Teri Kwewaako: Ebiviirako Abaagalana Okugenda Mu Lusirika Ku Mulembe Guno Ogwa ‘Social Media’…

Olusirika lukosa abakyala okusinga abasajja kubanga ye bwakeera n’afuluma afuna baayogera nabo abatambuza olunaku ate nga ye omukyala ali waka nga buli kyatunulako kimunyiiza anti kimujjukiza bbaawe. Omukyala bweyammanga omusajja ak’ekiro, ng’omwami afunayo amunaazaako ennaku mu bwangu obwekitalo. Ate abakyala baabeeranga n’ensonyi ng’obwenzi tebabwenyumirizaamu nga bweguli kati.

Mubiru Dickson
4 Min Read

EBIMU ku bibonerezo abaagalana bye bawa bannaabwe nga basowaganye, kwe kwesiriikirira oba okugenda mu lusirika nga temuwuliziganya mwenna mutuggubadde.

Kino ekibonerezo kyabanga kyamugaso eri abaagalana era kyayanguwanga mangu okumenyebwawo kubanga buli omu mu ngeri emu oba endala yalinanga obwetaavu bungi eri munne naddala mu maka ng’omukyala takola.

Era baagamba nga nti olusirika lukosa abakyala okusinga abasajja kubanga ye bwakeera n’afuluma afuna baayogera nabo abatambuza olunaku ate nga ye omukyala ali waka nga buli kyatunulako kimunyiiza anti kimujjukiza bbaawe. Omukyala bweyammanga omusajja ak’ekiro, ng’omwami afunayo amunaazaako ennaku mu bwangu obwekitalo. Ate abakyala baabeeranga n’ensonyi ng’obwenzi tebabwenyumirizaamu nga bweguli kati.

OLUSIRIKA LW’ENSANGI ZINO
Emirembe bwegizze nga gikyuka, olusirika kati lwangu kwonoona amaka oba omukwano okusinga okugutereeza era abakyala bagamba nti omukazi bwoba tolinaamu ku kasente ko, olusirika luleke kubanga osigala okyetaaga ezaakameeza okuva eri omwami wo nti abasajja ennaku zino olusirika balukozesa okwewala obuvunanyizibwa mu maka kubanga ojjakwekaanya omunyega naye akuliite bukuliisi nga taleseewo za kameeza.
Olusirika lw’ennaku zino era lulongose mu anti emimwa bwegitayogera nga mwewereeza obubaka nga muyita ku ssimu. Abamu bakozesa sitetasi za Whatsapp okukoona bannaabwe nga bayita mu buyimba n’obugambo obusomooza.

Abo abatayagala kwenda ku bannaabwe bagamba nti bwemuba mu lusirika temulina kugattamu bitundu bya kyama era olutuuka ekiro byo baba balina okubireka byesanyuse era akaseera ako bwekaggwa nga muddamu. Kino bagamba kiyambako okwewala ebikemo eri abakyala n’abaami anti emirembe gyakyuka abakyala banonyeza ddala ensimbi.

EBITUNDU EBITALINA MUSANGO
Kati olusirika bwoluyingizaamu ebitundu ebitalina musango, omukazi oba omutumye kwagala mukama we oba abamu kubakola nabo abamwegomba ate omusajja oba omuwaddeyo ewa mujja wo.

Biibino ebitera okusindikiriza abaagalana okugenda mu lusirika.

Obutabeera na kuwuliziganya kwa muggundu wakati wammwe ntandikwa ya lusirika. Abaagalana abateeka amaanyi mu kwogera ku bibaluma n’okuwuliziganya tebasobola kugenda mu lusirika naye abo abekkaanya okwanjula ebibalumya emitwe eri abaagalwa baabwe bosanga nga beesirikidde oluusi nga n’omu ku bbo tamanyi nsonga.

OKUTYA OBUTAKKAANYA KIREETA WO NNYO OKUSIRIKA.

Okubeera nga buli nsonga gyemugezaako okwogerako mukomekkera muyomba buyombi nakyo kitondawo embeera y’okwesiriikirira anti embeera y’okusika omuguwa ekooya era wesanga nga munno mukifo ky’okwanjula ebimuluma asalawo kusirika ate naawe olwokuba obeera tomanyi kituufu kigenda mu maaso wesanga olusirika olwetabyemu nga n’ensonga entuufu eruleese togikakasa.

Buli lwewabaawo ensonga zemuleka temugonjodde kuziggya mu ddiiro, manya awo wenyini wewaba entandikwa yokwesirikirira anti ensonga etagonjoddwa ereka ekonda ku mutima.

Ogenda okuwulira nga munno awuuna yekka olwobusungu ate nawe olwobutayagala kutankula njuki ensonga oleka ndeke ngeri ya akoowa yayogera.

OBUTEEWA KITIIBWA
Obutassa kitiibwa mu mpulira ya munno nakyo kireeta olusirika anti munno buli lwalowooza okwanjula ensonga ekolebweko nga ajjukira enyingi ezaalekebwa mu bbanga awo nga akussa kisiiso.

Okukola n’okukowa ennyo nakyo kireeta olusirika. Oluusi emirimu giba tegitambudde bulungi kati nga omuntu atya nti ayinza okukumalirako obusungu obutakukwatako kwekusalawo okusirika. N’olwekyo kiba kirungi nnyo okuba nga wategeera munno.
Omukwano okukendera wakati wammwe nakyo kisobola okubaviirako olusirika. Anti omuntu gwotewulira bulungi oba owulira nga n’emboozi ze tezinyuma.

Obulumi bwensobi ezaakolebwa edda gamba nga obwenzi nakyo nsonga nkulu anti munno buli lwakutunulira asobola okuba nga ajjukira ekyo kyewamukola.
SOSOLO MEDIYA
Omutimbagano naddala mu kyasa kino anti buli omu ebirowoozo aba abimalidde ku ssimu ye mu kifo ky’okufa ku bitwala omukwano gwabwe mu maaso.

Okusobola okwewala olusirika n’akabi akalulimu, muyige okwogerezeganya mu ngeri enzikikkamu kubanga kyonna ekiba kibanyizizza kiba kyazze nga tekiddayo era nga mulina kukikwasaganya babiri.

TAGGED:
Share This Article