”
MWETEGEREZE: Njagala tukwate ebigambo bino okuva eri Omutonzi waffe, ““Genda ng’oyitaayita mu kibuga kyonna ekya Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by’abeesisiwadde era abanakuwadde olw’ebintu byonna eby’ekivve ebikolebwa wakati mu kyo.”
Okukola eby’ekivve kye ki? Bannyabo ne bassebo akabonero kwe kutambulira mu kigambo kya Omutonzi nga tukola ebyo bye yatulagiura okukola omuli: okugondera amateeka ge, ebiragiro bye, embaga ze, sabiiti ze. ATE Okukola eby’ekivve kwe kukola ebyo omutonzi bye yagaana okukola n’okunyooma oba okugaana okukola ebyo Omutonzi bye yatulagira okukola.
Ekyokulabirako, buli eyakuzizza Christmas n’olusooka omwaka, wakoze eby’ekivve kubanga wabadde osinza bakatonda abalala be yatugaana okusinza. Sifaayo oba onyiiga, oba otukyawa, naye tulina okukubuulira amazima okutaasa omwoyo gwo.
Abasumba bangi babalimba kubanga batunda dda emyoyo gyaabwe eri omulabe. Kati tokola kintu lwa musumba, Kola ekintu kubanga Omutonzi yakulagira okukikola.
NKIDDAMU KIBAYINGIRE BULUNGI: Akabonero k’envumbo ya Omutonzi kwe kutambulira mu kigambo kya Omutonzi nga tukola ebyo bye yatulagiura okukola omuli: okugondera amateeka ge, ebiragiro bye, embaga ze, sabiiti ze. Era bw’oba tokola bintu ebyo, ogenda kuzikirira.
Obulogo bugenda bweyongera mu nsi, okufa kugenda kweyongera mu nsi, abantu bongera kufuna mitima gya jinja, entalo, endwadde, obuvuyo byonna bigenda kweyongera mu nsi, agenda okutaasa abantu agenda kubeera omu yekka. Nga ye Omutonzi waffe era Omuyinza w’ebitonde bbyonna YaHUaH, ate tagenda kukutaasa ng’okyaali mu busamize n’okukola eby’ekivve.
TULI MU KISEERA KYA KUTEEKEBWATEEKEBWA BATUTEEKEKO AKABONERO: Olumu tuwandiika ebintu bino ne neebuuza mu nze, OBA ABANTU BABISOMA NE BABITEGEERA? Njagala mbazeeyo mu Okubikkulirwa/Revelations 7:3, kubanga etubuulira kiki ekigenda mu maaso ESSAAWA YA LEERO mu nsi.
Sitaani alina BULI KYAKULWANYISA era yeetegese bulungi nnyo. Ensi yonna eri mu mikono gye, technology yenna ali mu mikono gye, obugagga bw’ensi yonna buli mu mikono gye, abankulembeze bonna bali mu mikono gye, buli kintu kyonna ekibeezaawo omuntu kiri mu mikono gye era ali ‘Ready’. Bannange sitaani yetegese nnyo nti ne bwamuwa olukusa leero, ensi egenda kukaaba amaziga, era emirambo gigenda kugwa mu nsi yonna.
WABULA tasobola kugenda mu maaso kubanga Omutonzi waffe yamugamba ne banne nti, ““Temukola kintu kyonna, ekinaayonoona ensi, n’ennyanja oba emiti, okutuusa nga tumaze okuteeka akabonero k’envumbo ka Omutonzi YaHUaH akakulu ku byenyi by’abaweereza ba YaHUaH Omutonzi waffe.”
Nga twesimye abantu b’ensi yonna era twebaza Omutonzi okutusaasira.
Sitaani wadde alina ebikola byonna, tasobola kubikozesa, kubanga Omutonzi akyalondamu baana be. Abalondamu atya, ng’abalagira okuddayo ku kigambo kye.
Nga kwe kugoberera amateeka ge, ebiragiro bye, embaga ze ne sabiiti ze nga bwe yalagira bajajja baffe. Tuli mu kiseera kya kuteekateeka bantu abagenda okuteekebwa akabonero ka YaHUaH ku kyenyi. Mwe abawakana naye temwebuuza lwaki amazima ku bintu bingi gavuddeyo nnyo emyaka gino egisoba mu 5?
TUDDEYO KATONO E MISIRI: Omutonzi bwe yali agenda kutaasa abaana be e Misiri, yasitula Musa, n’amugamba atandike okuteekateeka abaana be baddeyo ku mateeka ge, ebiragiro bye n’okulamula kwe BAVE KU NSINZA Y’E MISIRI.
E Misiri buli gwe yataasa, akabonero kaali kamu, kuddayo ku mateeka ge n’ebiragiro bye wabula yakozesa embaga ye eya Passover.
Musa yamala emyaka egiwera ng’abateekateeka. Kati Omutonzi yagenda okubawa akabonero ka embaga ya Passover nga Musa ne Aaron bamaze emyaka egiwera nga bababuulira abantu amazima..
Buli muntu yenna eyali agenda okutaasibwa, yalina okusooka okukuza embaga ya Passover. Era Okulaga nti wagonze n’okuza embaga eyo, NGA BWE YALAGIRA, walina okuteeka omusaayi gw’omwana gw’endiga oba omwana gw’embuzi gye wasaze ku mulyango gw’ennyumba yo.
Ako ke kaali akabonero.
Tusomewo fenna mu Okuva/Exodus 12:12-13, ” 7 Baddiranga omusaayi ne bagumansira ku njuyi zombi ne waggulu, ku mwango gw’oluggi lwa buli nnyumba mwe baliriira omwana gw’endiga….. 12 “Kubanga mu kiro ekyo ndiyita mu nsi ya Misiri, nditta buli kibereberye kyonna mu nsi y’e Misiri, abantu era n’ebisolo; era bakatonda bonna ab’omu Misiri ndibasalira omusango. Nze YaHUaH Omutonzi. 13 Omusaayi ke kaliba akabonero akalaga ennyumba mwe muli; era bwe ndiraba omusaayi, nga mbayitako; so n’okuzikirira kwe ndireeta ku Bamisiri mmwe tekulibakwatako.”
Naffe ekiseera kigenda kutuuka atuwe akabonero akasembayo akagenda okwawula abaana be ku bagenda okusanyizibwaawo sitaani. Essaawa eno ali mu kututeekateeka nga Musa bwe yateekateeka abaana ba Yisirayiri nga bakyali e Misiri.
Gwe abiraba nga katemba, ekiseera kigenda kukugwaako, wejjuse nga ogamba nti singa nawulirirza Amazima Agakaawa, naye nga tokyasobola kwenenya. Kino ekiseera kye tulimu kya kwenenya eri buli muntu nga tuddayo mu makubo amakadde, tuddeyo eri kitaffe tumugondere nga bwe yatulagira era tutambulira mu biragiro bye.


