OBUKYAWE kirwadde ekitasosola basajja na bakazi naye engeri buli omu gyalwanaganamu okuwona endwadde eno aginyumya bubwe. Omuyimbi Stella Nanteza kyeyava ayimba oluyimba nga yeebuuza emitima egirwadde okwagala wa wegikung’aanira.
Omukwano bwe guggwaako, abakazi bamanyikiddwa nti be basinga okulumwa era be bakaaba agajuza epippa. Naye wadde kirabika bwekityo, n’abasajja balumwa obukyawe ate bubayisa bubi nnyo. Ziizino ensonga lwaki obukyawe bulwawo okuwona ku basajja.
ABASAJJA BAFA KISIIRI
Omukwano nga guweddewo, abakazi bakaaba era banyumiza mikwano gyabwe ne gibawoyawoya, n’egibagumya naye olwokuba abasajja tebaagala kulaga bunafu bwabwe, bafa kimugunyu era bannaabwe bwe babasisinkana, badda mu kubajerega mu kifo ky’okwogwera ku bulumi n’okufuna engeri gyebabukkakkanya.
BATYA OKUYITIBWA EBISAJJASAJJA
Ensi yakolebwa nga tekkiriza musajja kumenyeka era omusajja yenna alaga nti amenyese oba nti ali mu bulumi bamuyita kisajjasajja. Kati oli okwewala ebyo byonna, tasobola kukiriza kulaga bulumi bwayitamu ate nga ebiseera ebisinga buli bwamanya ekirwadde, oba otandise ku lugendo lwokuwona.
BEESIGA NNYO
Kasita abaagalana bakyawagana, omusajja asobola okulwawo okuwona kuba omuntu gwaba abadde mu mukwano naye, gwaba abadde yeesiga era nga yamanyi ebibye byonna ate gwaba ayawukanye naye. Jjukira nti abasajja tebalinga bakazi nti bangu baakulaga bunafu era omukazi gwaba abadde naye, y’aba amumanyi mu mbeera zonna kati tayanguyirwa kweyabiza buli omu.
Omukwano bweguggwawo, abasajja babeera mu kwegumyagumya na kwekaza nti bo tebibaluma era mu mbeera eyo, abeera n’obulumi okumala ebbanga eriwerako.
OKUBIIBIITIBWA:
Newankubadde tebatera kulaga, abasajja baagala nnyo ebirungi era baagala okubabiibiita nga ne bwabeera wa myaka 70, ayagala omuyite ki baby, kibbubu n’ebiringa ebyo. Kati buli lwafuna omupya, aba amugeraageranya nnyo n’oyo gweyayawukana naye ekintu ekitamuganya kuwona biwundu bya mutima.
OKUTYA:
Obukyawe ebiseera ebisinga buleeta okutya mu mutima gwoyo omukwawe. N’olwensonga eno. Omusajja atandika okulowooza nti buli gwanaasanga ajja kumuyisa ng’oli gweyayawukanye naye. Kino kireetera omutima okutya wamu n’okubeera mu bulumi.
Ebintu abasajja n’abakazi bye bakozesa nga bejjanjaba obukyawe nabyo bisobola okubayambako okuwona amangu oba okusagaza obulumi munda. Okugeza omusajja asobola okukozesa omwenge n’atamiira kyokka nga buli lwegumuggwako obulumi bubeera budda buto. Kyokka ye omukazi asobola okukola ogwokukaaba n’okwogera ku bulumi kumpi buli kaseera paka lw’akoowa.
Omukazi asobola okusula n’omusajja n’atamuwaako?
EKIBUUZO: Ssenga, lwaki bba wange ayagala akaboozi aka sipiidi kyokka nga nze mpulira sibyagala ate ntya okumugamba, nkole ntya? Nze Sarah Nakimbugwe e Busaabala.
OKUDDAMU: Bba wo tolina kumutya, mugambe nti munnange by’okola tebinnyumira, naye abakazi abamu bakanya kusinda ate gy’okoma okusinda muli omusajja alowooza nti oli mu kunyumirwa, mugambe asale ku sipiidi mwenna munyumirwe, akaboozi kanyuma muwuliziganya bulungi.
EKIBUUZO: Ssenga, nnina omukazi tweyagala naye nze sinnatuuka kwagala kufuna mwana naye ye tayagala bya kondomu, n’ebya famire pulaaningi tabyagala, ate ankeera nnyo ku makya ng’ayagala tunyumye akaboozi, ompa magezi ki ssenga?
OKUDDAMU: Kati engeri ziri bbiri z’oyinza okukozesa, kugaana kunyumya kaboozi naye oba kukozesa nkola ya ‘Withdraw’, eno ogikozesa ng’oggyamu emmundu mu nabunnya nga tenafulumya mazzi. Wabula enkola eno tolina kugyesigga 100 ku 100, naye era osobola okumugamba nti toli mwetegefu kufuna mwana akukkirize oteekeko akapiira oba ye akozese enkole y’ekizaala ggumba.
EKIBUUZO: Ssenga, omusajja asobola okubeera mukwano gw’omukazi nga n’olumu asula ew’omukazi n’atamuwaako? Bba wange olumu takomawo waka ng’agamba nti yasuze wa mukwano gwe ate nga mukazi. Nze Damalie e Butambala.
OKUDDAMU: Hahaha…Oyo omusajja aleme kukulimba na kukufera, teri musajja asobola kulekawo mukazi we mu nnyumba n’asula ewa mukwano gwe nga mukazi, akubuulire ekituufu, mugambe nti oba baali ba mikwano nga mukikola bwemutyo nga sinnaba kujja mu maka go. Ebyo mbu eby’okusula mu mikwano gye mugambe abikome, ye ggwe olina bukakafu k inti abeera mu mikwano gye?, bw’agaana funayo omuntu omukulu amutuuze amubuulirire.
EKIBUUZO: Nina omuwala gwenjagala, kati guweze omwaka gumu n’ekitundu naye tankombyako ku kaboozi n’okungwa mu kifuba kimukaluubiriza wabula buli kiseera abeera agamba anjagala, nkoze ntya? Nze Julius e Runkungiri.
OKUDDAMU: Ekyo kyeraga lwatu nti takwagala akuzannyira ku bwongo, akaboozi kintu kikulu nnyo mu baagalana era omukazi atayagala kuwaako musajja abeera mukwabuzi, era omulimba, bw’aba akumma akaboozi awatali nsonga nga n’akafuba okaka mukake, mwana wange noonyaayo omuntu akwagala oyo mwesonyiwe tomumalirako budde bwo. Akaboozi y’emu ku mpagi okuzimbibwa obufumbo.
EKIBUUZO: Nze Ruth e Mbarara. Nina bba wange, tukola mu kkampuni y’emu wabula twafunamu obutakkaanya era tumaze ennaku nga tetwogera, nze mpulira kinnuma kubanga ampitako n’agenda n’ayogera n’abalala kyokka nze nkyamwagala. Ssenga mwetondere oba nsirike?
OKUDDAMU: Mu laavu mwenna bwe mubeera ab’emitwe eminene kibeera kizibu nnyo okumalako nayo. Omu ku mmwe alina okwefuula omusiru omukwano gwammwe okubeera ogw’ekimmemmette era ogweyagaza abangi n’okuwangaala. Ky’obeera okola ggwe ng’omukazi kkakkane weetonde omukwano gwammwe gusobole okugenda mu maaso.


