OMUSOMI wa ONO BWINO gyebuvuddeko yatunyonyodde nga bwe yeegomba okuwasa mu famire y’emu nga mukulu we olwokubanga omukyala mukulu we gweyawasa amuzimbye era tannamufunamu buzibu mu myaka etaano gye baakawangaala. Ono yabuuzizza oba kituufu naye okuwasa mu famire y’emu mukulu we mwe yajja omukyala?
Nga buli kintu bwekirina ekirungi n’ekibi, tugenda kunyonyola ensonga lwaki tewandiwasizza mu famire y’emu ne muganda wo wamu oba oli awo n’obulungi obukirimu.
EKISOOKERA DDALA
Bali boolabirako baayagalana era ne basalawo okubeera bombi ggwe gy’otaali. Ekibuuzo ky’olina okusooka okwebuuza kiri nti gwe gwoyagala okuwasa omwagala byaddala oba weegomba bufumbo bwa banno kubanga bwowasa oba n’ofumbirwa omuntu olwebyo by’osuubira okumufunamu enkolagana yammwe eyinza obutawangaala anti ebyakutwala gyali oba tobisanzeeyo.
Kyokka ate bwemuba mweyagadde mu butuufu bw’okweyagala nga bali bemwalabirako oba bemulabirako, famire zammwe zeeyongera amaanyi era muba n’okukkaanya anti ebirungi biba bigenda ku ludda lwammwe oba olw’abo ababazaalira abaagalwa ate nga mwenna mubalinako akakwate. Olwawo n’okulaba entalo oba obujja wakati w’abakyala bammwe anti babeera ba Luganda.
EMPULIZIGANYA WAKATI WAMMWE EYANGUWA
Bakawasa baba bamanyiganye, ate n’abakyala kyekimu. Enkolagana eyomuggundo ebaawo anti ekibagatta eba famire ate babeera baakwatagana kuva buto.
Kyanguya ne mu byenzikiriza: Awo Omusiraamu toyinza kutya kuweereza mwana wo eri muganda wo ne mukyala we olwokuba otya nti bajja kumusikiriza okukyusa eddiini oba n’okulya ebyo byatateekeddwa kulya.
Aboluganda bwe bawasa mu famire emu, kyangu okwewagira bwekituuka ku byemirimu kuba mwenna mukimanyi bwemuteewagira mwe mufiirwa.
Newankubadde musobola okwezimba, abaana bammwe ne bafuna abakuza abalungi, bwewabalukawo obutakkaanya ate kisukka. Famire ya muganda wo oba eyiyo zisobola okuwulira nga ezitalina bwekyusizo anti muba temwetongodde bulungi are muyinza obutafuna budde bwammwe anti tewaba byama.
Ekirala mugenda kubeera n’obujja obuteetaagisa anti buli kaseera muba mukwegerageranya naddala kasita famire emu ebaako byesinga ginnaayo naddala mu byensimbi. N’abazadde bammwe benyini basobola okubageraageranya okugeza nyazaala asobola okuba nga omu yamusiima ate nga omulala si bwekiri. Oluusi obujja busobola n’okuba nga bwatandikibwawo bazadde bammwe anti abazadde abamu basosola mu baaana baabwe.
Abaana bammwe mugenda kubamalako emirembe anti mugenda kubagerageranya ate ng’eno bwemubakaka okubeera bonna olwokubanga abazadde baabwe bombi baluganda. Leero bwewabaawo ensonga ezibatabula nga ettaka, olaba akanyamberege.


