MUNNAMAWULIRE Andrew Mwenda abadde enyo ku lusegere lw’omugenzi Rajiv Ruparelia,35, —abadde mutabani wa nnaggagga Sudhir Ruparelia, akakasizza nti omufu abadde mulwanyi nyo bwekituuka ku nsonga ezikwata ku bugagga bwa famire ye ng’ajjayo amaanyi gonna okulemesa abafere abaagala okubazza mu kyalo.
Mwenda nga maama we Constance Muhangazima ye yatwala omugagga Sudhir ewa pulezidenti Museveni n’amumwanjulira nga mutabaniwe eyakulira e Toro n’amusaba okumuyambako okukozesa bizinensi ze okukulaakulanya Uganda, ategeezezza nti abafere mu banka enkulu bwe beekobaana ne balooya ab’amaanyi mu Kampala n’abanene mu gavumenti okutwala Crane Bank eyali ey’omugagga Sudhir, embeera yali ya kazigizigi ng’alabira ddala nga omugagga amaanyi gamuwedde kubanga banka ye ye yali nnamuziga kw’atambuliza bizinensi ze.
OMUGENZI YAGGYAYO N’AGOMUBUTO OKUTAASA CRANE BANK
Ono anyonyodde nti yeewuunya omugenzi Rajiv amagezi geyakozesa okukung’aanya obujulizi ku ngeri baayita abafere gye baapangamu pulaani yonna okutwala banka yaabwe, obujulizi olwabuweza n’akakasa nti si bwakalebule obuyinza okumutwaza mu kkooti, amangu ago yamuyita ne bannamawulire ab’amaanyi mu Kampala ne mu nsi yonna okutandika okulabisa obufere obwo.
Wadde abakulu mu banka enkulu abaakulemberwamu Dr Louis Kaseekende eyali omumyuka wa gavana wa banka enkulu ne Justine Bagyenda eyali akulira okulondoola banka z’ebyobusuubuzi mu ggwanga lyonna banka baagitwala, naye akakiiko ka palamenti eyali sipiika Rebecca Alitwala Kadaga keyateekawo okulondoola entambuza y’emirimu mu banka enkulu nga kakulirwa omubaka wa Bugweri munnamateeka omutendeke Abdul Katuntu ng’amyukibwa kati sipiika wa palamenti Annet Anita Among kaazuula nti banka y’omugagga yatundibwa eri banka ya DFCU mu bufere.
Ensonda zitubuulidde nti Rajiv ye yakulemberamu olutalo lw’okulemesa banka enkulu okufuna balooya abalungi okugitaasa ku misango omugagga Sudhir gyeyali abagguddeko mu kkooti ng’akozesa bannamateeka abaakulemberwamu aba kampuni ya Kampala Associated Advocates (KAA) oluvanyuma lw’okuleeta obujulizi obulaga nti abaali baagala okuwoolereza banka enkulu be bamu ate abaali mu bwe bayita obufeee bw’okutunda banka yaabwe nga balina kubeera mu kaguli okuwa obujulizi ekintu kkooti kyeyakkaanya nakyo era waafiiridde nga ssente omugagga zaabanja banka enkulu ne DFCU ziri mu buwumbi oluvannyuma lw’okubawangulira mu kkooti ensukkulumu.
Ensonda zitubuulidde nti okuva olwo, omugagga Sudhir yatandika okukakasa mutabaniwe ng’omulwanyi gwasobola okulekera obugagga bwe n’abutwala mu maaso, eno y’ensonga lwali yamulagira batuulenga mu ofiisi yeemu esangibwa ku luguudo lwa Kampala road okwongera okutegeera engeri gy’addukanyamu bizinensi zaabwe.
RAJIV YASOOKA KWEMALIRA MU BBAALA
Mu kusooka Rajiv amaanyi yali agatadde ku bbaala ya Club Sway gye yali atandiseewo ng’agitadde ku kizimbe kya kitaawe ekya Kampala Boulevard ku luguudo lwa Kampala road ng’eno yettanirwa nyo abadigize olwengeri gyeyali agiwunzeemu n’abagikolamu ng’omugagga Elvis Ssekyanzi eyali nanyini Club Silk abadigize bwe badduka ewuwe ne bagenda ewa Rajiv, yavuga emotoka ye enfunda nyingi n’asimba wabweru w’ekizimbe kino okwetegereza omulenzi omuto kyeyali amusinzeeko.
Mwenda atubuulidde nti Sudhir weyakwasiza Rajiv okuddukanya yunivasite ya Victoria gye yali atandiseewo mu 2013 ng’embeera emusobedde ng’abaana bagaanye okugyettanira wadde nga yali esasuza ssente ntono, mu 2019, Rajiv olwamukwasa yunivasite yanoonya abagezi abaamuyambako okugiwa ‘vvayibu’ ng’aleeta abasomesa abaliko n’ebintu ebirala ebisikiriza abayizi, waafiiridde ng’erina abayizi abasoba mu mutwalo omulamba (10,000).
Minisita Sam Mayanja omu ku balooya ba Sudhir era mukwano gwe enyo eyamuyamba okukola obugagga bwalina ng’agula eby’obugagga ku Bayindi banne abaali badduse mu Uganda oluvanyuma lwa Amin okubagoba mu 1973 atubuulidde nti mukwano gwe abadde atutte ekiseera ekiwera ng’atendeka omwana engeri gyagenda okudeukanyamu bizinensi nga ye awummudde oba n’okufa nga kyannaku nyo ate ye okumusooka okufa.

EBY’OBUGAGGA EBYEWUNYISA BY’ABADDE ADDUKANYA
Rajiv waafiiridde nga kitaawe yamukwasa obuvunanyizibwa bw’okuddukanya ebyobugagga bye okuli kampuni etwala abantu ku byeyo eya Premier Recruitment Limited, Crane Management Service Limited nga y’eddukanya ebizimbe by’omugagga byonna, Delhi Public International School, Goldstar Insurance Company Limited, Kabira Country Club, Kampala International School, Kampala Parent School, Speke Apartments Limited, Speke Resort Munyonyo, Meera Investments Limited, Munyonyo Commonwealth Resort, Leediyo Sanyu n’endala nnyingi.
KITUUFU RAJIV AFUDDE EMMAALI YABATABULA NE KITAAWE?
Ensonda zitubuulidde nti mu 2022, Sudhir yatabuka n’omutabani ng’amulumiriza nga bweyali avudde ku mulamwa gw’okuteeka obwongo bwe n’amagezi gonna ku bizinensi zaabwe ng’ebiseera ebisinga yali abitadde ku kunywa mwenge mu mabaala n’okukyakala n’abavubuka abaliko mu Kampala.
Sudhir weyatabukira n’omugenzi ensonda zitegeezezza nti ne mukyalawe kati Nnamwandu Naiya Khagram gweyali asula naye waggulu ku kalina ya kitaawe e Kololo mu Kampala naye yali amaze okwemulugunya ku nneeyisa y’omwami ng’atiisatiisa nga bwe baali bagenda okwawukana mu bufumbo obutukuvu.
Embeera y’obunkenke eyaliwo yawaliriza Sudhir okulagira omutabani okugendako e Bungereza era okuva olwo ebiseera ebisinga abadde abimala eyo ne weyafiiridde yabadde yakomyewo ku Lwakusatu lwa wiiki ewedde okusobola okwetaba ku mbaga ya mukwano gwe Jonathan Bahiza Butera ng’ono mutabani waabadde omumyuka wa ssaabalamuzi Richard Butera eyabaddewo ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde e Munyonyo mu Kampala.
Abamu ku mikwano gya famire ya Sudhir gitubuulidde nti e Bungereza omugenzi abadde addukanya obugagga bwa kitaawe bw’alinayo ne mu mawanga ga Bulaaya ng’okugendayo mu 2022 yali agenze kujjanjaba mukyalawe eyali alumbiddwa ekirwadde ekikambwe nga yeetaaga okubeera naye ku lusegere.
Ensonda zongeddeko nti Rajiv omukyala abadde yamuwasa mu famire y’omugagga Sudneer Khagram omu ku basinga obugagga mu Bungereza ng’ono ye yamuteekako akazito okugenda okujjanjaba mukyalawe wadde nga omukyala bweyawona yakomawo e Uganda ate omulenzi n’asigaala nga ebiseera bye ebisinga abimala Bungereza.
ABAGAGGA, BALOOYA N’ABANENE MU GAVUMENTI ABABADDE BAMUWANDA
Omugagga Sudhir mu Kampala amanyiddwa ng’omu ku bagagga abalwanyi nga bwe babeera n’ekyobugagga oba ddiiru gyagoba akola kyonna ekisoboka okulaba ng’akitwala era omutima guno gwabadde atadde mu mutabaniwe Rajiv.
OWA SSEBAGGALA & SONS AMULOJJA
Omu ku bagagga abatagenda kwerabira Rajiv ye Meddie Ssebaggala eyali nanyini dduuka ly’amasanyalaze erya Ssebaggala and Sons ng’ono muganda w’omugenzi Al-Hajji Nasser Ntege Ssebaggala eyaliko meeya wa Kampala.
Ssebaggala ye yali asinga edduuka ly’ebyamasanyalaze eddene mu Kampala ne mu ggwanga lyonna nga lisangibwa mu Kiyembe e Nakasero, embeera okumutabukako omu ku bagagga ab’amaanyi mu kibiina kyabwe ekya bagagga Kwagalana yamutuukirira n’amuguza ddiiru y’okumutwala ewa Sudhir amuwole sente eyongere mu bizinensi ye ekintu kye yakkiriza.
Ono ssente zaamulemerera okusasula nga Rajiv ye yamuleetera bawanyondo abakambwe abaamugoba mu bizinensi ye bo ne batandika okugiddukanya nga oluvanyuma baagitunda musajja wattu n’adda mu kyalo.
OWA SIMBAMANYO: Omugagga Peter Kamya mikwano gye girumiriza nti puleesa Sudhir n’omutabani gye baamuteekako nga baagala okutwala ekizimbe kye ekya Simbamanyo emabega wa poliisi ya CPS mu Kampala ye yamuleetera okukubwa puleesa n’afiira mu ddwaliro e Nairobi mu Kenya.
BANNAMAATEEKA OWEK. MPANGA N’ABALALA BALOJJA BASUDHIR
Sudhir n’omugenzi baalwanyisa munnamateeka era minisita w’ebyettaka mu gavumenti ya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi Owek. David Kisitu Mpanga ne batuuka n’okumuloopa mu kibiina ekigatta bannamateeka e Bungereza nga baagala bamubonereze. Olutalo lwabwe lwasibuka ku Mpanga okubeera mu ddiiru y’okugula Crane bank ate nga yaliko looya wa Sudhir eyamulumiriza nti yatunda ebyama bye mu balabe be.
Bannamateeka abalala abatasobola kwerabira Rajiv kuliko Kanyerezi Masembe ng’ono kojja wa Mpanga nga Sudhir ne mutabaniwe baabateekako abantu okulondoola entambula zaabwe nga bwe babakuba ebifaananyi okubaswaza nti enneeyisa yaabwe ya kifere era eswaza.
BE BAAGOBESA KABUSHENGA?
Ensonda zirumiriza nti Rajiv ne kitaawe be bamu ku baali emabega w’okuteekawo embeera okulaba nga Robert Kabushenga agobwa ku bukulu bwa kampuni y’amawulire eya New Vision olwokuba baali bamuwandiikako bubi ate nga bali ku ludda lwa banka enkulu.
N’ABANENE MU GAV’T BAKAABA
Abanene mu gavumenti okuli eyali omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobusuubuzi Geraldine Ssali Busuulwa abamuli ku lusegere balumiriza nti Sudhir b’omutabani baalina omukono gw’amaanyi mu kumugobya ku mulimu mu gavumenti n’okumusibya mu kkomera olw’okumulemesa ddiiru ya minisitule gyakulembera okupangisa ku kizimbe kye ekya Kingdom Kampala.
BW’OGAANA OKUBAWA DDIIRU YA GAV’T NGA BAKULWANA
Sylvia Muwebwa Ntambi eyali akulira ekitongole kya Equal Opportunities Commission ye yasooka okuloza ku bukambwe bwa Sudhir ne mutabaniwe naye bweyagaana okupangisa ku kizimbe kyabwe gavumenti ebeere nga y’emusasula ng’abamuli ku lusegere balumiriza nti ye yali emabega w’okumugobesa ku mulimu n’okumusiba.
Sudhir n’omutabani mu kalulu k’obwasipiika bwa palamenti mu 2021 baateekawo embeera bwe baateeka ssente mweyali sipiika wa palamenti Kadaga ne Thomas Tayebwa gweyali ayagala okubeera omunyukawe ng’akazito kano akaateekebwa ku mugenzi Jacob Oulanyah eyali ayagala obwasipiika ne munne Annet Anita Among gweyali ayagala okubeera omumyukawe kyabasattiza okutuusa ensonga bwe baaziwaaba ewa pulezidenti Museveni eyaziyingiramu eyabakakasa nti ye ye nanyini sente mu Uganda nti Sudhir n’omutabani tebalina kyebali.
ABAGAGGA ABAGENDA OKUDDA MU KYALO OLWOKUFA KWA RAJIV
Omugagga w’omu Kampala Mansoor Matovu Young akakasizza nti okufa kwa Rajiv kugenda kukosa abagagga bangi mu Kampala nga n’abamu bayinza okudda muk yalo kubanga abasinga babadde bawangaalira ku buyambi bwe nga yaaboogerera ewa kitaawe okubaako ky’abakolera.
EBYA KIRUMIRA BIBI:
Ensonda zitegeezezza nti omugagga Godfrey Kirumira akulira ekibiina kyabagagga Kwagalana bwabadde aliko ddiiru gy’agoba gy’ayagala okuguza Sudhir mukwano gwe enyo ng’agiyisa wa Rajiv nga kino kimuyamba nti omwana bw’atwalira kitaawe ddiiru tabuuza nyo nga bwekibeera ng’omuntu omulala bw’abeera agimutwalidde.
Ensonda zitubuulidde nti omugagga Hamis Kiggundu banka ya Diamond Trust Bank(DTB) bweyamutabukira ng’eyagala okutwala obugagga bwe, n’okuwamba ssente zeyalina ku akawunti ye ezikunukkiriza mu buwumbi 200, Sudhir ye yamuyamba okudda engulu ng’amuteekamu ssente.
Gideone Kirumira mutabani w’omugagga Kirumira ensonda zitubuulidde nti ddiiru ezisinga zaabadde akutula Rajiv yaabadde amuyambako okumuteekamu sente n’asasula oluvanyuma mpolampola wadde nga wabadde wabeerawo akaseera bwe beezalawo nga Kirumira alaga nga bwasinga Rajiv sente n’obugagga nti ye ezize temuli za kitaawe.
BANNABYABUFUZI BABADDE BAMUFUKAMIRIRA ABAYAMBE
Ensonda zitubuulidde nti Sudhir, ababaka abasinga mu palamenti ye yabateekamu ssente mu kampeyini nga eno y’ensonga lwali kibeera kizibu nyo okumulemesa ensonga yonna gyabeera ayagala mu palamenti.

RAJIV ABADDE MUNTU W’ABAKYALA
Omu ku batabani b’abagagga abadde enyo ku lusegere lw’omugenzi atubuulidde nti olwamaze okulya ekyeggulo ne nnyina, n’agenda mu bbaala okusanyukamu ng’eno gye yasanze ekiwala kyabadde aludde okulabako nga bagenze bombi mu mmotoka eyamusse.
Abamu ku baabaddewo ng’akabenje kano kagwawo balumiriza nti mu mmotoka mwabaddemu omuwala wabula ye ne bamutaasa, ekyabalemesezza okutaasa Rajiv kwekubeera nti ebyuma byabadde bimunyize nyo nga yeetaaga kutemamu butemi mu motooka ate babadde banonya ebikola emmotoka n’ekwata omuliro n’eggwawo yonna nga naye mwali era wabadde tosobola kumutegeera nga yafuusse vvu. Era baatutte kawanga ka mutwe n’omukono ng’ebitundu by’omubiri ebirala byasiridde dda.
Ensonda zitegeezezza nti Rajiv abadde muntu w’abakyala ng’abadde alina n’akasenge ak’enjawulo e Kabira ekimu ku bifo ebisanyukirwamu e Bukoto kyabadde addukanya ng’eno ebiwala bye yeegombye gye bimusisinkana ne beesanyusamu n’okunyumirwa obulamu.
PULAANI YA SUDHIR OKUTAASA OBUGAGGA BWE
Rajiv nga tanafa yategeeza nti omujiji gwa kitaawe gwakusatu okuva bajjajjabwe bwe bajja mu Uganda ne babeera e Toro nga Sudhir yaasoose okubeera omugagga ow’amaanyi mu famire yaabwe.
Ono yasooka kupangisa Kayumba ku luguudo lwa Buganda Road nga muno mweyabazaalira wabula n’akola nyo n’agaggawala nga mu kiseera kino yaasinga agamu ku maka ag’ebbeeyi agasangibwa e Kololo Hill Drive ku poloti 11-13.
AMAKA GA SUDHIR GA BBEEYI NNYO NNYO!
Okumanya amaka ga Sudhir gawunikiriza, waliwo omuvubuka eyayingiddemu nga yeefudde kanyama w’omugagga Hamis Kiggundu, wabula securite yamusanze abuliddemu mu bisenge ng’abuliddwa ekkubo erimufulumya era mu kiseera kino akuumibwa ku poliisi ya Jinja Road mu Kampala. Kyokka bw’ogatuukamu oyinza okulowooza oyingidde ezimu ku wooteeri za Sudhir ng’ebisenge ebirimu tobala gonna gatemagana nga mukene.
Ensi yonna etunuulidde omugagga Sudhir (69) kyagenda okukola okutaasa obugagga bwe ng’abamu bateebereza nti ayinza bizinensi okuzikwasa bawalabe be, kubanga Rajiv ye mulenzi yekka bw’ati gw’abadde alina mu bulamu ku ssente enyingi z’alina, bawalabe be okuli Meera Ruparelia ne Sheena Ruparelia oba okuziwa abantu abakugu okuziddukanya okutuusa abazzukulu bwe banaakula bazitwale mu maaso.
Abasinga balowooza nti obugagga Sudhir ayinza okubukwasa bawalabe kubanga bo Abayindi omwana omuwala bamutwala ng’ekyomuwendo okusinga abalenzi ate abawala bakyakoze bulungi mu kuddukanya obugagga bw’abagenzi abaali mikwano gya Sudhir okuli Mukwano ne Mulwana.
ABAAGENZE OKULYA KU LUMBE LW’OMUGAGGA BAVUDDEYO BANYIIVU
Namwandu w’omugenzi ne famire bwe baafunye amawulire g’okufa kw’omuntu wabwe ekiragiro ekyasoose kwekugaana ab’amawulire okuyingira munda mu nyumba okutandika okukuba ebifaananyi nga kino kyekyabadde ne ku bantu abalala abaagenzeyo okungubaga.
Ensonda zitegeezezza nti kino kyakoleddwa okutaasa famile eyita mu kulumwa nga maama w’omugenzi bwerwazibidde ku Ssande nga yaakazirika emirundi 6 ng’eno y’ensonga lwaki baaleese emmotooka za ambulensi nga zirimu abasawo abakugu okumukolako okusobola okutaasa obulamu bwe.
Sudhir naye ensonda zitubuulidde nti alina ebirwadde ebikambwe okuli sukaali ne puleesa ng’obwedda abasawo bagoberera embeera y’obulamu bwe nga eno y’ensonga lwaki abakungubazi ab’enkizo be bakkiriziddwa okumutuukako waggulu mu kalina gye baabadde bakungubagira nga famire.
Waliwo abantu ba bulijjo abaagobeddwa ku ggeeti ate abakuumi b’abanene n’abagagga abayingidde ne bakoma mu ttenti eyateereddwa mu lujja baavuddeyo bayomba nga kyebabadde basuubira tebaakifunye omuli n’emmere.
Bano baabadde basuubira okulya basindise bigeere ng’okugenda baabadde balowooza nti engeri omugagga bwalina ziwooteri ze zigenda okufumba wabula baakiguddeko bwe baabawadde obumere mu busowaani obutono ng’ate teriimu munnyo nga bataddemu kaamulali mungi n’ebalemerera.
Emmere esinga eyabadde egabulwa yabadde ya Kiyindi, ne China nga bannayuganda tebagisobola nga balaba ng’amakovu n’ebikere ekintu ekyabayombesezza securite n’ebafulumya.


